LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lmd essomo 11
  • Yigiriza mu Ngeri Ennyangu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yigiriza mu Ngeri Ennyangu
  • Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyo Yesu Kye Yakola
  • Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?
  • Koppa Yesu
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Engeri y’Okuyigirizaamu Abantu Bayibuli nga Tukozesa Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!”
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Ssaayo Omwoyo ku ‘Kuyigiriza’ Kwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Weeteeketeeke Bulungi ng’Ogenda Okuyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
See More
Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
lmd essomo 11

OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA

Yesu ayigiriza ekibiina ky’abantu okumpi n’ennyanja era waliwo ebimuli n’ebinyonyi.

Mat. 6:25-27

ESSOMO 11

Yigiriza mu Ngeri Ennyangu

Omusingi: ‘Mwogere mu ngeri etegeerekeka obulungi.’​—1 Kol. 14:9.

Ekyo Yesu Kye Yakola

Yesu ayigiriza ekibiina ky’abantu okumpi n’ennyanja era waliwo ebimuli n’ebinyonyi.

VIDIYO: Yesu Akozesa Ebyokulabirako Ebiraga Engeri Katonda gy’Atufaako

1. Laba VIDIYO, oba soma Matayo 6:25-27, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1. Kyakulabirako ki Yesu kye yakozesa okutuyamba okukimanya nti Yakuwa atufaako?

  2. Wadde nga Yesu yali amanyi ebintu bingi ebikwata ku binyonyi, kintu ki ekyangu okutegeera kye yayogerako? Lwaki eyo yali ngeri nnungi ey’okuyigirizaamu?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Bwe tuyigiriza abantu mu ngeri ennyangu, ebyo bye tubayigiriza baba bajja kubijjukira bulungi era biba bijja kukwata ku mitima gyabwe.

Koppa Yesu

3. Weewale okwogera ennyo. Mu kifo ky’okwogera byonna by’omanyi ku nsonga gye muba muliko, essira lisse ku ebyo ebiri mu kitabo kye mukozesa okuyiga. Oluvannyuma lw’okubuuza omuyizi ekibuuzo, muwe ekiseera okubaako ky’addamu. Bw’aba nga tamanyi kya kuddamu oba nga ky’ayogedde kikontana n’enjigiriza za Bayibuli, kozesa ebibuuzo ebirala okumuyamba okufumiitiriza ku nsonga eba eyogerwako. Omuyizi wo bw’ategeera ensonga enkulu, mweyongereyo.

4. Yamba omuyizi okukwataganya ekyo ky’ayize n’ebyo bye yamala edda okuyiga. Ng’ekyokulabirako, nga temunnatandika kukubaganya naye birowoozo ku ssomo erikwata ku kuzuukira, muyinza okwejjukanya bye yayiga ebikwata ku mbeera y’abafu.

5. Weegendereze ng’okozesa ebyokulabirako. Nga tonnakozesa kyakulabirako, weebuuze:

  1. ‘Ekyokulabirako kino kyangu?’

  2. ‘Omuyizi wange anaakitegeera?’

  3. ‘Kinaayamba omuyizi okujjukira ensonga enkulu oba ebirowoozo anaabimalira ku kyakulabirako?’

LABA NE

Mat. 11:25; Yok. 16:12; 1 Kol. 2:1

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share