LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 2/1 lup. 11-15
  • Tambulira Wamu n’Entegeka Ya Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tambulira Wamu n’Entegeka Ya Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okweyongera Okukulaakulana
  • Tusiima Ekitangaala ky’Eby’Omwoyo
  • Okukulaakulana mu Buweereza Bwaffe
  • Okukola Enkyukakyuka mu Nkola y’Entegeka
  • Obukulembeze bwa Yesu obw’Amaanyi
  • Tambulira Wamu!
  • Okutambulira mu Kitangaala Ekigenda Kyeyongera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Otambulira Wamu n’Ekibiina kya Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yakuwa Akulembera Atya Entegeka Ye?
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Yakuwa Awa Ekibiina Kye Obulagirizi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 2/1 lup. 11-15

Tambulira Wamu n’Entegeka Ya Yakuwa

“Katonda ow’emirembe . . . abatuukirize mu buli kigambo kirungi okukolanga by’ayagala.”​—ABAEBBULANIYA 13:20, 21.

1. Abantu bali bameka ku nsi era eddiini ezimu kigambibwa zirimu bameka?

MU MWAKA 1999, omuwendo gw’abantu mu nsi yonna gwawera obuwumbi mukaaga! Ku muwendo guno, ekitabo The World Almanac kitutegeeza nti 1,165,000,000 Basiraamu; 1,030,000,000 Bakatuliki; 762,000,000 Bahindu; 354,000,000 Babuda; 316,000,000 Baprotestanti; era ne 214,000,000 Basodokisi.

2. Kiki ekiyinza okwogerwa ku mbeera y’eddiini leero?

2 Olw’enjawukana n’akavuyo ebiriwo leero mu ddiini, obukadde n’obukadde bw’abantu bano bonna bakola Katonda by’ayagala? Nedda, “kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe.” (1 Abakkolinso 14:33) Ku luuyi olulala, kiri kitya eri oluganda lw’abaweereza ba Yakuwa olw’ensi yonna? (1 Peetero 2:17) Okunoonyereza n’obwegendereza kulaga nti ‘Katonda ow’emirembe abawa buli kirungi okukola by’ayagala.’​—Abaebbulaniya 13:20, 21.

3. Kiki ekyaliwo mu Yerusaalemi ku Pentekooti 33 C.E., era lwaki?

3 Kya lwatu nti omuwendo gw’abo abakolagana n’Abajulirwa ba Yakuwa si gwe gusinziirwako okusalawo obanga basiimibwa Katonda; era n’emiwendo egy’eyongerayongera tegiwuniikiriza Katonda. Teyalonda ggwanga lya Isiraeri kuba be baali ‘basingayo obungi mu mawanga gonna.’ Mu butuufu, be baali basingayo ‘obutono.’ (Ekyamateeka 7:7) Naye olw’okuba Isiraeri teyakuuma bwesigwa eri Katonda, ku Pentekooti 33 C.E., Yakuwa yatandika okusiima n’okuwa emikisa ekibiina ekippya ekyalimu abagoberezi ba Kristo. Baafukibwako omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu era ne banyiikira okubuulira abalala amazima agakwata ku Katonda ne Kristo.​—Ebikolwa 2:41, 42.

Okweyongera Okukulaakulana

4. Lwaki wandigambye nti ekibiina Ekikristaayo ekyasooka kyeyongera okukulaakulana buli kiseera?

4 Mu kyasa ekyasooka, ekibiina Ekikristaayo kyali kyeyongera okukulaakulana, nga kituuka mu bifo ebippya, nga kifuula abalala abayigirizwa, era nga kyeyongera okutegeera ebigendererwa bya Katonda. Abakristaayo abaasooka baatambulira wamu n’ekitangaala ky’eby’omwoyo ekyabikkulwa mu bbaluwa ezaaluŋŋamizibwa Katonda. Nga bakubirizibwa abatume n’abalala abaabakyaliranga, baatuukiriza obuweereza bwabwe. Bino byonna byateekebwa mu buwandiike mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani.​—Ebikolwa 10:21, 22; 13:46, 47; 2 Timoseewo 1:13; 4:5; Abaebbulaniya 6:1-3; 2 Peetero 3:17, 18.

5. Lwaki entegeka ya Katonda ekulaakulana leero, era lwaki twanditambulidde wamu nayo?

5 Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino bakulaakulanye okuva ku ntandikwa entono. (Zekkaliya 4:8-10) Okuva ku nkomerero y’ekyasa 19, wabaddewo obukakafu obw’enkukunala obulaga nti omwoyo gwa Katonda guli ku ntegeka ye. Olw’okuba tetwesigamye ku maanyi g’abantu wabula ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, tweyongedde okutegeera Ebyawandiikibwa n’okukola Katonda by’ayagala. (Zekkaliya 4:6) Kati nga tuli mu ‘nnaku ez’enkomerero,’ kikulu nnyo okutambulira awamu n’entegeka ya Yakuwa ekulaakulana. (2 Timoseewo 3:1-5) Okukola bwe tutyo kitusobozesa okukuuma essuubi lyaffe nga ddamu era n’okuwa obujulirwa obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda obuteekeddwawo, ng’enkomerero y’embeera z’ebintu bino tennatuuka.​—Matayo 24:3-14.

6, 7. Bifo ki ebisatu bye tujja okwekenneenya entegeka ya Yakuwa mw’ekulaakulanye?

6 Mu ffe mulimu abo abaatandika okukolagana n’entegeka ya Yakuwa mu myaka gya 1920, egya 1930, n’egya 1940. Mu myaka egyo egy’emabega, ani ku ffe eyandirowoozezza ku kweyongera okw’ekitalo era n’okukulaakulana kw’entegeka ya Yakuwa okubaddewo okutuukira ddala leero? Lowooza ku bintu ebikulu ebituukiddwako mu biseera byaffe! Mazima ddala, kiganyula nnyo mu by’omwoyo okufumiitiriza ku ekyo Yakuwa ky’atuukiriza okuyitira mu bantu be abategekeddwa okusinziira ku nkola ya teyokulase.

7 Dawudi ow’edda yawuniikirira nnyo bwe yafumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo. “Singa mbadde wa kubimenya n’okubyogerako,” bw’atyo bwe yagamba, “bisuukiridde obungi.” (Zabbuli 40:5, NW) Twolekaganye n’ekizibu kye kimu, nga tetuyinza kuttottola bikolwa bya Yakuwa ebingi ennyo ebikulu era eby’ekitalo mu kiseera kyaffe. Wadde kiri kityo, ka twekkaanye ebifo bisatu entegeka ya Yakuwa mw’ekulaakulanyemu: (1) okweyongerayongera kw’ekitangaala eky’eby’omwoyo, (2) obuweereza obulongooseddwa era obugaziyiziddwa, ne (3) enkyukakyuka ezikoleddwa mu nkola y’entegeka.

Tusiima Ekitangaala ky’Eby’Omwoyo

8. Nga kituukana ne Engero 4:18, ekitangaala ky’eby’omwoyo kitusobozesezza kutegeera ki ku bikwata ku Bwakabaka?

8 Ku bikwata ku kweyongerayongera kw’ekitangaala ky’eby’omwoyo, Engero 4:18 lutuukiridde. Lugamba: “Ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.” Nga tusiima nnyo ekitangaala ky’eby’omwoyo ekyeyongerayongera kye tufunye! Mu lukuŋaana olunene olwali e Cedar Point, Ohio, mu 1919, Obwakabaka bwa Katonda bwateekebwako essira. Yakuwa akozesa Obwakabaka okutukuza erinnya lye n’okulaga obutuufu bw’obufuzi bwe. Mu butuufu, ekitangaala ky’eby’omwoyo kitusobozesezza okutegeera nti okuva ku Lubereberye, okutuuka ku Kubikkulirwa, Baibuli eyogera ku kigendererwa kya Yakuwa eky’okutukuza erinnya lye ng’akozesa Obwakabaka obufugibwa Omwana we. Eryo lye ssuubi ery’ekitalo eri abo bonna abaagala obutuukirivu.​—Matayo 12:18, 21.

9, 10. Mu myaka gya 1920, kiki ekyayigibwa ekikwata ku Bwakabaka ne ku ntegeka bbiri ezikontana, era kino kiyambye kitya?

9 Mu lukuŋŋaana olulala olunene olwali e Cedar Point, mu 1922, omwogezi omukulu, J.F. Rutherford yakubiriza abantu ba Katonda nti “mulangirire, mulangirire, mulangirire, Kabaka n’obwakabaka bwe.” Mu kitundu ekyalina omutwe “Okuzaalibwa kw’Eggwanga,” ekyakubibwa mu The Watchtower aka Maaki 1, 1925, baayogera ku kutegeera okw’eby’omwoyo okukwata ku bunnabbi obwasonga ku kuteekebwawo kw’Obwakabaka bwa Katonda mu 1914. Era, mu myaka gya 1920 baakitegeera nti waliwo entegeka za mirundi ebiri ezikontana​—eya Yakuwa n’eya Setaani. Zirwanagana, era tujja kubeera ku ludda oluwanguzi singa tweyongera okutambulira awamu n’entegeka ya Yakuwa.

10 Ekitangaala ng’ekyo eky’eby’omwoyo kituyambye kitya? Okuva Obwakabaka bwa Katonda ne Kabaka Yesu Kristo bwe batali kitundu kya nsi, naffe tetuyinza kubeera kitundu kyayo. Bwe tweyawula ku nsi, tulaga nti tuli ku ludda lw’amazima. (Yokaana 17:16; 18:37) Bwe tulaba ebizibu eby’amaanyi ebiri mu mbeera zino embi, nga tuba basanyufu nnyo obutaba kitundu kya ntegeka ya Setaani! Era nga twesiimye nnyo okubeera n’obukuumi obw’eby’omwoyo mu ntegeka ya Yakuwa!

11. Linnya ki ery’omu Byawandiikibwa abantu ba Katonda lye baafuna mu 1931?

11 Mu lukuŋŋaana olunene olwali e Columbus, eky’omu Ohio, mu 1931, Isaaya 43:10-12 zannyonnyolwa bulungi. Abayizi ba Baibuli baafuna erinnya ery’enjawulo, Abajulirwa ba Yakuwa. Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okumanyisa erinnya lya Katonda abalala basobole okulikowoola balokolebwe!​— Zabbuli 83:18; Abaruumi 10:13.

12. Kitangaala ki eky’eby’omwoyo ekikwata ku kibiina ekinene ekyaweebwa mu 1935?

12 Ng’emyaka gya 1930 teginnatuuka, abantu ba Katonda bangi baali tebeekakasa bulungi ku bikwata ku ssuubi lyabwe ery’obulamu obw’omu maaso. Abamu beegombanga obulamu obw’omu ggulu naye ate nga basikirizibwa enjigiriza za Baibuli ezikwata ku lusuku lwa Katonda ku nsi. Mu lukuŋŋaana olunene olwali mu Washington, D.C., mu 1935, kyali kya ssanyu nnyo okuyiga nti ekibiina ekinene, ekyogerwako mu Okubikulirwa essuula 7, kibiina ky’abantu abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Okuva ku olwo, okukuŋŋaanyizibwa kw’ab’ekibiina ekinene kweyongedde mu maaso n’amaanyi mangi. Tetuli basanyufu nnyo nti ekibiina ekinene kati tukimanyi bulungi? Okukuŋŋaanyizibwa kw’abantu bangi okuva mu mawanga gonna, ebika, n’ennimi kutuleetera okweyongera okukola n’amaanyi nga tutambulira wamu n’entegeka ya Yakuwa.

13. Nsonga ki enkulu eyaggumizibwa mu lukuŋŋaana olunene olw’omu St. Louis mu 1941?

13 Ensonga enkulu eyandibadde ku birowoozo by’abantu bonna yaggumizibwa mu lukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga St. Louis, eky’omu Missouri, mu 1941. Y’ensonga ey’obufuzi obw’obutonde bwonna. Eno ye nsonga eteekwa okusonjolebwa amangu ddala, era olunaku olukulu ennyo era olw’entiisa olunaagisonjola lusembera mangu nnyo! Ensonga endala eyayogerwako mu 1941 y’eyo ekwata ku kukuuma obugolokofu, etusobozesa okulaga wa we tuyimiridde kinnoomu ku bikwata ku bufuzi bwa Katonda.

14. Mu lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna mu 1950, kiki ekyayigibwa ku balangira aboogerwako mu Isaaya 32:1, 2?

14 Mu lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwali mu New York City mu 1950, abalangira aboogerwako mu Isaaya 32:1, 2 bannyonnyolwa bulungi. Kyali kiseera ekibuguumiriza ennyo Ow’Oluganda Frederick Franz bwe yayogera ku nsonga eyo era n’annyonnyola nti abalangira abasuubirwa okubeera mu nsi empya baali wakati mu ffe. Ku lukuŋŋaana olwo n’endala ezaddirira, wabaddewo ebimyanso by’ekitangaala eky’eby’omwoyo. (Zabbuli 97:11) Nga tuli basanyufu nnyo nti ekkubo lyaffe ‘liringa ekitangaala ekigenda kyeyongera’!

Okukulaakulana mu Buweereza Bwaffe

15, 16. (a) Twakulaakulana tutya mu buweereza bwaffe mu myaka gya 1920 ne 1930? (b) Bitabo ki ebyongedde amaanyi mu buweereza bw’Ekikristaayo mu makumi g’emyaka agaakayita?

15 Engeri ey’okubiri entegeka ya Yakuwa gy’ekulaakulanyemu ekwata ku mulimu gwaffe omukulu​—okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa. (Matayo 28:19, 20; Makko 13:10) Okusobola okutuukiriza omulimu guno, entegeka ya Yakuwa etulaze obukulu bw’okugaziya obuweereza bwaffe. Mu 1922, Abakristaayo bonna baakubirizibwa okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Kyali eri buli omu okuleka ekitangaala kye okwaka era mu ngeri eyo ne yeenyigira mu kuwa obujulirwa ku mazima. (Matayo 5:14-16) Mu 1927, enteekateeka yakolebwa olunaku lwa Ssande okubeera olw’obuweereza bw’omu nnimiro. Okutandikira mu Febwali 1940, kyafuuka kya bulijjo okulaba Abajulirwa mu nguudo z’omu bifo ebikolerwamu bizineesi nga bagaba The Watchtower ne Consolation (kati akayitibwa Awake!).

16 Mu mwaka 1937 baafulumya akatabo akayitibwa Model Study, akassa essira ku kuddiŋŋaana okusobola okuyigiriza abalala amazima ga Baibuli. Mu myaka egyaddirira, omulimu gw’okuyigiriza Baibuli gwateekebwako nnyo essira. Amaanyi gaayongerwa mu mulimu guno akatabo akayitibwa “Let God Be True” bwe kaafulumizibwa mu 1946 era n’akatabo Amazima Agakulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo mu 1968. Kampegaano tukozesa akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Okuyigiriza ng’okozesa ebiri mu butabo buno kissaawo omusingi omunywevu ogw’omu Byawandiikibwa ogw’okufuula abalala abayigirizwa.

Okukola Enkyukakyuka mu Nkola y’Entegeka

17. Mu kutuukagana ne Isaaya 60:17, entegeka ya Yakuwa ekulaakulanye etya?

17 Engeri ey’okusatu entegeka ya Yakuwa gy’ekulaakulanyeemu ekwata ku kukola enkyukakyuka mu nkola y’entegeka. Okusinziira ku Isaaya 60:17, Yakuwa yasuubiza: “Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma: era ndifuula abaami bo okuba emirembe n’abakusolooza okuba obutuukirivu.” Nga kituukagana n’obunnabbi buno, waliwo ebikoleddwa okulongoosaamu mu kuddukanya omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okulunda ekisibo.

18, 19. Nkyukakyuka ki ezikoleddwa mu nkola y’entegeka emyaka bwe gizze giyitawo?

18 Mu 1919 omulabirizi w’obuweereza yalondebwanga mu buli kibiina ekyasabanga okutegekebwa okwenyigira mu buweereza bw’omu nnimiro. Kino kyayongera amaanyi mu buweereza bwaffe obw’omu nnimiro. Okulonda abakadde n’abadikoni nga bakuba akalulu kwaggibwawo mu 1932, ne kikomya enkola za demokulase. Ekintu ekirala ekikulu kyatuukibwako mu 1938, abaweereza bonna mu kibiina bwe baatandika okulondebwa okusinziira ku nkola ya teyokulase eyagobererwa mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka. (Ebikolwa 14:23; 1 Timoseewo 4:14) Mu 1972 abalabirizi n’abaweereza baalondebwa okuweereza, nga bwe kyali mu Bakristaayo abaasooka. Mu kifo ky’omusajja omu yekka okuweereza ng’omulabirizi w’ekibiina, Abafiripi 1:1 n’ebyawandiikibwa ebirala biraga nti abo abatuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa eby’okuweereza ng’abalabirizi bakola akakiiko k’abakadde.​—Ebikolwa 20:28; Abaefeso 4:11, 12.

19 Mu 1975 enteekateeka yassibwawo ey’obukiiko obw’Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa okutandika okulabirira omulimu ogw’ensi yonna ogw’entegeka ya Katonda. Obukiiko bw’Amatabi bwalondebwa okulabirira emirimu egikolebwa mu bitundu byabwo. Okuva ku olwo, essira liteekeddwa ku kugonza emirimu gy’oku kitebe ekikulu n’amatabi ga Watch Tower Society basobole ‘okutuukiriza ebisinga obukulu.’ (Abafiripi 1:9, 10, NW) Obuvunaanyizibwa abasumba abali wansi w’obulagirizi bwa Kristo bwe balina, butwaliramu okutwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira, okuyigiriza mu kibiina era n’okulunda obulungi ekisibo kya Katonda.​—1 Timoseewo 4:16; Abaebbulaniya 13:7, 17; 1 Peetero 5:2, 3.

Obukulembeze bwa Yesu obw’Amaanyi

20. Okusobola okutambulira awamu n’entegeka ya Yakuwa kyetaagisa tutegeere ki ku kifo kya Yesu?

20 Okutambulira awamu n’entegeka ya Yakuwa ekulaakulana kitwetaagisa okutegeera ekifo Katonda kye yakwasa Yesu Kristo ‘ng’omutwe gw’ekibiina.’ (Abaefeso 5:22, 23) Ekirala ekikulu kiri mu Isaaya 55:4 (NW), we tugambibwa: “Laba! Ng’omujulirwa eri amawanga, nze [Yakuwa] muwadde, okuba omukulembeze era omugabe eri amawanga.” Mazima ddala Yesu amanyi okukulembera. Era amanyi endiga ze n’ebikolwa byazo. Mu butuufu, bwe yeekenneenya ebibiina omusanvu eby’omu Asiya Omutono, emirundi etaano yagamba: “Mmanyi ebikolwa byo.” (Okubikkulirwa 2:2, 19; 3:1, 8, 15) Yesu era amanyi ebyetaago byaffe, nga Kitaawe, Yakuwa bw’abimanyi. Nga tannawa Ssaala ey’Okulabirako, Yesu yagamba: “Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.”​—Matayo 6:8-13.

21. Obukulembeze bwa Yesu bweyoleka butya mu kibiina Ekikristaayo?

21 Obukulembeze bwa Yesu bweyoleka butya? Engeri emu kwe kuyitira mu balabirizi Abakristaayo, ‘ebirabo mu bantu.’ (Abaefeso 4:8) Okubikulirwa 1:16 lulaga abalabirizi abaafukibwako amafuta ng’abali mu mukono gwa Kristo ogwa ddyo, wansi w’obuyinza bwe. Leero, Yesu akubiriza enteekateeka z’abakadde, ka babe ng’abasajja abo balina essuubi lya mu ggulu oba lya ku nsi. Nga bwe kyannyonnyoddwa mu kitundu ekivuddeko, balondebwa omwoyo omutukuvu mu ngeri etuukagana n’ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa. (1 Timoseewo 3:1-7; Tito 1:5-9) Mu kyasa ekyasooka, ekibinja ky’abasajja abakadde mu Yerusaalemi baakola akakiiko akafuzi akaali kalabirira ebibiina n’omulimu gw’okubuulira Obwakabaka okutwalira awamu. Enkola y’emu egobererwa entegeka ya Yakuwa leero.

Tambulira Wamu!

22. Akakiiko Akafuzi kawa buyambi ki?

22 Ebigendererwa eby’Obwakabaka ku nsi bikwasiddwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ akiikirirwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. (Matayo 24:45-47) Okusingira ddala Akakiiko Akafuzi kafaayo nnyo ku kuwa okuyigiriza okw’eby’omwoyo n’obulagirizi ekibiina Ekikristaayo. (Ebikolwa 6:1-6) Kyokka, basinza bannaabwe bwe bakosebwa obutyabaga obw’omu butonde, Akakiiko Akafuzi kasaba ebibiina by’omu mateeka okuwa obuyambi n’okuddaabiriza oba okuzzaawo amaka gaabwe ne Kingdom Hall ezoonooneddwa. Singa Abakristaayo abamu bayisibwa bubi oba ne bayigganyizibwa, wabaawo ebikolebwa okubazimba mu by’omwoyo. Era mu ‘biro ebitasaanira,’ buli ekisoboka kikolebwa okwongera mu maaso omulimu gw’okubuulira.​—2 Timoseewo 4:1, 2.

23, 24. Ka kibeere ki ekituuka ku bantu be, kiki Yakuwa kyawa buli kiseera era twandibadde bamalirivu kukola ki?

23 Ka kibe ki ekituuka ku bantu be, Yakuwa buli kiseera awa emmere ey’eby’omwoyo n’obulagirizi obwetaagisa. Era Katonda awa ab’oluganda ab’obuvunaanyizibwa okutegeera basobole okweteekerateekera okukulaakulana okulala n’okulongoosebwa mu ntegeka ye eya teyokulase. (Ekyamateeka 34:9; Abaefeso 1:16, 17) Awatali kulemererwa, Yakuwa atuwa bye twetaaga okusobola okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okufuula abayigirizwa n’okutuukiriza obuweereza bwaffe mu nsi yonna.​—2 Timoseewo 4:5.

24 Tulina obwesige obujjuvu nti Yakuwa tagenda kwabulira bantu be abeesigwa; ajja kubawonyawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja. (Okubikkulirwa 7:9-14; Zabbuli 94:14; 2 Peetero 2:9) Tulina ensonga ennungi okukuuma obwesige bwe twalina mu kusooka nga bunywevu okutuukira ddala ku nkomerero. (Abaebbulaniya 3:14) N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okutambulira awamu n’entegeka ya Yakuwa.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki tuyinza okugamba nti entegeka ya Yakuwa yeeyongera okukulaakulana?

• Bujulizi ki obuliwo obulaga nti abantu ba Katonda bafuna ekitangaala eky’eby’omwoyo ekigenda kyeyongera- yongera?

• Kulongoosebwa ki okubaddewo mu buweereza bw’Ekikristaayo?

• Nkyukakyuka ki ezikoleddwa mu nkola y’entegeka mu baweereza ba Yakuwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Okufaananako Dawudi, tetuyinza kuttottola bikolwa bya Yakuwa byonna eby’ekitalo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Ekisibo kya Katonda kiganyuddwa nnyo mu nkyukakyuka ezikoleddwa mu nkola y’entegeka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share