LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • CO-pgm24 lup. 7-8
  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
  • 2024 Programu y’Olukuŋŋaana Olunene
  • Laba Ebirala
  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
    2023 Programu y’Olukuŋŋaana Olunene
  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Ennaku Esatu Olwa 2020
  • Ebyo Abazze ku Lukuŋŋaana Olunene Bye Balina Okumanya
    Olukuŋŋaana Olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa 2025
  • Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Ennaku Esatu Olwa 2019
Laba Ebirara
2024 Programu y’Olukuŋŋaana Olunene
CO-pgm24 lup. 7-8

Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana

ABAANIRIZA Abaaniriza baliwo kukuyamba. Osabibwa okugoberera obulagirizi bwe bakuwa obukwata ku w’olina okusimba ekidduka kyo, aw’okutuula, ne ku nsonga endala.

OKUBATIZIBWA Ebifo bye bategekedde abanaabatizibwa bijja kubeera mu maaso okuggyako nga kiragiddwa mu ngeri endala. Basaanidde okutuula mu bifo byabwe ku Lwomukaaga ku makya ng’okwogera okukwata ku kubatizibwa tekunnatandika. Buli omu asaanidde okuleeta ttawulo ye n’eby’okwambala ebisaanira eby’okubatirizibwamu.

OKUWAAYO Ssente eziwerako zisaasaanyiziddwa mu kuteekateeka aw’okutuula, ebyuma by’amaloboozi, n’ebirala bingi ebisobozesa olukuŋŋaana okutambula obulungi n’okutuyamba okwongera okusemberera Yakuwa. Ssente ze muwaayo kyeyagalire ze zikola ku byetaago ebyo era n’okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Obusanduuko omuteekebwa ssente buteekeddwa mu bifo ebitali bimu. Osobola n’okuwaayo ng’oyitira ku donate.jw.org. Kyonna kye muwaayo kisiimibwa nnyo, era Akakiiko Akafuzi kabeebaza nnyo olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.

OBUJJANJABI OBUSOOKERWAKO Kijjukire nti ekitongole kino kikola ku bujjanjabi obusookerwako bwokka.

EBIBUZE N’EBIZUULIDDWA Bwe wabaawo ekintu kyonna ky’olonze, kitwale mu kitongole kino. Ate era bwe wabaawo ekintu kyonna ekikubuzeeko, genda mu kitongole kino. Abaana ababuze ku bazadde baabwe basaanidde okutwalibwa mu kitongole kino. Kyokka, olw’okwewala okutaataaganya abalala, abazadde basaanidde okulabirira abaana baabwe n’okubakuumira we bali.

AW’OKUTUULA Osabibwa okufaayo ku balala. Ab’omu maka go, b’otambudde nabo mu kidduka kyo, n’abayizi bo aba Bayibuli, be bokka b’oyinza okukwatira ebifo. Osabibwa obutateeka kintu kyonna mu kifo ky’otakwatidde muntu.

OKUWEEREZA NGA NNAKYEWA Bw’oba nga wandyagadde okwenyigira mu mirimu egisobozesa olukuŋŋaana luno okutambula obulungi, osabibwa okugenda mu kitongole kya bannakyewa.

Lutegekeddwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa

© 2024 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania

OLUKUŊŊAANA OLW’ENJAWULO

Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka

Ow’oluganda ne mukyala we awamu n’omusomesa waabwe mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka, bali mu layibulale era balina essomo lye bakubaganyako ebirowoozo ku tabbuleeti.

Abo bonna abaagala okugaziya ku buweereza bwabwe, bakubirizibwa okubaawo ku lukuŋŋaana lw’abo abandyagadde okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka olunaabaawo ku Ssande olweggulo. Ekiseera n’ekifo olukuŋŋaana luno we lunaabeera bijja kututegeezebwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza