Wa w’Oyinza Okuzuula Emirembe mu Mutima?
Waliwo enjawulo nnyingi wakati w’ekiseera kyaffe n’ekya Thoreau, ekyayogeddwako mu kitundu ekivuddeko. Enjawulo emu ey’amaanyi eri nti leero waliwo amagezi mangi ku ngeri y’okufunamu emirembe mu mutima. Abakugu ku nneeyisa y’abantu, n’abawandiisi b’ebitabo ebiwa amagezi—n’abawandiisi mu mpapula z’amawulire—bawa amagezi gaabwe. Amagezi gaabwe gayinza okuba ag’omuganyulo okumala ekiseera ekitono; naye okusobola okuganyulwa ekiseera ekiwanvu, ekintu ekisingawo obukulu ky’etaagisa. Ekyo abantu aboogeddwako mu kitundu ekivuddeko kye baazuula.
ANTÔNIO, Marcos, Gerson, Vania, ne Marcelo baava mu mbeera za njawulo era baalina ebizibu bya njawulo. Naye baali bafaanaganya ebintu bisatu. Ekisooka, waaliwo ekiseera ‘nga tebalina ssuubi, nga tebalina Katonda mu nsi.’ (Abaefeso 2:12) Eky’okubiri, baali baagala nnyo okufuna emirembe mu mutima. Eky’okusatu, bonna baafuna emirembe mu mutima oluvannyuma lw’okukkiriza okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe beeyongera okukulaakulana, bakitegeera nti Katonda abafaako. Mazima ddala, nga Pawulo bwe yagamba Abasene ab’omu kiseera kye, Katonda “tali wala ku buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Okubeera omukakafu ku kino nsonga nkulu esobozesa okufuna emirembe mu mutima.
Lwaki Waliwo Emirembe Mitono?
Baibuli ewa ensonga bbiri enkulu lwaki tewaliiwo mirembe mu nsi—ka gibe emirembe mu mutima oba emirembe mu bantu. Esooka ennyonnyolebwa mu Yeremiya 10:23: “Ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” Omuntu talina magezi wadde okutegeera okusobola okwefuga awatali buyambi, ate obuyambi bwokka obw’omuwendo buva eri Katonda. Abantu abatanoonya bulagirizi bwa Katonda tebayinza kufuna mirembe gya lubeerera. Ensonga ey’okubiri lwaki tewaliiwo mirembe erabibwa mu bigambo by’omutume Yokaana: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19, NW) Awatali bulagirizi bwa Katonda, okufuba kw’omuntu okufuna emirembe kujja kulemesebwa ebikolwa by’omuntu atalabika naye nga wa ddala—era ow’amaanyi ennyo—‘omubi,’ Setaani.
Olw’ensonga zino ebbiri—nti abantu abasinga obungi tebanoonya bulagirizi bwa Katonda era nti Setaani akola nnyo mu nsi—olulyo lw’omuntu okutwalira awamu luli mu mbeera mbi. Omutume Pawulo yagyogerako bw’ati: “Ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.” (Abaruumi 8:22) Ani ayinza okuwakanya ebigambo ebyo? Mu mawanga amagagga n’amaavu, ebizibu mu maka, obumenyi bw’amateeka, obutali bw’enkanya, obutategeeragana, obutamanya mbeera y’eby’enfuna bw’eneeba, obukyayi mu mawanga, okunyigirizibwa, obulwadde, n’ebirala bingi, bimalako abantu emirembe mu mutima.
Aw’Okuzuula Emirembe mu Mutima
Antônio, Marcos, Gerson, Vania, ne Marcelo bwe baayiga Ekigambo kya Katonda, Baibuli, baayiga ebintu ebyakyusa obulamu bwabwe. Okusooka, baayiga nti lumu embeera mu nsi ejja kukyuka. Kuno si kusuubira busuubizi awatali bukakafu nti buli kintu kyonna kijja kubeera bulungi mu nkomerero. Ssuubi erya ddala, erinywevu nti Katonda alina ekigendererwa eri olulyo lw’omuntu era nti ne mu kiseera kino tuyinza okuganyulwa mu kigendererwa ekyo singa tukola by’ayagala. Baagoberera mu bulamu bwabwe bye baayiga okuva mu Baibuli, era embeera yaabwe yalongooka. Baafuna essanyu n’emirembe ebisingawo bye baali balowooza nti tebisoboka.
Antônio takyenyigira mu kwekalakaasa n’okweddiima kw’abakozi. Akimanyi nti enkyukakyuka ezijjawo mu ngeri eyo za kaseera buseera. Eyali omukulembeze w’abakozi ayize ku Bwakabaka bwa Katonda. Obwo bwe Bwakabaka obukadde n’obukadde bw’abantu bwe baba basaba bwe badiŋŋaana Essaala ya Mukama waffe (oba Eya Kitaffe) nga bagamba Katonda: “Obwakabaka bwo bujje.” (Matayo 6:10a) Antônio yayiga nti Obwakabaka bwa Katonda gavumenti eya ddala ejja okuleeta emirembe egya nnamaddala eri olulyo lw’omuntu.
Marcos yayiga okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli okw’amagezi ku nsonga y’obufumbo. N’ekyavaamu, eyali munnabyabufuzi kati bali wamu ne mukyala we mu ssanyu. Naye yeesunga ekiseera ekiri okumpi okutuuka, Obwakabaka bwa Katonda bwe bulireetawo embeera ennungi mu kifo ky’embeera y’ensi eno ey’omululu, era eyeefaako yokka. Amanyidde ddala amakulu g’olunyiriri oluli mu Ssaala ya Mukama Waffe olugamba: “By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10b) Katonda by’ayagala bwe birikolebwa ku nsi, abantu bajja kubeera mu bulamu obulungi obutabangawo.
Ate kyali kitya eri Gerson? Takyabungeeta wadde okubba. Obulamu bw’omwana ono eyabeeranga ku nguudo kati bulina amakulu kubanga akozesa amaanyi ge okuyamba abalala okuzuula emirembe mu mutima. Ng’ebyokulabirako bino bwe biraga, okusoma Baibuli n’okuteeka mu nkola by’egamba kiyinza okukyusa obulamu bw’omuntu ne bulongooka.
Emirembe mu Mutima mu Nsi Erimu Ebizibu
Omuntu omukulu mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda ye Yesu Kristo, era abantu bwe basoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, bayiga bingi ebimukwatako. Ekiro kye yazaalibwamu, bamalayika baayimba nga batendereza Katonda: “Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.” (Lukka 2:14) Yesu bwe yakula, yayagala nnyo okulongoosa obulamu bw’abantu. Yategeera enneewulira yaabwe era n’alaga obusaasizi obutaali bwa bulijjo eri ababonaabona n’abalwadde. Era nga kituukagana n’ebigambo bya bamalayika, yaleetera abawombeefu emirembe mu mutima. Ku nkomerero y’obuweereza bwe, yagamba abayigirizwa be: “Emirembe [ngi]balekera; emirembe gyange ngibawa: si ng’ensi bw’ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.”—Yokaana 14:27.
Yesu teyakoma ku kukolerera mbeera y’abantu ennungi. Yeegeraageranya ku musumba, era n’ageraageranya abagoberezi be abawombeefu ku ndiga bwe yagamba: “Nze najja zibe n’obulamu, era zibe nabwo obungi. Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga.” (Yokaana 10:10, 11) Yee, okwawukana ku bakulembeze bangi leero abakulembeza ebibafaako bo bokka, Yesu yawaayo obulamu bwe ku lw’endiga ze.
Tuyinza tutya okuganyulwa mu ekyo Yesu kye yakola? Bangi bamanyi ebigambo bino: “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Okusooka, okwoleka okukkiriza mu Yesu kyetaagisa okufuna okumanya okumukwatako ye kennyini, ne Kitaawe, Yakuwa. Okumanya okukwata ku Katonda ne Yesu Kristo kutusobozesa okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda ejja okutuyamba okufuna emirembe mu mutima.
Yesu yagamba: “Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera; nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n’emirembe, so tewali alizisikula [“aliziggya,” NW] mu mukono gwange.” (Yokaana 10:27, 28) Ng’ebyo bigambo ebibuguumiriza era ebizzaamu amaanyi! Kyo kituufu nti Yesu yabyogera emyaka nga nkumi biri emabega, naye bya makulu leero nga bwe byali mu kiseera ekyo. Teweerabira nti Yesu Kristo akyali mulamu era alina by’akola, nga kati afuga nga Kabaka atuuziddwa ku ntebe y’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. Nga bwe yali afaayo ng’ali ku nsi emyaka egyo emabega, era akyafaayo ku bawombeefu abaagala emirembe mu mutima. Ate era, akyali Musumba w’endiga ze. Singa tumugoberera, ajja kutuyamba okufuna emirembe mu mutima, egitwaliramu okubeera abakakafu nti tujja kulaba emirembe mu bujjuvu mu biseera eby’omu maaso—ekijja okutegeeza obutabeerawo ttemu, ntalo n’obumenyi bw’amateeka.
Emiganyulo egya nnamaddala giva mu kumanya n’okukkiriza nti Yakuwa, okuyitira mu Yesu, ajja kutuyamba. Jjukira Vania, ng’akyali omuwala omuto eyalekerwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi era n’alowooza nti Katonda yali amwabulidde? Kati Vania amanyi nti Katonda tamwabulidde. Agamba: “Nnayiga nti Katonda muntu wa ddala alina engeri ennungi. Okwagala kwe kwamuleetera okusindika Omwana we ku nsi okutuwa obulamu. Kikulu nnyo okumanya ekyo.”
Marcelo akakasa nti enkolagana ye ne Katonda ya ddala. Ono eyeenyigiranga ennyo mu by’amasanyu agamba: “Emirundi mingi abavubuka baba tebamanyi kya kukola, era kibaviiramu okwereetako akabi. Abamu beekamirira amalagala, nga bwe nnakola. Nsuubira nti abalala bangi bajja kuweebwa omukisa, nga bwe kyali gy’endi, nga bayiga amazima agakwata ku Katonda n’Omwana we.”
Okuyitira mu kusoma Baibuli, Vania ne Marcelo baakulaakulanya okukkiriza okunywevu mu Katonda n’obwesige nti ayagala nnyo okubayamba okukola ku bizibu byabwe. Singa tukola kye baakola—ne tuyiga Baibuli era ne tussa mu nkola by’egamba—tujja kufuna emirembe mingi mu mutima, nga bwe kyali gye bali. Awo ebigambo by’omutume Pawulo ebizzaamu amaanyi ddala biba bitukwatako: “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N’emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.”—Abafiripi 4:6, 7.
Okuzuula Emirembe Egya Nnamaddala Leero
Yesu Kristo akulembera abantu abaagala amazima mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Ng’abakulembera mu kusinza kwa Katonda okulongoofu, bafuna emirembe egifaananako egyo egyogerwako mu Baibuli: “N’abantu bange balituula mu kifo eky’emirembe ne mu nnyumba ez’enkalakkalira, ne mu biwummulo ebitereevu.” (Isaaya 32:18) Era okwo kulegako bulezi ku mirembe gye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso. Tusoma bwe tuti: “Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi. Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:11, 29.
N’olwekyo, tuyinza okufuna emirembe mu mutima leero? Yee. Ate era, tuyinza okubeera abakakafu nti mu maaso awo, Katonda ajja kuwa abantu abawulize emirembe mu ngeri etabangawo. N’olwekyo, lwaki tomusaba akuwe emirembe gye? Singa oba n’ebizibu ebikumalako emirembe, saba mu ngeri Kabaka Dawudi gye yasabamu: “Ennaku ez’omutima gwange zeeyongedde: kale onzigye mu bibonoobono byange. Lowooza ennaku zange n’okutegana kwange; era onsonyiwe ebibi byange byonna.” (Zabbuli 25:17, 18) Beera mukakafu nti Katonda awuliriza okusaba ng’okwo. Agolola omukono gwe n’awa emirembe bonna abaginoonya mu bwesimbu. Tukakasibwa n’okwagala: “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira n’amazima. Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; era anaawuliranga okukaaba kwabwe, anaabalokolanga.”—Zabbuli 145:18, 19.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]
Omuntu talina magezi wadde okutegeera okusobola okwefuga awatali buyambi, era obuyambi bwokka obw’omuwendo buva eri Katonda
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]
Okumanya okukwata ku Katonda ne Yesu Kristo kuyinza okutuusa ku nkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda ejja okutusobozesa okufuna emirembe mu mutima
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Okugoberera okubuulirira kwa Baibuli kusobozesa emirembe okubaawo mu bulamu bw’amaka