Ffe Tuli Bantu Abalina Okukkiriza
Okulangirira Amawulire Amalungi mu Nnimiro z’Omuceere mu Taiwan
TAIWAN bulijjo etera okufuna enkuba nnyingi, egisobozesa okubaza omuceere emirundi ebiri mu mwaka. Kyokka, ebiseera ebimu, enkuba tetuukira mu biseera by’eba esuubirirwamu, ne kireetera ebimera ebito okufa. Kino bwe kibaawo, omulimi alekulira? Nedda. Akimanyi nti obunyiikivu bwetaagisa. Akuza endokwa endala era n’azzaawo ennimiro ye. Olwo nno, singa embeera zirongooka, omulimi akungula ebirime ebirungi. Okusiga n’okukungula okw’eby’omwoyo oluusi kufaananira ddala bwe kutyo.
Okunyiikirira mu Kukungula okw’Eby’Omwoyo
Okumala emyaka mingi Abajulirwa ba Yakuwa mu Taiwan bakoze n’amaanyi okusiga n’okukungula ensigo ez’amazima ag’omu Byawandiikibwa mu bifo ebimu ebyali birabika ng’ebitavaamu kantu. Ekyokulabirako ekimu lye Ssaza eriyitibwa Miao-li. Waali wavuddeyo ebibala bitono nnyo mu kaweefube eyakolebwanga ebiseera ebimu mu kitundu ekyo. N’olwekyo, mu 1973 omugogo gwa bapayoniya ab’enjawulo abafumbo baatumibwa okubuulira mu kitundu ekyo ng’abalangirizi b’Obwakabaka ab’ekiseera kyonna. Okusooka, abamu baasiima amawulire amalungi. Kyokka, oluvannyuma lw’akaseera okusiima okwo kwaggwaawo. Bapayoniya abo ab’enjawulo ne baweerezebwa mu kitundu ekirala.
Mu 1991 bapayoniya ab’enjawulo abalala babiri baaweerezebwayo. Kyokka, era ebyaliwo byalaga nti embeera yali tennakyukako okusobozesa okukula okw’eby’omwoyo. Oluvannyuma lw’emyaka mitono, bapayoniya bano ab’enjawulo baakyusibwa ne batwalibwa mu nnimiro endala ezaali zisuubirwa okuvaamu ebibala ebisingawo. Bwe kityo, ennimiro eyo yasigala nga tekolwamu okumala ekiseera.
Kaweefube Omulala Avaamu Ebibala
Mu Ssebutemba 1998 kyasalibwawo okukola kaweefube okunoonya ebifo ebiyinza okuvaamu ebibala ebingi mu gutundutundu gwa Taiwan ogwali gutakolebwamu. Kino kyali kya kutuukirizibwa kitya? Nga baweerezaayo bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera 40 okukola mu bitundu ebirimu abantu abangi ebitakolwangamu.
Ebibuga bibiri ebiriraanaganye mu Ssaza ly’e Miao-li bye bimu ku bitundu ebyalondebwa okukolwamu mu kaweefube ono. Bannyinaffe bana abatali bafumbo baali ba kukolayo okumala emyezi esatu okulaba ekiyinza okuva mu kitundu ekyo. Amangu ddala nga baakatuukayo, baaweereza lipoota ezibuguumiriza ezikwata ku bungi bw’abantu abaagala be baali basanga. We baamalirako emyezi gyabwe esatu egy’okubuulira mu kitundu ekyo, baali balina bangi be bayigiriza Baibuli awaka. Era baatandikawo olukuŋŋaana olw’okusoma ekitabo nga bayambibwako omukadde okuva mu kibiina ekiriraanyewo.
Basatu ku bannyinaffe bano baakiraga nti bandyagadde okweyongera okulabirira “ebimera ebyo ebito” ebyali bitandise okukula obulungi ennyo. Ekyavaamu, babiri ku bo baalondebwa okukola nga bapayoniya ab’enjawulo ab’olubeerera, era n’ow’okusatu yeeyongera okukolerayo nga payoniya ow’enkalakkalira. Omukadde okuva mu kibiina ekiriraanyewo yasengukira mu kitundu ekyo okubayambako. Abantu abasukka mu 60 be baaliwo ku kwogera kwa bonna okwasooka okuweebwa mu kitundu ekyo. Kati ekibiina ekiriraanyewo kiyamba akabinja kano akappya okufuna enkuŋŋaana z’oku Ssande obutayosa okugatta kunkuŋŋaana endala eziwerako ez’okusoma ekitabo. Mu bbanga si ddene ekibiina ekippya kiyinza okutandikibwa mu kitundu ekyo.
Obunyiikivu Buvaamu Emikisa mu Bitundu Ebirala mu Taiwan
Ebitundu ebirala nabyo byavaamu ebibala ebifaananako bwe bityo. Mu Ssaza ly’e I-lan mu mambuka g’ebuvanjuba bw’ekizinga ekyo, ekibinja ekippya eky’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina kyatandikibwawo mu kitundu bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera gye baali.
Olweggulo lumu bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba, payoniya ow’enjawulo ow’ekiseera yasanga omuvubuka n’amulaga akapapula akalaga ebiseera by’enkuŋŋaana z’ekibiina. Amangu ago omuvubuka n’abuuza: “Nnyinza okujja mu lukuŋŋaana enkya? Era bwe kiba kisoboka, nnyambale ntya?” Payoniya ono yeesanga ng’alina abantu munaana b’ayigiriza Baibuli buli wiiki. Bangi ku bayizi ba Baibuli baali bakola enteekateeka okufuuka ababuulizi b’amawulire amalungi, n’ekiruubirirwa eky’okubatizibwa.
Omuntu omulala mu kibuga kino kyennyini yali amaze emyaka mingi ng’agenda mu kkanisa naye nga tafuna muntu yenna amuyigiriza Baibuli. Bwe yawulira ebikwata ku nteekateeka ey’okuyiga Baibuli, yatwala omukisa ogwo. Yakubirizibwa okweteekateekera okuyiga kwe nga bukyali. Payoniya ow’enjawulo ow’ekiseera bwe yatuuka okusoma naye, yasanga omukyala ono amaze “okweteekateeka” ng’aguze ekitabo ekiwandiikibwamu mwe yali awandiise ebibuuzo okuva mu katabo ke baali bagenda okusoma. Yali awandiisemu n’eby’okuddamu ku buli kibuuzo. Era yali akoppolodde okuva mu katabo ebyawandiikibwa byonna ebiweereddwa mu ssomo eryo. Mwannyinaffe we yatuukira okusoma naye omulundi ogwasooka, omukyala ono yali amaze okuteekateeka amasomo asatu agasooka!
Ebifaananako bwe bityo byalabibwa mu kibuga ky’e Dongshih mu massekati ga Taiwan. Bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera baagaba brocuwa ezisukka mu 2,000 mu myezi esatu gye baamala mu kitundu ekyo. Omwezi ogw’okusatu we gwatuukira, baali balina abantu 16 be bayigiriza Baibuli mu maka gaabwe. Ekibuga kino kyayonoonebwa nnyo musisi ow’amaanyi eyayita mu massekati ga Taiwan nga Ssebutemba 21, 1999, naye abamu ku abo abaagala okuyiga beeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, wadde nga baalina okutambula olugendo lwa ssaawa ng’emu okubeerawo mu nkuŋŋaana mu Kingdom Hall eri okumpi. Yee, obunyiikivu bwetaagisa okusobola okukungula ebirime ebirungi, ka gabe makungula ga bintu buntu oba ga bya mwoyo.
[Mmaapu eri ku lupapula 8]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
CHINA
Taiwan Strait
TAIWAN
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Mountain High Maps® Copyright © 1997 Digital Wisdom, Inc.