Okutambulira mu Kitangaala Ekigenda Kyeyongera
“Naye ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.”—ENGERO 4:18.
1, 2. Biki ebivuddemu Yakuwa bwe yeeyongedde okuwa abantu be ekitangaala eky’eby’omwoyo?
OLW’OKUBA Yakuwa Katonda ye Nsibuko y’ekitangaala, ye yekka asobola okutunnyonnyolera ddala ekibaawo ng’enjuba evuddeyo. (Zabbuli 36:9) Katonda agamba nti, ‘enjuba bw’evaayo, ekitangaala ne kibuna buli kanyomero ka nsi, ensi ekyuka ng’ebbumba bwe likyuka nga liteekeddwako akabonero, era byonna ebigiriko byeyoleka ng’ekyambalo.’ (Yobu 38:12-14) Ekitangaala bwe kigenda kyeyongera, ebiri ku nsi byeyongera okulabika obulungi ng’ebbumba bwe likyuka nga liteekeddwako akabonero.
2 Yakuwa era ye Nsibuko y’ekitangaala eky’eby’omwoyo. (Zabbuli 43:3) Wadde ng’ensi eri mu kizikiza eky’amaanyi, Katonda ow’amazima yeeyongedde okuwa abantu be ekitangaala eky’eby’omwoyo. Biki ebivuddemu? Baibuli etuwa eky’okuddamu ng’egamba nti: “Ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.” (Engero 4:18) Yakuwa bwe yeeyongedde okuwa abantu be ekitangaala eky’eby’omwoyo, kibayambye okulongoosa mu ngeri gye bakolamu ebintu mu kibiina, okutegeera obulungi enjigiriza za Baibuli, n’okwewala ebintu ebitasanyusa Katonda.
Yakuwa Atutangaaza ku Ngeri Ekibiina gye Kirina Okuddukanyizibwamu
3. Kiki ekyalagulwako mu Isaaya 60:17?
3 Okuyitira mu nnabbi we Isaaya, Yakuwa yalagula nti: “Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma.” (Isaaya 60:17) Bwe kityo, ng’omuntu bw’ayinza okuggya essubi ku nnyumba n’ateekako amabaati, Abajulirwa ba Yakuwa nabo balongoosezza mu ngeri gye bakolamu ebintu mu kibiina mu kiseera kino ‘eky’enkomerero y’omulembe guno,’ oba “ennaku ez’oluvannyuma.”—Matayo 24:3; 2 Timoseewo 3:1.
4. Nkola ki eyatandikawo mu 1919, era biki ebyavaamu?
4 Ng’ennaku ez’enkomerero zaakatandika, Abayizi ba Baibuli, kati abayitibwa Abajulirwa ba Yakuwa, baakubanga obululu okusobola okulonda abakadde n’abaweereza. Kyokka, abakadde abamu abaalondebwanga tebaalinga banyiikivu mu kubuulira. Ng’oggyeko ekyo, abamu ku bo baamalangamu amaanyi abo abaali baagala okubuulira. Mu 1919, kyasalibwawo nti mu buli kibiina mubeemu ow’oluganda akubiriza omulimu gw’okubuulira. Ow’oluganda ono ekibiina si kye kyamulondanga, wabula ofiisi y’ettabi ye yamulondanga ng’egoberera obulagirizi obuli mu Byawandiikibwa. Ow’oluganda oyo yalinanga obuvunaanyizibwa bw’okukola enteekateeka z’okubuulira, okugabira ababuulizi ebitundu eby’okubuuliramu, n’okubakubiriza okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Mu myaka egyaddirira, omulimu gw’okubuulira Obwakabaka bwa Katonda gwayongerwamu amaanyi.
5. Nteekateeka ki empya ezaakolebwa mu myaka gya 1920?
5 Mu 1922, mu lukuŋŋaana olwali mu Cedar Point, Ohio, mu Amerika, Abayizi ba Baibuli baayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira oluvannyuma lw’okukubirizibwa nti: “Mulangirire, mulangirire, mulangirire Kabaka n’obwakabaka bwe.” Omwaka 1927 we gwatuukira, waaliwo enteekateeka ennungi ez’okubuuliranga nnyumba ku nnyumba buli lwa Ssande. Lwaki baalonda olunaku olwo? Kubanga lwe lunaku abantu abasinga obungi we baabeereranga awaka. Ne leero, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okubuulira ku wiikendi n’akawungeezi kubanga ekyo kye kiseera abantu lwe basinga okubeera awaka.
6. Kiteeso ki ekyayisibwa mu 1931, era kyakwata kitya ku balangirizi b’Obwakabaka?
6 Mu Jjulaayi nga 26, 1931, waaliwo ekiteeso ekyayisibwa ku Ssande olweggulo mu lukuŋŋaana olulala olwali mu Columbus, Ohio mu Amerika. Ekiteeso ekyo kyakubiriza ababuulizi b’Obwakabaka okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Oluvannyuma kyayisibwa ne mu nkuŋŋaana endala ezaaliwo mu bitundu ebirala eby’ensi. Ebimu ku byali mu kiteeso ekyo byali bigamba nti: “Tuli baweereza ba Yakuwa Katonda abaweereddwa omulimu gw’okulangirira erinnya lye. Nga tugoberera ekiragiro ekyatuweebwa eky’okubuulira enjiri ya Yesu Kristo, n’okumanyisa abantu nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima era nti ye Muyinza w’ebintu byonna, tuli basanyufu okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa, erinnya erituweereddwa Mukama Katonda.” (Isaaya 43:10) Ng’erinnya eryo eppya lyayoleka bulungi nnyo obuvunaanyizibwa abo abayitibwa erinnya eryo bwe balina! Yee, Yakuwa yalina omulimu gwe yali ayagala abaweereza be bakole. Bonna abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo baasanyuka nnyo!
7. Nkyukakyuka ki ezaakolebwa mu 1932, era lwaki zaali zeetaagisa?
7 Oluvannyuma lw’ekiteeso ekyo, abakadde bangi baatandika okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Kyokka, waliwo abakadde abaagaana okukkiriza nti buli mubuulizi asaanidde okwenyigira mu buweereza. Mu 1932, okuyitira mu The Watchtower, ebibiina byategeezebwa nti okulonda abakadde n’abaweereza nga bakuba obululu kukomezeddwa. Kati baalina kulonda kakiiko ka buweereza akaliko ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo era nga banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Bwe kityo, obuvunaanyizibwa obw’okulabirira omulimu gw’okubuulira bwaweebwanga abo abaalinga abanyiikivu mu buweereza era ekyo kyaviirako omulimu ogwo okweyongera mu maaso.
Ekitangaala bwe Kyeyongera, Ebintu Bigenda Birongooka
8. Nkyukakyuka ki ezaakolebwa mu 1938?
8 Ekitangaala kyagenda ‘kyeyongera okwaka.’ Mu 1938 enkola ey’okukuba obululu yakomezebwa. Ab’oluganda bonna abaali batwala obuvunaanyizibwa mu kibiina, baatandika okulondebwa akakiiko akafuzi wansi w’obulagirizi ‘bw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45-47) Ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa byonna byakkiriza enkyukakyuka ezo era omulimu gw’okuwa obujulirwa gweyongera mu maaso.
9. Nkyukakyuka ki ezaakolebwa mu 1972 era kino kyaganyula kitya ebibiina?
9 Okutandika ne Okitobba nga 1, 1972, waliwo enkyukakyuka endala ezaakolebwa mu ngeri y’okulabiriramu ebibiina. Mu kifo ky’okuba n’omukadde omu mu buli kibiina nga y’atwala obuvunaanyizibwa, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi byatandika okulabirirwa akakiiko k’abakadde. Enteekateeka eno empya eyambye ab’oluganda okuluubirira enkizo ey’okuweereza ng’abakadde mu kibiina. (1 Timoseewo 3:1-7) Kino kisobozesezza ab’oluganda bangi okufuna obumanyirivu mu ngeri y’okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa mu kibiina. Ng’ab’oluganda bano bayambye nnyo abappya okukulaakulana mu by’omwoyo!
10. Nkola ki eyatandikibwawo mu 1976?
10 Abo abali ku Kakiiko Akafuzi beekolamu obukiiko mukaaga obw’enjawulo era okutandika ne Jjanwali 1, 1976, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna byatandika okuddukanyizibwa obukiiko obwo. Nga tufunye emiganyulo mingi nnyo olw’okuba nti emirimu gy’Obwakabaka girabirirwa “olufulube lw’abo abateesa ebigambo”!—Engero 15:22; 24:6.
11. Nteekateeka ki eyatandikibwawo mu 1992, era lwaki yatandikibwawo?
11 Mu 1992, waliwo enteekateeka eyatandikibwawo efaananako n’eyo eyaliwo ng’Abaisiraeri n’abantu abalala bakomyewo okuva mu buwambe e Babulooni. Mu kiseera ekyo nga baakava mu buwambe, Abaleevi baali batono nnyo nga tebasobola kukola mirimu gya mu yeekaalu gyonna. Bwe kityo, Abanesinimu abataali Baisiraeri baayongerwako emirimu emirala basobole okukendeeza ku buvunaanyizibwa Abaleevi bwe baalina. Mu ngeri y’emu, okusobola okuyamba omuddu omwesigwa era ow’amagezi okulabirira emirimu gy’Obwakabaka mu nsi yonna, waliwo ‘ab’endiga endala’ abamu abaayongerwako obuvunaanyizibwa mu 1992. Ab’oluganda abo baaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okuyamba ku bukiiko obw’enjawulo obwateekebwawo Akakiiko Akafuzi.—Yokaana 10:16.
12. Yakuwa afudde atya emirembe okuba abaami?
12 Biki ebivuddemu? Yakuwa yagamba nti: “Era ndifuula emirembe abaami bo, n’obutuukirivu okuba bannampala.” (Isaaya 60:17, NW) Leero, abaweereza ba Yakuwa balina ‘emirembe’ era okwagala ‘obutuukirivu’ kye kibakubiriza okuweereza Katonda. Balina enteekateeka ennungi ebasobozesa okutuukiriza obulungi omulimu gwabwe ogw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa.—Matayo 24:14; 28:19, 20.
Yakuwa Ayamba Abantu Be Okutegeera Obulungi Enjigiriza za Baibuli
13. Yakuwa yayamba atya abantu be okutegeera obulungi enjigiriza za Baibuli mu myaka gya 1920?
13 Yakuwa era yeeyongedde okuyamba abantu be okutegeera obulungi ebintu ebimu ebiri mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako Okubikkulirwa 12:1-9 kyogera ku bintu bisatu eby’akabonero: “omukazi” ali olubuto azaala omwana, “ogusota,” ne “omwana ow’obulenzi.” Omanyi ebintu bino kye bitegeeza? Akatabo The Watch Tower aka Maaki 1, 1925 kannyonnyola amakulu g’ebigambo ebyo mu kitundu ekyalina omutwe “Birth of the Nation,” (Okuzaalibwa kw’Eggwanga). Ekitundu ekyo kyayamba abantu ba Katonda okutegeera obulungi obunnabbi obukwata ku kuzaalibwa kw’Obwakabaka, era baakitegeera nti waliwo ebibiina bibiri—ekya Yakuwa n’ekya Setaani. Wakati wa 1927 ne 1928, abantu ba Katonda baakitegeera nti okukuza Ssekukkulu n’amazaalibwa kikontana n’Ebyawandiikibwa era baalekera awo okukuza ennaku ezo.
14. Bintu ki ebyategeerekeka obulungi mu myaka gya 1930?
14 Mu myaka gya 1930 waliwo ebintu ebirala ebyeyongera okutegeerekeka obulungi. Okumala emyaka egiwerako, Abayizi ba Baibuli baali bamanyi nti ‘ab’ekibiina ekinene,’ aboogerwako mu Okubikkulirwa 7:9-17 ba njawulo ku abo 144,000 abandifugidde awamu ne Kristo nga bakabaka era bakabona. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1-5) Kyokka baali tebategeera bulungi baani abali mu ‘kibiina ekinene.’ Ekitangaala bwe kigenda kyeyongera, ebintu bitandika okutegeerekeka obulungi. Mu ngeri y’emu, mu 1935 kyategeerekeka bulungi nti ‘ab’ekibiina ekinene’ beebo abajja okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi oluvannyuma lw’okuyita mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ Mu mwaka gwe gumu, waliwo ekintu ekirala ekyategeerekeka obulungi ekyayamba abaana b’Abajulirwa ba Yakuwa okwewala okwenyigira mu bikolwa ebyoleka mwoyo gwa ggwanga ogwali gucaase ennyo mu kiseera ekyo. Baakitegeera nti okukubira bbendera saluti kiba ng’okusinza ebifaananyi. Ate mu mwaka ogwaddako, kyategeerekeka nti Kristo teyafiira ku musaalaba wabula yafiira ku muti.—Ebikolwa 10:39.
15. Ddi era mu ngeri ki gye kyategeerekeka nti omusaayi gulina okutwalibwa nga mutukuvu?
15 Mu Ssematalo II, yali nkola y’abasawo okujjanjaba abaserikale abafunye ebisago nga babateekamu omusaayi. Oluvannyuma lw’olutalo olwo, Abajulirwa ba Yakuwa baakitegeera nti omusaayi gulina okutwalibwa nga mutukuvu. Akatabo The Watchtower aka Jjulaayi 1, 1945, kaakubiriza “abasinza ba Yakuwa bonna abaagala okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya ey’obutuukirivu, okutwala omusaayi nga mutukuvu era n’okugoberera amateeka ga Katonda ku nsonga eno.”
16. Ddi enkyusa ya New World Translation of the Holy Scriptures enzijuvu lwe yafulumizibwa era eyawukana etya ku Baibuli endala?
16 Mu 1946 kyeyoleka nti kyali kyetaagisa okuba n’enkyusa empya eya Baibuli eyali etuukana n’okunoonyereza okwali kwakakolebwa era nga teriimu bulombolombo bwa Kristendomu. Omulimu gw’okuvvuunula Baibuli ey’ekika ng’ekyo gwatandika mu Ddesemba wa 1947. Mu 1950 enkyusa ya New World Translation of the Christian Greek Scriptures mu Lungereza yafulumizibwa. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyavvuunulwa mu Lungereza byafulumizibwa mu mizingo etaano. Ogwasooka gwafulumizibwa mu 1953 ate ogwasembayo gwafulumizibwa mu 1960 nga wayise emyaka nga 12 bukya batandika kugivvuunula. Enkyusa ya New World Translation of the Holy Scriptures enzijuvu yafulumizibwa mu 1961. Kati we twogerera evvuunuddwa mu nnimi eziwerako. Okwawukana ku Baibuli endala, enkyusa eyo empya yazzaawo erinnya lya Katonda, mu bifo we lirina okubeera. Olw’okuba abaagivvuunula baasinziira ku biwandiiko ebyasooka, kisobozesezza amazima g’Ekigambo kya Katonda okutegeerekeka obulungi.
17. Bintu ki ebyeyongera okutegeerekeka obulungi mu 1962?
17 Mu 1962, Abakristaayo baategeera “abakulu abafuga” aboogerwako mu Abaruumi 13:1 era ne bakitegeera nti obuwulize bwabwe eri abakulu abo bulina we kukoma. Abaruumi essuula 13 n’Ebyawandiikibwa ebirala gamba nga Tito 3:1, 2 ne 1 Peetero 2:13, 17, byekennenyezebwa bulungi era ne kizuulibwa nti “abakulu abafuga” si ye Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo, wabula nti be bafuzi ab’oku nsi.
18. Bintu ki ebyannyonnyolwa obulungi mu myaka 1980?
18 Mu myaka egyaddirira, ekkubo ly’abatuukirivu lyeyongera okufuna ekitangaala. Ng’ekyokulabirako mu 1985 abantu ba Katonda baategeera kye kitegeeza okuyitibwa mukwano gwa Katonda na ddi abantu lwe baliweebwa obutuukirivu basobole okufuna ‘obulamu’ obutaggwaawo. (Abaruumi 5:18; Yakobo 2:23) Ate mu 1987, baategeera ddi Jjubiri y’Abakristaayo lw’eribaawo.
19. Biki Yakuwa by’asobozesezza abantu okutegeera mu myaka egyakayita?
19 Mu 1995 kyategeerekeka bulungi ddi “endiga” lwe ziryawulwa mu ‘mbuzi.’ Mu 1998 okwolesebwa kwa Ezeekyeri okukwata ku yeekaalu kwannyonnyolebwa bulungi. Mu 1999, kyategeerekeka bulungi ddi era mu ngeri ki ‘eky’omuzizo ekizikiriza lwe kyandiyimiridde mu kifo ekitukuvu.’ (Matayo 24:15, 16; 25:32) Mu 2002 amakulu g’okusinza Katonda “mu mwoyo n’amazima” geeyongera okutegeerekeka—Yokaana 4:24.
20. Bintu ki ebirala abantu ba Katonda bye beeyongedde okutegeera obulungi?
20 Ng’oggyeko okututangaaza ku ngeri ekibiina gye kirina okuddukanyizibwamu n’okutuyamba okutegeera obulungi enjigiriza za Baibuli, Yakuwa era atuyambye okulongoosa mu nneeyisa yaffe. Ng’ekyokulabirako, mu 1973 kyategeerekeka nti okunywa taaba ‘kyonoona omubiri’ era kyatwalibwa ng’ekibi eky’amaanyi. (2 Abakkolinso 7:1, NW) Nga wayiseewo emyaka kkumi, akatabo The Watchtower aka Jjulaayi 15, 1983 kaatangaaza ku nnyimirira yaffe ku bikwata ku kukozesa ebyokulwanyisa. Bino bye bimu ku bintu ebizze byeyongera okutegeerekeka obulungi mu kiseera kyaffe.
Weeyongere Okutambulira mu Kitangaala Ekyeyongera
21. Ndowooza ki eyinza okutuyamba okwongera okutambulira mu kitangaala ekigenda kyeyongera?
21 Ow’oluganda omu amaze ebbanga ng’aweereza ng’omukadde agamba nti: “Si kyangu kukkiriza nkyukakyuka eziba zikoleddwa.” Kiki ekimuyambye okukkiriza enkyukakyuka ennyingi ezikoleddwa mu myaka 48 gy’amaze ng’aweereza ng’omulangirizi w’Obwakabaka? Agamba nti: “Ekintu ekikulu kwe kubeera n’endowooza ennuŋŋamu. Bw’otakkiriza nkyukakyuka ezo, ekibiina kya Yakuwa kikuleka mabega. Bwe nneesanga mu mbeera ng’eyo, nfumiitiriza ku bigambo Peetero bye yagamba Yesu nti: ‘Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.’ Bwe mmala okubifumiitirizaako nneebuuza nti, ‘Ŋŋende wa—ŋŋende mu nsi eri mu kizikiza eky’eby’omwoyo?’ Kino kinnyamba okunywerera ku kibiina kya Katonda.”—Yokaana 6:68.
22. Tuganyulwa tutya bwe tutambulira mu kitangaala eky’eby’omwoyo?
22 Ensi gye tulimu eri mu kizikiza eky’eby’omwoyo. Ekitangaala ekiva eri Yakuwa kyongera okuleetawo enjawulo wakati w’abasinza ba Yakuwa n’ensi eno. Ekitangaala kino kituyamba mu ngeri ki? Ng’ekitangaala ekimulisa awali ekinnya bwe kitaggyawo kinnya ekyo, mu ngeri y’emu ekitangaala okuva mu Kigambo kya Katonda tekiggyawo bizibu naye kituyamba okubyewala ne tweyongera okutambulira mu kkubo ery’ekitangaala ekyeyongera okwaka. Ka tweyongere okussaayo omwoyo ku kigambo kya Yakuwa eky’obunnabbi ekikola “ng’etabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza.”—2 Peetero 1:19.
Okyajjukira?
• Nkyukakyuka ki ezikwata ku ngeri ebintu gye biddukanyizibwamu mu kibiina Yakuwa z’akoze?
• Ekitangaala ekyeyongera kituyambye kulongoosa mu njigiriza ki?
• Nkyukakyuka ki z’olabye nga zikolebwa, era kiki ekikuyambye okuzikkiriza?
• Lwaki wandyagadde okweyongera okutambulira mu kitangaala ekyeyongera?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]
Olukuŋŋaana olunene olwali mu Cedar Point, Ohio mu 1922, lwazzaamu amaanyi Abayizi ba Baibuli ne bongera okukola omulimu gwa Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Enkyusa ya “New World Translation of the Christian Greek Scriptures” yafulumizibwa N. H. Knorr mu 1950
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
© 2003 BiblePlaces.com