LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • CO-pgm23 lup. 7-8
  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
  • 2023 Programu y’Olukuŋŋaana Olunene
  • Similar Material
  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
    2024 Programu y’Olukuŋŋaana Olunene
  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Ennaku Esatu Olwa 2020
  • Ebyo Abazze ku Lukuŋŋaana Olunene Bye Balina Okumanya
    Olukuŋŋaana Olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa 2025
  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Ennaku Esatu Olwa 2019
See More
2023 Programu y’Olukuŋŋaana Olunene
CO-pgm23 lup. 7-8

Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana

ABAANIRIZA Abaaniriza baliwo kukuyamba. Osabibwa okugoberera obulagirizi bwe bakuwa obukwata ku w’olina okusimba ekidduka kyo, aw’okutuula, ne ku nsonga endala.

AW’OKUTUULA Osabibwa okufaayo ku balala. Ab’omu maka go, b’otambudde nabo mu kidduka kyo, n’abayizi bo aba Bayibuli, be bokka b’oyinza okukwatira ebifo. Osabibwa obutateeka kintu kyonna mu kifo omuntu omulala w’asobola okutuula.

EBIBUZE N’EBIZUULIDDWA Bwe wabaawo ekintu kyonna ky’olonze, kitwale mu kitongole kino. Ate era bwe wabaawo ekintu kyonna ekikubuzeeko, genda mu kitongole kino. Abaana ababuze ku bazadde baabwe basaanidde okutwalibwa mu kitongole kino. Kyokka, olw’okwewala okutaataaganya abalala, abazadde basaanidde okulabirira abaana baabwe n’okubakuumira we bali.

OBUJJANJABI OBUSOOKERWAKO Kijjukire nti ekitongole kino kikola ku bujjanjabi obusookerwako bwokka.

OKUBATIZIBWA Ebifo bye bategekedde abanaabatizibwa bijja kubeera mu maaso. Basaanidde okutuula mu bifo byabwe ku Lwomukaaga ku makya ng’okwogera okukwata ku kubatizibwa tekunnatandika. Buli omu asaanidde okuleeta ttawulo ye n’eby’okwambala ebisaanira eby’okubatirizibwamu.

OKUWAAYO Ssente eziwerako zisaasaanyiziddwa mu kuteekateeka aw’okutuula, ebyuma by’amaloboozi, n’ebirala bingi ebisobozesa olukuŋŋaana okutambula obulungi n’okutuyamba okusemberera Yakuwa. Ssente ze muwaayo kyeyagalire ze zikola ku byetaago ebyo era n’okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Obusanduuko omuteekebwa ssente buteekeddwa mu bifo ebitali bimu. Osobola n’okuwaayo okuyitira ku donate.jw.org. Kyonna kye muwaayo kisiimibwa nnyo, era Akakiiko Akafuzi kabeebaza nnyo olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.

OKUWEEREZA NGA NNAKYEWA Bw’oba nga wandyagadde okwenyigira mu mirimu egisobozesa olukuŋŋaana luno okutambula obulungi, osabibwa okugenda mu kitongole kya bannakyewa era ojja kutegeezebwa obuyambi we bwetaagibwa.

OLUKUŊŊAANA OLW’ENJAWULO

Ab’oluganda ne bannyinaffe nga bawuliriza bulungi era nga baliko bye bawandiika.

Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka

Abo bonna abaagala okugaziya ku buweereza bwabwe, bakubirizibwa okubaawo ku lukuŋŋaana lw’abo abandyagadde okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka olunaabaawo ku Ssande olweggulo. Ekiseera n’ekifo olukuŋŋaana luno we lunaabeera bijja kututegeezebwa.

Lutegekeddwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa

© 2023 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share