Baafuna Obuvumu
TEKIBA kyangu buli kiseera okufuna obuvumu okusobola okubuulira. Mu butuufu, omutume Pawulo yagamba nti lumu, ya kikola “[n’o]kufuba okungi.” (1 Abasessaloniika 2:2) ‘Okufuba’ okubuulira kuvaamu emiganyulo? Tekiri nti wateekwa okubaawo ebyokulabirako eby’enkukunala, naye abantu ba Katonda emirundi mingi baba basanyufu nti baafuna obuvumu. Weetegereze ebyokulabirako bino wammanga.
Omuwala ow’emyaka munaana ayitibwa Tara yassaayo nnyo omwoyo ng’omusomesa we ategeeza ekibiina nti mu Ssematalo II, abaali mu nkambi y’Abayudaaya ey’abasibe baalina okwambala akabonero k’Emmunyeenye ya Dawudi aka kyenvu okusobola okubaawulawo. Tara yeebuuza obanga yandibaddeko ky’ayogera. “Nnasaba nga sizibiridde,” bw’atyo bw’agamba. Oluvannyuma, yawanika omu- kono gwe n’agamba nti n’Abajulirwa ba Yakuwa baali mu nkambi ezo, era nti baalina okwambala akabonero ak’ensonda essatu aka kakobe. Ekyo omusomesa yakisanyukira era n’amwebaza. Tara bye yayogera byamutemera oluwenda okweyongera okukubaganya ebirowoozo n’omusomesa we, era oluvannyuma omusomesa yalaga ekibiina kyonna vidiyo Jehovah’s Witnesses Stand Firm Against Nazi Assault.
Mu Guinea, Afirika ow’Ebugwanjuba, omubuulizi omuto atali mubatize ayitibwa Irène yayagala okukulaakulana mu buweereza bwe. Omuminsani eyasoma naye Baibuli yamukubiriza okugezaako okugabira bayizi banne ku ssomero Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Irène yasooka okutya kubanga bayizi banne baali tebawulirizza. Kyokka, ng’azziddwamu amaanyi omuminsani oyo, Irène yasalawo okusooka okutuukirira omuyizi eyali asinga okumuziyiza. Ekyewuunyisa ennyo Irène, omuwala oyo yawuliriza bulungi era n’atwala magazini. Abayizi abalala bakola kye kimu. Irène yagaba magazini nnyingi nnyo mu mwezi ogwo okusinga ze yagaba mu myezi etaano egy’emabega gyonna awamu.
Mu Trinidad, omukadde yasooka okutya okutuukirira omukulu w’essomero okumulaga omuganyulo gwa magazini ya Awake! mu by’enjigiriza. Wadde kyali kityo, yafuna obuvumu. Agamba: “Nnasaba nga nnyingira mu luggya lw’essomero. Nnali siyinza kukikkiriza omukulu w’essomero bwe yansanyukira ennyo.” Yakkiriza magazini ya Awake! eyalina omutwe “Abavubuka ba Leero Balina Ssuubi Ki?” era n’akkiriza n’okugikozesa okuyigiriza mu kibiina. Okuva ku olwo, atutte magazini 40 ezikwata ku nsonga ezitali zimu.
Ng’omuvubuka, Vaughn, okubuulira yakusanganga nga kuzibu. “Nnatyanga, engalo zange ne zituuyana, era ne njogeranga ku sipiidi—nga sisobola kwogera mpola.” Wadde kyali kityo, yafuuka omuweereza ow’ekiseera kyonna. Naye era, tekyamwanguyiranga kwogera. Lumu, bwe yali ng’akooye nnyo olw’okunoonya emirimu, yayagala abuulireyo ku muntu mu ggaali y’omukka, “waakiri afuneyo ekintu ekirungi ku lunaku olwo olwali lutamugendedde bulungi.” Naye abasuubuzi abaali mu ggaali y’omukka baamuleetera okutya. Mu nkomerero, yafuna obuvumu n’ayogera n’omusajja nnamukadde eyali atudde okumpi naye. Baanyumya okumala ekiseera kiwanvu. “Obuuzizza ebibuuzo birungi wadde ng’okyali muvubuka,” bw’atyo omusuubuzi bwe yagamba, era n’abuuza “Oli mukugu mu bya ddiini?” Vaughn yaddamu nti, “Nedda, ndi omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.” “Oo,” omusajja yamwenyamu. “Kati nkitegedde.”
Abajulirwa bano bonna—n’abalala bangi—basanyufu nti baafuna obuvumu okubuulira. Onookola kye kimu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Tara
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Vaughn