LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 11/15 lup. 13-17
  • Ekifo Kyo mu Kibiina Kitwale nga Kikulu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekifo Kyo mu Kibiina Kitwale nga Kikulu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Tulaga Tutya nti Ekifo Kyaffe Kikulu?
  • Ekifo Kyo Kisinziira ku Ki?
  • Kulaakulana​—Otya?
  • Kuuma Ekifo Kyo!
  • Olina Ekifo mu Kibiina kya Yakuwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Ekibiina ka Kitendereze Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Ekibiina ka Kizimbibwenga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Ssa Ekitiibwa mu Kifo Abalala Kye Balina mu Kibiina kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 11/15 lup. 13-17

Ekifo Kyo mu Kibiina Kitwale nga Kikulu

“Katonda yateeka buli kitundu mu mubiri nga bwe yayagala.”​—1 KOL. 12:18.

1, 2. (a) Kiki ekiraga nti buli omu ekifo ky’alina mu kibiina kikulu? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

OKUVIIRA ddala mu kiseera kya Isiraeri ey’edda, Yakuwa abadde akozesa ekibiina okuwa abantu be obulagirizi n’okubaliisa mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’Abaisiraeri okuwamba ekibuga Ayi, Yoswa ‘yasoma ebigambo byonna eby’amateeka, omukisa n’ekikolimo, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky’amateeka mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isiraeri.’​—Yos. 8:34, 35.

2 Mu kyasa ekyasooka E.E., omutume Pawulo yagamba Timoseewo eyali aweereza ng’omukadde nti ekibiina Ekikristaayo ye “nnyumba ya Katonda,” “empagi era omusingi ogw’amazima.” (1 Tim. 3:15) “Ennyumba” ya Katonda leero be Bakristaayo ab’amazima mu nsi yonna. Mu ssuula 12 ey’ebbaluwa ye esooka eri Abakkolinso, Pawulo ageraageranya ekibiina ku mubiri gw’omuntu. Agamba nti wadde nga buli kitundu ky’omubiri kikola omulimu gwa njawulo, buli kimu kya mugaso. Pawulo agamba nti: “Katonda yateeka buli kitundu mu mubiri nga bwe yayagala.” Era ayongerako nti “ebitundu byaffe ebirabika ng’ebitali bya kitiibwa nnyo bye bisinga okuba eby’ekitiibwa.” (1 Kol. 12:18, 23) N’olwekyo, Abakristaayo kasita baba nga beesigwa, ku bonna tekuba alina kifo kya waggulu ku kya munne mu nnyumba ya Katonda. Buli omu alina ekifo kya njawulo. Kati olwo tuyinza tutya okumanya ekifo kyaffe mu nteekateeka ya Katonda era ne tulaga nti tukitwala nga kikulu? Ekifo kyaffe mu kibiina kisinziira ku ki? Era tuyinza tutya ‘okwoleka okukulaakulana kwaffe eri abantu bonna’?​—1 Tim. 4:15.

Tulaga Tutya nti Ekifo Kyaffe Kikulu?

3. Engeri emu gye tuyinza okumanya ekifo kyaffe mu kibiina era ne tulaga nti tukitwala nga kikulu y’eruwa?

3 Engeri emu gye tusobola okumanya ekifo kyaffe mu kibiina era ne tulaga nti tukitwala nga kikulu kwe kugondera “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” n’Akakiiko Akafuzi akamukiikirira. (Soma Matayo 24:45-47.) Tulina okwekebera tulabe obanga ddala tukolera ku bulagirizi obutuweebwa omuddu omwesigwa. Ng’ekyokulabirako, tumaze ebbanga ddene nga tuweebwa obulagirizi obukwata ku nnyambala n’okwekolako, eby’okwesanyusaamu, ne ku nkozesa ya Internet. Naye tufuba okukolera ku bulagirizi obwo tusobole okuba n’obukuumi mu by’omwoyo? Ate kiri kitya ku ky’okuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka? Tukolera ku nteekateeka eyo obutayosa nga bwe tukubirizibwa? Bwe tuba tuli bwannamunigina, twateekawo ekiseera eky’okwesomesa Baibuli? Ka tube nga tuli mu maka oba nga tuli bwannamunigina, Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi bwe tunaagoberera obulagirizi bw’omuddu omwesigwa.

4. Biki bye tusaanidde okulowoozaako nga tulina bye tusalawo?

4 Abamu bayinza okugamba nti buli Mukristaayo y’alina okwesalirawo ebikwata ku by’okwesanyusaamu n’okwekolako. Naye Omukristaayo atwala ekifo kye mu kibiina nga kikulu, bw’aba alina by’asalawo tasaanidde kulowooza ku ebyo by’ayagala byokka. Alina okulowooza ku mitindo gya Yakuwa egiri mu Kigambo kye, Baibuli. Obubaka obukirimu busaanidde okuba ‘ettabaaza eri ebigere byaffe era omusana eri ekkubo lyaffe.’ (Zab. 119:105) Era tusaanidde okulowooza ku ngeri bye tusalawo gye bikwata ku buweereza bwaffe ne ku bantu abalala mu kibiina n’ebweru waakyo.​—Soma 2 Abakkolinso 6:3, 4.

5. Lwaki tulina okwewala omwoyo gwa kyetwala?

5 Okufaananako empewo gye tussa, “omwoyo ogukolera kaakano mu baana ab’obujeemu” guli buli wamu. (Bef. 2:2) Omwoyo ogwo guyinza okutuleetera okulowooza nti tetwetaaga bulagirizi bwa kibiina kya Yakuwa. Mazima ddala tulina okwewala okuba nga Diyotuleefe eyali ‘anyooma buli kintu ekiva eri omutume Yokaana.’ (3 Yok. 9, 10) Tulina okwegendereza tuleme kuyingiramu mwoyo gwa kyetwala. Tulina okwewala okwogera oba okukola ekintu kyonna ekiraga nti tetussa kitiibwa mu mukutu Yakuwa gw’akozesa leero. (Kubal. 16:1-3) Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukitwala nga nkizo ya maanyi okukolera awamu n’omuddu omwesigwa. Era tusaanidde okufuba okugondera abo abatwala obukulembeze mu bibiina byaffe.​—Soma Abebbulaniya 13:7, 17.

6. Lwaki tusaanidde okutunula mu mbeera yaffe?

6 Engeri endala gye tulagamu nti ekifo kyaffe mu kibiina tukitwala nga kikulu kwe kutunula mu mbeera yaffe okulaba nti tukola buli kye tusobola ‘okugulumiza obuweereza bwaffe’ n’okuweesa Yakuwa ekitiibwa. (Bar. 11:13) Abamu baweereza nga bapayoniya ab’ekiseera kyonna, ate abalala baweereza mu buweereza obw’enjawulo obw’ekiseera kyonna ng’abaminsani, abalabirizi abatambula, oba Ababeseri. Ab’oluganda bangi bakola omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Abaweereza ba Yakuwa abasinga bafuba okuyamba ab’omu maka gaabwe mu by’omwoyo era beenyigira mu bujjuvu mu buweereza bw’ennimiro buli wiiki. (Soma Abakkolosaayi 3:23, 24.) Tuli bakakafu nti bwe twewaayo okuweereza Katonda era nga tukikola n’omutima gwaffe gwonna, tuba n’ekifo mu nteekateeka ye.

Ekifo Kyo Kisinziira ku Ki?

7. Embeera zaffe zikwata zitya ku kifo kyaffe mu kibiina?

7 Kikulu okutunula mu mbeera zaffe kubanga ekifo kyaffe mu kibiina kisinziira nnyo ku bintu bye tusobola okukola. Ng’ekyokulabirako, ebintu ebimu mu kibiina birina kukolebwa baganda baffe so si bannyinaffe. Bye tusobola okukola mu buweereza bisinziira ne ku myaka gye tulina, ku mbeera y’obulamu bwaffe, ne ku bintu ebirala. Engero 20:29 lugamba nti: “Abalenzi ekitiibwa kyabwe [ge] maanyi gaabwe: n’abakadde omutwe oguliko envi bwe bulungi bwabwe.” Olw’okuba baba n’amaanyi, abavubuka balina bingi bye basobola okukola mu kibiina, ate ab’oluganda abakaddiye baganyula ekibiina olw’amagezi gaabwe n’obumanyirivu. Tulina n’okukijjukira nti buli kye tukola mu kibiina, Yakuwa y’atusobozesa okukikola olw’ekisa kye eky’ensusso.​—Bik. 14:26; Bar. 12:6-8.

8. Bye twagala bikwata bitya ku kifo kyaffe mu kibiina?

8 Ekyokulabirako kya bannyinaffe babiri kiraga ekintu ekirala ekituyamba okumanya ekifo kyaffe mu kibiina. Bombi baamaliriza emisomo gya siniya era baali mu mbeera ze zimu. Bazadde baabwe baafuba okubakubiriza okuluubirira okuweereza nga bapayoniya nga bamaze siniya. Oluvannyuma lw’okusoma, omu yafuuka payoniya, ate omulala yasalawo okufuna omulimu ogw’ekiseera kyonna. Lwaki baasalawo mu ngeri ya njawulo? Kubanga kwe kwali okwagala kwabwe. Buli omu yakola kye yali ayagala. Ne ku ffe bwe kityo bwe kiri. Twetaaga okulowooza ennyo ku ekyo kye twandyagadde okukola mu buweereza bwaffe eri Katonda. Twandiba nga tusobola okugaziya ku buweereza bwaffe, ne bwe kiba nga kitwetaagisa okubaako enkyukakyuka ze tukola?​—2 Kol. 9:7.

9, 10. Twandikoze ki singa tuwulira nti ekitono kye tukola mu buweereza bwaffe kimala?

9 Ate kiri kitya nga tuwulira nti ekitono kye tukola mu kibiina kimala era nti tetwetaaga kugaziya ku buweereza bwaffe? Mu bbaluwa ye eri Abafiripi, Pawulo agamba nti: “Katonda y’akolera mu mmwe olw’ekyo ekimusanyusa, abaagazise okukola era mukole.” Yee, Yakuwa asobola okutuyamba okwagala okukola by’ayagala.​—Baf. 2:13; 4:13.

10 Bwe kityo tusobola okusaba Yakuwa atuyambe okwagala okukola by’ayagala. Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda bw’atyo bwe yakola. Yasaba nti: “Ondage amakubo go, ai Mukama; onjigirize empenda zo. Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize; kubanga ggwe oli Katonda ow’obulokozi bwange; ggwe gwe nnindirira obudde okuziba.” (Zab. 25:4, 5) Naffe tuyinza okusaba Yakuwa atuyambe okukola ebimusanyusa. Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa Katonda n’Omwana we gye bawuliramu bwe tukola bye baagala kituleetera okwagala okubasanyusa. (Mat. 26:6-10; Luk. 21:1-4) Okwagala okwo kutukubiriza okusaba Yakuwa atuyambe okugaziya ku buweereza bwaffe. Ku nsonga eno, nnabbi Isaaya yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Bwe yawulira eddoboozi lya Yakuwa ng’agamba nti: “N[n]aatuma ani, era anaatugenderera ani?” nnabbi oyo yayanukula nti: “Nze nzuuno: ntuma nze.”​—Is. 6:8.

Kulaakulana​—Otya?

11. (a) Bwetaavu ki obuliwo mu bibiina? (b) Ow’oluganda ayagala okuweebwa enkizo mu kibiina asaanidde kukola ki?

11 Mu mwaka gw’obuweereza 2008 abantu 289,678 be baabatizibwa, nga kino kiraga nti waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ab’oluganda okutwala obukulembeze. Ow’oluganda asaanidde kukola ki olw’obwetaavu obwo obuliwo? Asaanidde okufuba okutuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa asobole okuweereza ng’omuweereza oba omukadde. (1 Tim. 3:1-10, 12, 13; Tit. 1:5-9) Ow’oluganda ayinza atya okutuukiriza ebisaanyizo ebyo? Abituukiriza nga yeenyigira mu buweereza, ng’akola n’obunyiikivu emirimu egimuweebwa mu kibiina, ng’afuba okuddamu ebintu ebizimba mu nkuŋŋaana, era ng’afaayo ku bakkiriza banne. Bw’akola atyo aba alaga nti ekifo kye mu kibiina akitwala nga kikulu.

12. Abavubuka bayinza batya okulaga nti baagala amazima?

12 Ab’oluganda abakyali abato, naddala abo abali mu myaka egy’obutiini, basaanidde kukola ki okukulaakulana mu kibiina? Basaanidde okufuba okukula mu ‘magezi ne mu kutegeera eby’omwoyo’ nga basoma Ebyawandiikibwa. (Bak. 1:9) Okufuba okusoma Ekigambo kya Katonda n’okwenyigira mu nkuŋŋaana kijja kubayamba okukulaakulana. Abavubuka nabo bayinza okulaga nti baagala okuyingira “oluggi olunene olw’okukola emirimu” mu buweereza obutali bumu obw’ekiseera kyonna nga bafuba okutuukiriza ebisaanyizo. (1 Kol. 16:9) Okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna kireeta essanyu lingi mu bulamu era kivaamu emikisa mingi.​—Soma Omubuulizi 12:1.

13, 14. Bannyinaffe balaga batya nti ekifo kyabwe mu kibiina bakitwala nga kikulu?

13 Bannyinaffe nabo basobola okulaga nti bakitwala nga nkizo ya maanyi okukola kye basobola okutuukiriza obunnabbi obuli mu Zabbuli 68:11, awagamba nti: “Mukama yawa ekigambo: abakazi ababuulira ebigambo [ggye eddene].” Engeri emu enkulu bannyinnaffe gye balagamu nti ekifo kyabwe mu kibiina bakitwala nga kikulu kwe kwenyigira mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) N’olwekyo, bannyinaffe bwe bafuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira era ne beefiiriza okusobola okuguwagira, baba balaga nti ekifo kyabwe mu kibiina bakitwala nga kikulu.

14 Ng’awandiikira Tito, Pawulo yagamba nti: “Abakazi abakulu beeyise nga bwe kigwanira abatukuvu, . . . nga bayigiriza ebirungi; basobole okujjukiza abakazi abato okwagalanga abaami baabwe, okwagalanga abaana baabwe, okubeera n’endowooza ennuŋŋamu, okubeera abalongoofu, abakola emirimu gy’awaka, abalungi, abagondera abaami baabwe, ekigambo kya Katonda kireme okuvumibwa.” (Tit. 2:3-5) Nga bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo baba ba muwendo nnyo mu kibiina! Bwe bassa ekitiibwa mu b’oluganda abatwala obukulembeze era bwe basalawo obulungi ku bintu gamba ng’ennyambala n’okwesanyusaamu, baba bateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi era baba balaga nti ekifo kyabwe mu kibiina bakitwala nga kikulu.

15. Mwannyinaffe ali obwannamunigina ayinza kukola ki okugumira ekiwuubaalo?

15 Oluusi bannyinaffe abatali bafumbo bayinza okuzibuwalirwa okumanya ekifo kyabwe mu kibiina. Mwannyinaffe omu yagamba: “Okuba obwannamunigina oluusi kireeta ekiwuubaalo.” Bwe yabuuzibwa engeri ekyo gy’asobolamu okukigumira, yagamba nti: “Okusaba n’okwesomesa binnyambye okumanya ekifo kyange mu kibiina. Nsoma ku ngeri Yakuwa gy’antwalamu era nfuba okulaba engeri gye nnyinza okuyambamu abalala mu kibiina. Kino kinnyamba obuteerowoozaako nzekka.” Mu Zabbuli 32:8, Yakuwa yagamba Dawudi nti: “N[n]aakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.” Yee, Yakuwa afaayo ku baweereza be bonna, nga mw’otwalidde bannyinnaffe abali obwannamunigina, era abayamba okumanya ekifo kyabwe mu kibiina.

Kuuma Ekifo Kyo!

16, 17. (a) Lwaki okujja eri Yakuwa ng’atuyise kye kintu ekisingayo obulungi kye twali tukoze? (b) Tuyinza tutya okukuuma ekifo kyaffe mu kibiina kya Yakuwa?

16 Yakuwa ayambye abaweereza be okufuna enkolagana ennungi naye. Yesu yagamba nti: “Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.” (Yok. 6:44) Mu buwumbi bw’abantu abali ku nsi leero, Yakuwa ffe b’ayise okubeera mu kibiina kye. Okujja gy’ali ng’atuyise kye kintu ekisingayo obulungi kye twali tukoze. Kituyambye okuba n’obulamu obw’amakulu. Nga kituwa essanyu n’obumativu okuba nti tulina ekifo mu kibiina kye!

17 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mukama njagala ekisulo eky’omu nnyumba yo.” Era yagamba nti: “Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu: mu bibiina neebazanga Mukama.” (Zab. 26:8, 12) Buli omu ku ffe Katonda ow’amazima amuwadde ekifo mu kibiina kye. Bwe tweyongera okukolera ku bulagirizi bwa Katonda n’okumuweereza n’obunyiikivu, tujja kukuuma ekifo kyaffe eky’omuwendo mu nteekateeka ya Yakuwa.

Ojjukira?

• Lwaki kiyinza okugambibwa nti buli Mukristaayo alina ekifo mu kibiina?

• Tulaga tutya nti ekifo kyaffe mu kibiina kya Katonda tukitwala nga kikulu?

• Ekifo kyaffe mu kibiina kisinziira ku ki?

• Abakristaayo abato n’abakulu bayinza batya okulaga nti ekifo kyabwe mu kibiina kya Katonda bakitwala nga kikulu?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]

Ab’oluganda bayinza kukola ki okusobola okuweebwa enkizo mu kibiina?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Bannyinaffe bayinza batya okulaga nti ekifo kyabwe mu kibiina bakitwala nga kikulu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share