LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 5/1/07 lup. 8-12
  • Ekibiina ka Kitendereze Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekibiina ka Kitendereze Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekibiina kya Katonda eky’Abaafukibwako Amafuta
  • “Ekibiina”​—Amakulu Gaakyo Amalala
  • Ebibiina Bitendereza Yakuwa
  • Ekibiina ka Kizimbibwenga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Engeri Ekibiina Gye Kitegekeddwamu n’Engeri Gye Kiddukanyizibwamu
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Olina Ekifo mu Kibiina kya Yakuwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Ekifo Kyo mu Kibiina Kitwale nga Kikulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 5/1/07 lup. 8-12

Ekibiina ka Kitendereze Yakuwa

“Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro [“kibiina,” NW].”​—ABAEBBULANIYA 2:12.

1, 2. Lwaki ekibiina kya mugaso nnyo, era ekigendererwa kyakyo ekikulu kye kiruwa?

OKUVA edda n’edda, maka abantu bazze babeera wamu mu era nga mwe bafunira obukuumi. Kyokka, Baibuli eraga nti okwetooloola ensi leero waliwo enteekateeka endala abantu mwe babeerera awamu era ne bafuna obukuumi. Kino kye kibiina Ekikristaayo. K’obe ng’olina b’obeera nabo oba nedda, osobola okukiraba nti enteekateeka eno ey’ekibiina Katonda gye yateekawo ya muganyulo. Awatali kubuusabuusa, bw’oba oli mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa, omanyi bulungi omukwano n’obukuumi ebikirimu.

2 Ekigendererwa ekikulu eky’ekibiina si kuyamba bantu kusisinkana ne beesanyusaamu oba okubaako ekintu ekirala kyonna ekibanyumira kye bakola, gamba ng’emizannyo, wabula kutendereza Yakuwa Katonda. Bwe kityo bwe kibadde okuva edda n’edda nga Zabbuli bwe zikiraga. Mu Zabbuli 35:18, tusoma nti: “Ndikwebaza mu kibiina ekinene: ndikutendereza mu bantu abangi.” Mu ngeri y’emu Zabbuli 107:31, 32, etukubiriza nti: “Kale singa abantu batendereza Mukama olw’obulungi bwe, n’olw’eby’amagero bye eri abaana b’abantu! Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery’abantu [“kibiina ky’abantu,” NW].”

3. Okusinziira ku Pawulo, ekibiina kirina mugaso ki?

3 Omutume Pawulo yalaga omugaso gw’ekibiina omulala bwe yayogera ku “nnyumba ya Katonda, nga kye kibiina kya Katonda omulamu, empagi era omusingi gw’amazima.” (1 Timoseewo 3:15, NW) Kibiina ki Pawulo kye yali ayogerako? Baibuli ekozesa etya ekigambo “ekibiina”? Era kino kikwata kitya ku bulamu bwaffe n’essuubi lyaffe ery’omu maaso? Okufuna eby’okuddamu, ka tusooke tulabe engeri ez’enjawulo ekigambo “ekibiina” gye kikozesebwamu mu Kigambo kya Katonda.

4. Emirundi egisinga, ekigambo “ekibiina” kikozesebwa kitya mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?

4 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitera okuvvuunulwa “ekibiina” kiva mu kigambo ekitegeeza “okukunga” oba “okukuŋŋaanya.” (Ekyamateeka 4:10; 9:10) Omuwandiisi wa zabbuli yakozesa ekigambo “ekibiina” ng’ayogera ku bamalayika, era ekigambo ekyo kiyinza n’okutegeeza ekibinja ky’abantu ababi. (Zabbuli 26:5; 89:5-7) Kyokka, Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya emirundi egisinga bikikozesa nga byogera ku Baisiraeri. Katonda yalaga nti Yakobo yandifuuse “ekibiina ky’amawanga,” era ekyo kyatuukirira. (Olubereberye 28:3; 35:11; 48:4) Abaisiraeri baayitibwa, oba baalondebwa, okuba “ekibiina kya Mukama.”​—Okubala 20:4; 1 Samwiri 17:47.

5. Kigambo ki eky’Oluyonaani ekitera okuvvuunulwa “ekibiina,” era kiyinza kukozesebwa mu ngeri ki?

5 Ekigambo ky’Oluyonaani ekirina amakulu ge gamu kiri ek·kle·siʹa, nga kiva mu bigambo bibiri, ekimu kitegeeza “okuva” n’ekirala “okuyita.” Kisobola okutegeeza ekibinja ky’abantu abatakuŋŋaanye kusinza, gamba ‘ng’ekibiina’ Demeteriyo kye yawendulira Pawulo bwe yali mu Efeso. (Ebikolwa 19:32, 41) Kyokka okutwalira awamu, Baibuli ekikozesa ng’eyogera ku kibiina Ekikristaayo. Enkyusa za Baibuli ezimu zikozesa ekigambo “kkanisa,” naye ekitabo ekiyitibwa The Imperial Bible-Dictionary kigamba nti “tekitegeeza kizimbe Abakristaayo mwe bakuŋŋaanira okusinza.” Kyokka, mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo “ekibiina” kirina amakulu ga mirundi ena.

Ekibiina kya Katonda eky’Abaafukibwako Amafuta

6. Kiki Dawudi ne Yesu kye baakola mu kibiina?

6 Ng’alaga nti ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 22:22 bikwata ku Yesu, omutume Pawulo yawandiika nti: “Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro [“kibiina,” NW]. Kyekyava kimugwanira [Yesu] mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow’ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda.” (Abaebbulaniya 2:12, 17) Dawudi yali atenderezza Katonda wakati mu kibiina kya Isiraeri ey’edda. (Zabbuli 40:9) Naye, Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti Yesu yatendereza Katonda “wakati mu kibiina”? Kibiina ki kye yali ayogerako?

7. Amakulu agasooka ag’ekigambo “ekibiina” mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ge galuwa?

7 Ebigambo ebyo ebiri mu Abaebbulaniya 2:12, 17 bikulu. Biraga nti Kristo kennyini yali omu ku b’omu kibiina mwe yatenderereza erinnya lya Katonda eri baganda be. Baganda be abo be baluwa? Kye kitundu ‘ky’ezzadde lya Ibulayimu,’ baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta, “abalina omugabo mu kuyitibwa okw’omu ggulu.” (Abaebbulaniya 2:16–3:1; Matayo 25:40) Yee, ekigambo “ekibiina” mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani okusooka kikozesebwa okutegeeza abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta bonna awamu. Bano 144,000 abaafukibwako amafuta be bakola “ekkanisa ey’ababereberye [“ekibiina eky’ababereberye,” NW] abaawandiikibwa mu ggulu.”​—Abaebbulaniya 12:23.

8. Yesu yakiraga atya nti waali waakutandikibwawo ekibiina Ekikristaayo?

8 Yesu yalaga nti “ekibiina” kino Ekikristaayo kyali kigenda kutandikibwawo. Ng’ebula omwaka nga gumu attibwe, yagamba omutume we nti: “Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange [“ekibiina kyange,” NW] ku lwazi luno: so n’emiryango egy’Emagombe tegirigiyinza.” (Matayo 16:18) Peetero ne Pawulo baali bakimanyi bulungi nti Yesu lwe lwazi olwalagulwako. Peetero yawandiika nti abo abazimbibwa “ng’amayinja amalamu” ag’ennyumba ey’omwoyo ku lwazi, Kristo, baali ‘bantu ba nvuma, nga ba kubuulira ebirungi’ by’Oyo eyabayita​—1 Peetero 2:4-9; Zabbuli 118:22; Isaaya 8:14; 1 Abakkolinso 10:1-4.

9. Ddi ekibiina kya Katonda lwe kyatandikibwawo?

9 ‘Abantu ab’envuma’ bano baatandika ddi okubeera ekibiina Ekikristaayo? Baatandika ku Pentekoote 33 C.E., Katonda bwe yafuka omwoyo omutukuvu ku bayigirizwa abaali bakuŋŋanidde mu Yerusaalemi. Ku lunaku olwo, Peetero yawa emboozi ennungi eri Abayudaaya n’abakyufu abaali bakuŋŋaanye. Bangi baakwatibwako nnyo bwe baawulira ebikwata ku kufa kwa Yesu; beenenya era ne babatizibwa. Baibuli eraga nti bano baali enkumi ssatu, ne beegatta ku kibiina kya Katonda ekyali ekipya era nga kikulaakulana. (Ebikolwa 2:1-4, 14, 37-47) Kyali kikulaakulana kubanga Abayudaaya n’abakyufu bangi baakitegera nti Isiraeri ow’omubiri yali takyali kibiina kya Katonda. Wabula, Abakristaayo abaafukibwako amafuta, “Isiraeri wa Katonda” ow’omwoyo, be baali bafuuse ekibiina kya Katonda.​—Abaggalatiya 6:16; Ebikolwa 20:28.

10. Nkolagana ki Yesu gy’alina n’ekibiina kya Katonda?

10 Baibuli etera okwawula Yesu ku baafukibwako amafuta, gamba nga wano w’egambira nti “Kristo n’ekibiina.” Yesu gwe Mutwe gw’ekibiina kino eky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Pawulo yawandiika nti Katonda ‘yateeka byonna wansi w’ebigere bye n’amuteekawo okuba omutwe gw’ekibiina, gwe mubiri gwe.’ (Abaefeso 1:22, 23; 5:23, 32, NW; Abakkolosaayi 1:18, 24) Leero, abaafukibwako amafuta ab’ekibiina kino abakyali ku nsi basigadde batono ddala. Kyokka tuyinza okuba abakakafu nti Yesu Kristo, Omutwe gwabwe, abaagala nnyo. Okwagala kwe gye bali kwogerwako mu Abaefeso 5:25 awagamba nti “Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo.” Abaagala olw’okuba bawaayo eri Katonda “ssaddaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye,” nga Yesu naye bwe yakola ng’ali ku nsi.​—Abaebbulaniya 13:15.

“Ekibiina”​—Amakulu Gaakyo Amalala

11. Engeri ey’okubiri Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani gye bikozesaamu ekigambo “ekibiina” y’eruwa?

11 Oluusi Baibuli bw’ekozesa ekigambo “ekibiina,” eba tetegeeza abaafukibwako amafuta 144,000 bonna awamu abakola “ekibiina kya Katonda.” Ng’ekyokulabirako, Pawulo yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso nti: “Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya [“ekibiina kya,” NW] Katonda.” (1 Abakkolinso 10:32) Kya lwatu, Omukristaayo mu Kkolinso eky’edda bwe yandikoze ekibi, kyandibadde kisobola okwesittaza abantu abamu. Naye ekibi ekyo kyandibadde kisobola okwesittaza Abayonaani n’Abayudaaya bonna, oba abaafukibwako amafuta abazze babaawo okuva mu kiseera ekyo okutuusa leero? N’akatono. N’olw’ekyo kirabika nti “ekibiina kya Katonda” ekyogerwako mu lunyiriri luno be Bakristaayo ababa baliwo mu kiseera ekyo. Bwe kityo, omuntu asobola okwogera nti Katonda awa ekibiina obulagirizi, akirabirira, oba akiwa omukisa, ng’ategeeza Abakristaayo bonna ababa baliwo mu kiseera ekyo, yonna gye baba bali. Oba tuyinza okugamba nti waliwo essanyu n’emirembe mu kibiina kya Katonda leero, nga tutegeeza nti biri mu luganda lwonna olw’Ekikristaayo.

12. Engeri ey’okusatu ekigambo “ekibiina” gye kikozesebwamu mu Baibuli y’eruwa?

12 Engeri ey’okusatu, Baibuli ekozesa ekigambo “ekibiina” ng’etegeeza Abakristaayo bonna abali mu kitundu ekimu. Tusoma nti: “Ekkanisa eyali [“Ekibiina ekyali,” NW] mu Buyudaaya bwonna ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya, n’eba [“ne kiba,” NW] n’emirembe.” (Ebikolwa 9:31) Ekitundu ekyo kyalimu ebibinja by’Abakristaayo ebisukka mu kimu, naye byonna ebyali mu Buyudaaya, Ggaliraaya, ne mu Samaliya byayogerwako ‘ng’ekibiina.’ Okusinziira ku muwendo gw’abo abaabatizibwa ku Pentekoote 33 C.E. n’abaabatizibwa oluvannyuma, kyandiba nga mu Yerusaalemi mwakuŋŋaanirangamu ebibinja ebisukka mu kimu. (Ebikolwa 2:41, 46, 47; 4:4; 6:1, 7) Kerode Agulipa I yafuga Buyudaaya okutuusa lwe yafa mu 44 C.E., era 1 Abasessaloniika 2:14 wakiraga bulungi nti omwaka gwa 50 C.E. we gwatuukira, waaliwo ebibiina ebiwerako mu Buyudaaya. Bwe kityo bwe tusoma nti Kerode yali “akola bubi abamu ab’omu kkanisa [“kibiina,” NW],” kiyinza okuba kitegeeza ebibinja ebisukka mu kimu ebyali mu Yerusaalemi.​—Ebikolwa 12:1.

13. Engeri ey’okuna Baibuli gy’etera okukozesaamu ekigambo “ekibiina” y’eruwa?

13 Engeri eyokuna, Baibuli ekozesa ekigambo “ekibiina” ng’etegeeza Abakristaayo bonna abali mu kibiina ekimu gamba ng’ekyo ekiyinza okuba nga kikuŋŋaanira mu nnyumba. Pawulo yayogera ku “ekkanisa ez’e [“ebibiina eby’e,” NW] Ggalatiya.” Waaliyo ebibiina ng’ebyo ebisukka mu kimu mu ssaza lino eddene ery’Abaruumi. Emirundi ebiri Pawulo yakozesa ekigambo “ebibiina” ng’ayogera ku Ggalatiya, omwali ebyo ebyali mu Antiyokiya, Derube, Lusitula, ne Ikonio. Abakadde, oba abalabirizi, baalondebwa mu bibiina ebyo. (1 Abakkolinso 16:1; Abaggalatiya 1:2; Ebikolwa 14:19-23) Okusinziira ku Byawandiikibwa, ebyo byonna byali ‘bibiina bya Katonda.’​—1 Abakkolinso 11:16, NW; 2 Abasessaloniika 1:4.

14. Ekigambo “ekibiina” kikozesebwa kitya emirundi egimu mu byawandiikibwa?

14 Ebibinja by’Abakristaayo ebimu tebyali binene, era nga bisobola bulungi okukuŋŋaanira mu maka g’omuntu. Wadde nga kyali kityo, ekigambo “ekibiina” kyakozesebwanga ku bibinja bino ebimu. Muno mwe mwali ebibiina ng’ebyo ebyakuŋŋaaniranga mu maka ga Akula ne Pulisika, Nunfa, ne Firemooni. (Abaruumi 16:3-5; Abakkolosaayi 4:15; Firemooni 2) Kino kizzaamu amaanyi ebibiina ebitali binene ebikuŋŋaanira mu maka g’ab’oluganda leero. Wadde ebibinja ng’ebyo ebyaliwo mu kyasa ekyasooka tebyali binene, Yakuwa yali abibala ng’ebibiina, ng’era ne leero bwe kiri, era abiwa omwoyo gwe omutukuvu.

Ebibiina Bitendereza Yakuwa

15. Amaanyi g’omwoyo omutukuvu geeyoleka gatya mu bibiina ebimu ebyasooka?

15 Twalabye nti mu kutuukirizibwa kwa Zabbuli 22:22, Yesu yatendereza Katonda wakati mu kibiina. (Abaebbulaniya 2:12) Abagoberezi be abeesigwa baali ba kukola kye kimu. Mu kyasa ekyasooka Abakristaayo ab’amazima bwe baafukibwako amafuta okufuuka abaana ba Katonda era baganda ba Yesu, abamu ku bo omwoyo omutukuvu gwabasobozesa okukola ebintu ebitali bya bulijjo. Mu bino mwe mwali okwogera ennimi ze baali batamanyi, okwogera ebigambo eby’amagezi ag’enjawulo, amaanyi ag’okuwonya oba okuwa obunnabbi.​—1 Abakkolinso 12:4-11.

16. Ebirabo eby’omwoyo byalina kigendererwa ki?

16 Ku bikwata ku kwogera ennimi, Pawulo yagamba nti: “Nnaayimbyanga omwoyo [naye] era nnaayimbyanga n’amagezi.” (1 Abakkolinso 14:15) Yali amanyi nti kikulu abalala okutegeera ebigambo bye, basobole okutegeera by’abayigiriza. Pawulo yalina ekiruubirirwa eky’okutendereza Yakuwa mu kibiina. Yakubiriza abalala abaalina ebirabo eby’omwoyo nti: “Mwagalenga okweyongera olw’okuzimba ekkanisa [“ekibiina,” NW]” ng’ategeeza ekibiina kyabwe mwe baayolesezanga ebirabo ebyo. (1 Abakkolinso 14:4, 5, 12, 23) Kya lwatu, Pawulo yali afaayo nnyo ku bibiina byabwe, ng’amanyi nti mu byo Abakristaayo bandifuniddemu akakisa ak’okutendereza Katonda.

17. Tusobola kuba bakakafu ku ki ku bikwata ku bibiina gye tukuŋŋaanira?

17 Yakuwa akyakozesa ekibiina kye era akiwagira. Awa omukisa ekibinja ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abali ku nsi leero. Kino kyeyolekera mu bungi bw’emmere ey’eby’omwoyo abantu ba Katonda gye bafuna. (Lukka 12:42) Awa emikisa ab’oluganda mu nsi yonna wamu. Era Omutonzi waffe awa omukisa ebibiina byaffe gye tumutenderereza mu bye tukola ne bye tuddamu mu nkuŋŋaana okusobola okuzimba okukkiriza kw’abalala. Mu bibiina byaffe tutendekebwa era ne tuyigirizibwa engeri gye tusobola okutendereza Katonda mu biseera ebirala nga tetuli mu nkuŋŋaana.

18, 19. Kiki Abakristaayo abeesigwa mu buli kibiina kye baagala okukola?

18 Jjukira nti omutume Pawulo yagamba Abakristaayo b’omu kibiina ky’e Firipi, mu Makedoni nti: ‘Kino kye nsaba nti mujjule ebibala eby’obutuukirivu, ebiriwo ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa, n’okumutendereza.’ Kino kyandizingiddemu okwogera n’abalala ku bikwata ku kukkiriza kwabwe mu Kristo ne ku ssuubi lyabwe ery’ekitalo. (Abafiripi 1:9-11; 3:8-11) Bwe kityo Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne nti: “Mu [Kristo] tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye.”​—Abaebbulaniya 13:15.

19 Oli musanyufu okutendereza Katonda “wakati mu kibiina,” nga Yesu bwe yakola, era okozesa emimwa gyo okutendereza Yakuwa eri abo abatannaba kumumanya na kumutendereza? (Abaebbulaniya 2:12; Abaruumi 15:9-11) Engeri gye tuddamu ekibuuzo ekyo eyinza okusinziira ennyo ku ngeri gye tutwalamu ekifo ekibiina kyaffe kye kirina mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri Yakuwa gy’awaamu obulagirizi mu kibiina gye tukuŋŋaanira, n’engeri ebikolebwamu gye bikwata ku bulamu bwaffe leero.

Ojjukira?

• “Ekibiina kya Katonda,” eky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kyatandikibwawo kitya?

• Ngeri ki endala essatu Baibuli gy’ekozesaamu ekigambo “ekibiina”?

• Ku bikwata ku kibiina, kiki Dawudi, Yesu, n’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kye baayagala okukola, era kino kitukwatako kitya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Yesu yali musingi gwa kibiina ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Ebibinja by’Abakristaayo byakuŋŋaananga ‘ng’ebibiina bya Katonda’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Okufaananako Abakristaayo b’omu Benin, tusobola okutendereza Yakuwa mu nkuŋŋaana

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share