Ekirango eky’Enjawulo
KU NKOMERERO y’olukuŋŋaana lwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania olwa buli mwaka, nga Okitobba 7, 2000, ekirango eky’enjawulo kyasomebwa ssentebe, John E. Barr ow’oku Kakiiko Akafuzi. Ekirango kino kyesigama ku mboozi ezaali ziweereddwa Theodore Jaracz ne Daniel Sydlik emabegako ku ntandikwa y’olunaku.—Laba empapula xx eza magazini eno.
Ng’ayogera ensonga enkulu ennyo, Ow’Oluganda Barr yagamba: “‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ n’Akakiiko ke Akafuzi baweereddwa obuvunaanyizibwa obukulu ennyo era obusingira ewala obwo obuweebwa ebibiina by’omu mateeka. Okusinziira ku kiwandiiko ekiraga ebigendererwa by’ebibiina eby’omu mateeka, bikola ku nsonga zimu zokka. Kyokka, Mukama waffe, Yesu Kristo, akwasizza ekibiina ky’omuddu omwesigwa “ebintu bye byonna,” oba ebiruubirirwa eby’Obwakabaka wano ku nsi.”—Matayo 24:45-47.
Ku bikwata ku kibiina ky’e Pennsylvania, Ow’Oluganda Barr yagattako: “Okuva lwe kyatandikibwawo mu 1884, ekibiina kya Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania kikoze kinene nnyo mu byafaayo by’omu kiseera kyaffe. Wadde kiri kityo, ekibiina ekyo eky’omu mateeka kikozesebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ bwe kiba kyetaagisa.”
Mu mboozi zaabwe, Ab’Oluganda Sydlik ne Jaracz baali bannyonnyodde nti eky’okuba nti ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ akwasiddwa ebintu byonna ebya Mukama waffe eby’oku nsi, tekiziyiza kibiina ky’omuddu okukkiriza abasajja abalina ebisaanyizo okuva mu ‘b’endiga endala’ okutwala obuvunaanyizibwa obumu. (Yokaana 10:16) Era tewali nsonga yonna okuva mu Byawandiikibwa eyeetaagisa nti bonna oba abamu ku badayirekita b’ebibiina eby’omu mateeka ebikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa balina kubeera Bakristaayo abaafukibwako amafuta.
Ow’Oluganda Barr yategeeza abamuwuliriza nti gye buvuddeko awo ab’oku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa abaali baweereza nga badayirekita ne boofiisa, kyeyagalire, baalekulira ebifo byabwe eby’oku bukiiko bwa badayirekita b’ebibiina byonna ebikozesebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ mu Amereka. Ab’oluganda ab’obuvunaanyizibwa ab’ekibiina ky’endiga endala baalondebwa mu bifo byabwe.
Okusalawo kuno mazima ddala kwa muganyulo. Kisobozesa ab’oku Kakiiko Akafuzi okuwaayo ebiseera ebisingako mu kuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo era n’okukola ku byetaago eby’omwoyo eby’oluganda olw’ensi yonna.
Mu kufundikira, ssentebe yategeeza abaali bamuwuliriza: “Wadde ng’emirimu egitali gimu egikwata ku by’omu mateeka n’emirala giweereddwa abalabirizi abalina obumanyirivu, . . . bonna bakolera wansi w’obulagirizi obw’eby’omwoyo obw’Akakiiko Akafuzi. . . . Ffenna, awamu n’okusaba tutunuulira Yakuwa okuwa omukisa okufuba kwaffe okw’awamu mu kukola by’ayagala, kiweese ekitiibwa n’ettendo erinnya lye ekkulu.”