Okugula Ebiseera eby’Okusoma n’Okuyiga
“[Mwegulirenga] ebbanga [“ebiseera,” “NW”], kubanga ennaku zino mbi.”—ABAEFESO 5:16.
1. Lwaki kya magezi ffe okugabanyamu ebiseera byaffe, era engeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe eyoleka ki ekitukwatako?
KIGAMBIBWA nti “bw’otegekawo ebiseera, toyonoona biseera.” Omuntu ategekawo ebiseera okukola ebintu ebyetaagisa emirundi mingi aganyulwa ekisingawo okuva mu biseera bye. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yawandiika: “Buli kintu kirina ekiseera kyakyo ekigereke, waliwo ekiseera ekya buli kintu wansi w’eggulu.” (Omubuulizi 3:1, Moffatt) Fenna tulina ebiseera bye bimu; era kiri eri ffe ku ngeri gye tubikozesaamu. Engeri gye tulondawo bye tutwala ng’ebikulu era n’engeri gye tugabanyamu ebiseera byaffe, kyoleka ekisinga okuba eky’omuwendo mu mutima gwaffe.—Matayo 6:21.
2. (a) Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, kiki Yesu kye yayogera ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo? (b) Kwekenneenya kwa ngeri ki kwe tusaanidde okukola?
2 Tuteekeddwa okuwaayo ebiseera okulya n’okwebaka kubanga bino byetaago eby’omubiri. Naye kiri kitya eri ebyetaago byaffe eby’eby’omwoyo? Tumanyi nti nabyo biteekwa okukolebwako. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba: “Balina essanyu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.” (Matayo 5:3, NW) Eyo y’ensonga lwaki ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ atujjukiza buli kiseera obukulu bw’okuwaayo ebiseera okusoma Baibuli n’okuyiga. (Matayo 24:45) Oyinza okumanya nti ekyo kikulu nnyo, naye oyinza okulowooza nti tolina biseera kuyiga oba okusoma Baibuli. Bwe kiba bwe kityo, ka twekenneenye engeri mwe tuyinza okufunira ebiseera ebisingawo mu bulamu bwaffe okusoma Ekigambo kya Katonda, okusobola okuyiga n’okufumiitiriza.
Okufuna Ebiseera eby’Okusoma n’Okuyiga Baibuli
3, 4. (a) Kubuulirira ki omutume Pawulo kwe yawa ku bikwata ku kukozesa ebiseera byaffe, era kino kitwaliramu ki? (b) Pawulo yali ategeeza ki bwe yatubuulirira ‘okwegulira ebiseera’?
3 Olw’ebiseera bye tulimu, fenna twetaaga okugoberera ebigambo bya Pawulo: “Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng’abatalina magezi, naye ng’abalina amagezi; nga mweguliranga ebbanga [“ebiseera” NW], kubanga ennaku zino mbi. Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky’ayagala bwe kiri.” (Abaefeso 5:15-17) Kya lwatu okubuulirira kuno kukwata ku mbeera zaffe zonna ez’obulamu bwaffe ng’Abakristaayo abeewaddeyo, nga mw’otwalidde n’okufuna ekiseera eky’okusaba, okuyiga, okubaawo mu nkuŋŋaana, era n’okwenyigira ennyo nga bwe kisoboka mu kubuulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka.’—Matayo 24:14; 28:19, 20.
4 Abaweereza ba Yakuwa bangi leero kirabika balina obuzibu mu kufuna ebiseera eby’okusoma Baibuli n’okuyiga mu bulamu bwabwe. Kya lwatu tetuyinza kwongera ku buwanvu bw’ebiseera byaffe, n’olwekyo okubuulirira kwa Pawulo kuteekwa okuba nga kutegeeza kintu kirala. Mu Luyonaani, ebigambo “okugula ebiseera” bitegeeza okugula ng’olina ekintu ekirala kye weefiiriza. Mu kitabo kye ekiyitibwa Expository Dictionary, W. E. Vine abiwa amakulu ga “okukozesa buli mukisa gwonna gw’ofuna obulungi nga bw’osobola, ng’ogukozesa mu ngeri ey’omuganyulo okuva bw’otoyinza kufuna mukisa gw’oyonoonye.” Okuva ku ki oba kuva wa, we tuyinza okugula ebiseera eby’okusoma n’okuyiga Baibuli?
Tuteekwa Okumanya Bye Tuteekwa Okukulembeza
5. Lwaki era mu ngeri ki mwe tuyinza ‘okusiima ebintu ebisinga obukulu’?
5 Ng’oggyeko obuvunaanyizibwa obulala bwe tulina, tulina obuvunaanyizibwa bungi obw’eby’omwoyo bwe tulina okutuukiriza. Ng’abaweereza ba Yakuwa abeewaddeyo, tulina “bingi eby’okukola mu mulimu gwa Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 15:58, NW) Olw’ensonga eno, Pawulo yalagira Abakristaayo mu Firipi ‘okusiima ebintu ebisinga obukulu.’ (Abafiripi 1:10) Kino kitegeeza nti tuteekwa okumanya bye tuteekwa okukulembeza. Ebintu eby’eby’omwoyo bye bisaanidde okukulembera eby’obugagga. (Matayo 6:31-33) Kyokka, kyetaagisa obutagwa lubege mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’eby’omwoyo. Tugabanyamu tutya ebiseera byaffe okukola ebintu eby’enjawulo mu bulamu bwaffe obw’Ekikristaayo? Abalabirizi abatambula bawa lipoota nti mu ‘bintu ebisinga obukulu’ Omukristaayo by’asaanidde okukola, okuyiga, n’okusoma Baibuli bitera okulagajjalirwa.
6. Okugula ebiseera kitwaliramu ki bwe kituuka ku mirimu gye tukola oba egy’awaka?
6 Nga bwe tulabye, okugula ebiseera kizingiramu “okukozesa buli mukisa gw’ofuna obulungi nga bw’osobola” era “ng’ogukozesa mu ngeri ey’omuganyulo.” Bwe kityo, singa engeri zaffe ez’okusoma n’okuyiga Baibuli si nnungi, kyandibadde kya magezi okwekebera okulaba engeri ebiseera byaffe gye tubikozesaamu. Singa emirimu gyaffe gitwetaagisa bingi, nga gitwala ebiseera byaffe bingi n’amaanyi, twandikitadde mu kusaba eri Yakuwa. (Zabbuli 55:22) Tuyinza okusobola okukola enkyukakyuka ezanditusobozesezza okufuna ebiseera ebisingawo okukola ebintu ebikulu ebikwata ku kusinza kwa Yakuwa, nga mw’otwalidde okuyiga n’okusoma Baibuli. Kigambibwa nti emirimu gy’abakazi tegigwaawo. N’olwekyo, bannyinaffe Abakristaayo basaanidde okumanya bye bateekwa okukulembeza era bategekewo ebiseera eby’okusoma n’okuyiga Baibuli.
7, 8. (a) Ebiseera eby’okusoma n’okuyiga tuyinza kubigula kuva ku bintu ki? (b) Ekigendererwa ky’okwesanyusaamu kye kiruwa, era okujjukira kino kiyinza kitya okutuyamba okumanya bye tulina okukulembeza?
7 Okutwalira awamu, abasinga obungi ku ffe tuyinza okugula ebiseera eby’okuyiga nga twefiiriza ebintu ebitali bikulu. Tuyinza okwebuuza, ‘Mala biseera byenkana wa nga nsoma magazini z’ensi oba empapula z’amawulire, nga ndaba ttivvi, nga mpuliriza ennyimba, oba nga nzannya emizannyo ku vidiyo? Mmala ebiseera bingi ku kompyuta okusinga bye mala nga nsoma Baibuli? Pawulo agamba: “Temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky’ayagala bwe kiri.” (Abaefeso 5:17) Okulaba ttivvi mu ngeri etasaanidde kirabika y’ensonga emu enkulu lwaki Abajulirwa bangi tebawaayo biseera bimala okuyiga n’okusoma Baibuli.—Zabbuli 101:3; 119:37, 47, 48.
8 Abamu bayinza okugamba nti tebasobola kuyiga kiseera kyonna, era nti beetaaga ebiseera okwesanyusaamu. Wadde kino kituufu, kiyinza okuba ekirungi okwekkaanya ebiseera bye tumala nga twesanyusaamu era ne tubigeraageranya n’ebiseera bye tumala nga tuyiga oba nga tusoma Baibuli. Ky’onoozuula kiyinza okukwewuunyisa. Wadde okwesanyusaamu n’okuwummula byetaagisa, biteekwa okuteekebwa mu kifo kyabyo ekisaanidde. Ekigendererwa kyabyo kwe kutuzzaamu endasi tusobole okwenyigira mu mirimu egy’eby’omwoyo. Programu nnyingi ku ttivvi n’emizanyo ku vidiyo bikooya nnyo omuntu, ng’ate okusoma n’okuyiga Ekigambo kya Katonda kizzaamu endasi n’amaanyi.—Zabbuli 19:7, 8.
Engeri Abamu gye Bafuna Ebiseera Okuyiga
9. Miganyulo ki egiri mu kugoberera amagezi agali mu katabo Examining the Scriptures Daily—1999?
9 Ennyanjula y’omu katabo Examining the Scriptures Daily aka 1999 egamba: “Kyandibadde kya muganyulo nnyo okwekenneenya ekyawandiikibwa eky’olunaku n’ebikyogerako mu katabo kano buli ku makya. Ojja kuwulira nga Yakuwa, Omuyigiriza ow’Ekitalo, ng’akuzuukusa n’okuyigiriza kwe. Yesu Kristo ayogerwako mu bunnabbi ng’aganyulwa mu kuyigiriza kwa Yakuwa buli ku makya: ‘[Yakuwa] azuukusa buli lukya, azuukusa okutu kwange okuwulira ng’abo abayigirizibwa.’ Okuyigiriza ng’okwo kwawa Yesu ‘olulimi lw’abo abayigirizibwa’ asobole ‘okumanya engeri y’okugumya oyo akooye n’ebigambo.’ (Is. 30:20; 50:4; Mat. 11:28-30) Bw’ozuukusibwa n’okubuulirira okutuukirawo okuva mu Kigambo kya Katonda buli lukya tekijja kukuyamba kwaŋŋanga bizibu byo byokka naye era kijja kukusobozesa okubeera ‘n’olulimi lw’abo abayigirizibwa’ osobole okuyamba abalala.”a
10. Abamu bafuna batya ebiseera okusoma Baibuli n’okuyiga, era miganyulo ki egivaamu?
10 Abakristaayo bangi bagoberera amagezi gano nga basoma ekyawandiikibwa eky’olunaku n’ebikyogerako era nga basoma Baibuli oba nga bayiga ku makya. Mu Bufalansa, payoniya omu omwesigwa azuukuka buli nkya n’awaayo eddakiika 30 okusoma Baibuli. Kiki ekimusobozesezza okukola kino emyaka bwe gizze giyitawo? Agamba: “Nkubirizibwa nnyo okuva mu nda yange, era nywerera ku nteekateeka yange ey’okusoma Baibuli!” Ka tube nga tusazeewo kusoma kiseera ki mu lunaku, ekikulu kwe kunywerera ku nteekateeka yaffe. René Mica aweerezza nga payoniya emyaka egisukka mu 40 mu Bulaaya, ne Afirika ow’omu Bukiika Kkono, agamba: “Okuva mu 1950 kibadde kiruubirirwa kyange okusoma Baibuli yonna buli mwaka, ekintu kye nkoze kati emirundi 49. Mpulira nti kino kikulu nnyo okusobola okukuuma enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi wange. Okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kinnyamba okutegeera obwenkanya bwa Yakuwa n’engeri ze endala mu ngeri esingawo era kunsobozesezza okufuna amaanyi mangi.”b
“Emmere mu Kiseera Kyayo”
11, 12. (a) “Emmere” ey’eby’omwoyo egabiddwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ y’eruwa? (b) “Emmere” egabiddwa etya mu kiseera kyayo?
11 Nga enkola ennungi ey’okulya bw’ekusobozesa okubeera omulamu obulungi, enteekateeka ey’okuyiga n’okusoma Baibuli obutayosa ekusobozesa okubeera omulamu obulungi mu by’omwoyo. Mu Njiri ya Lukka, tusoma ebigambo bya Yesu bino: “Ani oyo omuwanika omwesigwa ow’amagezi, mukama we gw’alisigira ab’omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw’emmere mu kiseera kyayo?” (Lukka 12:42) Okumala emyaka egisukka mu 120 kati, ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo’ egabiddwa okuyitira mu Omunaala gw’Omukuumi, ne mu bitabo ebirala ebyesigamiziddwa ku Baibuli.
12 Weetegereze ebigambo mu “kiseera kyayo.” Mu kiseera ekituufu, ‘Omuyigiriza waffe ow’Ekitalo,’ Yakuwa, ng’ayitira mu Mwana we n’ekibiina ky’omuddu, awadde abantu be obulagirizi mu nsonga ez’enjigiriza n’empisa. Kibadde nga ffenna awamu abawulidde eddoboozi eritugamba nti: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.” (Isaaya 30:20, 21) Ate era, abantu bwe basoma n’obwegendereza Baibuli n’ebitabo byonna ebyesigamiziddwa ku Baibuli, batera okubeera n’endowooza nti ebirowoozo ebibaamu biba bibakwatako bo bennyini. Yee, okubuulirira okuva eri Katonda kujja kujja mu kiseera ekituufu, kitusobozese okuziyiza okukemebwa oba n’okusalawo n’amagezi.
Kulaakulanya Engeri Ennungi ez’Okulya
13. Engeri ezimu embi ez’eby’omwoyo ez’okulya ze ziruwa?
13 Okuganyulwa mu bujjuvu okuva mu ‘mmere’ ng’eyo egabibwa mu kiseera kyayo, twetaaga okubeera n’engeri ennungi ez’okulya. Kikulu okubeera n’enteekateeka ey’okusoma Baibuli n’okuyiga era n’okuginywererako. Olina engeri ennungi ez’eby’omwoyo ez’okulya era n’ebiseera eby’okuyiga? Oba oyita buyisi mu bintu bye batutegekedde n’obwegendereza, ng’olya mangu mangu, oba ng’osubwa n’ebijjulo ebimu? Engeri embi ez’eby’omwoyo ez’okulya zireetedde abamu okunafuwa mu kukkiriza—n’okuva mu mazima.—1 Timoseewo 1:19; 4:15, 16.
14. Lwaki kya muganyulo okwekenneenya ebintu bye tumanyi?
14 Abamu bayinza okulowooza nti bamanyi enjigiriza ezisookerwako era nti si buli kitundu ekibaamu ekintu ekippya. N’olwekyo, okuyiga n’okubaawo mu nkuŋŋaana tebyetaagisa. Kyokka, Baibuli eraga nti twetaaga okujjukizibwa ebintu bye twayiga edda. (Zabbuli 119:95, 99; 2 Peetero 3:1; Yuda 5) Ng’omufumbi omulungi bw’afumba emmere y’emu mu ngeri ey’enjawulo n’ewooma, ekibiina ky’omuddu kituwa emmere ey’eby’omwoyo mu ng’eri ez’enjawulo. Ne mu bitundu ebyogera ku mitwe egyayogerwako edda, mubaamu ensonga ennungi ze tutandyagadde kusubwa. Ekituufu kiri nti kye tuganyulwa mu bye tusoma kyesigamye nnyo ku biseera bye tuwaayo n’engeri gye tufubamu nga tuyiga.
Emiganyulo egy’Eby’Omwoyo Egiva mu Kusoma n’Okuyiga
15. Okusoma n’okuyiga Baibuli bituyamba bitya okubeera abaweereza b’Ekigambo kya Katonda abalungi?
15 Emiganyulo gye tufuna mu kusoma n’okuyiga Baibuli mingi nnyo. Tuyambibwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obukulu obw’Ekikristaayo, kwe kugamba, nti ffe kinnoomu okufuuka “omukozi atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.” (2 Timoseewo 2:15, NW) Gye tukoma okusoma n’okuyiga Baibuli, ebirowoozo byaffe gye bikoma okujjula ebirowoozo bya Katonda. Olwo nno, okufaananako Pawulo, tujja kusobola ‘okukubaganya ebirowoozo n’abantu okuva mu Byawandiikibwa, nga tunnyonnyola era nga tujuliza’ ku mazima ag’ekitalo ag’ebigendererwa bya Yakuwa. (Ebikolwa 17:2, 3, NW) Obukugu bwaffe mu kuyigiriza bujja kweyongera, era emboozi zaffe n’okubuulirira bijja kuba nga bizimba mu by’omwoyo mu ngeri esingawo.—Engero 1:5.
16. Mu ngeri ki ffe kinnoomu mwe tuganyulwa okuva mu kusoma n’okuyiga Ekigambo kya Katonda?
16 Okugatta ku ekyo, ebiseera bye tuwaayo okwekenneenya Ekigambo kya Katonda bijja kutusobozesa okutuukanya obulamu bwaffe mu ngeri esingawo n’amakubo ga Yakuwa. (Zabbuli 25:4; 119:9, 10; Engero 6:20-23) Bijja kunyweza engeri zaffe ez’eby’omwoyo, gamba ng’obwetoowaze, obwesigwa, n’essanyu. (Ekyamateeka 17:19, 20; Okubikkulirwa 1:3) Bwe tukozesa okumanya kwe tufuna mu kusoma n’okuyiga Baibuli, tufuna omwoyo gwa Katonda mu bulamu bwaffe, ne kivaamu okwoleka ebibala eby’omwoyo mu byonna bye tukola.—Abaggalatiya 5:22, 23.
17. Okusoma n’okuyiga Baibuli bikwata bitya ku nkolagana yaffe ne Yakuwa?
17 Ekisingawo n’obukulu, ekiseera kye tugula okuva mu bintu ebirala tusobole okusoma n’okuyiga Ekigambo kya Katonda kijja kutuganyula nnyo ku bikwata ku nkolagana yaffe ne Katonda. Pawulo yasaba nti Bakristaayo banne ‘bajjuzibwe okumanya okutuufu okw’ebyo Katonda by’ayagala mu magezi gonna n’okutegeera okw’eby’omwoyo, batambule mu ngeri esaanira mu maaso ga Yakuwa okusobola okumusanyusa.’ (Abakkolosaayi 1:9, 10, NW) Mu ngeri y’emu, naffe okusobola ‘okutambula mu ngeri esaanira mu maaso ga Yakuwa,’ tuteekwa ‘okujjuzibwa okumanya okutuufu okw’ebyo by’ayagala mu magezi gonna n’okutegeera okw’eby’omwoyo.’ Kya lwatu nti, ffe okufuna emikisa gya Yakuwa n’okusiimibwa kwe kyesigamye nnyo ku kusoma Baibuli n’okuyiga.
18. Mikisa ki gye tuyinza okufuna singa tugoberera ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 17:3?
18 “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe, Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Ekyo kye kimu ku byawandiikibwa ebikozesebwa ennyo Abajulirwa ba Yakuwa okuyamba abalala okusiima obukulu bw’okuyiga Ekigambo kya Katonda. Mazima ddala kikulu nnyo buli omu ku ffe okukola bw’atyo. Essuubi lyaffe ery’okubaawo emirembe gyonna lyesigamye nnyo ku kukula mu kumanya okukwata ku Yakuwa n’Omwana we, Yesu Kristo. Era lowooza ekyo kye kitegeeza. Tewagenda kubaawo kkomo ku kuyiga ebikwata ku Yakuwa—era wajja kubaawo ebiseera ebitakoma eby’okumuyigako!—Omubuulizi 3:11; Abaruumi 11:33.
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.
b Laba ekitundu “Lwe Bagisoma n’Engeri gye Baganyulwamu,” ekyakubibwa mu The Watchtower aka Maayi 1, 1995, empapula 20-1.
Ebibuuzo Eby’Okwejjukanya
• Kiki ekyeyoleka okuva ku ngeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe?
• Tuyinza okugula ebiseera eby’okusoma n’okuyiga Baibuli kuva ku bintu ki?
• Lwaki twandyegenderezza engeri zaffe ez’eby’omwoyo ez’okweriisa?
• Miganyulo ki egiva mu kusoma n’okuyiga Ebyawandiikibwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Obutayosa kusoma n’okuyiga Baibuli kijja kutusobozesa ‘okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima’
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]
Obutagwa lubege nga tukola ebintu ebirala ng’eno bwe tutuukiriza ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo kivaamu emiganyulo mingi