EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUKUNGUBAGA 1-5
Lindirira n’Obugumiikiriza
Kiki ekyayamba Yeremiya okugumiikiriza wadde nga yali ayigganyizibwa nnyo?
Yali mukakafu nti Yakuwa ‘yandikutamye’ n’ayamba abantu be abaali babonaabona
Yali yayiga “okwetikka ekikoligo ng’akyali muvubuka.” Omuntu bw’ayiga okugumira ebintu ebigezesa okukkiriza kwe ng’akyali muvubuka, kimuyamba okugumira ebizibu mu biseera eby’omu maaso