“Mwenna Muli ba Luganda”
“Temuyitibwanga Labbi: kubanga omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda.”—MATAYO 23:8.
1. Nsonga ki egwanidde okwekenneenya?
“ANI agwanidde okuweebwa ekitiibwa ekisinga, omuminsani oba Omubeseri?” bw’atyo omukyala Omukristaayo okuva mu nsi ey’Ebugwanjuba bwe yabuuza omuminsani okuva mu Australia. Yayagala okumanya ani eyandiweereddwa ekitiibwa ekisingawo, omuminsani okuva mu nsi endala oba omuweereza ow’omu kitundu aweereza ku ofiisi y’ettabi lya Watch Tower Society. Ekibuuzo ekyo ekyoleka empisa ey’okussa essira ku bukulu oba ekifo, kyewuunyisa nnyo omuminsani. Kyokka, ekibuuzo ekikwata ku ani asinga obukulu kisibuka ku kwagala okumanya ennyimirira y’abantu mu bukulu n’obuyinza.
2. Twanditunuulidde tutya basinza bannaffe?
2 Endowooza eyo si mpya. N’abayigirizwa ba Yesu baawakananga ku ani asinga obukulu. (Matayo 20:20-24; Makko 9:33-37; Lukka 22:24-27) Nabo baakulira mu bantu abaali bagoberera eddiini y’Ekiyudaaya ey’omu kyasa ekyasooka abassa ennyo essira ku bukulu. Ng’alina abantu ng’abo mu birowoozo, Yesu yabuulirira abayigirizwa be: “Temuyitibwanga Labbi: kubanga, omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda.” (Matayo 23:8) Ekitiibwa eky’eddiini nga “Labbi,” ekitegeeza “Omuyigiriza,” “kitera okuleetera abakifuna amalala n’okulowooza nti ba wa waggulu, era n’abatakirina okukwatibwa obuggya n’okulowooza nti ba wansi; era omwoyo oguli emabega wakyo gukontana ‘n’obwetoowaze obwali mu Kristo,’” bw’atyo Albert Barnes omwekenneenya wa Baibuli bwe yagamba. Mazima ddala, Abakristaayo beewala okuyita abalabirizi mu bo “Omukadde gundi,” nga bakozesa ekigambo “omukadde” ng’ekitiibwa ekimugulumiza. (Yobu 32:21, 22) Ku luuyi olulala, abakadde abagoberera okubuulirira kwa Yesu, bassa ekitiibwa mu balala mu kibiina, nga Yakuwa bw’assa ekitiibwa mu basinza be abeesigwa era nga Yesu Kristo bw’assa ekitiibwa mu bagoberezi be abeesigwa.
Ekyokulabirako kya Yakuwa ne Yesu
3. Yakuwa yassaamu atya ekitiibwa ebitonde bye eby’omwoyo?
3 Wadde Yakuwa ‘ali Waggulu Nnyo,’ okuviira ddala ku ntandikwa yawa ebitonde bye ekitiibwa ng’abikozesa mu mirimu gye. (Zabbuli 83:18) Bwe yatonda omuntu eyasooka, Yakuwa yakozesa Omwana we eyazaalibwa omu yekka nga ‘omukoza.’ (Engero 8:27-30; Olubereberye 1:26) Ng’amaze okusalawo okuzikiriza Kabaka Akabu omubi, Yakuwa yeebuuza ku bamalayika be ab’omu ggulu ku ngeri y’okukikolamu.—1 Bassekabaka 22:19-23.
4, 5. Yakuwa yassaamu atya abantu ekitiibwa?
4 Yakuwa ye Mufuzi ow’Oku Ntikko mu butonde bwonna. (Ekyamateeka 3:24) Tekimwetaagisa kwebuuza ku bantu. Naye yeetoowaza okubawuliriza. Omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, alina entebe ye waggulu, eyeetoowaza okutunuulira ebiri mu ggulu ne mu nsi? Ayimusa omwavu mu nfuufu.”—Zabbuli 113:5-8.
5 Nga tannazikiriza Sodomu ne Gomola, Yakuwa yawuliriza ebibuuzo bya Ibulayimu era n’akakasa Ibulayimu ku bwenkanya bwe. (Olubereberye 18:23-33) Wadde Yakuwa yali amanyi ekyandivudde mu kusaba kwa Ibulayimu, n’obugumiikiriza yawuliriza Ibulayimu era n’akkiriza endowooza ye.
6. Kiki ekyavaamu, Yakuwa bwe yassa ekitiibwa mu Kaabakuuku nga Kaabakuuku amubuuzizza ekibuuzo?
6 Yakuwa era yawuliriza Kaabakuuku eyabuuza: “Ai Yakuwa, ndituusa wa okukukaabirira onnyambe, n’otowulira?” Yakuwa ekibuuzo ekyo yakitwala ng’ekyali kisoomooza obuyinza bwe? Nedda, yatwala ebibuuzo bya Kaabakuuku nga ebisaanira, era n’amutegeeza ekigendererwa kye eky’okuyimusa Abakaludaaya okutuukiriza omusango gwe. Yakakasa nnabbi nti ‘omusango guno ogwalagulwa tegulirema kutuukirizibwa.’ (Kaabakuuku 1:1, 2, 5, 6, 13, 14; 2:2, 3) Ng’assaayo omwoyo ku bibuuzo bya Kaabakuuku era ng’abiddamu, Yakuwa yassa ekitiibwa mu nnabbi. N’ekyavaamu, nnabbi eyali anakuwadde yaddamu amaanyi era n’asanyuka nga yeesiga Katonda mu bujjuvu n’obulokozi bwe. Kino kyeyoleka mu kitabo kya Kaabakuuku ekyaluŋŋamizibwa ekinyweza obwesige bwaffe mu Yakuwa leero.—Kaabakuuku 3:18, 19.
7. Lwaki ekifo Peetero kye yalina ku Pentekoote 33 C.E. kya makulu?
7 Yesu Kristo kye ky’okulabirako ekirala ekirungi eky’okussa ekitiibwa mu balala. Yesu yali agambye abayigirizwa be nti “alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.” (Matayo 10:32, 33) Kyokka, mu kiro kye yaliirwamu olukwe, abayigirizwa be bonna baamwabulira, era n’omutume Peetero n’amwegaana emirundi esatu. (Matayo 26:34, 35, 69-75) Yesu teyatunuulira bya kungulu byokka naye yafaayo ku nneewulira za Peetero ez’omunda, okwenenya kwe. (Lukka 22:61, 62) Nga wayiseewo ennaku 51 zokka, Kristo yassa ekitiibwa mu mutume ono eyeenenya ng’amuleka okukiikirira abatume be 120 ku lunaku lwa Pentekoote era n’okukozesa ‘ekisumuluzo ky’obwakabaka’ ekisooka. (Matayo 16:19; Ebikolwa 2:14-40) Peetero yaweebwa omukisa ‘okukyuka n’okunyweza baganda be.’—Lukka 22:31-33.
Okussa Ekitiibwa mu b’Omu Maka
8, 9. Mu kussa ekitiibwa mu mukyala we, omwami ayinza atya okukoppa Yakuwa ne Yesu?
8 Abaami n’abazadde basaanidde okukoppa Yakuwa ne Yesu Kristo mu kukozesa obuyinza obwabaweebwa Katonda. Peetero yakubiriza: “Bwe mutyo, abasajja mubeerenga n’abakazi bammwe n’amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng’ekibya ekisinga obunafu.” (1 Peetero 3:7) Kiteebereze ng’okute ekibya ekyatika, ekinafu okusinga eky’omuti. Tewandyegenderezza nnyo? Omwami ayinza okukola bw’atyo ng’akoppa Yakuwa, ng’awuliriza endowooza ya mukyala we ng’asalawo ensonga z’omu maka. Jjukira nti Yakuwa yawaayo ebiseera okwogera ne Ibulayimu. Olw’okuba tatuukiridde, omwami ayinza obutalaba byonna ebizingirwamu mu nsonga. N’olwekyo, tekyandibadde ky’amagezi okussa ekitiibwa mu mukyala we ng’afaayo ku ndowooza ye?
9 Mu nsi gye bassa ennyo essira ku buyinza bw’omusajja, omwami ateekwa okukimanya nti mukyala we aba alina okuvvuunuka enkonge ey’amaanyi okusobola okwoleka enneewulira ze ez’omunda. Koppa engeri Yesu Kristo gye yakolaganamu n’abayigirizwa be, abali ekitundu ky’ekibiina ky’omugole we ow’omu biseera eby’omu maaso, nga akyali ku nsi. Yabaagala nnyo, ng’ajjukira ekkomo lyabwe mu mubiri ne mu by’omwoyo wadde nga tebannamutegeeza byetaago byabwe. (Makko 6:31; Yokaana 16:12, 13; Abaefeso 5:28-30) Okugatta ku ekyo, weetegereze mukyala wo ky’akukolera ggwe n’ab’omu maka go, era musiime mu bigambo ne mu bikolwa. Bombi Yakuwa ne Yesu basiima, beebaza, era ne bawa omukisa abagwanidde. (1 Bassekabaka 3:10-14; Yobu 42:12-15; Makko 12:41-44; Yokaana 12:3-8) Oluvannyuma lw’omwami we okufuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, omukyala Omukristaayo okuva mu nsi z’Ebuvanjuba yagamba: “Mwami wange yatambulanga ng’ankulembedde, ng’andese okwetikka ebintu byonna. Kati y’asitula ensawo era asiima by’enkola awaka!” Ebigambo ebisiima bikola kinene nnyo okuyamba mukyala wo okuwulira ng’atwalibwa ng’ow’omuwendo.—Engero 31:28.
10, 11. Abazadde bayinza kuyiga ki okuva ku kyokulabirako kya Yakuwa ekirungi ku ngeri gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isiraeri ejjeemu?
10 Mu kukolagana n’abaana baabwe, naddala nga kyetaagisa okubakangavvula, abazadde basaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Katonda. ‘Yakuwa yalabulanga Isiraeri ne Yuda’ okukyuka okuva mu makubo gaabwe amabi, naye ‘baakakanyaza ensingo zaabwe.’ (2 Bassekabaka 17:13-15) Abaisiraeri ‘baagezaako okumuguumaaza n’akamwa kaabwe; n’okumulimbalimba n’olulimi lwabwe.’ Abazadde bangi bayinza okulowooza nti abaana baabwe beeyisa bwe batyo emirundi egimu. Abaisiraeri ‘baakema Katonda’ ne bamulumya, ne bamunakuwaza. Kyokka, Yakuwa ‘yali musaasizi; n’asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe n’atazikiriza.’—Zabbuli 78:36-41.
11 Yakuwa yeegayirira Abaisiraeri: “Mujje nno, tuteese fembi, . . . ebibi byammwe bwe biba ng’olugoye olumyufu, binaaba byeru ng’omuzira.” (Isaaya 1:18) Wadde Yakuwa teyali mukyamu, yagamba eggwanga eggyemu okujja okutereeza ensonga. Ng’eyo ndowooza nnungi nnyo abazadde gye bayinza okukoppa nga bakolagana n’abaana baabwe! Embeera bw’eba ekyetaagisa, mubasseemu ekitiibwa nga muwuliriza endowooza yaabwe, era mu bannyonnyole lwaki balina okukyusa endowooza yaabwe.
12. (a) Lwaki twandyewaze okussa ekitiibwa mu baana baffe okusinga Yakuwa? (b) Kiki ekyetaagisa singa tuli ba kussa kitiibwa mu baana baffe nga tubakangavvula?
12 Kya lwatu, emirundi egimu abaana beetaaga okubuulirira okw’amaanyi. Abazadde tebandyagadde kubeera nga Eri, ‘eyassa ekitiibwa mu batabani be okusinga Yakuwa.’ (1 Samwiri 2:29) Wadde kiri kityo, abato beetaaga okulaba ekiruubirirwa eky’okwagala ekiri emabega w’okutereezebwa. Basaanidde okutegeera nti bazadde baabwe babaagala. Pawulo akubiriza bataata: “Temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” (Abaefeso 6:4) Ng’omuzadde akozesa obuyinza bwe, ensonga enkulu taata gy’alina okutegeera kwe kussa ekitiibwa mu baana nga tabanyiiza ng’abakambuwalira ekisukkiridde. Yee, okussa ekitiibwa mu baana kyetaagisa ebiseera n’okufuba ku ludda lw’abazadde, naye ebibala ebivaamu bigwanira okwefiiriza kwonna kw’okola.
13. Endowooza ya Baibuli ku bannamukadde mu maka y’eruwa?
13 Okussa ekitiibwa mu b’omu maka kisingawo ku kussa ekitiibwa mu mukyala wo n’abaana bo. “Ng’okuze, gondera abaana bo,” bwe lutyo olugero okuva mu Japan bwe lugamba. Amakulu g’olugero olwo gali nti abazadde bannamukadde bandyewaze okusukka obuyinza bwabwe ng’abazadde era bandisizzaayo omwoyo ku ekyo abaana baabwe abakulu kye boogera. Wadde kya mu Byawandiikibwa abazadde okussa ekitiibwa mu baana baabwe nga babawuliriza, abaana tebasaanidde butassa kitiibwa mu b’omu maka gaabwe abakuze mu myaka. “Tonyoomanga nnyoko ng’akaddiye,” bwe lutyo Engero 23:22 bwe lugamba. Kabaka Sulemaani yagoberera olugero luno n’assa ekitiibwa mu maama we bwe yamutuukirira ng’alina ky’amusaba. Sulemaani yateeka entebe ku ludda lwe olwa ddyo n’awuliriza, Basuseba, maama we akaddiye, kye yali amugamba.—1 Bassekabaka 2:19, 20.
14. Tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu bannamukadde mu kibiina?
14 Mu maka gaffe amanene ag’eby’omwoyo, tuli mu mbeera nnungi ‘okutwala obukulembeze’ mu kussa ekitiibwa mu bannamukadde abali mu kibiina. (Abaruumi 12:10, NW) Bayinza obutakola bingi nga bwe baakolanga mu biseera ebyayita, era ekyo kiyinza okubamalamu amaanyi. (Omubuulizi 12:1-7) Omujulirwa omu nnamukadde eyafukibwako amafuta eyali ku ndiri mu kifo awalabirirwa abalwadde, yaggwaamu amaanyi: “Nneesunga okufa nziremu okukola.” Bwe tussa ekitiibwa mu bannamukadde ng’abo, kiyinza okubazzaamu amaanyi. Abaisiraeri baalagirwa: “Oyimukanga awali envi, era ossangamu ekitiibwa omusajja omukadde.” (Eby’Abaleevi 19:32, NW) Ssa ekitiibwa mu bannamukadde ng’obaleetera okuwulira nga baagalibwa era nga basiimibwa. ‘Okuyimuka’ kuyinza okutwaliramu okutuula wansi n’okuwuliriza nga battottola bye baakola emyaka egyayita. Kino kijja kuweesa bannamukadde ekitiibwa era kinyweza obulamu bwaffe obw’eby’omwoyo.
‘Mu Kussa Ekitiibwa mu Balala Twala Obukulembeze’
15. Abakadde bayinza kukola ki okussa ekitiibwa mu b’omu kibiina?
15 Ab’omu kibiina bakola bulungi abakadde bwe bateekawo ekyokulabirako ekirungi. (1 Peetero 5:2, 3) Wadde bakola nnyo, abakadde abafaayo batuukirira abato, emitwe gy’amaka, bamaama abali obwannamunigina, abakyala abafumbo, ne bannamukadde, ka babe nga balina ebizibu oba nedda. Abakadde bawuliriza ab’omu kibiina bye boogera era ne babeebaza olw’ebyo bye basobodde okukola. Omukadde afaayo asiima era ow’oluganda oba mwannyinaffe aba akoppa Yakuwa, asiima ebitonde bye eby’oku nsi.
16. Lwaki twanditunuulidde abakadde ng’abagwanidde ekitiibwa awamu n’abalala mu kibiina?
16 Nga bakoppa Yakuwa, abakadde bateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kugoberera okubuulirira kwa Pawulo: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kusiŋŋanamu ekitiibwa mutwale obukulembeze.” (Abaruumi 12:10, NW) Kino kiyinza okuzibuwalira abakadde abali mu nsi ezissa essira ku bukulu. Ng’ekyokulabirako, mu nsi emu ey’Ebugwanjuba, waliwo ebigambo bibiri ebitegeeza “ow’oluganda,” ekimu kya kitiibwa ate ekirala kya bulijjo. Ebbanga si lya wala nnyo emabega, ab’omu kibiina baakozesanga ekigambo eky’ekitiibwa ku bakadde n’abakulu mu myaka, ate ne bakozesa ekya bulijjo ku b’oluganda abalala. Kyokka, baakubirizibwa okukozesa ekigambo ekya bulijjo buli kiseera kubanga, nga Yesu bwe yagamba abagoberezi be, “mwenna muli baluganda.” (Matayo 23:8) Wadde enjawulo eyo eyinza obuteeyoleka nnyo mu nsi endala, fenna tuteekwa okwegendereza endowooza y’obuntu ey’okusosola.—Yakobo 2:4.
17. (a) Lwaki abakadde bandibadde batuukirikika? (b) Mu ngeri ki abakadde gye bandikoppyemu Yakuwa nga bakolagana n’ab’omu kibiina?
17 Kyo kituufu nti, Pawulo yatukubiriza okuyisa abakadde abamu ng’abagwanidde “ekitiibwa emirundi ebiri,” naye baba bakyali baluganda. (1 Timoseewo 5:17) Bwe tuba tusobola ‘okutuukirira entebe y’Omufuzi ow’Obutonde Bwonna ey’ekisa ekitatusaanira n’eddembe ly’okwogera, tetwandituukiridde abakadde abasaanidde okukoppa Yakuwa? (Abaebbulaniya 4:16; Abaefeso 5:1) Abalabirizi bayinza okutegeera obanga batuukirikika okusinziira ku mirundi abalala gye bajja gye bali okubuulirirwa oba okufuna amagezi. Yigira ku ngeri Yakuwa gy’akozesa abalala mu mirimu gye. Assa ekitiibwa mu balala ng’abawa obuvunaanyizibwa. Ne bwe kiba nti ebirowoozo by’Omujulirwa omulala birabika ng’ebitali birungi, abakadde basaanidde okusiima okufaayo kw’aba alaze. Jjukira engeri Yakuwa gye yayanukulamu ebibuuzo bya Ibulayimu oba ennaku ya Kaabakuuku.
18. Abakadde bayinza batya okukoppa Yakuwa mu kutereeza abo abeetaaga obuyambi?
18 Bakristaayo bannaffe abamu beetaaga okutereezebwa. (Abaggalatiya 6:1) Wadde kiri kityo, ba muwendo mu maaso ga Yakuwa, era bagwanidde okussibwamu ekitiibwa. “Omuntu ambuulirira bw’anteekamu ekitiibwa, mba sitya kumutuukirira,” bw’atyo Omujulirwa omu bwe yagamba. Abantu abasinga obungi baanukula okubuulirira bwe bateekebwamu ekitiibwa. Kiyinza okwetaagisa ekiseera ekisingawo, naye okuwuliriza abo abawabye kikifuula kyangu gye bali okukkiriza okubuulirirwa okwetaagisa. Jjukira engeri Yakuwa gye yateesaamu n’Abaisiraeri enfunda n’enfunda olw’okubasaasira. (2 Ebyomumirembe 36:15; Tito 3:2) Okubuulirira okuweebwa ng’olumirirwa omuntu kutuuka ku mitima gy’abo abeetaaga obuyambi.—Engero 17:17; Abafiripi 2:2, 3; 1 Peetero 3:8.
19. Twanditunuulidde tutya abantu abatakkiriza kye kimu ng’Abakristaayo?
19 Okussa ekitiibwa mu balala kikwata ne ku abo abayinza okufuuka baganda baffe ab’eby’omwoyo mu biseera eby’omu maaso. Abantu ng’abo bayinza obutakkiriza mangu bubaka bwaffe kati, naye twetaaga okubeera abagumiikiriza gye bali era ne tubateekamu ekitiibwa ng’abantu. Yakuwa “tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.” (2 Peetero 3:9) Tetwandibadde na ndowooza ya Yakuwa? Ku bikwata ku bantu, tuyinza okutema oluwenda olw’okuwa obujulirwa singa tugezaako okubeera ab’omukwano. Kya lwatu, twewala omukwano oguyinza okuvaamu akabi mu by’omwoyo. (1 Abakkolinso 15:33) Naye tubalaga ‘ekisa,’ nga tetunyooma bantu be tutafaananya nzikiriza.—Ebikolwa 27:3.
20. Ebyokulabirako bya Yakuwa ne Yesu Kristo byandituleetedde kukola ki?
20 Yee, Yakuwa ne Yesu Kristo batwala buli omu ku ffe ng’agwanidde okussibwamu ekitiibwa. Ka tujjukirenga engeri gye beeyisaamu era naffe mu ngeri y’emu tutwale obukulembeze mu kussiŋŋanamu ekitiibwa. Era tujjukirenga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo: “Mwenna muli ba luganda.”—Matayo 23:8.
Wandizzeemu Otya?
• Wanditunuulidde otya basinza banno?
• Ekyokulabirako kya Yakuwa ne Yesu kikukubiriza kitya okussa ekitiibwa mu balala?
• Abaami n’abazadde bayinza batya okussa ekitiibwa mu balala?
• Okutunuulira Bakristaayo bannaabwe nga baganda baabwe kireetera abakadde okweyisa mu ngeri ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Ssa ekitiibwa mu mukyala wo ng’omusiima
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Ssa ekitiibwa mu baana bo ng’obawuliriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Ssa ekitiibwa mu bali mu kibiina