LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 1/1 lup. 3-6
  • Okuwonya Ebiwundu by’Entalo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuwonya Ebiwundu by’Entalo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yenyigira mu Lutalo olw’Omunda
  • Ab’Obulabe Bafuuka ab’Omukwano
  • Tta​—Olyoke Ofe ng’Omujulizi
  • “Bwe Kiba nga Ddala gy’Oli, Nkusaba Onnyambe!”
  • “Ekigambo kya Katonda Kiramu era kya Maanyi”
  • Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Okukkiriza kwa Ibulayimu Kugezesebwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Olindirira “Ekibuga Ekirina Emisingi Gyennyini”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 1/1 lup. 3-6

Okuwonya Ebiwundu by’Entalo

ABRAHAM yali mu magye ag’ekiyeekera okumala emyaka 20.a Naye alekedde awo okulwana era taliddayo kugenda mu lutalo nate. Mu butuufu, abamu ku abo abaali abalabe be kati mikwano gye egy’oku lusegere. Kiki ekyamuleetera okukyuka? Baibuli ye yakikola. Yawa Abraham essuubi n’okutegeera, n’emuyamba okutunuulira ensonga ezikwata ku bantu nga Katonda bw’azitunuulira. Baibuli yamalawo okwegomba kwe okw’okulwana, era n’atandika okuwonya ennaku ye, obukyayi, n’obukambwe. Yakizuula nti Baibuli erimu eddagala ery’amaanyi eriwonya omutima.

Baibuli esobola etya okuyamba omuntu okuwonya ebiwundu eby’enneewulira ez’omunda? Yali teyinza kukyusa ekyo ekyali kituuse ku Abraham. Kyokka era, okusoma n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kwamuleetera okuba n’endowooza ng’ey’Omutonzi. Kati alina essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso, era alina ebintu ebippya by’atwala ng’ebikulu. Ebintu Katonda by’atwala ng’ebikulu bifuuse bikulu gy’ali. Kino kasita kyatandika okubaawo, ebiwundu mu mutima gwe ne bitandika okuwona. Bw’atyo Abraham bwe yayambibwa okukyuka.

Yenyigira mu Lutalo olw’Omunda

Abraham yazaalibwa mu myaka gya 1930 mu Afirika. Oluvannyuma lwa ssematalo ow’okubiri, ensi ye yali efugibwa ensi ey’omuliraano ey’amaanyi, naye bangi ku banne ba Abraham ab’omu nsi ye baali baagala obwetwaze. Mu 1961, Abraham yeegatta ku kibiina ekirwanirizi ky’eddembe ekyali kirwana olutalo olw’ekiyeekera nga kirwanyisa muliraanwa oyo ow’amaanyi.

“Baali balabe baffe. Baateekateeka okututta, bwe kityo naffe ne tutandika okubatta,” bw’atyo Abraham bw’annyonnyola.

Obulamu bwa Abraham emirundi mingi bwali mu kabi, bwe kityo mu 1982, oluvannyuma lw’emyaka 20 egy’okulwana, yadduka n’agenda mu Bulaaya. Mu kiseera ekyo yali anaatera okuweza emyaka ataano egy’obukulu era ng’alina ebiseera bingi okufumiitiriza ku bulamu bwe. Kiki ekyali kituuse ku bye yali yeegomba ennyo? Kiki ekyali mu biseera eby’omu maaso? Abraham yasanga abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa era n’atandika okubaawo mu nkuŋŋaana zaabwe. Yajjukira nti ng’ali mu Afirika emyaka egiyise, yali asomye tulakiti eyali emuweereddwa Omujulirwa. Tulakiti yali eyogera ku lusuku lwa Katonda olujja olw’okubeera ku nsi era n’obufuzi obw’omu ggulu obwandifuze abantu. Ekyo ddala kyali kituufu?

Abraham agamba: “Okuva mu Baibuli, nnayiga nti emyaka egyo gyonna gye nnamala nga nnwana nnagyonoona bwonoonyi. Gavumenti yokka enneeyisa buli muntu mu ngeri ey’obwenkanya bwe Bwakabaka bwa Katonda.”

Amangu ddala nga Abraham amaze okubatizibwa ng’Omujulirwa wa Yakuwa, omusajja ayitibwa Robert yadduka okuva mu Afirika n’agenda mu kibuga ekye Bulaaya, Abraham gye yali abeera. Robert ne Abraham baali balwanidde mu lutalo lwe lumu naye ku njuyi ez’enjawulo. Emirundi mingi Robert yeebuuza amakulu gennyini agali mu bulamu. Yali musajja munnaddiini, era olw’okusoma ebitundu ebimu ebya Baibuli, yali amanyi nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Abajulirwa okuva mu kibiina kya Abraham bwe baasalawo okuyamba Robert okutegeera Baibuli obulungi, yakkiriza mangu.

Robert annyonnyola: “Okuviira ddala ku ntandikwa, nnawuniikirira olw’engeri Abajulirwa gye bakozesaamu erinnya Yakuwa ne Yesu, nga bakitegeera nti bantu ba njawulo. Ekyo kyali kikkiriziganya n’ekyo kye nnali manyi okuva mu Baibuli. Era Abajulirwa bambala bulungi ate era bakisa eri abantu abalala, ka kibe nti bava mu nsi ki. “Ebintu ng’ebyo byalina kinene kye byankolako.”

Ab’Obulabe Bafuuka ab’Omukwano

Robert ne Abraham, abaali ab’obulabe, kati ba mukwano ab’oku lusegere. Baweereza ng’ababuulizi b’enjiri ab’ekiseera kyonna mu kibiina kye kimu eky’Abajulirwa ba Yakuwa. “Mu kiseera eky’olutalo, emirundi mingi nneebuuzanga engeri gye kyali kisoboka abantu okuva mu nsi ez’omuliraano​—nga bangi ku bo bali mu ddiini emu​—okukyawagana,” bw’atyo Abraham bw’annyonnyola. “Robert nange twali mu kkanisa emu, kyokka twagenda mu lutalo okulwanagana. Kati ffembi tuli Bajulirwa ba Yakuwa, era okukkiriza kwaffe kutugase wamu.”

“Eyo y’enjawulo eriwo,” Robert agattako. “Kati tuli mu nzikkiriza etufuula ekitundu ky’oluganda olwa nnamaddala. Tetuyinza kugenda mu lutalo nate.” Baibuli erina kinene nnyo kye yakola ku mitima gy’abasajja banno abaali ab’obulabe. Mpolampola okwesigaŋŋana n’omukwano byadda mu kifo ky’obukyayi n’obukambwe.

Mu kiseera kye kimu Abraham ne Robert kye baabeereramu mu lutalo, abavubuka abalala babiri baali ku njuyi za njawulo mu lutalo olulala olwaliwo wakati w’ensi bbiri ez’omuliraano. Mangu ddala, Baibuli yakola ng’eddagala ery’amaanyi okuwonya emitima gyabwe. Mu ngeri ki?

Tta​—Olyoke Ofe ng’Omujulizi

Gabriel, eyakuzibwa mu maka amanyiikivu mu by’eddiini, yayigirizibwa nti ensi yaabwe yali erwana olutalo olutukuvu. N’olwekyo, ng’aweza emyaka 19 egy’obukulu, yeewaayo okuweereza mu magye era n’asaba bamutwale ku ddwaniro. Okumala emyezi 13 yali mu lutalo olw’amaanyi ennyo, ebiseera ebimu ng’ali mayiro emu yokka okuva omulabe we yali. “Waliwo ekiseera ekimu kye nzijjukira,” bw’atyo bw’agamba. “Omuduumizi waffe yatugamba nti omulabe yali agenda okutulumba ekiro ekyo. Twabuguumirira nnyo era ne tukuba emizinga gyaffe ekiro kyonna.” Abantu okuva mu nsi ey’omuliraano yali abatwala ng’abalabe be, abasaanidde okufa. “Ekirowoozo kyange kyali kya kutta abantu bangi nga bwe nnandisobodde. Bwe kityo, nga bannange abalala bangi, nnali njagala okufa ng’omujulizi.”

Kyokka, bwe waayitawo ekiseera Gabriel yaggwamu amaanyi. Yaddukira ku nsozi, n’asalinkiriza ku nsalo n’ayingira mu nsi eyali teyennyigidde mu lutalo, era n’agenda e Bulaaya. Buli kiseera yabuuzanga Katonda lwaki obulamu bwali buzibu nnyo bwe butyo, obanga ebizibu byali kibonerezo okuva eri Katonda. Yasanga Abajulirwa ba Yakuwa, abaamulaga okuva mu Baibuli ensonga lwaki obulamu bulimu ebizibu bingi nnyo ennaku zino.​—Matayo24:3-14; 2 Timoseewo 3:1-5.

Gabriel gye yakoma okuyiga Baibuli, gye yakoma n’okumanya nti erimu amazima. “Nnayiga nti tuyinza okubeera abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda olw’oku nsi. Ekyewuunyisa, ekyo kye kintu kye nnali nneegomba nga nkyali muto.” Baibuli yabudaabuda Gabriel era n’eweweeza omutima gwe omweraliikirivu. Ebiwundu eby’omu nneewulira ze ez’omunda byatandika okuwona. Mu kiseera we yasangira Daniel, eyali omulabe we, Gabriel yali takyalina bukyayi gy’ali. Naye kiki ekyaleetera Daniel okugenda e Bulaaya?

“Bwe Kiba nga Ddala gy’Oli, Nkusaba Onnyambe!”

Daniel yakuzibwa ng’Omukatuliki era bwe yaweza emyaka 18 egy’obukulu yayitibwa okuweereza mu magye. Yaweerezebwa okulwana mu lutalo lwe lumu nga Gabriel naye ku ludda olulala. Okumpi n’eddwaniro, Daniel yali ali mu tanka bwe yakubibwa ekikompola. Banne battibwa, ye n’alumizibwa nnyo era n’atwalibwa ng’omusibe. Yamala emyezi mingi mu ddwaliro era ne mu nkambi nga tannatwalibwa mu nsi endala eyali teyenyigidde mu kulwana. Ng’ali yekka era nga talina ky’alina, yalowooza ku kwetta. Daniel yasaba Katonda: “Bwe kiba nga ddala gy’oli, nkusaba onnyambe!” Olunaku olwaddako lwennyini, Abajulirwa ba Yakuwa baamukyalira era baasobola okuddamu ebibuuzo bye bingi. Oluvannyuma yagenda e Bulaaya ng’omunoonyi w’obubuddamu. Nate, Daniel yasanga Abajulirwa era n’ayiga Baibuli. Bye yayiga byakendeeza okweraliikirira n’obusungu bye yalina.

Gabriel ne Daniel kati ba mukwano, bagattiddwa mu luganda olw’eby’omwoyo ng’Abajulirwa ba Yakuwa ababatize. “Okwagala kwange eri Yakuwa n’okumanya kw’omu Baibuli binnyambye okulaba ebintu nga ye bw’abiraba. Daniel takyali mulabe wange. Emyaka egiyise nnandibadde musanyufu okumutta. Baibuli enjigirizza eky’enjawulo​—okubeera omwetegefu okumufiirira,” bw’atyo Gabriel bw’agamba.

“Nnalaba abantu ab’eddiini ez’enjawulo n’ensi nga battiŋŋana,” bw’atyo Gabriel bw’agamba. “Era waaliwo abantu ab’ediini emu nga bali ku njuyi ez’enjawulo mu lutalo nga battiŋŋana. Bwe nnalaba ekyo, nnalowooza nti Katonda y’anenyezebwa. Kati manyi nti Setaani y’ali emabega w’entalo zonna. Gabriel nange kati tuli bakkiriza. Tetugenda kuddayo kulwana nate!”

“Ekigambo kya Katonda Kiramu era kya Maanyi”

Lwaki Abraham, Robert, Gabriel, ne Daniel baakyuka mu ngeri eyeewunyisa bw’etyo? Baasobola batya okuvvuunuka obukyayi n’ennaku ebyali bisimbye amakanda mu mitima gyabwe?

Buli omu ku basajja bano yasoma, n’afumiitiriza, era n’ayiga amazima okuva mu Baibuli, ‘ennamu era ey’amaanyi.’ (Abaebbulaniya 4:12, NW) Omuwandiisi wa Baibuli ye Mutonzi w’abantu, amanyi okutereeza omutima gw’omuntu ayagala okuwuliriza n’okuyiga. “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu.” Omusomi kasita akkiriza Baibuli okumuwa obulagirizi, afuna empisa ennungi n’emitindo emippya. Atandika okuyiga engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebintu. Enkola eno ereeta emiganyulo mingi, nga mw’otwalidde n’okuwonya ebiwundu by’entalo.​—2 Timoseewo 3:16.

Ekigambo kya Katonda kinnyonnyola nti tewali nsi, ggwanga oba kika ekisinga ekirala obulungi oba obubi. “Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” Omusomi akkiriza kino ayambibwa mpolampola okuvvuunuka enneewulira ez’omunda ez’okukyawa eggwanga erimu oba ensi.​—Ebikolwa 10:34, 35.

Obunnabbi bw’omu Baibuli bulaga nti Katonda ali kumpi okuzza Obwakabaka bwa Masiya mu kifo ky’entegeka y’obufuzi bw’abantu eriwo. Okuyitira mu gavumenti eno, Katonda “aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.” Entegeka eziwagira entalo era ne zikubiriza abantu okuzilwana zijja kuggibwawo. Abo abaafiira mu ntalo bajja kuzuukizibwa era baweebwe omukisa okubeerawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Tewali n’omu alyetaaga okudduka ng’ayolekaganye ne bannakyemalira oba abanyigiriza.​—Zabbuli 46:9; Danyeri 2:44; Ebikolwa 24:15.

Abantu abanaabeerawo mu kiseera ekyo, Baibuli eboogerako bw’eti: “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu . . . Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku.” Tewali kiwundu kyonna ekitaliwonyezebwa. Okukkiririza mu ssuubi ng’eryo mpolampola kumalawo ennaku okuva mu mutima gw’omuntu.​—Isaaya 65:21-23.

Mazima ddala, Baibuli ddagala lya maanyi nnyo eriwonya omutima. Enjigiriza zaayo zaatandika dda okuwonya ebiwundu eby’entalo. Abaali ab’obulabe kati bagattibwa wamu mu luganda olw’ensi yonna. Okuwonyezebwa kuno kujja kweyongera mu nteekateeka ya Katonda empya okutuusa nga tewakyaliwo bukyayi n’obukambwe, n’ennaku mu mitima gy’abantu. Omutonzi asuubizza nti “ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mutima.”​—Isaaya 65:17, NW.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 3]

“Okuva mu Baibuli nnayiga nti emyaka egyo gyonna gye nnamala nga nnwana nnagyonoona bwonoonyi”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]

Baibuli erina kinene ky’eyinza okukola ku mitima gy’abantu abaali ab’obulabe

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]

Mpolampola obwesige n’omukwano by’adda mu kifo ky’obukyayi n’obukambwe

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]

Omusomi bw’akkiriza Baibuli okumuwa obulagirizi, afuna empisa ennungi n’emitindo emippya

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Abaali ab’obulabe kati bagattibwa mu luganda olw’ensi yonna

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Refugee camp: UN PHOTO 186811/​J. Isaac

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share