LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 7/15 lup. 25-28
  • Yamba Abaana Bo Okwagala Okusoma n’Okwesomesa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yamba Abaana Bo Okwagala Okusoma n’Okwesomesa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okwagala Kwo n’Ekyokulabirako Kyo
  • Bayambe Okwagala Okusoma
  • Okusoma kwa Muganyulo era Kuleeta Essanyu
  • Omuganyulo Ogusingayo
  • Nyiikirira Okusoma
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Oyinza Otya Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Okusoma Baibuli—Kuganyula era Kuleeta Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Okugula Ebiseera eby’Okusoma n’Okuyiga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 7/15 lup. 25-28

Yamba Abaana Bo Okwagala Okusoma n’Okwesomesa

OKUYAMBA abaana okuyiga okusoma n’okwesomesa y’emu ku ngeri gy’oyinza okubateekerateekera obulungi ebiseera byabwe eby’omu maaso, era ekyo kibaleetera essanyu lingi. Ekimu ku bintu bangi kye bajjukira kye ky’okuba nti bazadde baabwe baabasomeranga nga bakyali bato. Okusoma kunyuma nnyo era kuvaamu emiganyulo mingi. Bwe kityo bwe kiri naddala eri abaweereza ba Katonda, okuva bwe kiri nti okusoma Baibuli kiyamba nnyo omuntu okusobola okukula mu by’omwoyo. Omuzadde omu Omukristaayo yagamba nti, “Ebintu bye tusinga okutwala nga bya muwendo birina akakwate n’okusoma awamu n’okwesomesa.”

Abaana bo bwe bayiga okwesomesa, kisobola okubayamba okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. (Zab. 1:1-3, 6) Wadde ng’okuyiga okusoma si kye kyetaagisa omuntu okusobola okufuna obulokozi, Baibuli eraga nti okusoma kutuganyula nnyo mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, Okubikkulirwa 1:3 wagamba nti: “Alina essanyu oyo asoma mu ddoboozi eriwulikika ebigambo by’obunnabbi buno.” Ate era, n’ebigambo by’omutume Pawulo eri Timoseewo biraga nti kikulu nnyo okussaayo omwoyo nga tusoma. Yamugamba nti: “Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.”​—1 Tim. 4:15.

Kya lwatu nti omuntu okuba n’obusobozi obw’okusoma n’okwesomesa ku bwakyo tekitegeeza nti ajja kubuganyulwamu. Bangi abalina obusobozi obwo tebabukozesa bulungi; basalawo okwemalira ku bintu ebitali bikulu. Kati olwo abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukozesa obusobozi obwo mu ngeri eneebaganyula?

Okwagala Kwo n’Ekyokulabirako Kyo

Abaana banyumirwa okusoma singa baba bakwatiddwa mu ngeri ey’okwagala. Omukristaayo ayitibwa Owen ne mukyala we Claudia, boogera bwe bati ku baana baabwe ababiri: “Beesunganga nnyo ekiseera eky’okusoma kubanga kyabanga kiseera kya njawulo​—baawuliranga bulungi.” Abaana ne bwe bagenda bavubuka, embeera ennungi ebeerawo mu kusoma kw’amaka ekola kinene nnyo ku ngeri gye batwalamu okwesomesa. Abaana ba Owen ne Claudia kati baweereza nga bapayoniya era bakyeyongera okuganyulwa mu kuba nti bazadde baabwe baabayigiriza okusoma n’okwesomesa.

Ekintu ekirala ekikulu ennyo kwe kubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Abaana abatera okulaba bazadde baabwe nga basoma era nga beesomesa nabo batera okutwala ebintu ebyo ng’ebikulu ennyo. Naye ggwe ng’omuzadde oyinza otya okuteekawo ekyokulabirako bwe kiba nti okusoma tekukwanguyira? Kiyinza okukwetaagisa okukyusa endowooza gy’olina ku kusoma. (Bar. 2:21) Abaana bo bwe bakulaba ng’osoma buli lunaku, ekyo kijja kubakwatako nnyo. Bw’ofuba okusoma Baibuli, okweteekerateekera enkuŋŋaana n’okusoma kw’amaka, kijja kulaga abaana bo nti ebintu ebyo bikulu.

N’olwekyo, okwagala kwo n’ekyokulabirako ky’oteekawo bikola kinene nnyo mu kuyamba abaana bo okwagala okusoma. Naye ekyo osobola kukikola otya?

Bayambe Okwagala Okusoma

Oyinza kukola ki okuyamba abaana bo okwagala okusoma? Bafunire ebitabo nga bakyali bato. Omukadde omu Omukristaayo, bazadde be gwe baayamba okwagala okusoma ng’akyali muto, agamba nti: “Yamba abaana bo okuyiga okukwata obulungi ebitabo. Mu ngeri eyo, bajja kwagala nnyo ebitabo era bajja kubitwala ng’ekintu ekikulu mu bulamu.” Abaana bangi baba baagala nnyo ebitabo ebinnyonnyola Baibuli, gamba nga Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli ne Learn From the Great Teacher, okuviira ddala nga bakyali bato nga tebannaba na kuyiga kusoma. Bw’osoma ebitabo ng’ebyo n’abaana bo, kibayamba okuyiga olulimi, “ebintu eby’omwoyo n’ebigambo eby’omwoyo.”​—1 Kol. 2:13.

Somanga mu ddoboozi eriwulikika. Gifuule mpisa yo okusoma n’abaana bo buli lunaku. Bw’okola bw’otyo kijja kuyamba abaana bo okuyiga okwatula obulungi ebigambo era kibayambe okwagala okusoma. Kikulu nnyo okufaayo ku ngeri gy’osomamu. Abaana bo bwe bakiraba nti osoma n’ebbugumu nabo bajja kukola kye kimu. Mu butuufu, bayinza n’okwagala obasomere ekitundu ky’oba obasomedde emirundi n’emirundi. Kola nga bwe baagala! Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, bajja kwagala okumanya ebintu ebipya. Kyokka weewale okukaka abaana bo okusoma. Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi ng’ayigiriza abo abaabanga bamuwuliriza “nga bwe baayinzanga okutegeera.” (Mak. 4:33) Singa tokaka baana bo kusoma, bajja kwesunga nnyo ekiseera eky’okusoma, era ojja kusobola okubayamba okwagala okusoma.

Bayambe okwenyigiramu, era mukubaganye ebirowoozo ku bintu by’obasomera. Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, abaana bo abato bajja kuba basobola okwatula n’okutegeera amakulu g’ebigambo, era ekyo kijja kukuleetera essanyu. Okukubaganya ebirowoozo nabo ku bintu by’obasomera kijja kubaganyula nnyo. Ekitabo ekimu ekyogera ku ngeri y’okuyambamu abaana okuyiga okusoma obulungi kiraga nti okukubaganya ebirowoozo kiyamba abaana ‘okuyiga ebigambo oluvannyuma bye bajja okwetaaga okutegeera nga basoma. Abaana bwe bagenda bakula, okwogera nabo ku bintu ebizimba kibaganyula nnyo.’

Saba abaana bo bakusomere, era bakubirize okubuuza ebibuuzo. Oyinza okusalawo okubabuuza ebibuuzo era n’obawa eby’okuddamu ebitali bimu balondeko ekituufu. Ekyo kijja kuyamba abaana bo okukimanya nti mu bitabo mulimu eby’okuyiga bingi era nti ebintu bye basoma birimu amakulu. Enkola eno ya muganyulo nnyo naddala bwe muba nga bye musoma byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, ekitabo ekisingayo okuba eky’omuganyulo.​—Beb. 4:12.

Kyokka teweerabira nti okusoma si kintu kyangu. Kitwala ebbanga era kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okuyiga okusoma obulungi.a N’olwekyo, teweerabiranga kwebaza baana abato abafuba okuyiga okusoma. Bw’okola ekyo, kijja kuyamba abaana bo okwagala okusoma.

Okusoma kwa Muganyulo era Kuleeta Essanyu

Abaana bwe bayiga okwesomesa, kifuula okusoma kwabwe okw’amakulu. Okwesomesa kizingiramu okwetegereza ebyo ebiba bisomebwa n’okulaba engeri gye bikwataganamu. Kiba kyetaagisa okuba n’obusobozi obw’okusengeka, okujjukira, n’okukozesa ebyo ebiba bisomeddwa. Omwana bw’ayiga okwesomesa era n’atandika n’okulaba omugaso oguli mu ebyo by’asoma, okusoma kufuuka kwa muganyulo gy’ali era kumuleetera essanyu.​—Mub. 10:10.

Bayigirize ebintu ebinaabayamba okwesomesa. Osobola okukozesa ebintu gamba ng’akawungeezi k’Okusinza kw’Amaka n’okusoma ekyawandiikibwa ekya buli lunaku okuyamba abaana bo okuyiga okwesomesa. Okutuula nga bateredde bulungi okumala akaseera nga baliko ensonga gye bayigako kijja kubayamba okuyiga okussaayo omwoyo, ekintu ekikulu ennyo mu kuyiga. Ate era, oyinza okusaba mutabani wo akubuulire engeri ebyo bye yaakayiga gye bikwataganamu n’ebyo by’abadde amanyi. Kino kimuyamba okuyiga okugeraageranya. Oba oyinza okusaba muwala wo okuwumbawumbako mu bigambo bye ebintu bye mwakamala okusoma. Kino kijja kumuyamba okubitegeera obulungi n’okubijjukira. Okwejjukanya oluvannyuma lw’okusoma ekitundu, kiyamba abaana okujjukira ensonga enkulu. N’abaana abato nabo bayinza okukubirizibwa okubaako bye bawandiika nga musoma oba nga muli mu nkuŋŋaana. Ekyo kibayamba okussaayo omwoyo. Ebintu ng’ebyo bifuula okusoma okunyuvu era okw’omuganyulo gy’oli n’eri abaana.

Teekawo embeera ennungi. Okusomera mu kifo awali empewo n’ekitangaala ebimala era nga wasirifu bulungi, kiyamba abaana okussaayo omwoyo. Kyokka engeri abazadde gye batwalamu okusoma nayo nkulu. Maama omu agamba nti: “Kikulu nnyo okulaba nti temwosa kusomera wamu ng’amaka. Kino kiyamba abaana bo okuyiga okweteekateeka obulungi. Bayiga okukolera ebintu mu budde.” Abazadde abamu tebakkiriza kintu kirala kyonna kukolebwa mu kiseera kya kusoma. Okusinziira ku mukugu omu, okukola kino kiyamba abaana okuyiga ekyo kye balina okukola okusobola okwesomesa obulungi.

Laga omuganyulo oguli mu bintu bye musoma. N’ekisembayo, yamba abaana bo okulaba omuganyulo oguli mu bintu bye musoma. Bwe balaba engeri gye bayinza okukozesa ebyo bye bayiga kibayamba okulaba omuganyulo oguli mu kwesomesa. Ow’oluganda omu akyali omuvubuka agamba nti: “Bwe siraba ngeri gye nnyinza kukozesaamu bintu bye nsoma, tekinyanguyira kubisoma. Naye bwe ndaba engeri gye nnyinza okubikozesaamu, mba njagala nnyo okubisoma.” Abaana bwe balaba omuganyulo oguli mu kwesomesa, nabo bajja kwagala okukikola. Bajja kutandika okunyumirwa okwesomesa nga bwe banyumirwa okusoma.

Omuganyulo Ogusingayo

Waliwo emiganyulo mingi nnyo egiva mu kuyamba abaana bo okwagala okusoma. Egimu ku miganyulo egyo mwe muli okuba nti kibayamba nga bali ku ssomero, ku mirimu, mu nkolagana yaabwe n’abalala, okutegeera ebintu ebigenda mu maaso mu nsi ne kye bitegeeza, okuba n’enkolagana ennungi ne bazadde baabwe, era n’okufuna obumativu obuva mu kusoma n’okwesomesa.

N’ekisinga byonna, abaana bo bwe baba baagala okwesomesa kibayamba okufuuka abantu abettanira ebintu eby’omwoyo. Ate era, kijja kubayamba “okutegeerera ddala obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n’obuziba bw’ebintu eby’omwoyo” ebiri mu Byawandiikibwa. (Bef. 3:18) Tewali kubuusabuusa nti abazadde Abakristaayo balina bingi bye balina okuyigiriza abaana baabwe. Abazadde bwe bafuba okukola kyonna ekisoboka okuteekerawo abaana baabwe omusingi omulungi nga bakyali bato, baba basuubira nti ekiseera bwe kigenda kiyitawo abaana baabwe bajja kusalawo okuweereza Yakuwa. Bw’oyamba abaana bo okuyiga okwesomesa, ekyo kiyinza okubasobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Katonda n’okugikuuma. N’olwekyo, fuba okusaba Yakuwa akuyambe osobole okuyamba abaana bo okwagala okusoma n’okwesomesa.​—Nge. 22:6.

[Obugambo obuli wansi]

a Abaana abalina obunafu obutali bumu batera nnyo okukaluubirirwa okusoma n’okwesomesa. Okusobola okuyamba abaana ng’abo, laba Awake! eya Febwali 22, 1997, olupapula 3-10.

[Akasanduuko/​Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Okusoma . . .

• Bafunire ebitabo nga bakyali bato

• Somanga mu ddoboozi eriwulikika

• Bayambe okwenyigiramu

• Mukubaganye ebirowoozo ku bintu by’obasomera

• Saba abaana bo bakusomere

• Kubiriza abaana bo okubuuza ebibuuzo

Okwesomesa . . .

• Teekawo ekyokulabirako ekirungi

• Yigiriza abaana bo . . .

○ okussaayo omwoyo

○ okugeraageranya

○ okuwumbawumbako

○ okwejjukanya

○ okubaako bye bawandiika

• Teekawo embeera ennungi

• Laga omuganyulo oguli mu bintu bye musoma

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share