LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 9/1 lup. 22-27
  • Laga Endowooza ey’Okulinda!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Laga Endowooza ey’Okulinda!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Koppa Endowooza ey’Okulinda
  • Beera n’Endaba Etagudde Lubege
  • Okulinda​—Kumalamu Amaanyi oba Kuleeta Essanyu?
  • Laga Endowooza ya Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Omanyi Okulinda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Lindirira n’Obugumiikiriza
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Sigala ng’Oli Musanyufu ng’Olindirira Yakuwa n’Obugumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 9/1 lup. 22-27

Laga Endowooza ey’Okulinda!

“Naalindiriranga Katonda ow’obulokozi bwange; Katonda wange anampuliranga.”​—MIKKA 7:7.

1, 2. (a) Endowooza embi yayonoona etya Abaisiraeri nga bali mu ddungu? (b) Kiki ekiyinza okutuuka ku Mukristaayo atakulaakulanya endowooza ennungi?

EBINTU bingi mu bulamu biyinza okulabibwa ng’ebisoboka oba ebitasoboka, okusinziira ku ndowooza yaffe. Abaisiraeri bwe baali mu ddungu, mu ngeri ey’eky’amagero baaweebwa emaanu. Bandibadde batunuulira eddungu era ne basiima nnyo Yakuwa olw’okubalabirira. Ekyo kyandiraze endowooza ennuŋŋamu. Mu kifo ky’ekyo, bajjukira ebika by’emmere ebingi ebyali mu Misiri era ne beemulugunya nti emaanu yali tewooma. Eyo nga teyali ndowooza nnuŋŋamu!​—Okubala 11:4-6.

2 Mu ngeri y’emu, endowooza y’Omukristaayo leero eyinza okuleetera ebintu okulabika ng’ebirungi oba ebibi. Nga talina ndowooza nnungi, kyangu Omukristaayo okufiirwa essanyu lye, era ekyo kyandibadde kya kabi kubanga nga Nekkemiya bwe yagamba: “Essanyu lya Mukama ge maanyi [gaffe].” (Nekkemiya 8:10) Endowooza ennuŋŋamu, era ey’essanyu etuyamba okutukuuma nga tuli banywevu era etumbula emirembe n’obumu mu kibiina.​—Abaruumi 15:13; Abafiripi 1:25.

3. Endowooza ennungi yayamba etya Yeremiya ng’ali mu biseera ebizibu ennyo?

3 Wadde nga yali mu biseera ebizibu, Yeremiya yayoleka endowooza ennuŋŋamu. Wadde nga yalaba ebyaliwo mu kugwa kwa Yerusaalemi mu 607 B.C.E., yali asobola okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Yakuwa yali tayinza kwerabira Isiraeri, era eggwanga lyandiwonyewo. Yeremiya yawandiika bw’ati mu kitabo ky’Okukungubaga: “Kwe kusaasira kwa Mukama ffe obutamalwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi.” (Okukungubaga 3:22, 23) Mu byafaayo byonna, abaweereza ba Katonda wadde nga babadde mu mbeera enzibu ennyo bafubye okukuuma endowooza ennuŋŋamu era ey’essanyu.​—2 Abakkolinso 7:4; 1 Abasessaloniika 1:6; Yakobo 1:2.

4. Ndowooza ki Yesu gye yalina, era yamuyamba etya?

4 Emyaka 6000 oluvannyuma lw’ekiseera kya Yeremiya, Yesu yayambibwa okugumiikiriza kubanga yalina endowooza ennuŋŋamu. Tusoma tuti: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ga [Yesu] yagumiikiriza omuti ogw’okubonyabonya, ng’anyooma ensonyi, era n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.” (Abaebbulaniya 12:2, NW) Ka kube kuziyizibwa oba kuyigganyizibwa kwa ngeri ki Yesu kwe yalina okwolekagana nakwo​—wadde n’obulumi ku muti ogw’okubonyaboonya​—yassa ebirowoozo bye ku ‘ssanyu eryateekebwa mu maaso ge.’ Essanyu eryo ye yali enkizo y’okulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa n’okutukuza erinnya lye era n’esuubi ery’okuleetera abantu abawulize emikisa egy’ekitalo mu biseera eby’omu maaso.

Koppa Endowooza ey’Okulinda

5. Mbeera ki endowooza ey’okulinda mw’enneetuyambira okubeera n’endowooza entuufu ku nsonga?

5 Singa tukulaakulanya endowooza Yesu gye yalina, tetujja kuggwaamu essanyu lya Yakuwa, wadde ng’ebiseera ebimu ebintu tebibaawo mu ngeri ne mu kiseera mwe tubadde tubisuubira. Nnabbi Mikka yagamba: “Ku bwange naatunuuliranga Mukama; naalindiriranga Katonda ow’obulokozi bwange.” (Mikka 7:7; Okukungubaga 3:21) Naffe tuyinza okulaga endowooza ey’okulinda. Mu ngeri ki? Mu ngeri nnyingi. Engeri emu, tuyinza okuwulira nti ow’oluganda ali mu buyinza akoze ensobi era nti wateekwa okubeerawo ekikolebwa mu bwangu. Endowooza ey’okulinda eggya kutusobozesa okulowooza, ‘Ddala yali mu nsobi, oba nze mpubiisiddwa? Bw’aba nga yali mu nsobi, kyandiba nti Yakuwa akkiriza embeera ezo okubeerawo kubanga alowooza nti omuntu oyo anaalongoosaamu ne kiba nti okukangavvula okw’amaaanyi tekwetaagisa?

6. Endowooza ey’okulinda enneeyamba etya omuntu ayolekaganye n’ekizibu kye?

6 Endowooza ey’okulindirira eyinza okwetaagisa singa tuba n’ekizibu ekyaffe ku bwaffe oba nga twolekaganye n’obunafu obumu. Singa tusaba obuyambi bwa Yakuwa, naye ekizibu ne kisigalawo, twandikoze ki? Tulina okweyongera okukola ekyo kyonna kye tusobola okugonjoola ekizibu era ne tukkiririza mu bigambo bya Yesu: ‘Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, muliraba; mweyanjulenga, muliggulirwawo.’ (Lukka 11:9) Weeyongerenga okusaba, era olindirire Yakuwa. Mu kiseera ekituufu era mu ngeri ye, Yakuwa ajja kuddamu okusaba kwo.​—1 Abasessaloniika 5:17.

7. Endowooza ey’okulinda enneetuyamba etya mu ngeri gye tulabamu okulongoosebwa okw’engeri gye tutegeeramu Baibuli?

7 Nga obunnabbi bw’omu Baibuli bugenda butuukirizibwa, okutegeera kwaffe okw’ebyawandiikibwa kugenda kulongoosebwa. Kyokka, ebiseera ebimu, tuyinza okulowooza nti okulongoosebwa okumu kuludde okukolebwa. Singa tekukolebwa mu kiseera we twandikwagalidde, tuba beetegefu okulinda? Jjukira nti, Yakuwa yalaba nga kisaanidde okubikkula ‘ekyama kya Kristo’ mpolampola mu bbanga lya myaka 4,000. (Abaefeso 3:3-6) Kati olwo, tulinawo ensonga yonna obutaba bagumiikiriza? Tubuusabuusa nti ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ alondeddwa okuwa abantu ba Yakuwa “emmere yaabwe mu kiseera kyayo”? (Matayo 24:45, italiki zaffe) Lwaki twemalako essanyu eriva eri Katonda olw’okuba buli kimu tetukitegeera mu bujjuvu? Jjukira nti, Yakuwa y’asalawo ddi era mu ngeri ki gy’anabikuliramu ‘ekyama kye.’​—Amosi 3:7.

8. Obugumiikiriza bwa Yakuwa bubadde butya obw’omuganyulo eri abangi?

8 Abamu bayinza okuggwaamu amaanyi kubanga balowooza nti oluvannyuma lw’okuweereza emyaka mingi n’obwesigwa, bayinza obutabeerawo okulaba “olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa.” (Yoweeri 2:30, 31) Kyokka, bayinza okuzibwamu amaanyi bwe batunuulira ebintu mu ngeri entuufu. Peetero yabuulirira bw’ati: “Mulowoozenga ng’okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi.” (2 Peetero 3:15) Obugumiikiriza bwa Yakuwa busobozeseza obukadde n’obukadde bw’abantu abalala ab’emitima emirungi okuyiga amazima. Ekyo si kirungi nnyo? Okwongereza ku ekyo, Yakuwa gy’akoma okulaga obugumiikiriza, gye tukoma n’okubeera n’ebiseera ebisingawo ‘okukolerera obulokozi bwaffe n’okutya n’okukankana.’​—Abafiripi 2:12; 2 Peetero 3:11, 12.

9. Singa tubaako ekkomo ku ebyo bye tuyinza okukola mu buweereza bwa Yakuwa, endowooza ey’okulinda enneetuyamba etya okugumiikiriza embeera?

9 Endowooza ey’okulinda etuyamba obutaggwaamu maanyi singa okuziyizibwa, obulwadde, obukadde, oba ebizibu ebirala byonna bitulemesa mu buweereza bwaffe obw’Obwakabaka. Yakuwa atusuubira okumuweereza n’omutima gwonna. (Abaruumi 12:1) Kyokka, Omwana wa Katonda, ‘asaasira abaavu n’abanafu,’ tatusaba kukola bisukka ku ebyo bye tuyinza kukola; wadde ne Yakuwa takola bw’atyo. (Zabbuli 72:13) N’olw’ekyo, tukubirizibwa okukola kye tusobola, nga tulinda n’obugumiikiriza okutuusa ng’embeera zikyuse​—mu mbeera z’ebintu zino oba mu ezo ezijja. Jjukira: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.”​—Abaebbulaniya 6:10.

10. Ngeri ki embi eyinza okwewalibwa oyo alina endowooza ey’okulinda? Nnyonnyola.

10 Endowooza ey’okulinda era etuyamba okwewala okwetulinkiriza. Abamu abafuuse bakyewaggula tebaali beetegefu okulinda. Bayinza okuba nga baalowooza nti waaliwo obwetaavu bw’okukola enkyukakyuka, mu ngeri gye tutegeeramu Baibuli oba mu nsonga ezikwata ku ntegeka. Kyokka, baalemererwa okumanya nti omwoyo gwa Yakuwa guleetera omuddu omwesigwa era ow’amagezi okukola enkyukakyuka mu kiseera Kye ekituufu, so si ffe we tulowooleza nti kyetaagisa. Era enkyukakyuka yonna erina okutuukagana n’ekyo Yakuwa ky’ayagala, so si n’endowooza yaffe. Bakyewaggula bakkiriza endowooza ey’okwetulinkiriza okwonoona endowooza yaabwe era ne kibaleetera okwesittala. Naye singa baali bakoppye endowooza ya Kristo, bandikuumye essanyu lyabwe era ne basigala mu bantu ba Yakuwa.​—Abafiripi 2:5-8.

11. Tuyinza tutya okukozesa ekiseera kye tumala nga tulinda mu ngeri ey’omuganyulo, nga tugoberera byakulabirako by’ani?

11 Kya lwatu, okubeera n’endowooza ey’okulinda tekitegeeza kubeera bagayaavu oba abanafu. Tulina ebintu eby’okukola. Ng’ekyokulabirako, tulina okunyiikira okweyigiriza Baibuli era mu ngeri eyo tulage nti twagala nnyo ebintu eby’eby’omwoyo nga bwe kyali eri bannabbi abeesigwa era ne bamalayika. Ng’ayogera ku kwagala ebintu eby’eby’omwoyo mu ngeri eyo, Peetero agamba: “Eby’obulokozi obwo bannabbi [bye] baanoonyanga [e]nnyo ne b[e]kenneenyanga . . . bamalayika [ebyo] bye beegombanga okulingiza.” (1 Peetero 1:10-12) Tetuteekwa kweyigiriza Baibuli kyokka, naye era n’okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa awamu n’okusaba. (Yakobo 4:8) Abo abalaga nti bamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo nga balya emmere ey’eby’omwoyo obutayosa era nga bakuŋŋaanira wamu ne Bakristaayo bannaabwe bakyoleka nti bakoppye endowooza ya Kristo.​—Matayo 5:3.

Beera n’Endaba Etagudde Lubege

12. (a) Bwetwaze bwa ngeri ki Adamu ne Kaawa bwe baayagala? (b) Kiki ekivudde mu lulyo lw’omuntu okugoberera ekkubo lya Adamu ne Kaawa?

12 Katonda bwe yatonda abantu ababiri abaasooka, yeesigalizza obuyinza obw’okussaawo emitindo egy’obulungi n’obubi. (Olubereberye 2:16, 17) Adamu ne Kaawa baayagala obwetwaze okuva ku bulagirizi bwa Katonda, era ekyo kyavaamu ensi gye tulaba leero. Omutume Pawulo yagamba: “Nga ku bw’omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Emyaka 6000 egy’ebyafaayo by’omuntu okuva mu kiseera kya Adamu gyolese obutuufu bw’ebigambo bya Yeremiya: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) Okukkiriza nti ebigambo bya Yeremiya bituufu tekitegeeza nti tojja kutuuka ku buwanguzi. Oba togudde lubege. Binnyonnyola ebyasa ebyo byonna omuntu ‘w’abeeredde n’obuyinza ku muntu munne olw’okumukolako obubi,’ kubanga abantu bafuze awatali bulagirizi bwa Katonda.​—Omubuulizi 8:9.

13. Ndowooza ki etagudde lubege Abajulirwa ba Yakuwa gye balina ekwata ku ekyo abantu kye bayinza okukola?

13 Okusinziira ku mbeera abantu gye balimu, Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi nti waliwo ekkomo ku ebyo ebiyinza okutuukibwako mu mbeera z’ebintu zino. Endowooza ennuŋŋamu eyinza okutuyamba okukuuma essanyu lyaffe, naye si y’eyinza okugonjoola ebintu byonna. Mu matandika g’emyaka 1950, omukulembeze w’eddiini okuva mu Amereka yakuba ekitabo ekyatunda ennyo ekyali kiyitibwa The Power of Positive Thinking. Ekitabo kyagamba nti ebizibu bingi biyinza okuvvuunukibwa singa obikolako ng’olina endowooza ennuŋŋamu. Endowooza ennuŋŋamu mazima ddala yeegombebwa. Naye ebibaddewo biraga nti okumanya, obukugu, ebintu omuntu by’aba nabyo, awamu n’ensonga endala nnyingi zikugira ekyo ffe ng’abantu kinnoomu kye tusobola okukola. Era ku kigero eky’ensi yonna, ebizibu bya maanyi nnyo ne kiba nti abantu tebasobola kubigonjoolera ddala​—ka babe nga balina endowooza ennuŋŋamu!

14. Abajulirwa ba Yakuwa balina endowooza etali nnuŋŋamu? Nnyonnyola.

14 Olw’okubeera n’endowooza etagudde lubege ku nsonga ng’ezo, Abajulirwa ba Yakuwa oluusi banenyezebwa nti balina endowooza etali nnuŋŋamu. Kyokka, baagala okubuulira abantu ebikwata ku Oyo yekka ayinza okulongoosezza ddala ebizibu by’abantu byonna. Ne mu kino bakoppa endowooza ya Kristo. (Abaruumi 15:2) Era banyiikivu mu kuyamba abantu okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Bakimanyi nti mu nkomerero, kino kijja kuvaamu ebirungi.​—Matayo 28:19, 20; 1 Timoseewo 4:16.

15. Omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gulongoosa gutya obulamu bw’abantu kinnoomu?

15 Abajulirwa ba Yakuwa tebabuusa maaso ebizibu by’abantu​—naddala ebikolwa ebyonoona ebitali bya mu Byawandiikibwa​—ebibeetoolodde. Ng’omuntu ayagala okuyiga amazima tannafuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, akola enkyukakyuka, emirundi mingi ng’alina okuvvuunuka emize egitasanyusa Katonda. (1 Abakkolinso 6:9-11) N’olwekyo Abajulirwa ba Yakuwa bayambye abo abaagala okuyiga okuvvuunuka obutamiivu, okwekamirira amalagala, obugwenyufu, n’okukuba zzaala. Abantu ng’abo abafuuse abalungi bayize okulabirira ab’omu maka gaabwe mu ngeri ey’obuvvuunaanyizibwa era ey’obwesigwa. (1 Timoseewo 5:8) Abantu kinnoomu era n’amaka bwe bayambibwa mu ngeri eno, ebizibu mu bitundu byabwe bikendeera​—abeekamirira amalagala, obukambwe mu maka, n’ebirala ng’ebyo bikendeera. Abajulirwa ba Yakuwa bwe babeera abatuuze abagondera amateeka era ne bayamba abalala okulongoosa obulamu bwabwe, baba bakendeeza ku mirimu gy’abo abakola ku bizibu by’abantu.

16. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tebennyigira mu bibiina by’ensi ebirwanirira okujjawo ebizibu by’abantu?

16 Kati olwo Abajulirwa ba Yakuwa bakyusizza empisa z’abantu mu nsi? Mu myaka ekkumi egiyise, omuwendo gw’Abajulirwa abanyiikivu gweyongera okuva ku 3,800,000 okutuuka kumpi 6,000,000. Okwo kweyongera kw’abantu 2,200,000, bangi ku bo abaalekayo ebikolwa ebitali bya butuukirivu bwe baafuuka Abakristaayo. Obulamu bw’abantu bangi bwalongooka! Wadde kiri kityo, omuwendo guno mutono nnyo bw’ogugeraageranya n’okweyongera kw’abantu mu nsi yonna okubaddewo mu kiseera kye kimu​—875,000,000! Abajulirwa ba Yakuwa bakizudde nga bafuna essanyu bwe bayamba abantu kinnoomu abaagala okuyiga, wadde nga bakimanyi nti batono nnyo okuva mu bantu abanaagoberera ekkubo erituusa mu bulamu. (Matayo 7:13, 14) Ng’Abajulirwa balindirira enkyukakyuka ennungi mu nsi yonna Katonda yekka z’ayinza okukola, tebenyigira mu bibiina by’ensi ebirwanirira okujjawo ebizibu by’abantu, oluusi ebitandika n’ebiruubirirwa ebirungi naye ate mu nkomerero n’ebiremererwa okutuuka ku bigendererwa byabyo kabekasinge ne byenyigira mu bikolwa eby’ettemu.​—2 Peetero 3:13.

17. Kiki Yesu kye yakola okuyamba abantu, naye kiki ky’ataakola?

17 Mu kukola kino, Abajulirwa ba Yakuwa booleka obwesige bwe bumu mu Yakuwa Yesu bwe yalina ng’akyali ku nsi. Emabega mu kyasa ekyasooka, Yesu yakola eby’amagero eby’okuwoonya. (Lukka 6:17-19) Era yazuukiza n’abafu. (Lukka 7:11-15; 8:49-56) Naye teyaggyawo kizibu eky’obulwadde oba okuwangula omulabe okufa. Yamanya nti ekiseera kya Katonda okukola ekyo kyali tekinnatuuka. Nga yeeyambisa obusobozi bwe yalina ng’omuntu atuukiridde, kirabika nga Yesu yandisobodde okukola ekisingawo okugonjoola ebizibu eby’amaanyi mu by’obufuzi ne mu mbeera z’abantu. Kirabika ng’abantu abamu ab’omu kiseera kye baayagala atwale obuyinza era akole ekyo, naye Yesu yagaana. Tusoma tuti: “Abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi. Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n’addayo nate ku lusozi yekka.”​—Yokaana 6:14, 15.

18. (a) Yesu bulijjo alaze atya endowooza ey’okulinda? (b) Omulimu gwa Yesu gukyuse gutya okuva mu 1914?

18 Yesu yagaana okwenyigira mu by’obufuzi oba mu nteekateeka z’okukola ku bizibu by’abantu kubanga yamanya nti ekiseera kye eky’okutwala obuyinza nga Kabaka era n’okuwonya buli omu kyali tekinnatuuka. Era n’oluvannyuma lw’okulinnya mu ggulu mu bulamu bw’omwoyo obw’obutafa, yali mwetegefu okulindirira ekiseera kya Yakuwa ekigereke olwo alyoke abeeko ky’akola. (Zabbuli 110:1; Ebikolwa 2:34, 35) Kyokka, okuva lwe yatuuzibwa ku ntebe nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda mu 1914, abadde “agenda awangula era awangule.” (Okubikkulirwa 6:2; 12:10) Nga tuli basanyufu okugondera obwakabaka bwe, wadde ng’abalala abeeyita Abakristaayo balondawo okubuusa amaaso enjigiriza za Baibuli ezikwata ku Bwakabaka!

Okulinda​—Kumalamu Amaanyi oba Kuleeta Essanyu?

19. Ddi okulinda lwe ‘kulwazza omutima,’ era ddi lwe kuleeta essanyu?

19 Sulemaani yakimanya nti okulinda kuyinza okumalamu amaanyi. Yawandiika: “Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme.” (Engero 13:12) Mazima ddala, singa omuntu abeera n’essuubi eritali ku musingi munywevu, omutima guyinza okulwala singa ky’asuubira tekituukirira. Kyokka, okulindirira ebintu eby’essanyu​—nga embaga y’obugole, oba okuzaalibwa kw’omwana, oba okugattibwa awamu nate n’abaagalwa baffe​—kiyinza okutuleetera essanyu wadde ng’esigaddeyo ekiseera kiwanvu olunaku olwo lutuuke. Essanyu eryo lyeyongerako singa ekiseera kye tumala nga tulindirira kikozesebwa n’amagezi, nga twetegekera ekintu ekyo ekigenda okubaawo.

20. (a) Bintu ki eby’ekitalo bye tusuubira okulaba? (b) Tuyinza tutya okufuna essanyu nga tulindirira ebigendererwa bya Yakuwa okutuukirizibwa?

20 Bwe tubeera n’obwesige obujjuvu nti bye tusuubira bijja kutuukirizibwa​—wadde nga tetumanyi ddi lwe binaatuukirizibwa​—ekiseera eky’okulinda tekyandireetedde ‘mutima kulwala.’ Abasinza ba Katonda abeesigwa bakimanyi nti obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi buli kumpi. Balina obwesige nti bajja kulaba enkomerero y’okufa n’obulwadde. N’okwesunga okw’amaanyi balindirira ekiseera ekyo lwe banaayaniriza obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu okuva mu bafu, nga mw’otwalidde n’abaagalwa baabwe abaafa. (Okubikkulirwa 20:1-3, 6; 21:3, 4) Mu biseera bino eby’okwonoona obutonde, bakakafu nti bajja kulaba Olusuku lwa Katonda nga luzziddwawo ku nsi. (Isaaya 35:1, 2, 7) N’olwekyo, nga kya magezi okukozesa ekiseera ky’omala ng’olinda n’amagezi, ‘nga weeyongera bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe’! (1 Abakkolinso 15:58) Weeyongerenga okulya emmere ey’eby’omwoyo. Kulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Noonya abo abakubirizibwa emitima gyabwe okuweereza Yakuwa. Zzaamu amaanyi bakkiriza banno. Kozesa mu bujjuvu ekiseera kyonna Yakuwa ky’anakkiriza okubaawo. Olwo nno, okulindirira Yakuwa tekujja kuleetera ‘mutima gwo okulwala.’ Wabula, kujja kukuleetera essanyu!

Oyinza Okunnyonnyola?

• Yesu yalaga atya endowooza ey’okulinda?

• Mu mbeera ki Abakristaayo mwe beetaagira endowooza ey’okulinda?

• Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bamativu okulindirira Yakuwa?

• Okulindirira Yakuwa kuyinza kutya okuleeta essanyu?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]

Yesu yagumiikiriza olw’essanyu erya teekebwa mu maaso ge

[Ekifaananyi ebiri ku lupapula 24]

Wadde nga tuweerezza emyaka mingi, tusobola okukuuma essanyu lyaffe

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Obukadde n’obukadde bw’abantu balongooseza obulamu bwabwe nga bafuuse Abajulirwa ba Yakuwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share