Twetaaga Entegeka ya Yakuwa
WALI owuliddeko omuntu ng’agamba, “Nzikiririza mu Katonda naye si mu ddiini entegeke”? Endowooza y’emu etera okuweebwa abantu abaaliko abanyiikivu mu kkanisa naye ne baggwaamu amaanyi kubanga eddiini yaabwe yalemererwa okukola ku byetaago byabwe eby’eby’omwoyo. Wadde bamaliddwamu amaanyi ebibiina by’eddiini, bangi bagamba nti bakyayagala okusinza Katonda. Kyokka, bakkiriza nti okumusinza mu ngeri yaabwe kisinga okumusinza nga bakolagana n’ekkanisa oba n’entegeka endala yonna.
Baibuli egamba ki? Katonda ayagala Abakristaayo bakolagane n’entegeka?
Abakristaayo Abaasooka Baaganyulwa mu Kubeera mu Ntegeka
Ku Pentekoote 33 C.E., Yakuwa yafuka omwoyo gwe omutukuvu, si ku bakkiriza abatono nga buli omu ali ku lulwe, naye ku kibinja ky’abasajja n’abakazi abaali bakuŋŋaanye “mu kifo kimu,” mu kisenge ekya waggulu mu kibuga kya Yerusaalemi. (Ebikolwa 2:1) Mu kiseera ekyo, ekibiina Ekikristaayo, ekyali kifuuse ekibiina eky’ensi yonna, kyakolebwa. Kino kyali kya muganyulo eri abayigirizwa abo abaasooka. Lwaki? Ensonga emu, baali baweereddwa omulimu omukulu—ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu “nsi yonna etuuliddwamu.” (Matayo 24:14, NW) Abappya bandiyize engeri y’okutuukirizaamu omulimu gw’okubuulira okuva ku bakkiriza bannaabwe abalina obumanyirivu mu kibiina.
Mangu ddala obubaka bw’Obwakabaka bwasaasaana ebweru wa Yerusaalemi. Wakati w’omwaka gwa 62 ne 64 C.E., omutume Peetero yawandiika ebbaluwa ye eyasooka eri Abakristaayo ‘abaasaasaana mu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya, ne Bisuniya,’ byonna ebiri mu Butuluki ow’omu kiseera kyaffe. (1 Peetero 1:1) Era waaliwo abakkiriza abaali mu Palesitayini, Lebanooni, Busuuli, Kupulo, Buyonaani, Kuleete, ne Italy. Pawulo we yawandiikira Abakolosaayi mu 60-61 C.E., amawulire amalungi gaali ‘gabuuliddwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’—Abakkolosaayi 1:23.
Omuganyulo ogw’okubiri ogw’okukolagana n’entegeka ye ngeri buli Mukristaayo gye yandizizzaamu munne amaanyi. Nga bakolagana n’ekibiina, Abakristaayo bandisobodde okuwulira emboozi ezizzaamu amaanyi, okusomera awamu Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, okwogera ku byokulabirako ebizzaamu amaanyi, era n’okwegatta ku bakkiriza bannaabwe mu kusaba. (1 Abakkolinso, essuula 14) Era abasajja abakuze mu by’omwoyo bandisobodde ‘okulunda ekisibo kya Katonda.’—1 Peetero 5:2.
Nga bali mu kibiina, Abakristaayo baamanyagana era ne baagalana. Mu kifo ky’okuwulira nti bazitoowereddwa olw’okukolagana n’ekibiina, Abakristaayo abaasooka baazimbibwa era ne banywezebwa ekibiina.—Ebikolwa 2:42; 14:27; 1 Abakkolinso 14:26; Abakkolosaayi 4:15, 16.
Ensonga endala lwaki ekibiina ekiri obumu mu nsi yonna, oba entegeka, byali byetaagibwa yali okutumbula obumu. Abakristaayo baayiga “okwogeranga obumu.” (1 Abakkolinso 1:10) Kino kyali kikulu nnyo. Abaali mu kibiina baalina obuyigirize bwa njawulo era nga baakuzibwa mu ngeri ya njawulo. Baayogeranga ennimi za njawulo, era baalina engeri za njawulo. (Ebikolwa 2:1-11) Emirundi egimu, baayoleka endowooza ezaawukana. Kyokka, Abakristaayo baayambibwa okugonjoola enjawukana ng’ezo mu kibiina.—Ebikolwa 15:1, 2; Abafiripi 4:2, 3.
Ebibuuzo eby’amaanyi ebyali bitayinza kuddibwamu bakadde ab’omu kitundu baabibuuza abalabirizi abatambula abakuze mu by’omwoyo nga Pawulo. Ensonga enkulu ezikwata ku njigiriza zaatwalibwa eri akakiiko akafuzi akaali mu Yerusaalemi. Mu kusooka, akakiiko akafuzi kaalimu abatume ba Yesu Kristo naye oluvannyuma kaagaziyizibwa ne kateekebwamu abakadde b’omu kibiina kya Yerusaalemi. Buli kibiina kyakkiriza obuyinza bw’akakiiko akafuzi obwava eri Katonda era n’abo abakakiikirira, okutegeka obuweereza, okulonda abantu mu bifo eby’obuweereza, era n’okusalawo ku nsonga z’enjigiriza. Ensonga bwe yagonjoolebwanga akakiiko akafuzi, ebibiina byakkiriza ekisaliddwawo, ne ‘basanyuka olw’okuzzibwamu amaanyi.’—Ebikolwa 15:1, 2, 28, 30, 31.
Yee, Yakuwa yakozesa entegeka mu kyasa ekyasooka. Naye kiri kitya leero?
Twetaaga Entegeka Leero
Okufaananako bannaabwe ab’omu kyasa ekyasooka, Abajulirwa ba Yakuwa leero, omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bagutwala nga mukulu nnyo. Engeri emu gye bakolamu omulimu guno kwe kugaba Baibuli n’ebitabo ebyeyambisibwa okuyiga Baibuli, ebintu ebyetaagisa entegeka.
Ebitabo by’Ekikristaayo biteekwa okuteekebwateekebwa n’obwegendereza, okwekenneenyezebwa okukakasa nti ebirimu bituufu, okukubibwa mu kyapa, era n’okutwalibwa mu bibiina. Ate era, Abakristaayo kinnoomu bateekwa okwewaayo kyeyagalire okutwala ebitabo ebyo eri abo abaagala okubisoma. Obubaka bw’Obwakabaka butuuse ku bukadde n’obukadde bw’abantu mu ngeri eno. Ababuulizi b’amawulire amalungi bafuba okubuulira mu ngeri entegeke obulungi, nga bakakasa nti tebeemalira ku kubuulira mu bitundu bimu byokka ate ne balagajjalira ebirala. Bino byonna byetaagisa entegeka.
Okuva ‘Katonda bw’atasosola,’ Baibuli n’ebitabo ebinnyonnyola Baibuli biteekwa okuvvuunulwa. (Ebikolwa 10:34) Kampegaano, magazini eno efunika mu nnimi 132, ate ginneewaayo, Awake!, ekubibwa mu nnimi 83. Ekyo kyetaagisa ebibinja by’abavvuunuzi okwetooloola ensi abategekeddwa obulungi.
Abali mu kibiina baddamu amaanyi bwe bagenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ennene n’entono. Eyo bawulira emboozi za Baibuli ezizzaamu amaanyi, basomera wamu Ebyawandiikibwa, bafuna ebyokulabirako ebizimba, era basabira wamu ne basinza bannaabwe. Era, okufaananako baganda baabwe ab’omu kyasa ekyasooka, bakyalirwa abalabirizi abatambula ab’okwagala ababanyweza mu kukkiriza. Bwe kityo, Abakristaayo leero bali “ekisibo kimu, omusumba omu.”—Yokaana 10:16.
Kya lwatu, Abajulirwa ba Yakuwa si batuukirivu, era nga bwe kyali eri bannaabwe ab’edda. Wadde kiri kityo, bakolera wamu mu bumu. N’ekivuddemu, omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gukolebwa mu nsi yonna.—Ebikolwa 15:36-40; Abaefeso 4:13.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Abakristaayo leero bali “ekisibo kimu, omusumba omu”