Ebyokulwanyisa byonna bijja kusaanyizibwawo
Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Olowooza ekiseera kirituuka ne wabaawo emirembe mu nsi yonna?
Wandizzeemu otya?
Yee
Nedda
Oboolyawo
Bayibuli ky’egamba
Yesu Kristo bw’aliba nga y’afuga ensi, ‘emirembe giriba mingi nnyo okutuusa omwezi lwe guliba nga tegukyaliwo.’ Ekyo kitegeeza nti walibaawo emirembe egy’olubeerera.—Zabbuli 72:7.
Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli
Abantu ababi bajja kuggibwawo ku nsi, kisobozese abantu abalungi okuba mu mirembe n’essanyu.—Zabbuli 37:10, 11.
Katonda ajja kuggyawo entalo zonna.—Zabbuli 46:8, 9.
Kisoboka okuba n’emirembe mu mutima mu kiseera kino?
Abantu abamu bagamba nti . . . emirembe ng’egyo tetusobola kuba nagyo ng’ensi ekyalimu okubonaabona n’obutali bwenkanya. Ggwe olowooza otya?
Bayibuli ky’egamba
Ne mu kiseera kino, abo abalina enkolagana ennungi ne Katonda basobola okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.”—Abafiripi 4:6, 7.
Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli
Katonda asuubiza nti ajja kuggyawo okubonaabona kwonna n’obutali bwenkanya, era ‘ebintu byonna abizze buggya.’—Okubikkulirwa 21:4, 5.
Tusobola okufuna emirembe mu mutima bwe tukola ku ‘bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo.’—Matayo 5:3.