LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 10/15 lup. 16-20
  • Mu Kuwa Bakkiriza Banno Ekitiibwa Ggwe Osooka?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mu Kuwa Bakkiriza Banno Ekitiibwa Ggwe Osooka?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kiki Ekizingirwa mu Kuwa Abalala Ekitiibwa?
  • Wa Ekitiibwa Abo Abaatondebwa “mu Kifaananyi kya Katonda”
  • Tuli ba mu Maka Gamu
  • Lwaki Kikulu Nnyo Okuwa Abalala Ekitiibwa?
  • Ekintu Buli Omu ky’Asaanidde Okukola
  • Wa “Abaavu” Ekitiibwa
  • Tuwa Abalala Ekitiibwa nga Tubawa Ebiseera Byaffe
  • Ba Mumalirivu Okusooka Okuwa Abalala Ekitiibwa
  • Owa Abalala Ekitiibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Wa Ekitiibwa Abo Be Kigwanira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Ka Ffenna Tuwe Yakuwa n’Omwana We
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • “Mwenna Muli ba Luganda”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 10/15 lup. 16-20

Mu Kuwa Bakkiriza Banno Ekitiibwa Ggwe Osooka?

“Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.”​—BAR. 12:10.

1, 2. (a) Mu bbaluwa ye, Pawulo Abaruumi abakubiriza kukola ki? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

MU BBALUWA ye eri Abaruumi, omutume Pawulo akiraga nti kikulu nnyo ffe Abakristaayo okulaga bannaffe mu kibiina okwagala. Akiraga nti okwagala kwaffe tekusaanidde “kuba kwa bunnanfuusi.” Era ayogera ku “kwagala kw’ab’oluganda” n’akiraga nti tusaanidde okwagalana.​—Bar. 12:9, 10a.

2 Kya lwatu nti okwagala ab’oluganda kisingawo ku kuwulira obuwulizi nti twagala bannaffe. Okwagala okwo kulina okweyolekera mu bikolwa. Mu butuufu, kiba kizibu omuntu okumanya nti tumwagala okuggyako nga tulina kye tukozeewo okukyoleka. Bw’atyo Pawulo agamba nti: “Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Bar. 12:10b) Kiki ekizingirwa mu kuwa abalala ekitiibwa? Lwaki kikulu okuba nti ffe tusooka okuwa abalala ekitiibwa? Era ekyo tuyinza kukikola tutya?

Kiki Ekizingirwa mu Kuwa Abalala Ekitiibwa?

3. Okusinziira ku Lwebbulaniya n’Oluyonaani, ekigambo “ekitiibwa” kirina makulu ki?

3 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “ekitiibwa” era kiyinza okutegeeza “okuzitowa.” Omuntu aweebwa ekitiibwa atwalibwa okuba nga muzito oba nga wa mugaso. Ekigambo ekyo era kiraga nti omuntu aweebwa ekitiibwa atwalibwa okuba nga wa muwendo nnyo. (Lub. 45:13) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ekitiibwa” mu Baibuli kirina amakulu ag’okuba ow’ebbeeyi, ow’omugaso, oba ow’omuwendo. (Luk. 14:10) Yee, abo be tuwa ekitiibwa baba ba muwendo era baba ba mugaso nnyo gye tuli.

4, 5. Kiki ekizingirwa mu kuwa abalala ekitiibwa? Waayo ekyokulabirako.

4 Kiki ekizingirwa mu kuwa abalala ekitiibwa? Okuwa abalala ekitiibwa kitandikira ku ndowooza gy’obalinako. Era endowooza gy’olina ku balala erina akakwate n’engeri gy’obayisaamu. Mu ngeri endala, kikwetaagisa okusooka okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku b’oluganda okusobola okubayisa mu ngeri ey’ekitiibwa.

5 Kisoboka Omukristaayo okuwa abalala ekitiibwa mu bwesimbu singa ekyo kiba tekivudde ku mutima gwe? (3 Yok. 9, 10) Ng’ekimera bwe kikula obulungi nga kisimbiddwa ku ttaka eddungi, bwe kityo n’okuwa balala ekitiibwa mu bwesimbu kirina okuba nga kiviira ddala ku mutima gwaffe. N’olwekyo, singa ekitiibwa kye tuwa abalala tekiviira ddala ku mutima, kijja kuba ng’ekimera ekisimbiddwa ku ttaka ebbi ekitawangaala. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo bwe yali ayogera ku kuwa abalala ekitiibwa yagamba nti: “Okwagala kwammwe kulemenga kuba kwa bunnanfuusi.”​—Bar. 12:9; soma 1 Peetero 1:22.

Wa Ekitiibwa Abo Abaatondebwa “mu Kifaananyi kya Katonda”

6, 7. Lwaki tusaanidde okuwa abalala ekitiibwa?

6 Okuva bwe kiri nti okuwa abalala ekitiibwa kiviira ddala ku mutima, tusaanidde okulowooza ku nsonga lwaki tulina okuwa baganda baffe bonna ekitiibwa. Kati ka twetegerezeeyo ensonga bbiri okuva mu Byawandiikibwa.

7 Obutafaananako bitonde birala ebiri ku nsi, abantu baatondebwa “mu kifaananyi kya Katonda.” (Yak. 3:9) Eyo ye nsonga lwaki tulina engeri ennungi gamba ng’okwagala, amagezi, n’obwenkanya. Ate era weetegereze ekintu ekirala kye twafuna okuva eri Omutonzi waffe. Omuwandiisi wa Zabbuli agamba nti: ‘Ai Yakuwa, ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu. Wakola omuntu n’abulako katono okuba ng’abo abalinga Katonda, era wamussaako engule ey’ekitiibwa n’ettendo.’ (Zab. 8:1, 4, 5, NW; 104:1)a Abantu bonna okutwalira awamu Katonda yabassaako oba yabambaza ekitiibwa. N’olwekyo, bwe tuwa abalala ekitiibwa tuba tulaga nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa, oyo eyawa abantu ekitiibwa. Bwe kiba nti abantu bonna okutwalira awamu tulina okubawa ekitiibwa, tetwandisinzeewo nnyo okuwa bakkiriza bannaffe ekitiibwa!​—Yok. 3:16; Bag. 6:10.

Tuli ba mu Maka Gamu

8, 9. Pawulo awa nsonga ki eyandikubirizza Abakristaayo okuwaŋŋana ekitiibwa?

8 Pawulo alaga ensonga endala lwaki tulina okuwaŋŋana ekitiibwa. Bw’aba tannaba kwogera ku kuwa abalala ekitiibwa, asooka kugamba nti: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “mwagalanenga” kikozesebwa ku mukwano ogw’amaanyi oguba wakati w’abantu ab’omu maka agamu era abakolagana obulungi. Bwe kityo Pawulo bw’akozesa ekigambo ekyo, aba akiraga nti okwagala okulina okuba mu kibiina kusaanidde okuba ng’okwo okuba wakati w’abantu ab’omu maka agamu era abakolagana obulungi. (Bar. 12:5) Ate era osaanidde okukijjukira nti ebigambo ebyo Pawulo yabiwandiikira Bakristaayo abaafukibwako amafuta, nga bonna baali bafuuliddwa baana abalina Kitaabwe omu, Yakuwa. Bwe kityo baali baana ba mu maka gamu. N’olwekyo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kiseera kya Pawulo baalina ensonga ey’amaanyi ebakubiriza okuwaŋŋana ekitiibwa. Bwe kityo bwe kiri n’eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta leero.

9 Ate kiri kitya eri abo ‘ab’endiga endala’? (Yok. 10:16) Wadde nga bo tebannaba kufuulibwa baana ba Katonda, buli omu asobola okuyita munne muganda we oba mwannyina olw’okuba bonna bali mu kibiina Ekikristaayo ekiri obumu okwetoloola ensi yonna. (1 Peet. 2:17; 5:9) N’olwekyo, bwe kiba nti ddala ab’endiga endala bategeera ensonga lwaki buli omu ayita munne “muganda wange” oba “mwannyinaze,” olwo nabo baba balina ensonga ey’amaanyi kwe basinziira okuwa bakkiriza bannaabwe ekitiibwa.​—Soma 1 Peetero 3:8.

Lwaki Kikulu Nnyo Okuwa Abalala Ekitiibwa?

10, 11. Lwaki kikulu nnyo okuwa abalala ekitiibwa ekiviira ddala ku mutima?

10 Lwaki kikulu nnyo okuwa abalala ekitiibwa okuviira ddala ku mutima? Ensonga eri nti: Bwe tuwa baganda baffe ne bannyinnaffe ekitiibwa, kireetawo emirembe n’obumu mu kibiina kyonna.

11 Kya lwatu nti enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’obuyambi bw’omwoyo gwe, bye bintu ebisinga okutuyamba ng’Abakristaayo ab’amazima okufuna amaanyi. (Zab. 36:7; Yok. 14:26) Ate era ne baganda baffe bwe bakiraga nti tuli ba muwendo gye bali, ekyo nakyo kituzzaamu amaanyi. (Nge. 25:11) Kituzzaamu amaanyi omuntu bw’ayogera oba bw’akola ekintu ekiraga nti atuwa ekitiibwa. Kino kituyamba okuba abamalirivu okutambulira mu kkubo ery’obulamu. Tewali kubuusabuusa nti ekyo naawe okirabye mu bulamu bwo.

12. Buli omu ku ffe ayinza kukola ki okulaba nti ekibiina kibaamu okwagala?

12 Okuva bwe kiri nti Yakuwa akimanyi nti ffenna twetaaga okuweebwa ekitiibwa, okuyitira mu Kigambo kye atukubiriza ‘okunyiikira okuwaŋŋana ekitiibwa.’ (Bar. 12:10, Baibuli y’Oluganda eya 2003; soma Matayo 7:12.) Abakristaayo bonna bwe bakolera ku bigambo ebyo, ekibiina kibaamu okwagala. N’olwekyo tusaanidde okwebuuza, ‘Nnasemba ddi okukyoleka mu bigambo oba mu bikolwa nti mpa muganda wange oba mwannyinaze mu kibiina ekitiibwa ekiviira ddala ku mutima?’​—Bar. 13:8.

Ekintu Buli Omu ky’Asaanidde Okukola

13. (a) Ani asaanidde okusooka okuwa abalala ekitiibwa? (b) Ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abaruumi 1:7 biraga ki?

13 Ani asaanidde okusooka okuwa abalala ekitiibwa? Baibuli eraga nti abakadde Abakristaayo basaanidde okuteekawo ‘ekyokulabirako’ ekirungi eri ekibiina. (1 Peet. 5:3) Kituufu nti abakadde bateekawo ekyokulabirako mu bintu ebitali bimu. Kyokka ng’abasumba, balina n’okuteekawo ekyokulabirako ekirungi mu kuwa abalala ekitiibwa​—nga mw’otwalidde ne bakadde bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, abakadde bwe batuula awamu okutunula mu byetaago by’ekibiina, basaanidde okuwaŋŋana ekitiibwa nga buli omu afuba okuwuliriza munne ng’aliko ky’agamba. Bwe babaako ne kye basalawo, abakadde bakiraga nti bawaŋŋana ekitiibwa nga bafuba okukiraga nti ebyo bakadde bannaabwe bye boogedde babitwala nga bikulu. (Bik. 15:6-15) Kyokka tusaanidde okukijjukira nti ebbaluwa ya Pawulo eri Abaruumi yawandiikirwa kibiina kyonna, so si bakadde bokka. (Bar. 1:7) N’olwekyo, okubuulirira kuno okukwata ku kuwa abalala ekitiibwa ffenna kutukwatako.

14. (a) Kyakulabirako ki ekiraga enjawulo eriwo wakati w’okuwa abalala ekitiibwa n’okusooka okuwa abalala ekitiibwa. (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza?

14 Ate era weetegereze ekintu ekirala ekiri mu kubuulirira kwa Pawulo okwo. Teyakubiriza bakkiriza banne kuwa buwi balala kitiibwa, naye yabagamba nti be balina okusooka okuwa abalala ekitiibwa. Ddala kino kirina enjawulo? Lowooza ku kyokulabirako kino. Omusomesa ayinza okukubiriza abayizi abamanyi okusoma okuyiga okusoma? Nedda. Kubanga baba bamanyi okusoma. Mu kifo ky’ekyo, omusomesa afuba okulaba nti ayamba abayizi abo okulongoosa mu ngeri gye basomamu. Mu ngeri y’emu, tulina okwagala, ekintu ekitukubiriza okuwaŋŋana ekitiibwa, era nga ke kabonero akaawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Yok. 13:35) Kyokka ng’abayizi abamanyi okusoma bwe bayinza okulongoosa mu ngeri gye basomamu, naffe tusobola okulongoosa mu ngeri gye tuwaamu abalala ekitiibwa nga ffe tusooka okuwa bannaffe ekitiibwa. (1 Bas. 4:9, 10) Kino kye kintu buli omu ku ffe ky’asaanidde okukola. Tusaanidde okwebuuza, ‘Nkozesa buli kakisa ke nfuna okuwa abalala mu kibiina ekitiibwa?’

Wa “Abaavu” Ekitiibwa

15, 16. (a) Bwe kituuka ku kuwa abalala ekitiibwa, baani be tutasaanidde kubuusa maaso, era lwaki? (b) Kiki ekiyinza okulaga obanga ddala tuwa ab’oluganda bonna ekitiibwa?

15 Bwe tuba tuwa balala ekitiibwa, baani mu kibiina be tutasaanidde kubuusa maaso? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Asaasira omwavu awola Mukama, era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.” (Nge. 19:17) Omusingi oguli mu bigambo ebyo guyinza gutya okutuyamba bwe kituuka ku kusooka okuwa abalala ekitiibwa?

16 Oyinza okuba ng’okyetegerezza nti abantu abasinga obungi bawa ekitiibwa abo abali mu bifo ebya waggulu, naye ng’ate abo be batwala okuba aba wansi tebabawa kitiibwa. Kyokka ye Yakuwa tali bw’atyo. Agamba nti: “Abo abanzisaamu ekitiibwa [be] nassangamu ekitiibwa.” (1 Sam. 2:30; Zab. 113:5-7) Yakuwa awa ekitiibwa abo bonna abamuweereza era abamussaamu ekitiibwa. Tanyooma ‘baavu.’ (Soma 1 Samwiri 2:8; 2 Byom. 16:9) Naffe tusaanidde okukoppa Yakuwa. N’olwekyo, bwe tuba twagala okumanya obanga ddala tuwa abalala ekitiibwa, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ntwala ntya abo abatalina bifo bya buvunaanyizibwa mu kibiina?’ (Yok. 13:14, 15) Ekyo kye tuddamu mu kibuuzo ekyo kiraga obanga ddala tuwa abalala ekitiibwa okuviira ddala ku mutima.​—Soma Abafiripi 2:3, 4.

Tuwa Abalala Ekitiibwa nga Tubawa Ebiseera Byaffe

17. Emu ku ngeri gye tuyinza okusooka okuwa abalala ekitiibwa y’eruwa, era lwaki ekyo kikulu?

17 Emu ku ngeri gye tuyinza okusooka okuwa abalala mu kibiina ekitiibwa y’eruwa? Kwe kubawa ebiseera byaffe. Lwaki ekyo kikulu? Ng’abakristaayo, tulina eby’okukola bingi, era kitwetaagisa ebiseera ebiwerako okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe tulina mu kibiina. Eyo ye nsonga lwaki tutwala ebiseera ng’ekintu eky’omuwendo. N’olwekyo, tetusaanidde kusuubira nti baganda baffe ne bannyinnaffe bajja kutuwa ebiseera byabwe bingi. Mu ngeri y’emu, naffe kitusanyusa singa abalala mu kibiina bakitegeera nti tetulina biseera bingi bya kubawa.

18. Ng’ekifaananyi ekiri ku lupapula 18 bwe kiraga, tuyinza tutya okukiraga nti tuli beetegefu okuwa bakkiriza bannaffe ebiseera?

18 Wadde nga tulina ebiseera bitono, tusaanidde okukimanya (naddala abo abaweereza ng’abasumba mu kibiina) nti singa tuba beetegefu okuyimiriza mu ebyo bye tuba tukola okusobola okuwa bakkiriza bannaffe ebiseera, kiba kiraga nti tubawa ekitiibwa. Mu ngeri ki? Bwe tuyimiriza mu ebyo bye tuba tukola okusobola okuwa baganda baffe ebiseera, tuba ng’ababagamba nti, ‘Muli ba muwendo nnyo okusinga bino bye mbadde nkola.’ (Mak. 6:30-34) Ku luuyi olulala, bwe tutaba beetegefu kuyimiriza mu ebyo bye tukola okusobola okuwa baganda baffe ebiseera, kiyinza okubaleetera okuwulira nti si ba mugaso. Kyo kituufu nti oluusi wabaawo ebintu bye tuba tukola nga tetusobola kubiyimirizaamu. Wadde kiri kityo, tusaanidde okukijjukira nti bwe tuwa baganda baffe ne bannyinnaffe ebiseera, kiba kiraga nti ddala tubawa ekitiibwa.​—1 Kol. 10:24.

Ba Mumalirivu Okusooka Okuwa Abalala Ekitiibwa

19. Ng’oggyeko okuwa bakkiriza bannaffe ebiseera, ngeri ki endala mwe tuyinza okulagira nti tubawa ekitiibwa?

19 Waliwo n’engeri endala nnyingi mwe tusobola okulagira nti tuwa bakkiriza bannaffe ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, bwe tubawa ebiseera byaffe, tusaanidde n’okussaayo omwoyo nga baliko kye batugamba. Ne mu kino, Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi agamba nti: “Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.” (Zab. 34:15) Tufuba okukoppa Yakuwa nga tussa amaaso gaffe ku baganda baffe era nga tubategera amatu, naddala abo ababa batutuukiridde nga beetaaga obuyambi bwaffe. Bwe tukola tutyo tuba tukiraga nti tubawa ekitiibwa.

20. Biki bye tusaanidde okujjukira bwe kituuka ku kuwa abalala ekitiibwa?

20 Nga bwe tulabye, tusaanidde bulijjo okujjukira ensonga lwaki tulina okuwa bakkiriza bannaffe ekitiibwa okuviira ddala ku mutima. Ate era tusaanidde bulijjo okukozesa buli kakisa ke tufuna okuwa bonna ekitiibwa, nga mw’otwalidde n’abo abatwalibwa okuba aba wansi. Ekyo kijja kuyamba okunyweza okwagala n’obumu mu kibiina. N’olwekyo, ka ffenna tufube obutakoma ku kuwa buwi balala kitiibwa naye era tube abo abasooka okuwa abalala ekitiibwa. Ekyo omaliridde okukikola?

[Obugambo obuli wansi]

a Ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 8 era byali bya bunnabbi, nga bisonga ku musajja atuukiridde Yesu Kristo.​—Beb. 2:6-9.

Ojjukira?

• Kiki ekizingirwa mu kuwa abalala ekitiibwa?

• Nsonga ki ezanditukubirizza okuwa bakkiriza bannaffe ekitiibwa?

• Lwaki kikulu okuwaŋŋana ekitiibwa?

• Ezimu ku ngeri mwe tuyinza okulagira nti tuwa bakkiriza bannaffe ekitiibwa ze ziruwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Tuyinza tutya okulaga nti tuwa bakkiriza bannaffe ekitiibwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share