Kuuma ‘Essuubi Lyo ery’Obulokozi’ nga Ttangaavu!
‘Yambala enkuufiira ey’essuubi ly’obulokozi.’—1 ABASESSALONIIKA 5:8.
1. ‘Essuubi ly’obulokozi’ liyamba litya omuntu okugumiikiriza?
ESSUUBI ly’okulokolebwa liyinza okuyamba omuntu okugumiikiriza wadde mu mbeera enzibu ennyo. Omuntu abadde mu mmeeri esaanyeewo eyeerippye ku lubaawo ayinza okugumiikiriza ebbanga ddene singa amanya nti anaatera okufuna obuyambi. Mu ngeri y’emu, okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, okuba n’essuubi mu ‘bulokozi bwa Yakuwa’ kuwaniridde abasajja n’abakazi ab’okukkiriza mu biseera ebizibu, era essuubi lino libadde lya muganyulo. (Okuva 14:13; Zabbuli 3:8; Abaruumi 5:5; 9:33) Omutume Pawulo yageraageranya ‘essuubi ly’obulokozi’ ku “enkuufiira” y’eky’okulwanyisa ky’eby’omwoyo eky’Omukirstaayo. (1 Abasessaloniika 5:8; Abaefeso 6:17) Yee, ffe okubeera abagumu nti Katonda ajja kutulokola kitunyweza, ne kituyamba okubeera obulindaala wadde nga waliwo obuzibu, okuziyizibwa n’okukemebwa.
2. Mu ngeri ki “essuubi ly’obulokozi” gye liri ekkulu eri okusinza okw’amazima?
2 “Okuba n’essuubi mu biseera eby’omu maaso tekyali mu ndowooza y’abakaafiiri,” abaali beetoolodde Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, bw’etyo The International Standard Bible Encyclopedia, bw’egamba. (Abaefeso 2:12; 1 Abasessaloniika 4:13) Kyokka, ‘essuubi ly’obulokozi’ kintu kikulu mu kusinza okw’amazima. Mu ngeri ki? Okusooka, obulokozi bw’abaweereza ba Yakuwa bukwataganyizibwa n’erinnya lye. Omuwandiisi wa Zabbuli Asafu yasaba: “Otuyambe, ai Katonda ow’obulokozi bwaffe, olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo: era otuwonye.” (Zabbuli 79:9; Ezeekyeri 20:9) Ate era, okubeera n’obwesige mu mikisa Yakuwa gye yasuubiza kikulu nnyo okusobola okubeera n’enkolagana ennungi naye. Pawulo yakiteeka bw’ati: “Era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Ate era, Pawulo yannyonnyola nti okulokolebwa kw’abenenyeza ye nsonga emu enkulu eyaleeta Yesu ku nsi. Yagamba: “Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi.” (1 Timoseewo 1:15) Era omutume Peetero yayogera ku bulokozi nga ‘ekyo ekivaamu [oba, ekibaawo] olw’okukkiriza kwaffe.’ (1 Peetero 1:9, NW) Kya lwatu, kisaanira okusuubira okufuna obulokozi. Naye obulokozi kye ki? Era kiki ekyetaagisa okubufuna?
Obulokozi Kye Ki?
3. Bulokozi bwa ngeri ki abaweereza ba Yakuwa ab’edda bwe baafuna?
3 Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, “obulokozi” kitera okutegeeza okuwonyawo oba okununula okuva ku kunyigirizibwa oba okuttibwa. Ng’ekyokulabirako, ng’ayita Yakuwa “Omulokozi,” Dawudi yagamba: “Katonda ow’olwazi lwange. . . . Omulokozi wange, ggwe omponya mu kyejo [“okuva ku ttemu,” NW]. Naakabira Mukama, asaanidde okutenderezebwa: bwe ntyo bwe nnaalokokanga eri abalabe bange.” (2 Samwiri 22:2-4) Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa awuliriza abaweereza Be abeesigwa bwe bamukaabirira okubayamba.— Zabbuli 31:22, 23; 145:19.
4. Abaweereza ba Yakuwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnaba baalina ssuubi ki?
4 Abaweereza ba Yakuwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo nabo baalina essuubi ery’obulamu mu biseera eby’omu maaso. (Yobu 14:13-15; Isaaya 25:8; Danyeri 12:13) Mu butuufu, ebisuubizo bingi ebikwata ku kuwonyezebwawo mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byali bisonga ku bulokozi obusingawo obunene—obwo obutuusa mu bulamu obutaggwaawo. (Isaaya 49:6, 8; Ebikolwa 13:47; 2 Abakkolinso 6:2) Mu kiseera kya Yesu, Abayudaaya bangi baalina essuubi ery’obulamu obutaggwaawo, naye baagana okukkiriza Yesu ng’oyo asinziirwako okufuna essuubi eryo. Yesu yagamba abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye: “Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n’ebyo bye bitegeeza ebyange.”—Yokaana 5:39.
5. Mu ngeri esingira ddala obukulu, obulokozi butegeeza ki?
5 Okuyitira mu Yesu, Katonda yabikkula amakulu gonna ag’obulokozi. Gatwaliramu okusumululwa okuva mu bufuzi bw’ekibi, mu busibe bw’eddiini ez’obulimba, mu nsi eri mu buyinza bwa Setaani, mu kutya omuntu, ne mu kutya okufa. (Yokaana 17:16; Abaruumi 8:2; Abakkolosaayi 1:13; Okubikkulirwa 18:2, 4) Mu ngeri esingira ddala obukulu, eri abaweereza ba Katonda abeesigwa, obulokozi bwa Katonda tebutegeeza kununulibwa mu kunyigirizibwa n’ennaku kyokka, naye era n’omukisa gw’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 6:40; 17:3) Yesu yayigiriza nti eri “ekisibo ekitono,” obulokozi butegeeza okuzuukizibwa kwabwe mu bulamu obw’omu ggulu okufuga ne Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Lukka 12:32) Eri abantu abasigadde, obulokozi butegeeza okuzzibwayo mu bulamu obutuukiridde n’enkolagana ne Katonda Adamu ne Kaawa gye baalina mu lusuku Adeni nga tebannayonoona. (Ebikolwa 3:21; Abaefeso 1:10) Obulamu obutaggwaawo wansi w’embeera ng’ezo ez’omu lusuku lwa Katonda kye kyali ekigendererwa kya Katonda ekyasooka eri olulyo lw’omuntu. (Olubereberye 1:28; Makko 10:30) Kyokka, embeera ng’ezo ziyinza zitya okuzzibwawo?
Ekisinziirwako Okulokolebwa—Ekinunulo
6, 7. Yesu alina kifo ki mu bulokozi bwaffe?
6 Obulokozi obw’emirembe gyonna busobola okufunibwa okuyitira mu ssaddaaka ya Kristo ey’ekinunulo. Lwaki? Baibuli ennyonnyola nti Adamu bwe yayonoona, ‘yeetunda’ ye kennyini ne bazzukulu be bonna ab’omu biseera eby’omu maaso, nga mw’otwalidde naffe, eri ekibi—bwe kityo ne kiba nga kyetaagisa ekinunulo olulyo lw’omuntu okusobola okubeera n’essuubi ekkakafu. (Abaruumi 5:14, 15; 7:14) Katonda okuba nti yandiwaddeyo ekinunulo ku lw’olulyo lw’omuntu lwonna kyasongebwako ebiweebwayo eby’ebisolo wansi w’Amateeka ga Musa. (Abaebbulaniya 10:1-10; 1 Yokaana 2:2) Ssaddaaka ya Yesu ye yatuukiriza ebifaananyi ebyo eby’obunnabbi. Malayika wa Yakuwa yalangirira bw’ati nga Yesu tannazaalibwa: “Alirokola abantu be mu bibi byabwe.”—Matayo 1:21; Abaebbulaniya 2:10.
7 Yesu yazaalibwa Malyamu embeerera mu ngeri y’ekyamagero era ng’Omwana wa Katonda, teyasikira kufa kuva ku Adamu. Ensonga eno awamu n‘obwesigwa bye byawa obulamu bwe omuwendo ogwetaagisa okugula olulyo lw’omuntu okuva mu kibi n’okufa. (Yokaana 8:36; 1 Abakkolinso 15:22) Obutafaanana basajja balala, Yesu yali tateekeddwa kufa olw’ekibi. Yajja ku nsi n’ekigendererwa ‘eky’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Matayo 20:28) Ng’amaze okukola ekyo, kati Yesu azuukiziddwa era atuuziddwa ku ntebe ey’obwakabaka asobola okuwa obulokozi bonna abatuukiriza Katonda by’atwetaagisa.—Okubikkulirwa 12:10.
Kiki Ekyetaagisa Okufuna Obulokozi?
8, 9. (a) Yesu yaddamu atya ekibuuzo ky’omufuzi omuto ekikwata ku bulokozi? (b) Yesu yakozesa atya ekiseera kino okuyigiriza abayigirizwa be?
8 Lumu, omufuzi omuto Omuisiraeri yabuuza Yesu: “Naakola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo?” (Makko 10:17) Ekibuuzo kye kiyinza okuba kyayoleka endowooza y’Ekiyudaaya eyaliwo mu kiseera kye—nti Katonda yeetaagisa ebikolwa ebimu ebirungi era nga bw’okola ebikolwa ebyo ebiwera, oyinza okufuna obulokozi okuva eri Katonda. Naye okuweereza okw’engeri eyo kwandibadde kusibuka mu kwerowoozaako. Ebikolwa ng’ebyo byalemererwa okumuwa essuubi ly’obulokozi ekkakafu, okuva omuntu atatuukiridde bw’atayinza kutuukana na mitindo gya Katonda.
9 Ng’addamu ekibuuzo ky’omusajja oyo, Yesu yamujjukiza nti asaanidde okukwata amateeka ga Katonda. Omufuzi ono omuto yakakasa Yesu nti yali agakutte okuva mu buvubuka bwe. Bye yaddamu byaleetera Yesu okumwagala. Yesu n’amugamba: “Oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by’oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n’obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.” Kyokka, omuvubuka yagenda nga munakuwavu, “kubanga yali alina ebintu bingi.” Oluvannyuma lw’ekyo, Yesu yakiggumiza eri abayigirizwa be nti okwagala ennyo ebintu by’omu nsi eno kyekiika mu kkubo ly’okufuna obulokozi. Yagattako nti tewali n’omu ayinza kufuna bulokozi olw’okufuba ku bubwe yekka. Naye Yesu yabazzaamu amaanyi: “Mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri Katonda.” (Makko 10:18-27; Lukka 18:18-23) Obulokozi buyinza butya okufunibwa?
10. Bisaanyizo ki bye tuteekwa okutuukiriza okufuna obulokozi?
10 Obulokozi kirabo okuva eri Katonda, naye tekijja buzzi. (Abaruumi 6:23) Waliwo ebisaanyizo buli muntu kinnoomu by’ateekwa okutuukiriza okusobola okufuna ekirabo ekyo. Yesu yagamba: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” Era omutume Yokaana yagattako: “Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu.” (Yokaana 3:16, 36) Kya lwatu, Katonda yeetaagisa buli omu asuubira okufuna obulokozi obw’olubeerera okuba n’okukkiriza era n’okubeera omuwulize. Buli omu ateekwa okwesalirawo okukkiriza ekinunulo era n’okutambulira mu bigere bya Yesu.
11. Omuntu atatuukiridde ayinza atya okusiimibwa Yakuwa?
11 Okuva bwe tutatuukiridde, si ngeri yaffe buli kiseera okwagala okubeera abawulize era tetusobola kubeera bawulize mu ngeri etuukiridde. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yateekawo ekinunulo okusasulira ebibi byaffe. Wadde kiri kityo, tuteekwa okweyongera okufuba okutambulira mu makubo ga Katonda. Nga Yesu bwe yagamba omufuzi omuto, tuteekwa okukwata amateeka ga Katonda. Okukola ekyo, tekivaamu kusiimibwa Katonda kyokka naye era essanyu eppitirivu, kubanga “ebiragiro bye tebizitowa”; ‘bizzaamu endasi.’ (1 Yokaana 5:3; Engero 3:1, 8, NW) Wadde kiri kityo, si kyangu okunywerera ku ssuubi ly’obulokozi.
‘Mulwanirire Nnyo Okukkiriza’
12. Essuubi ly’obulokozi liyinza litya okunyweza Omukristaayo okuziyiza okukemebwa eri eby’obugwenyufu?
12 Omuyigirizwa Yuda yali ayagala okuwandiikira Abakristaayo abaasooka ku ‘bulokozi bwe balina bonna.’ Kyokka, embeera embi eyaliwo mu by’empisa yamuleetera okubuulirira baganda be ‘okulwanirira ennyo okukkiriza.’ Yee, okufuna obulokozi, tekimala okubeera n’okukkiriza, okunywerera ku nzikiriza y’Ekikristaayo ey’amazima, n’okubeera omuwulize ng’ebintu bigenda bulungi. Okwagala kwaffe eri Yakuwa kuteekwa okubeera okw’amaanyi ennyo kutusobozesa okuziyiza okukemebwa n’okutwalirizibwa eby’obugwenyufu. Kyokka, eby’obukaba, obutassa kitiibwa mu b’obuyinza, okweyawulayawula, n’okubuusabuusa byali byonoona omwoyo gw’ekibiina eky’omu kyasa ekyasooka. Okubayamba okuwangula engeri ng’ezo, Yuda yakubiriza Bakristaayo banne obuteerabira kiruubirirwa kyabwe: “Naye mmwe, abaagalwa, bwe mwezimba ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, nga musaba mu mwoyo omutukuvu, mwekuumenga mu kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.” (Yuda 3, 4, 8, 19-21, NW) Essuubi ly’okufuna obulokozi lyandibanywezezza mu lutalo lwabwe olw’okusigala nga bayonjo mu mpisa.
13. Tuyinza tutya okulaga nti tetusubiddwa kigendererwa ky’ekisa kya Katonda?
13 Yakuwa Katonda asuubira abo b’anaawa obulokozi okubeera ekyokulabirako ekirungi mu mpisa. (1 Abakkolinso 6:9, 10) Kyokka, okunywerera ku mitindo gya Katonda egy’empisa tekitegeeza kusalira balala musango. Si ffe tusalirawo bannaffe ku bikwata ku biseera byabwe eby’olubeerera. Wabula, ekyo Katonda y’ajja okukikola, nga Pawulo bwe yagamba Abayonaani mu Asene: “Yateekawo olunaku lw’agenda okusalirako omusango ogw’ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu [“yalonda,” NW].”—Yesu Kristo. (Ebikolwa 17:31; Yokaana 5:22) Bwe tuba nga tweyisa mu ngeri eraga nti tukkiririza mu kinunulo kya Yesu tekitwetaagisa kutya lunaku olujja olw’okusalirako omusango. (Abaebbulaniya 10:38, 39) Ekintu ekikulu kiri nti tetuteekwa ‘kukkiriza kisa kya Katonda ekitatusaanira eky’okutabaganyizibwa gy’ali okuyitira mu kinunulo ate ne tusubwa ekigendererwa kyakyo’ nga tukkiriza okukemebwa eri endowooza n’empisa enkyamu. (2 Abakkolinso 6:1, NW) Era, nga tuyamba abalala okufuna obulokozi, tulaga nti tetusubiddwa kigendererwa kya busaasizi bwa Katonda. Tuyinza tutya okubayamba?
Okubuulira Abalala Essuubi ly’Obulokozi
14, 15. Baani Yesu be yawa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’obulokozi?
14 Ng’ajuliza nnabbi Yoweeri, Pawulo yawandiika: “Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka.” Awo n’agattako: “Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? Era balikkiriza batya gwe batannawulirako? Era baliwulira batya awatali abuulira?” Oluvannyuma lw’ennyiriri ntono, Pawulo agamba nti okukkiriza tekumala gajja; wabula, “kuva mu kuwulira,” kwe kugamba, “[e]kigambo kya Kristo.”—Abaruumi 10:13, 14, 17; Yoweeri 2:32.
15 Ani anaaleeta ‘ekigambo kya Kristo’ eri amawanga? Yesu yawa omulimu ogwo abayigirizwa be—abo abaamala edda okuyigirizibwa “ekigambo” ekyo. (Matayo 24:14; 28:19, 20; Yokaana 17:20) Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abayigirizwa, tuba tukola ekyo omutume Pawulo kye yawandiikako, ku luno ng’ajuliza mu Isaaya: “Nga birungi ebigere by’oyo aleeta ebigambo ebirungi.” Wadde bangi tebakkiriza mawulire malungi ge tuleeta, ebigere byaffe biba bikyali ‘birungi’ mu maaso ga Yakuwa.—Abaruumi 10:15; Isaaya 52:7.
16, 17. Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gutuukiriza bintu ki ebibiri?
16 Okukola omulimu guno kituukiriza ebintu bibiri ebikulu. Okusooka, amawulire amalungi gateekwa okubuulirwa erinnya lya Katonda lisobole okugulumizibwa era abo abaagala obulokozi bategeere aw’okugenda. Pawulo yategeera ekitundu kino eky’omulimu guno. Yagamba: “Kubanga Mukama yatulagira bw’ati nti Nkuteeseewo okubanga omusana gw’amawanga, obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y’ensi.” Bwe kityo, ng’abayigirizwa ba Kristo, buli omu ku ffe ateekwa okuba n’omugabo mu kutwala obubaka bw’obulokozi eri abantu.—Ebikolwa 13:47; Isaaya 49:6.
17 Eky’okubiri, okubuulira amawulire amalungi kiteekawo omusingi Katonda kw’ajja okusinziira okusala omusango gw’obutuukirivu. Ku bikwata ku musango ogwo, Yesu yagamba: “Naye Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw’alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye: n’amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibayawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi.” Wadde okusala omusango n’okwawulawo bijja kukolebwa ‘ng’Omwana w’omuntu azze mu kitiibwa kye,’ omulimu gw’okubuulira mu kiseera kino guwa abantu omukisa okutegeera baganda ba Kristo ab’eby’omwoyo era bwe kityo n’okukolera wamu nabo okusobola okufuna obulokozi obw’olubeerera.—Matayo 25:31-46.
Sigala ng’Olina ‘Essuubi Ekkakafu’
18. Tuyinza tutya okukuuma ‘essuubi lyaffe ery’obulokozi’ nga ttangaavu?
18 Ffe okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nayo ngeri etuyamba okukuuma essuubi lyaffe nga ttangaavu. Pawulo yawandiika: “Era twagala nnyo buli muntu ku mwe okulaganga obunyiikivu obwo olw’okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero.” (Abaebbulaniya 6:11) N’olwekyo, ka buli omu ku ffe, ayambale ‘enkuufiira y’essuubi ly’obulokozi,’ mu ngeri eyo ng’ajjukira nti “ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.” (1 Abasessaloniika 5:8, 9) Naffe ka tusseeyo nnyo omwoyo eri okubuulirira kwa Peetero kuno: “Kale musibenga ebimyu by’amagezi gammwe, mutamiirukukenga, musuubirirenga ddala ekisa ekiribaleeterwa Yesu Kristo.” (1 Peetero 1:13) Bonna abakola batyo bajja kulaba nga ‘essuubi lyabwe ery’obulokozi’ lituukirizibwa mu bujjuvu!
19. Biki bye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
19 Ng’ekyo tekinnatuuka, twandibadde na ndowooza ki ku kiseera embeera zino kye zisigazaayo? Tuyinza tutya okukozesa ekiseera ekyo okufuna obulokozi n’okuyamba abalala okubufuna? Tujja kwekenneenya ebibuuzo bino mu kitundu ekiddako.
Osobola Okunnyonnyola?
• Lwaki tuteekwa okukuuma ‘essuubi lyaffe ery’obulokozi’ nga ttangaavu?
• Obulokozi buzingiramu ki?
• Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okufuna ekirabo ky’obulokozi?
• Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gutuukiriza ki ekikwatagana n’ekigendererwa kya Katonda?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Obulokozi butegeeza ekisingawo ku kununulibwa mu kuzikirizibwa