Ekibiina ka Kizimbibwenga
“Ekibiina . . . ne kiba mu mirembe, ne kizimbibwanga.”—EBIKOLWA 9:31, NW.
1. Bibuuzo ki ebikwata ku ‘kibiina kya Katonda’ ebiyinza okwebuuzibwa?
KU LUNAKU lwa Pentekoote 33 C.E., Yakuwa yakkiriza ekibiina ky’abayigirizwa ba Kristo ng’eggwanga, “Isiraeri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16) Abakristaayo bano abaafukibwako amafuta era baafuuka ekyo Baibuli ky’eyita “ekkanisa ya [“ekibiina kya,” NW] Katonda.” (1 Abakkolinso 11:22) Kino kyali kyazingiramu ki? “Ekibiina kya Katonda” kyanditegekeddwa kitya? Kyandiddukanyiziddwa kitya ng’abakirimu bali mu bifo bya njawulo? Era obulamu bwaffe bukwatibwako butya?
2, 3. Yesu yakiraga atya nti ekibiina kyandibadde n’enteekateeka ennuŋŋamu?
2 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyaggwa, Yesu yalagula okubaawo kw’ekibiina kino eky’abagoberezi be abaafukibwako amafuta ng’agamba omutume Peetero nti: “Ndizimba ekibiina kyange ku lwazi luno [Yesu Kristo]: so n’emiryango egy’Emagombe tegirikiyinza.” (Matayo 16:18, NW) Ate era, bwe yali ng’akyali n’abatume be, yalaga engeri ekibiina ekyo ekyali kigenda okutandikibwawo gye kyanditegekeddwamu n’okuddukanyizibwa.
3 Yesu bye yayigiriza mu bigambo ne mu bikolwa byalaga nti wandibaddewo abatwala obukulembeze mu kibiina. Kino bandikikoze nga baweereza abalala abali mu kibiina. Kristo yagamba: “Mumanyi ng’abo abalowoozebwa okufuga ab’amawanga babafuza amaanyi; n’abakulu baabwe babatwala lwa mpaka. Naye mu mmwe tekiri bwe kityo: naye buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe; na buli ayagala okuba ow’olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wa bonna.” (Makko 10:42-44) Kyeyoleka bulungi nti “ekibiina kya Katonda” tekyandibadde nga buli omu ali ku lulwe, wabula, wandibaddewo enteekateeka ennuŋŋamu ng’abali mu kibiina bakolaganira wamu.
4, 5. Tumanya tutya nti ekibiina kyandyetaaze obulagirizi obw’eby’omwoyo?
4 Oyo eyandibadde Omutwe ‘gw’ekibiina kya Katonda’ ekyo yakiraga nti abatume be n’abalala abaali bawulirizza by’ayigiriza bandibaddeko obuvunaanyizibwa bwe baweebwa. Bwandibadde bw’akukola ki? Okuyigiriza abo abali mu kibiina ebikwata ku Yakuwa gwandibadde mulimu mukulu. Jjukira nti Yesu eyali azuukiziddwa yabuuza Peetero nga n’abamu ku batume bawulira nti: “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero yaddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga kwagala.” Yesu n’amugamba nti: “Liisanga abaana b’endiga bange. . . . Lundanga endiga zange. . . . Liisanga endiga zange.” (Yokaana 21:15-17) Guno nga gwali mulimu gwa maanyi!
5 Okusinziira ku bigambo bya Yesu, tukiraba bulungi nti abo abali mu kibiina bafaananyizibwa endiga eziri mu kisibo. Endiga zino—Abakristaayo abasajja, abakazi, n’abaana—zandyetaaze okuliisibwa mu by’omwoyo n’okulundibwa obulungi. Ate era, okuva Yesu bwe yalagira abagoberezi be bonna okuyigiriza abalala n’okubafuula abayigirizwa, abo bonna abandifuuse endiga bandyetaaze okutendekebwa mu ngeri gye basobola okukolamu omulimu gwa Katonda ogwo.—Matayo 28:19, 20.
6. Nteekateeka ki ezaakolebwa mu “kibiina kya Katonda” ekyali kyakatandikibwawo?
6 “Ekibiina kya Katonda” bwe kyatandikibwawo, abo abaakirimu baakuŋŋaananga okuyigirizibwa n’okuziŋŋanamu amaanyi: “Banyiikiriranga okuyigirizibwa kw’abatume, ne mu kusseekimu, ne mu kumenya emigaati ne mu kusaba.” (Ebikolwa 2:42, 46, 47) Ekirala, abasajja abalina ebisaanyizo baabanga n’emirimu gye baaweebwanga okukola. Okulondebwa kwabwe tekwasinziiranga ku kuba nti baabanga n’obuyigirize obwa waggulu oba obukugu mu kintu ekimu. Bano baali basajja “abajjudde [o]mwoyo [o]mutukuvu n’amagezi.” Omu ku bo yali Suteefano, era Ebyawandiikibwa bigamba nti yali ‘muntu ajjudde okukkiriza n’omwoyo omutukuvu.’ Ekimu ku byava mu kuba n’enteekateeka y’ebibiina kyali nti ‘ekigambo kya Katonda kyabuna; omuwendo gw’abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongerako nnyo.’—Ebikolwa 6:1-7.
Abasajja Abaakozesebwa Katonda
7, 8. (a) Buvunaanyizibwa ki abatume n’abakadde mu Yerusaalemi bwe baalina mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka? (b) Biki ebyavaamu obulagirizi bwe bwaweebwa okuyitira mu bibiina?
7 Abatume si be bokka abaali batwala obukulembeze mu kibiina, wabula waaliwo n’abalala. Lumu, Pawulo ne banne baava mu Antiyokiya eky’omu Busuuli. Ebikolwa 14:27 wagamba nti: “Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo.” Bwe baali bakyali mu kibiina ekyo, wajjawo ekibuuzo obanga kyali kyetaagisa Ab’amawanga abakkiriza okukomolebwa. Okusobola okugonjoola ensonga eyo, Pawulo ne Balunabba baatumibwa “e Yerusaalemi eri abatume n’abakadde,” abaali ku kakiiko akafuzi.—Ebikolwa 15:1-3.
8 Yakobo, eyali muganda wa Yesu era nga mukadde mu kibiina naye nga teyali omu ku batume, ye yakubiriza olukiiko ‘abatume n’abakadde bwe baakuŋŋaana okwetegereza ekigambo ekyo.’ (Ebikolwa 15:6) Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo nga bayambibwako omwoyo omutukuvu, baasalawo nga basinziira ku Byawandiikibwa. Bye baasalawo baabiwandiika mu bbaluwa ne babiweerereza eri ebibiina. (Ebikolwa 15:22-32) Abo abaafuna obulagirizi obwo baabukkiriza era ne babukolerako. Kiki ekyavaamu? Ab’oluganda baazimbibwa era ne bazzibwamu nnyo amaanyi. Baibuli egamba: “Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku.”—Ebikolwa 16:5.
9. Baibuli eraga buvunaanyizibwa ki abasajja Abakristaayo abalina ebisaanyizo bwe bandibadde nabwo?
9 Naye ebibiina byaddukanyizibwanga bitya? Lowooza ku bibiina ebyali ku kizinga ky’e Kuleete ng’ekyokulabirako. Wadde nga bangi ku bantu b’omu kitundu ekyo baali ba mpisa mbi, abamu baakyuka ne bafuuka Abakristaayo ab’amazima. (Tito 1:10-12; 2:2, 3) Baabeeranga mu bibuga bya njawulo, era nga baali wala nnyo n’akakiiko akafuzi akaali mu Yerusaalemi. Naye kino tekyaleetawo kizibu kya maanyi, kubanga “abakadde” baalondebwa mu buli kibiina eky’omu Kuleete, nga bwe kyali kikoleddwa ne mu bitundu ebirala. Abasajja abo baalina ebisaanyizo ebisangibwa mu Baibuli. Baalondebwa okuba abakadde oba abalabirizi, okusobola “okukubiriza abalala ng’abayigiriza ebigambo ebituufu era n’okunenya abo abawakanya okuyigiriza okwo.” (Tito 1:5-9, NW; 1 Timoseewo 3:1-7) Abasajja abalala abaalina ebisaanyizo baayambanga ebibiina nga bakola ng’abaweereza.—1 Timoseewo 3:8-10, 12, 13.
10. Okusinziira ku Matayo 18:15-17, ebizibu eby’amaanyi byandigonjoddwa bitya?
10 Yesu yalaga nti wandibaddewo enteekateeka ng’eyo. Jjukira ebyo ebiri mu Matayo 18:15-17, NW, w’alagira nti oluusi wayinza okujjawo ebizibu wakati w’abaweereza ba Katonda, ng’omu alina ky’asobezza munne. Oyo gwe basobezza yalina okutuukirira munne ‘amulage ensobi’ nga bali bokka. Ensonga bwe zaabanga tezigonjoddwa, omuntu omu oba babiri abamanyi ku nsonga ezo baali bayinza okuyambako. Watya nga tebakkaanyizza? Yesu yagamba nti: ‘Bw’atabawuliriza, yogera n’ekibiina. Bw’atawuliriza kibiina, mutwale nga munnaggwanga oba omusolooza w’omusolo.’ Yesu we yayogerera bino, Abayudaaya be baali “ekibiina kya Katonda,” n’olwekyo ebigambo bye mu kusooka byali bikwata ku bo.a Naye, okuva ekibiina Ekikristaayo bwe kyatandikibwawo, obulagirizi bwa Yesu obwo bwandibadde bukwata ku kyo. Kino nakyo kiraga nti abantu ba Katonda bandibadde n’enteekateeka ennuŋŋamu mu kibiina okusobola okuzimba n’okuwa buli Mukristaayo obulagirizi.
11. Abakadde baalina kifo ki mu kugonjoola ebizibu?
11 Bwe kityo, abakadde, oba abalabirizi, baakiikiriranga ekibiina kyabwe mu kugonjoola ebizibu oba okuwulira emisango gy’abo abaabanga bakoze ebibi. Ekyo kiba kikwatagana bulungi n’ebisaanyizo ebiri mu Tito 1:9, abakadde bye balina okutuukiriza. Kituufu nti abakadde bano baali tebatuukiridde, nga Tito naye bwe yali, Pawulo gwe yatuma eri ebibiina ‘okulongoosa ebitaatereera.’ (Tito 1:4, 5, NW) Leero, abo abalondebwa okuba abakadde balina okuba nga bamaze ekiseera nga banywevu mu kukkiriza era nga beemalira ku Katonda. N’olwekyo, kya magezi abalala abali mu kibiina okussa obwesige mu bukulembeze n’obulagirizi obuweebwa okuyitira mu nteekateeka eno.
12. Buvunaanyizibwa ki abakadde bwe balina eri ekibiina?
12 Pawulo yagamba abakadde b’omu kibiina ky’omu Efeso nti: “Mwekuumenga mmwe mwekka n’ekisibo kyonna omwoyo omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekibiina kya Katonda kye yeegulira n’omusaayi gw’Omwana we yennyini.” (Ebikolwa 20:28, NW) Ne leero, abakadde mu kibiina balondebwa ‘okulunda ekibiina kya Katonda.’ Kino balina kukikola na kwagala, so si kwefuula baami mu ndiga. (1 Peetero 5:2, 3) Abakadde basaanidde okufuba okuzimba n’okuyamba “ekisibo kyonna.”
Okunywerera ku Kibiina
13. Ebiseera ebimu, kiki ekiyinza okubeerawo mu kibiina, era lwaki?
13 Abakadde n’abalala bonna mu kibiina tebatuukiridde, n’olwekyo ebiseera ebimu wabaawo ebizibu oba obutategeeragana nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka ng’abamu ku batume bakyaliwo. (Abafiripi 4:2, 3) Omulabirizi oba omuntu omulala ayinza okwogera ekintu ekirabika ng’ekitali kirungi oba ekitali kituufu. Oba tuyinza okulowooza nti waliwo ekintu ekikolebwa nga kimenya emisingi gy’omu Byawandiikibwa, naye nga kirabika abakadde tebalina kye bakolawo wadde nga bakimanyiiko. Oluusi ensonga eyinza okuba nga yatandika dda okukolebwako okusinziira ku Byawandiikibwa n’ebizingirwamu ebirala bye tutamanyi. Kyokka ne bwe kiba nti tuli batuufu, lowooza ku kino: Okumala ekiseera, waaliwo ekibi eky’amaanyi ekyali kikolebwa mu kibiina ky’e Kkolinso, ekibiina Yakuwa kye yali alabirira. Ekiseera kyatuuka, ensonga eyo n’ekolebwako. (1 Abakkolinso 5:1, 5, 9-11) Oyinza okwebuuza nti, ‘Singa nnali mu kibiina ky’e Kkolinso, kiki kye nnandikoze?’
14, 15. Lwaki abamu baalekera awo okugoberera Yesu, era kino kituyigiriza ki?
14 Lowooza ku kirala ekiyinza okubaawo mu kibiina. Omuntu ayinza okubaako enjigiriza emu ey’omu Byawandiikibwa gy’alemeddwa okutegeera n’okukkiriza. Ayinza okuba ng’anoonyerezza mu Baibuli ne mu bitabo by’ekibiina ebirala era nga yeebuuzizza ne ku Bakristaayo banne abakuze mu by’omwoyo n’atuuka ne ku bakadde. Wadde akoze bino byonna asigala ng’ensonga tagitegeera. Kati ayinza kukola ki? Ekintu ekifaananako nga kino kyaliwo ng’ebulayo omwaka gumu Yesu attibwe. Yesu yagamba nti “nze mmere ey’obulamu” era nti omuntu okusobola okubeerawo emirembe gyonna yali alina ‘okulya omubiri gw’Omwana w’omuntu n’okunywa omusaayi gwe.’ Kino kyesisiwaza abamu ku bayigirizwa be. Mu kifo ky’okumusaba abannyonnyole oba okulinda ekiseera Katonda we yanditangaalizza ensonga eyo, abayigirizwa bangi ‘tebaddayo kutambulira wamu ne Yesu.’ (Yokaana 6:35, 41-66) Ne ku mulundi guno tuba kubeerayo, twandikoze ki?
15 Mu biseera byaffe, waliwo abamu abalekedde awo okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina nga balowooza nti basobola okuweereza Katonda ku lwabwe. Bayinza okugamba nti waliwo eyabanyiiza, oba ensonga gye balowooza nti tekoleddwako nga bwe kyetaagisa, oba nti waliwo enjigiriza gye batakkiriziganya nayo. Kiba kya magezi bwe bakola bwe batyo? Wadde kituufu nti buli Mukristaayo alina okuba n’enkolagana eyiye ku bubwe ne Katonda, tewali kubuusabuusa nti Katonda akozesa enteekateeka ye ey’ebibiina eri mu nsi yonna, nga bwe yakola mu biseera by’abatume. Ate era, Yakuwa yakozesa era n’awa omukisa buli kibiina mu kyasa ekyasooka, ng’ateekawo abakadde n’abaweereza okuyamba ebibiina. Ne leero bwe kityo bwe kiri.
16. Singa omuntu awulira nti ayagala kuva mu kibiina, kiki ky’asaanidde okulowoozaako?
16 Singa Omukristaayo awulira nti okubeera obubeezi n’enkolagana ennungi ne Katonda kimumala, aba avudde ku nteekateeka ya Katonda ey’ebibiina eri mu nsi yonna. Omuntu ayinza okusalawo okusinza Katonda ku lulwe yekka, oba okubaako abalala abatono baakolagana nabo, naye balina enteekateeka y’abakadde n’abaweereza? Kinajjukirwa nti Pawulo bwe yawandiikira ekibiina ky’e Kkolosaayi n’alagira nti ebbaluwa eyo esomebwe ne mu Lawodikiya, yabakubiriza ‘okunywera n’okuzimbibwa mu Kristo.’ Abo abali mu bibiina, so si abo ababyesazeeko, be basobola okuganyulwa mu kino.—Abakkolosaayi 2:6, 7, NW; 4:16.
Empagi era Omusingi gw’Amazima
17. Timoseewo Ekisooka 3:15 watuyigiriza ki ku kibiina?
17 Mu bbaluwa ey’olubereberye eri Timoseewo, eyali aweereza ng’omukadde, omutume Pawulo yalambika ebisaanyizo abakadde n’abaweereza mu bibiina bye balina okutuukiriza. Ng’ekyo yaakakimala, Pawulo yayogera ku “kkanisa ya [“kibiina kya,” NW] Katonda omulamu,” ng’agamba nti ye ‘mpagi era omusingi gw’amazima.’ (1 Timoseewo 3:15) Ekibiina kyonna eky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ddala kyali ng’empagi eyo mu kyasa ekyasooka. Era tekiriiko kubuusabuusa nti ebibiina mwe baakuŋŋaaniranga ye yali enteekateeka enkulu Abakristaayo kinnoomu mwe baayitiranga okufuna amazima ng’ago. Mu bibiina bino gye baayigirizibwanga amazima ago era ne bazimbibwa.
18. Lwaki enkuŋŋaana z’ekibiina nkulu?
18 Mu ngeri y’emu, ekibiina Ekikristaayo mu nsi yonna ye nnyumba ya Katonda, ‘empagi era omusingi gw’amazima.’ Okubeerawo kwaffe mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa n’okuzenyigiramu kituzimba, era kinyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa ne kituyamba okweyongera okukola Katonda by’ayagala. Pawulo bwe yali awandiikira ekibiina ky’e Kkolinso yagamba nti ebyo bye baayigirizanga mu nkuŋŋaana zaabwe byalinanga okuba nga bitegeerekeka bulungi, ne kiba nti abo abaliwo ‘bazimbibwa.’ (1 Abakkolinso 14:12, 17-19) Naffe leero tusobola okuzimbibwa singa tujjukira nti Yakuwa Katonda y’ataddewo enteekateeka eno ey’ebibiina mwe tuli era nti agiwagira.
19. Lwaki owulira nti ekibiina kikulu nnyo gy’oli?
19 Yee, singa twagala okuzimbibwa ng’Abakristaayo, tulina okunywerera ku kibiina. Okumala ebbanga ddene kituyambye okwewala enjigiriza ez’obulimba, era Katonda akikozesezza okubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Masiya mu nsi yonna. Awatali kubuusabuusa, Katonda alina bingi by’akoze okuyitira mu kibiina Ekikristaayo.—Abaefeso 3:9, 10.
[Obugambo obuli wansi]
a Omwekenneenya wa Baibuli ayitibwa Albert Barnes yagamba nti Yesu bwe yagamba nti omuntu alina ‘okwogera n’ekibiina,’ ayinza okuba yali ategeeza “abo abalina obuyinza okuwuliriza ensonga ng’ezo—abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina. Mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya waaliwo abakadde abaakolanga ng’abalamuzi, abaatwalirwanga ensonga ez’ekika kino.”
Ojjukira?
• Lwaki twandisuubidde Katonda okukozesa ebibiina ku nsi?
• Wadde ng’abakadde tebatuukiridde, biki bye bakolera ekibiina?
• Ekibiina kyo kikuzimba kitya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Abatume n’abakadde mu Yerusaalemi be baakolanga ng’akakiiko akafuzi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Abakadde n’abaweereza bafuna obulagirizi okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu kibiina