LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 2/1 lup. 29-32
  • Engeri Akakiiko Akafuzi Gye Kaawukanamu ku Kibiina eky’Omu Mateeka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Akakiiko Akafuzi Gye Kaawukanamu ku Kibiina eky’Omu Mateeka
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Olukuŋŋaana Olwa Buli Mwaka olw’Ebyafaayo
  • Olukuŋŋaana Olulala Olwa Buli Mwaka olw’Ebyafaayo
  • Erinnya lya Yakuwa Likulembezebwa
  • Okubunyisa Ekigambo kya Katonda Kutumbulwa
  • Ekirango eky’Enjawulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Ani Akulembera Abantu ba Katonda Leero?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Obuvunaanyizibwa “Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi” bw’Alina
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Leero Akakiiko Akafuzi Katambuza Katya Emirimu Gyako?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 2/1 lup. 29-32

Engeri Akakiiko Akafuzi Gye Kaawukanamu ku Kibiina eky’Omu Mateeka

ENKUŊŊAANA za Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania eza buli mwaka zize zibaawo okuva nga Jjanwali 1885. Okukuŋŋaanyizibwa kw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe kwatandika ng’ekyasa 19 kinaatera okuggwaako, badayirekita ne boofiisa b’ekibiina kino baalina essuubi ery’omu ggulu. Mu butuufu, kibadde bwe kityo kumpi ebbanga lyonna.

Waaliwo ekyawukana ku kino kimu. Mu 1940, Hayden C. Covington​—mu kiseera ekyo eyali awa Sosayate amagezi mu by’amateeka era omu ku ‘b’endiga endala,’ eyalina essuubi ery’oku nsi​—yalondebwa okubeera omu ku badayirekita ba Sosayate. (Yokaana 10:16) Yaweereza ng’omumyuka wa prezidenti wa Sosayate okuva mu 1942 okutuuka mu 1945. Mu kiseera ekyo, Ow’Oluganda Covington yalekulira obwa dayirekita okusobola okutuukana n’ekyalabika nga Yakuwa ky’ayagala mu kiseera ekyo​—nti badayirekita bonna ne boofiisa b’ekibiina ky’e Pennsylvania balina okuba Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Lyman A. Swingle yadda mu kifo kya Hayden C. Covington ku kakiiko ka badayirekita, ate Frederick W. Franz yalondebwa okubeera omumyuka wa prezidenti.

Lwaki abaweereza ba Yakuwa baalina endowooza nti badayirekita bonna ne boofiisa ba Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania basaanidde okubeera Abakristaayo abaafukibwako amafuta? Kubanga mu kiseera ekyo, akakiiko ka badayirekita ne boofiisa b’ekibiina ky’e Pennsylvania baakwataganyizibwanga nnyo n’Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, ebiseera byonna akabaddeko abasajja abaafukibwako amafuta bokka.

Olukuŋŋaana Olwa Buli Mwaka olw’Ebyafaayo

Ku lukuŋŋaana olwa buli mwaka olwaliwo nga Okitobba 2, 1944 mu Pittsburgh, bamemba b’ekibiina ky’e Pennsylvania baayisa ebiteeso mukaaga nga balongoosa mu kiwandiiko ekiraga ebigendererwa by’ekibiina ekyo. Ekiwandiiko ekyo kyali kigamba nti emigabo gy’okukuba akalulu giweebwe abo abawaayo ssente eri omulimu gwa Sosayate, naye okulongoosaamu okw’omulundi ogw’okusatu kwamenyawo enkola eyo. Lipoota ekwata ku lukuŋŋaana lwa buli mwaka olwo yagamba: “Bamemba ba Sosayate tebajja kusukka 500 . . . Buli alondebwa ateekwa okubeera omuweereza wa Sosayate ow’ekiseera kyonna oba omuweereza w’ekibinja [ekibiina] ky’Abajulirwa ba Yakuwa era ng’ayoleka omwoyo gwa Mukama waffe.”

Oluvannyuma lw’ekyo, badayirekita ba Sosayate baali ba kulondebwa abantu abeewaddeyo mu bujjuvu eri Yakuwa, ka babe nga bawaayo ssente mmeka okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Kino kyali kituukana n’okulongoosebwa okwalagulwa mu Isaaya 60:17, we tusoma: “Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma: era ndifuula abaami [“abalabirizi,” NW] bo okuba emirembe n’abakusolooza [“abagaba emirimu,” NW] okuba obutuukirivu.” Mu kwogera ku ‘balabirizi’ ne “abagaba emirimu,” obunnabbi buno bwasonga ku kulongoosebwa mu nkola z’entegeka mu bantu ba Yakuwa.

Eddaala lino ekkulu eryaleetera entegeka okutuukana n’enkola ya teyokulase lyaliwo ku nkomerero ya “amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu,” ebyogerwako mu Danyeri 8:14. Mu kiseera ekyo, “awatukuvu” ne “walyoka walongoosebwa.”

Kyokka, oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo olwa buli mwaka olw’ebyafaayo mu 1944, ekibuuzo ekikulu kyajjawo. Okuva Akakiiko Akafuzi mu kiseera ekyo bwe kaali kakwataganyizibwa ennyo n’ekibiina ky’e Pennsylvania ekya badayirekita omusanvu, kino kyali kitegeeza nti Akakiiko Akafuzi kaali tekayinza kubaako Bakristaayo abaafukibwako amafuta abasukka mu musanvu? Ate era, okuva badayirekita bwe balondebwa bamemba b’ekibiina, bamemba b’ekibiina baali balonda n’ab’oku Kakiiko Akafuzi ku buli lukuŋŋaana lwa buli mwaka? Badayirekita ne boofiisa ba Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania n’ab’oku Kakiiko Akafuzi be bamu, oba ba njawulo?

Olukuŋŋaana Olulala Olwa Buli Mwaka olw’Ebyafaayo

Ebibuuzo bino byaddibwamu ku lukuŋŋaana olwa buli mwaka olwaliwo nga Okitobba 1, 1971. Ku olwo, omwogezi omu yagamba nti akakiiko akafuzi ‘ak’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ kaaliwo ebikumi n’ebikumi by’emyaka nga Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania tekinnabaawo. (Matayo 24:45-47) Akakiiko akafuzi kaatandikibwawo ku Pentekooti 33 C.E., ebyasa ebisukka mu 18 ng’ekibiina ky’e Pennsylvania tekinnatandikibwawo. Mu kusooka, akakiiko akafuzi kaaliko abatume 12 so si basajja 7. Kirabika, oluvannyuma abaakaliko beeyongerako, kubanga ‘abatume n’abakadde e Yerusaalemi’ be baali batwala obukulembeze.​—Ebikolwa 15:2.

Mu 1971 omwogezi y’omu yannyonnyola nti bamemba ba Watch Tower Society baali tebayinza kulonda ab’oku Kakiiko Akafuzi abaafukibwako amafuta. Lwaki? “Kubanga,” bw’atyo bwe yagamba, “akakiiko akafuzi ak’ekibiina ‘ky’omuddu’ tekalondebwa muntu yenna. Kalondebwa . . . Yesu Kristo, Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo era Omukulu w’ekibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’” N’olwekyo, ab’oku Kakiiko Akafuzi tebayinza kulondebwa bamemba b’ekibiina kyonna.

Nga yeeyongera mu maaso, omwogezi yayogera ebigambo bino ebikulu ennyo: “Akakiiko akafuzi tekalina boofiisa ng’ab’oku Kakiiko ka Badayirekita ba Sosayate, kwe kugamba, prezidenti, omumyuka wa prezidenti, omuwandiisi era omuwanika era n’omumyuka we. Kalina bubeezi ssentebe.” Okumala emyaka mingi, prezidenti w’ekibiina ky’e Pennsylvania era ye yali asinga obukulu ku Kakiiko Akafuzi. Enkola eno teyali ya kweyongera mu maaso. Wadde nga tebenkanankana mu bumanyirivu oba obusobozi, ab’oku Kakiiko Akafuzi bandibadde n’obuvunaanyizibwa obwenkanankana. Omwogezi yagattako: “Yenna ali ku kakiiko akafuzi ayinza okubeera ssentebe waako wadde nga si ye prezidenti wa . . . Sosayate . . . Ekyo kyesigamye ku nkola y’okukyusa mu mpalo ssentebe w’akakiiko akafuzi.”

Ku lukuŋŋaana olwo olw’ebyafaayo olw’omu 1971, enjawulo yalagibwa bulungi wakati w’ab’oku Kakiiko Akafuzi abaafukibwako amafuta ne badayirekita b’ekibiina ky’e Pennsylvania. Wadde kyali kityo, ab’oku Kakiiko Akafuzi beeyongera okuweereza nga badayirekita era boofiisa ba Sosayate. Kyokka, leero ekibuuzo kijjawo: Waliwo ensonga yonna ey’omu Byawandiikibwa lwaki badayirekita ba Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania bateekwa okubeera ku Kakiiko Akafuzi?

Eky’okuddamu kiri nti nedda. Ekibiina ky’e Pennsylvania si kye kibiina kyokka eky’omu mateeka ekikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa. Waliwo ebirala. Ekimu ku bino, ye Watchtower Bible and Tract Society of New York, Incorporated. Kiyamba okuddukanya emirimu gyaffe mu Amereka. Mazima ddala emikisa gya Yakuwa gibadde ku kibiina kino, wadde nga badayirekita baakyo ne boofiisa okusingira ddala babadde bava mu ‘b’endiga endala.’ International Bible Students Association kikozesebwa mu Bungereza. Ebibiina ebirala eby’omu mateeka bikozesebwa okutumbula ebiruubirirwa by’Obwakabaka mu nsi endala. Byonna bikolera wamu nga biwa obuyambi era bibadde ne kifo kinene mu kubunyisa amawulire amalungi mu nsi yonna. Ka bibeere mu kifo ki oba baani abaweereza nga badayirekita oba boofiisa, ebibiina bino biweebwa obulagirizi mu nkola ya teyokulase era bikozesebwa Akakiiko Akafuzi. Bwe kityo ebibiina ng’ebyo birina emirimu gye biweereddwa mu kwongera mu maaso ebiruubirirwa by’Obwakabaka.

Kya muganyulo ffe okubeera n’ebibiina eby’omu mateeka. Mu ngeri eyo, tutuukana n’amateeka g’omu bitundu n’ag’eggwanga, nga bwe kyetaagisibwa Ekigambo kya Katonda. (Yeremiya 32:11; Abaruumi 13:1) Ebibiina by’omu mateeka biyamba mu mulimu gwaffe ogw’okusaasaanya obubaka bw’Obwakabaka nga bikuba Baibuli, ebitabo ne magazini, brocuwa n’ebintu ebirala. Ebibiina ng’ebyo era byeyambisibwa mu mateeka okukola ku nsonga z’obwannanyini ku bintu, okuwa obuyambi mu butyabaga, n’okukola endagaano z’okufuna ebifo eby’okukozesa mu nkuŋŋaana ennene, n’ebirala. Tusiima nnyo obuweereza bw’ebibiina ng’ebyo eby’omu mateeka.

Erinnya lya Yakuwa Likulembezebwa

Mu 1944, Akatundu II ak’omu kiwandiiko ekiraga ebigendererwa bya Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania kaalongoosebwamu okuggumiza ebigendererwa by’ekibiina ekyo. Okusinziira ku kiwandiiko ekyo, ebigendererwa bya Sosayate bitwaliramu ekigendererwa kino ekikulu: “Okubuulira enjiri y’obwakabaka bwa Katonda wansi wa Kristo Yesu eri amawanga gonna ng’obujulirwa eri erinnya, ekigambo n’obukulu bwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, YAKUWA.”

Okuva mu 1926 ‘omuddu omwesigwa’ akulembezza erinnya lya Yakuwa. Omwaka 1931 gwali mukulu nnyo kubanga Abayizi ba Baibuli baafuna erinnya Abajulirwa ba Yakuwa. (Isaaya 43:10-12) Mu bitabo bya Sosayate ebisizza ennyo essira ku linnya lya Katonda mulimu Jehovah (1934), “Let Your Name Be Sanctified” (1961), ne “The Nations Shall Know That I Am Jehovah”​—How? (1971).

Tunokolayo mu ngeri ey’enjawulo New World Translation of the Holy Scriptures, eyakubibwa mu bulambirira mu Lungereza mu 1960. Erimu erinnya lya Yakuwa mu buli kifo Ennukuta Ennya ez’erinnya lya Katonda we zisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Enkyusa eyo era erimu erinnya lya Katonda mu bifo 237 mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani, ebifo mwe lirina okuba oluvannyuma lw’okwekennenya n’obwegendereza. Nga tuli basanyufu nnyo nti, mu ngeri ezitali zimu, Yakuwa akkirizza ‘omuddu’ n’Akakiiko ke Akafuzi okukozesa obusobozi bwe balina obw’okukuba ebitabo n’ebibiina by’omu mateeka okumanyisa erinnya lye mu nsi yonna!

Okubunyisa Ekigambo kya Katonda Kutumbulwa

Abantu ba Yakuwa bulijjo babadde bawa obujulirwa ku linnya lye era batumbudde Ekigambo kye nga bakuba era ne babunyisa obukadde n’obukadde bw’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ne Baibuli yennyini. Mu matandika g’emyaka gya 1900, Watch Tower Society yafuna obwannanyini ku The Emphatic Diaglott, enkyusa ya Benjamin Wilson mu Lungereza n’Oluyonaani ey’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani. Sosayate yakuba enkyusa y’Abayizi ba Baibuli eya King James Version, eyalimu appendix ey’empapula 500. Mu 1942, yakuba King James Version eyalimu ebyawandiikibwa ebijuliza mu miwaatwa. Mu 1944, Sosayate yatandika okukuba American Standard Version eya 1901, ekozesa erinnya lya Katonda. Era erinnya lya Yakuwa lyali mu The Bible in Living English, eya Stephen T. Byington, Sosayate gye yakuba mu 1972.

Ebibiina by’omu mateeka ebikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa biyambye nnyo mu kukuba n’okubunyisa enkyusa za Baibuli zino zonna. Kyokka, ekikulu ennyo, ye nkolagana ey’oku lusegere wakati wa Watch Tower Society n’ekibinja ky’Abajulirwa ba Yakuwa abaafukibwako amafuta ab’oku Kakiiko Akavvuunula Baibuli ya New World Translation. Tuli basanyufu nti, mu bulambirira, oba ekitundu kyayo, kampegaano, kopi z’enkyusa eno ezisukka mu 106,400,000 zikubiddwa mu nnimi 38. Mazima ddala, Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania sosayate ya Baibuli!

‘Omuddu omwesigwa’ ‘akwasiddwa ebintu bya Mukama we byonna.’ Bino bitwaliramu ebikozesebwa ku kitebe ekikulu mu Ssaza lya New York, Amereka, ne ku matabi 110 kati agakola okwetooloola ensi yonna. Ab’ekibiina ky’omuddu bamanyi nti bavunaanyizibwa ku ngeri gye bakozesezzaamu ebibakwasiddwa. (Matayo 25:14-30) Kyokka, kino tekiziyiza ‘muddu’ kukkiriza abalabirizi abalina ebisaanyizo okuva mu ‘b’endiga endala’ okutwala obuvunaanyizibwa obw’omu mateeka n’obulala. Mu butuufu, kino kisobozesa ab’Akakiiko Akafuzi okuwaayo ebiseera ebisingawo eri ‘okusaba n’obuweereza bw’ekigambo.’​—Ebikolwa 6:4.

Kasita embeera mu nsi eno ziba nga zikisobozesa, Akakiiko Akafuzi, akakiikirira ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ kajja kweyambisa ebibiina bino eby’omu mateeka. Biyamba naye biyinza okusattululwa. Singa ekibiina ky’omu mateeka kisattululwa olw’ekiragiro kya gavumenti, omulimu gw’okubuulira gweyongera mu maaso. Ne mu kiseera kino, mu nsi omuli okukugira era nga teri bibiina bya mu mateeka ebikozesebwa, obubaka bw’Obwakabaka bulangirirwa, abantu bafuulibwa abayigirizwa, era eriyo okweyongera kwa teyokulase. Ekyo weekiri kubanga Abajulirwa ba Yakuwa basimba ne bafukirira, ate ‘Katonda n’akuza.’​—1 Abakkolinso 3:6, 7.

Nga tutunuulira ebiseera eby’omu maaso, tuli bagumu nti Yakuwa ajja kukola ku byetaago eby’omwoyo n’eby’omubiri eby’abantu be. Ye n’Omwana we, Yesu Kristo, bajja kweyongera okuwa obulagirizi n’obuwagizi okuva mu ggulu obwetaagisa okumaliriza omulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Kya lwatu nti, kyonna kye tutuukiriza ng’abaweereza ba Katonda kikolebwa ‘si lwa maanyi, so si lwa buyinza, naye lwa mwoyo gwa Yakuwa.’ (Zekkaliya 4:6) N’olwekyo, tusaba obuyambi bwa Katonda, nga tumanyi nti mu maanyi Yakuwa g’agaba, tujja kusobola okumaliriza omulimu gw’atuwadde okukola mu kiseera kino eky’enkomerero!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share