Oyinza Okuzuula Emirembe mu Mutima?
Mu 1854, Henry Thoreau, omuwandiisi omw’Amereka yawandiika bw’ati: “Abantu abasinga obungi tebalina ssuubi mu bulamu.”
Kya lwatu nti mu kiseera kye abantu abasinga obungi tebaalina mirembe mu mutima. Kyokka, ekyo kyaliwo emyaka 150 emabega. Ebintu bya njawulo leero? Oba ebigambo bya Thoreau bikyali bituufu? Ate ggwe kinnoomu? Oli mumativu, olina emirembe? Oba owulira nga tolina bukuumi, tomanyi bikwata ku biseera bya mu maaso, nga ‘tolina ssuubi,’ nga Thoreau bwe yagamba?
EKY’ENNAKU, waliwo ebintu bingi mu nsi ebimalako abantu emirembe mu mutima. Ka tumenyeyo bitonotono: Mu mawanga mangi ebbula ly’emirimu n’enfuna entono bireeta obwavu n’embeera embi ey’eby’enfuna. Mu nsi endala, bangi bakozesa amaanyi gaabwe okunoonya obugagga n’ebintu. Kyokka, emirundi mingi, okuvuganya okubaawo kuleeta okweraliikirira so si mirembe. Obulwadde, entalo, obumenyi bw’amateeka, n’obutali bwenkanya, n’okunyigirizibwa bimalako abantu emirembe.
Baanoonya Emirembe mu Mutima
Bangi tebaagala mbeera eri mu nsi. Antônioa yali mukulembeze w’abakozi mu kkolero eddene mu São Paulo, Brazil. Ng’asuubira okulongoosa embeera z’obulamu, yeetaba mu kweddiima n’okwekalakaasa, naye kino tekyamuleetera mirembe mu mutima.
Abamu basuubira nti obufumbo bujja kubaleetera emirembe mu bulamu bwabwe, naye bangi tebafunye kye babadde basuubira. Marcos yali musuubuzi mulungi. Yenyigira mu by’obufuzi n’afuuka meeya w’ekibuga omwali amakolero amangi. Kyokka, obulamu bwe obw’omu maka tebwali bulungi. Abaana be bwe baava awaka, ye ne mukyala we baayawukana kubanga baali tebakyayinza kutegeeragana.
Gerson, omwana w’oku nguudo, abeera mu Salvador, Brazil, yali ayagala nnyo embeera ezisoomooza. Yatambulanga okuva mu kibuga ekimu okudda mu kirala ng’ali wamu n’abavuzi ba loole. Mu bbanga ttono yatandika okwekamirira amalagala, n’okunyagulula abantu okusobola okusasulira omuze gwe. Emirundi mingi yakwatibwa abapoliisi. Kyokka, wadde yali mukambwe, era nga wa bbogo, Gerson yayagala nnyo okufuna emirembe mu mutima. Yandisobodde okugizuula?
Vania bwe yali akyali muto, maama we yafa, era Vania yatwala obuvunaanyizibwa bw’omu maka, awamu n’okulabirira muganda we omulwadde. Vania yagendanga mu kkanisa naye yawulira nga Katonda amwabulidde. Mazima ddala, teyalina mirembe mu mutima.
Ate waliwo Marcelo. Marcelo yali ayagala nnyo eby’amasanyu. Yayagala nnyo okusanyukira awamu n’abavubuka abalala—okuzina, okunywa, era n’okukozesa amalagala. Lumu yalwana n’omuvubuka era n’amutuusaako ebisago. Oluvannyuma yejjusa kye yali akoze era n’asaba Katonda okumuyamba. Naye yali ayagala okufuna emirembe mu mutima.
Ebyokulabirako bino biraga embeera ezimu eziyinza okumalawo emirembe mu mutima. Waliwo engeri yonna omukulembeze w’abakozi, munnabyabufuzi, omwana w’oku nguudo, n’omuwala eyalina obuvunaanyizibwa obungi, era n’eyali ayagala ennyo eby’amasanyu gye bandifunyemu emirembe mu mutima? Ekyabatuukako kirina ekintu kyonna kye kituyigiriza? Eky’okuddamu mu bibuuzo byombi kiri nti yee, nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Amanya agamu gakyusiddwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Oyagala okufuna emirembe mu mutima?