ESSOMO 17
Ebitegeerekeka eri Abalala
1 Abakkolinso 14:9
MU BUFUNZE: Yamba abakuwuliriza okutegeera by’obabuulira.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
By’ogenda okuyigiriza abalala byekenneenye bulungi. Fuba okutegeera obulungi by’ogenda okuyigiriza abalala osobole okubinnyonnyola mu ngeri ennyangu era mu bigambo byo.
Kozesa sentensi ennyimpimpi n’ebigambo ebyangu okutegeera. Wadde nga osobola okukozesa sentensi empanvu, ensonga enkulu zinnyonnyole ng’okozesa ebigambo ebyangu okutegeera, era ne sentensi ennyimpimpi.
Nnyonnyola ebigambo abakuwuliriza bye batamanyi. Tokozesa nnyo bigambo abakuwuliriza bye batamanyi. Bw’obaako ky’ogenda okwogera ng’abakuwuliriza tebakimanyi, gamba ng’ekigambo oba omuntu omu ayogerwako mu Bayibuli, ekipimo oba akalombolombo ak’edda, kinnyonnyole.