LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 8/1 lup. 3
  • Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Lwaki Tekuliiwo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Lwaki Tekuliiwo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Similar Material
  • Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Lwaki Kyetaagisa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Lwaki Tusaanidde Okussa Ekitiibwa mu Abo Abatukulembera?
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Musse Ekitiibwa mu Baweereddwa Obuyinza ku Mmwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Kkiriza Obuyinza bwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 8/1 lup. 3

Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Lwaki Tekuliiwo?

“Okuwakanya ab’obuyinza abaliwo,ab’eddiini n’abatali ba ddiini, abakugu ku mbeera z’abantu n’ab’eby’obufuzi,mu nsi yonna, lumu kuyinza okwogerwa- ko ng’ekintu ekikulu ekibaddewo mu myaka ekkumi egiyise.”

KATI wayiseewo emyaka egiwera okuva mu myaka gye 1960, emyaka munnabyafaayo era omufirosoofo, Hannah Arendt, gy’ayogerako waggulu. Leero obutassa kitiibwa mu b’obuyinza kweyongedde okusinga ne bwe kyali kibadde.

Ng’ekyokulabirako, lipoota eyaakafuluma mu The Times ak’omu London egamba: “Abazadde abamu bagaana okukkiriza obuyinza bw’abasomesa ku baana baabwe era abasomesa bwe bagezaako okukangavvula abaana baabwe beemulugunya.” Emirundi mingi, abaana baabwe bwe bakangavvulwa ku ssomero, abazadde bagenda ku ssomero si okutiisatiisa abasomesa kyokka, naye n’okubakolako akabi.

Omwogezi wa National Association of Head Teachers mu Bungereza kigambibwa nti yagamba: “Abantu bagamba nti ‘nnina eddembe,’ so si ‘nnina obuvunaanyizibwa.’” Ng’oggyeko okulemererwa okuyigiriza abaana baabwe okussa ekitiibwa mu b’obuyinza, abazadde abamu tebawabula baana baabwe​—era tebakkiriza balala kukikola. Abaana abagamba nti balina “eddembe” bakkirizibwa okunyooma obuyinza bw’abazadde n‘abasomesa, era ekivaamu kimanyiddwa​—“omulembe omuppya ogutassa kitiibwa mu b’obuyinza era ogumanyi ekitono ennyo ku kituufu n’ekikyamu,” bw’atyo bw’awandiika, Margarette Driscoll, omuwandiisi mu mpapula z’amawulire.

Ka magazini Time mu kitundu kyako “Omulembe Ogubuze” kaayogera ku bavubuka okuva mu Russia abaweddemu amaanyi ng’ajuliza omuyimbi omuganzi eyagamba: “Omuntu yenna azaaliddwa mu nsi eno, ebintu gye bitali bya lubeerera era omutali bwenkanya, ayinza atya okuba n’obwesige mu bantu?” Mikhail Topalov, omukugu mu nsonga ezikwata ku bantu, yasemba ebigambo bino: “Abavubuka bano si basiru. Balabye bazadde baabwe nga balimbibwa eggwanga, babalabye nga bafiirwa ssente zaabwe ze baatereka era n’emirimu gyabwe. Tuyinza okubasuubira okussa ekitiibwa mu b’obuyinza?”

Kyokka, twandibadde bakyamu okugamba nti obutassa kitiibwa mu b’obuyinza kukwata ku bavubuka bokka. Leero, abantu ab’emyaka gyonna tebeesiga ba buyinza bonna, kabekasinge n’okubanyooma. Ekyo kitegeeza nti tewali ba buyinza bonna bayinza kwesigibwa? Obuyinza, obunnyonnyolebwa nga “amaanyi oba obwannanyini okufuga, okulamula, oba okuziyiza ebikolwa by’abalala,” bwe bukozesebwa obulungi, buyinza okuba obw’omuganyulo. Buyinza okuganyula abantu kinnoomu n’abantu bonna okutwalira awamu. Ekitundu ekiddako kijja kwekenneenya kino bwe kisoboka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share