LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 4/1 lup. 8-13
  • ‘Ai Katonda, Tuma Ekitangaala Kyo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Ai Katonda, Tuma Ekitangaala Kyo’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekitangaala Kyeyongera Okwaka
  • Ekitangaala Kigenda Kyeyongera
  • Kibikkulibwa​—Naye mu Kiseera kya Katonda Ekigereke
  • Beera Mwetegefu Okutereeza Endowooza Yo
  • ‘Bategeeze Kalonda Yenna Akwata ku Yeekaalu’
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • ‘Muleke Ekitangaala Kyammwe Kyake’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 4/1 lup. 8-13

‘Ai Katonda, Tuma Ekitangaala Kyo’

“Tuma ekitangaala kyo n’amazima go. Bino ka binkulembere.”​—ZABBULI 43:3, NW.

1. Yakuwa abikkula atya ebigendererwa bye?

YAKUWA alaga okufaayo mu ngeri gy’amanyisaamu ebigendererwa bye eri abaweereza be. Mu kifo ky’okubikkula amazima gonna omulundi gumu, atuwa ekitangaala ku mazima mpolampola. Okutambula kwaffe mu kkubo ly’obulamu kuyinza okugeraageranyizibwa ku kutambula kw’omuntu ali ku lugendo. Atandika olugendo ku makya nnyo era aba alaba kitono. Enjuba bw’etandika okuvaayo, omuntu ono atandika okulaba ebintu ebimu ebimwetoolodde. Ebirala aba tabiraba bulungi. Naye enjuba bwe yeeyongera okuvaayo, yeeyongera okulaba obulungi n’ebintu ebiri ewala. Era bwe kiri eri ekitangaala eky’eby’omwoyo Katonda ky’awa. Atuyamba okutegeera ebintu mpolampola. Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, yawa ekitangaala ky’eby’omwoyo mu ngeri y’emu. Ka tulabe engeri Yakuwa gye yawaamu abantu be ekitangaala ky’eby’omwoyo mu biseera ebyayita n’engeri gy’akikolamu leero.

2. Yakuwa yawa atya ekitangaala eky’eby’omwoyo ng’Obukristaayo tebunnabaawo?

2 Kirabika ng’abaawandiika Zabbuli 43 baali batabani ba Koola. Ng’Abaleevi, baalina enkizo ey’okuyigiriza abantu Amateeka ga Katonda. (Malaki 2:7) Kya lwatu, Yakuwa ye yali Omuyigiriza waabwe ow’Ekitalo, era gwe baatwala okuba Ensibuko y’amagezi gonna. (Isaaya 30:20) “Ai Katonda, . . . tuma ekitangaala kyo n’amazima go,” bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli eno bwe yasaba. “Bino ka binkulembere.” (Zabbuli 43:1, 3, NW) Abaisiraeri bwe baabanga abeesigwa gy’ali, Yakuwa yabayigirizanga amakubo ge. Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Yakuwa yabawa ekitangaala n’amazima eby’ekika ekya waggulu. Katonda yakola ekyo bwe yasindika Omwana we ku nsi.

3. Mu ngeri ki Abayudaaya gye baagezesebwamu okuyigiriza kwa Yesu?

3 Ng’omuntu Yesu Kristo, Omwana wa Katonda yali “ekitangaala ky’ensi.” (Yokaana 8:12, NW) Yayigiriza abantu “ebintu bingi ng’akozesa ebyokulabirako”​—ebintu ebippya. (Makko 4:2, NW) Yagamba Pontiyo Piraato: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yokaana 18:36) Ekyo kyali kirowoozo kippya eri Omuruumi era mazima ddala n’eri Abayudaaya abalowooleza mu mwoyo gwa ggwanga, kubanga baalowoozanga nti Masiya yandiwangudde Obwakabaka bwa Rooma n’addizza Isiraeri ekitiibwa kye yalina emabega. Yesu yali ayoleka ekitangaala ekiva eri Yakuwa, naye ebigambo bye tebyasanyusa bafuzi Abayudaaya, “[a]baayagala ekitiibwa ky’abantu okukira ekitiibwa kya Katonda.” (Yokaana 12:42, 43) Abantu bangi baalondawo okulemera ku bulombolombo bwabwe obw’abantu mu kifo ky’okukkiriza ekitangaala eky’eby’omwoyo n’amazima okuva eri Katonda.​—Zabbuli 43:3; Matayo 13:15.

4. Tumanya tutya nti abayigirizwa ba Yesu bandyeyongedde okukula mu kutegeera?

4 Kyokka, abasajja n’abakazi abatonotono ab’emitima emyesigwa bakkiriza n’essanyu amazima Yesu ge yayigiriza. Baakulaakulana mu kutegeera ebigendererwa bya Katonda. Kyokka, ng’enkomerero y’obulamu obw’oku nsi obw’Omuyigiriza waabwe eneetera okutuuka, baali bakyalina bingi eby’okuyiga. Yesu yabagamba: “Nkyalina bingi eby’okubabuulira, naye temuyinza kubitegeera kaakano.” (Yokaana 16:12, NW) Yee, abayigirizwa bandyeyongedde okukulaakulana mu kutegeera amazima ga Katonda.

Ekitangaala Kyeyongera Okwaka

5. Kibuuzo ki ekyajjawo mu kyasa ekyasooka, era baani abaalina obuvunaanyizibwa okukigonjoola?

5 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe, ekitangaala okuva eri Katonda kyeyongera okwaka. Mu kwolesebwa okwaweebwa Peetero, Yakuwa yakibikkula nti okuva ku olwo Ab’Amawanga abataali bakomole baali basobola okufuuka abagoberezi ba Kristo. (Ebikolwa 10:9-17) Okwo kwali kubikkulibwa kukulu! Kyokka, ekibuuzo kyajjawo oluvannyuma: Yakuwa yali yeetaagisa Ab’Amawanga ng’abo okukomolebwa oluvannyuma lw’okufuuka Abakristaayo? Ekibuuzo ekyo kyali tekiddiddwamu mu kwolesebwa, era Abakristaayo baakaayana nnyo ku nsonga eyo. Yalina okugonjoolebwa, obumu bwabwe obw’omuwendo buleme kutabanguka. N’olwekyo, mu Yerusaalemi, ‘abatume n’abakadde baakuŋŋaana okwetegereza ensonga eyo.’​—Ebikolwa 15:1, 2, 6.

6. Nkola ki abatume n’abakadde gye baagoberera bwe beekenneenya ekibuuzo ekikwata ku kukomolebwa?

6 Abo abaaliwo mu lukuŋŋana olwo banditegedde batya Katonda ky’ayagala ku bikwata ku B’Amawanga abakkiriza? Yakuwa teyatuma malayika kukubiriza lukuŋŋaana olwo, oba okuwa abaaliwo okwolesebwa. Wadde kyali kityo, abatume n’abakadde tebaalekebwa mu bbanga nga tebalina bulagirizi bwonna. Beetegereza obujulizi okuva eri Abayudaaya Abakristaayo abamu abaali balabye engeri Katonda gye yali atandise okukolagana n’abantu b’amawanga, ng’afuka omwoyo gwe omutukuvu ku B’Amawanga abatali bakomole. Era baanoonya mu Byawandiikibwa okufuna obulagirizi. N’ekyavaamu, omuyigirizwa Yakobo yaleeta ekiteeso ng’asinziira ku kyawandiikibwa ekimu ekitangaaza ku nsonga eyo. Nga bafumiitiriza ku bujulizi obwaliwo, Katonda ky’ayagala kyategeerekeka bulungi. Ab’amawanga kyali tekibeetaagisa kukomolebwa okusobola okusiimibwa Yakuwa. Abatume n’abakadde mangu ddala baateeka kye basazeewo mu buwandiike Bakristaayo bannaabwe basobole okukigoberera.​—Ebikolwa 15:12-29; 16:4.

7. Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baakulaakulana mu ngeri ki?

7 Okwawukana ku bakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaalemera ku bulombolombo bwa bajjajjaabwe, Abayudaaya Abakristaayo abasinga obungi baasanyuka bwe baafuna okutegeera kuno okuppya okw’ekigendererwa kya Katonda ku bikwata ku bantu b’amawanga, wadde ng’okukukkiriza kyali kyetaagisa okukyusa endowooza yaabwe ku bikwata ku B’Amawanga. Yakuwa yawa omukisa omwoyo gwabwe omwetoowaze, era “ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku.”​—Ebikolwa 15:31; 16:5.

8. (a) Tumanya tutya nti twandisuubidde ekitangaala ekirala oluvannyuma lw’ekyasa ekyasooka? (b) Bibuuzo ki ebituukirawo bye tujja okwekenneenya?

8 Ekitangaala eky’eby’omwoyo kyeyongera okwaka mu kyasa ekyasooka. Naye Yakuwa teyabikkula buli kintu kyonna ekikwata ku bigendererwa bye eri Abakristaayo abaasooka. Omutume Pawulo yagamba bakkiriza banne mu kyasa ekyasooka: “Kaakano tetulaba bulungi nga tukozesa endabirwamu ey’ekyuma.” (1 Abakkolinso 13:12, NW) Endabirwamu ng’eyo yali teraba bulungi. N’olwekyo, mu kusooka, okutegeera ekitangaala eky’eby’omwoyo kwandibadde kutono. Oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, ekitangaala kyakendeera okumala akaseera, naye mu biseera ebyakayita okumanya kw’Ebyawandiikibwa kweyongedde. (Danyeri 12:4) Yakuwa awa atya abantu be ekitangaala eky’eby’omwoyo leero? Era twandyeyisizza tutya ng’agaziyiza okutegeera kwaffe okw’Ebyawandiikibwa?

Ekitangaala Kigenda Kyeyongera

9. Ngeri ki ey’enjawulo era ennungi ey’okuyiga Baibuli eyakozesebwa Abayizi ba Baibuli ab’edda?

9 Mu biseera byaffe ekitangaala kyatandika okwaka mu kitundu ekisembayo eky’ekyasa 19 ekibiina ky’abasajja n’abakazi Abakristaayo bwe kyatandika okwekenneenya Ebyawandiikibwa mu bwesimbu. Baatandikawo engeri y’okuyiga Baibuli ey’omugaso. Omuntu omu yabuuzanga ekibuuzo; awo ekibiina ne kyekenneenya Ebyawandiikibwa byonna ebikikwatako. Olunyiriri olumu mu Baibuli bwe lwalabika ng’olukontana n’olulala, Abakristaayo bano abeesimbu baafubanga okuzikwataganya. Okwawukana ku bakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera ekyo, Abayizi ba Baibuli (ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali bamanyiddwa mu kiseera ekyo) baali bamalirivu okuleka Ebyawandiikibwa Ebitukuvu okubaluŋŋamya, so si obulombolombo oba enjigiriza z’abantu. Nga bamaze okwekenneenya obujulizi bwonna obw’Ebyawandiikibwa obwaliwo, baateekanga mu buwandiike bye basazeewo. Mu ngeri eyo, baasobola okutegeera enjigiriza za Baibuli enkulu nnyingi.

10. Charles Taze Russell yawandiika bitabo ki ebiyamba okuyiga Baibuli?

10 Omu ku Bayizi ba Baibuli ow’enkukunala yali Charles Taze Russell. Yawandiika emizingo mukaaga egy’ebitabo ebiyamba okuyiga Baibuli ebiyitibwa Studies in the Scriptures. Ow’oluganda Russell yalina ekigendererwa eky’okuwandiika omuzingo ogw’omusanvu, ogwandinnyonnyodde ebitabo bya Baibuli ebya Ezeekyeri n’Okubikkulirwa. “Lwe ndifuna okutegeera okulinsobozesa okubinnyonnyola,” bw’atyo bwe yagamba, “ndiwandiika Omuzingo ogw’Omusanvu.” Kyokka, yagattako: “Singa Mukama waffe anaawa omuntu omulala okutegeera okwo, ayinza okuguwandiika.”

11. Kakwate ki akaliwo wakati w’ekiseera ekituufu n’okutegeera ekigendererwa kya Katonda?

11 Ebigambo ebyo ebya C. T. Russell byoleka ekintu ekikulu ekitusobozesa okutegeera ebitundu ebimu eby’omu Baibuli​—ekiseera ekituufu. Ow’oluganda Russell yali akimanyi nti yali tayinza kukaka kitangaala kwaka ku kitabo ky’Okubikkulirwa era ng’omuntu ali ku lugendo bw’atayinza kukaka njuba kuvaayo ng’ekiseera kyayo tekinnatuuka.

Kibikkulibwa​—Naye mu Kiseera kya Katonda Ekigereke

12. (a) Ddi obunnabbi bwa Baibuli lwe businga okutegeerwa obulungi? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti obusobozi bwaffe obw’okutegeera obunnabbi bwa Baibuli bwesigamye ku kiseera kya Katonda ekituufu? (Laba obugambo obutono wansi.)

12 Ng’abatume bwe baategeera obunnabbi bungi obukwata ku Masiya oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe, Abakristaayo leero bategeera bulungi obunnabbi bwa Baibuli nga bumaze okutuukirizibwa. (Lukka 24:15, 27; Ebikolwa 1:15-21; 4:26, 27) Okubikkulirwa kitabo kya bunnabbi, n’olwekyo twandisuubidde okukitegeera obulungi ng’ebintu bye kyogerako bigenda bituukirizibwa. Ng’ekyokulabirako, C. T. Russell yali tayinza kutegeera makulu g’ensolo emmyufu ey’akabonero eyogerwako mu Okubikkulirwa 17:9-11, okuva ebibiina ensolo bye yali ekiikirira, Ekinywi ky’Amawanga n’ekibiina ky’Amawanga Amagatte, bwe bitaaliwo okutuusa oluvannyuma lw’okufa kwe.a

13. Kiki ekitera okubaawo ekitangaala bwe kyaka ku nsonga emu ey’omu Baibuli?

13 Abakristaayo abaasooka bwe baayiga nti Ab’Amawanga abatali bakomole baali basobola okufuuka bakkiriza bannaabwe, enkyukakyuka eyo yaleetawo ekibuuzo ekippya ekikwata ku bwetaavu bw’okukomola ab’amawanga. Kino kyaleetera abatume n’abakadde okuddamu okwekenneenya buto ensonga ekwata ku kukomolebwa. Enkola y’emu y’egobererwa leero. Okwaka kw’ekitangaala ku nsonga emu eya Baibuli emirundi egimu kuleetera abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ okuddamu okwekenneenya ensonga ezikwatibwako, ng’ekyokulabirako ekiddako bwe kiraga.​—Matayo 24:45.

14-16. Okutereeza endowooza gye twalina ku yeekaalu ey’eby’omwoyo kwakwata kutya ku ngeri gye tutegeeramu Ezeekyeri essuula 40 okutuuka ku 48?

14 Mu 1971 ennyinnyonnyola y’obunnabbi bwa Ezeekyeri yafulumizibwa mu kitabo “The Nations Shall Know That I Am Jehovah”​—How? Essuula emu mu kitabo ekyo mu bufunze yannyonnyola okwolesebwa kwa Ezeekyeri okwa yeekaalu. (Ezeekyeri, essuula 40-48) Mu kiseera ekyo, essira lyateekebwa ku ngeri okwolesebwa kwa Ezeekyeri okwa yeekaalu gye kwandituukiriziddwamu mu nsi empya.​—2 Peetero 3:13.

15 Kyokka, ebitundu bibiri ebyafulumizibwa mu The Watchtower aka Ddesemba 1, 1972, byakyusa engeri gye tutegeeramu okwolesebwa kwa Ezeekyeri. Byannyonnyola yeekaalu enkulu ey’eby’omwoyo omutume Pawulo gye yayogerako mu Abaebbulaniya essuula 10. Akatabo The Watchtower kannyonnyola nti ekisenge Ekitukuvu n’oluggya olw’omunda olwa yeekaalu ey’eby’omwoyo bikwata ku mbeera y’abaafukibwako amafuta nga bakyali ku nsi. Ezeekyeri essuula 40 okutuuka ku 48 bwe zaddamu okwekenneenyezebwa oluvannyuma lw’emyaka, baakitegeera nti nga yeekaalu ey’eby’omwoyo bw’ekola leero, ne yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa eteekwa okuba ng’ekola leero. Mu ngeri ki?

16 Mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri, bakabona balabibwa nga batambula mu mpya za yeekaalu nga baweereza ebika ebitali bya bakabona. Kya lwatu bakabona bano bakiikirira “bakabona ba kabaka,” nga bano be baweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta. (1 Peetero 2:9) Kyokka, tebajja kuweerereza mu luggya lwa yeekaalu ey’oku nsi mu Myaka gyonna Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo. (Okubikkulirwa 20:4) Ekiseera ekisinga obunene eky’obufuzi obwo, kabekasinge ekiseera kyonna, abaafukibwako amafuta bajja kuweereza Katonda mu Awasinga Obutukuvu mu yeekaalu ey’eby’omwoyo, mu “ggulu mwennyini.” (Abaebbulaniya 9:24) Okuva bakabona bwe balabibwa nga bayingira ate nga bafuluma mu mpya za yeekaalu ya Ezeekyeri, okwolesebwa okwo kuteekwa okuba nga kutuukirizibwa leero, ng’abaafukibwako amafuta abamu bakyali ku nsi. Nga kituukana n’ekyo, magazini eno eya Maaki 1, 1999 yawa endowooza empya ku nsonga eno. Bwe kityo, okutuukira ddala ku nkomerero y’ekyasa 20, ekitangaala eky’eby’omwoyo kyase ku bunnabbi bwa Ezeekyeri.

Beera Mwetegefu Okutereeza Endowooza Yo

17. Nkyukakyuka ki z’okoze mu ndowooza yo okuva bwe wayiga amazima, era zikuganyudde zitya?

17 Buli muntu yenna ayagala okumanya amazima ateekwa okubeera omwetegefu ‘okujeemulula buli kirowoozo okuwulira Kristo.’ (2 Abakkolinso 10:5) Ekyo tekiba kyangu buli kiseera, naddala ng’endowooza zaasimba dda amakanda. Ng’ekyokulabirako, nga tonnayiga mazima ga Katonda, oyinza okuba wanyumirwanga okukuza ennaku z’eddiini ezimu n’ab’omu maka go. Bwe watandika okuyiga Baibuli, wakitegeera nti ennaku zino ddala zaasibuka mu bakaafiiri. Mu kusooka, oyinza okuba tewayagala kuteeka mu nkola bye wali oyiga. Kyokka, ku nkomerero, okwagala kwe walina eri Katonda kweraga okubeera okw’amaanyi okusinga enneewulira yo ey’eby’eddiini, era n’olekera awo okwenyigira mu mikolo egitasanyusa Katonda. Okusalawo kwo Yakuwa takuwadde omukisa?​—Geraageranya Abaebbulaniya 11:25.

18. Twandikoze ki singa engeri gye tutegeeramu amazima ga Baibuli etereezebwa?

18 Bulijjo tuganyulwa bwe tukola ebintu nga Katonda bw’ayagala. (Isaaya 48:17, 18) N’olwekyo endowooza gye tulina ku kitundu ekimu ekya Baibuli bw’etereezebwa, ka tusanyukirenga mu mazima ageeyongera! Mazima ddala, ffe okweyongera okufuna ekitangaala kikakasa nti tuli mu kkubo ettuufu. “Ekkubo ery’abatuukirivu,” liriŋŋanga ‘ekitangaala ekyeyongerayongera okutuusa obudde lwe butuukirira.’ (Engero 4:18) Kyo kituufu nti, kati ‘tetulaba bulungi’ ebintu ebimu ebikwata ku kigendererwa kya Katonda. Naye ekiseera kya Katonda ekigereke bwe kinaatuuka, tujja kulaba amazima mu bulungi bwago bwonna, kasita kiba nti ebigere byaffe binyweredde mu ‘kkubo.’ Ng’ekyo tekinnabaawo, tusanyukire mu mazima Yakuwa g’atusobozesezza okutegeera, nga tulindirira okufuna ekitangaala ku ago ge tutannategeera bulungi.

19. Ngeri ki emu mwe tuyinza okulagira nti twagala amazima?

19 Tuyinza tutya okwoleka okwagala kwaffe eri ekitangaala mu ngeri ey’omugaso? Engeri emu kwe kusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa​—buli lunaku bwe kiba kisoboka. Ogoberera enteekateeka ey’okusoma Baibuli obutayosa? Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! nazo zituwa emmere ey’eby’omwoyo ezimba mu bungi. Era lowooza ku bitabo, brocuwa, n’ebitabo ebirala ebitegekeddwa okutuganyula. Ate lipoota ezizzaamu amaanyi ez’omulimu gw’okubuulira ezifulumira mu Yearbook of Jehovah’s Witnesses?

20. Kakwate ki akaliwo wakati w’ekitangaala n’amazima ebiva eri Yakuwa n’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?

20 Yee, Yakuwa mu ngeri ey’ekitalo azzeemu okusaba okuli mu Zabbuli 43:3. Ku nkomerero y’olunyiriri olwo, tusoma: “[Ekitangaala kyo n’amazima] bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, ne mu weema zo.” Weesunga okusinza Yakuwa wamu n’abantu abalala bangi? Okuyigiriza okw’eby’omwoyo okuweebwa mu nkuŋŋaana zaffe ngeri nkulu Yakuwa mw’atuweera ekitangaala eky’eby’omwoyo leero. Kiki kye tuyinza okukola tusobole okwongera okusiima enkuŋŋaana z’Ekikristaayo? Tukusaba weekenneenye ensonga eno mu kitundu ekiddako era kiteeke mu kusaba kwo.

[Obugambo obuli wansi]

a Oluvannyuma lw’okufa kwa C. T. Russell, ekitabo ekyayitibwa omuzingo ogw’omusanvu ogwa Studies in the Scriptures kyawandiikibwa okugezaako okunnyonnyola ebitabo bya Ezeekyeri n’Okubikkulirwa. Omuzingo guno gwali gwesigamiziddwa ku bintu ebimu Russell bye yali ayogedde ku bitabo bya Baibuli ebyo. Kyokka, ekiseera eky’okubikkula amakulu g’obunnabbi obwo kyali tekinnatuuka, era okutwalira awamu, ennyinnyonnyola eyali mu muzingo gwa Studies in the Scriptures yali tetegeerekeka bulungi. Mu myaka egyaddirira, ekisa kya Yakuwa ekitatusaanira n’ebibaddewo mu nsi bisobozesezza Abakristaayo okutegeera amakulu g’ebitabo ebyo eby’obunnabbi mu ngeri entuufu.

Osobola Okuddamu?

• Lwaki Yakuwa abikkula ekigendererwa kye mpolampola?

• Abatume n’abakadde mu Yerusaalemi baagonjoola batya ensonga ekwata ku kukomolebwa?

• Ngeri ki ey’okuyiga Baibuli, Abayizi ba Baibuli ab’edda gye baakozesa, era lwaki yali ya njawulo?

• Laga engeri ekitangaala eky’eby’omwoyo gye kibikkulwa mu kiseera kya Katonda ekigereke.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Charles Taze Russell yali amanyi nti ekitangaala kyandyase ku kitabo ky’Okubikkulirwa mu kiseera kya Katonda ekituufu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share