Olunaku lwa Yakuwa olw’Omusango Luli Kumpi!
“Olunaku olukulu olwa Yakuwa luli kumpi. Luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo.”—ZEFFANIYA 1:14, NW.
1. Kulabula ki Katonda kwe yawa okuyitira mu Zeffaniya?
YAKUWA KATONDA anaatera okuzikiriza ababi. Wuliriza! Kuno kwe kulabula kwe: “Ndimalawo omuntu . . . era ndimalawo abantu okuva ku maaso g’ensi.” (Zeffaniya 1:3) Ebigambo ebyo ebya Mukama Afuga Byonna Yakuwa, byayogerwa okuyitira mu nnabbi we Zeffaniya, oboolyawo eyali muzzukulu wa Kabaka Keezeekiya omwesigwa. Ekirangiriro ekyo, ekyakolebwa mu kiseera kya Kabaka omulungi Yosiya, tekyalagula birungi eri ababi abaali mu nsi Yuda.
2. Lwaki ebyo Yosiya bye yakola tebyaziyiza lunaku lwa Yakuwa olw’omusango?
2 Awatali kubuusabuusa obunnabbi bwa Zeffaniya bwaleetera Yosiya omuto okulaba obwetaavu obw’okuggya mu Yuda okusinza okutali kulongoofu. Kyokka, kabaka bye yakola okuggya mu Yuda okusinza okw’obulimba tebyamalawo bubi bwonna mu bantu wadde okutangirira ebibi bya jjajjaawe, Kabaka Manase, eyali ‘ajjuzizza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango.’ (2 Bassekabaka 24:3, 4; 2 Ebyomumirembe 34:3) N’olwekyo, olunaku lwa Yakuwa olw’okusala omusango lwali luteekwa okujja.
3. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti kisoboka okuwonawo ku ‘lunaku olw’obusungu bwa Mukama’?
3 Kyokka, waali wa kubeerawo abawonawo ku lunaku olwo olw’entiisa. N’olwekyo, nnabbi wa Katonda yagamba: “Etteeka nga terinnaba kuzaala, olunaku nga terunnayita ng’ebisusunku, ekiruyi kya Mukama nga tekinnabatuukako, olunaku olw’obusungu bwa Mukama, nga terunnabatuukako. Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi, abakola emisango gye; munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu: Mpozzi mulikwekebwa ku lunaku lw’obusungu bwa Mukama.” (Zeffaniya 2:2, 3) Nga tulina essuubi ery’okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa olw’omusango, ka twekenneenye ekitabo kya Baibuli ekya Zeffaniya. Kyawandiikibwa mu Yuda ng’omwaka 648 B.C.E., tegunnatuuka, era kitundu ‘kye kigambo kya Katonda eky’obunnabbi’ fenna kye tusaanidde okussaako omwoyo.—2 Peetero 1:19.
Omukono gwa Yakuwa Gugoloddwa
4, 5. Zeffaniya 1:1-3 zaatuukirizibwa zitya ku babi b’omu Yuda?
4 ‘Ekigambo kya Yakuwa’ eri Zeffaniya kitandika n’okulabula okwayogeddwako emabegako. Katonda alangirira: “Ndizikiririza ddala byonna okuva ku maaso g’ensi, bw’ayogera Mukama. ‘Ndimalawo omuntu n’ensolo; ndizikiriza ennyonyi ez’omu bbanga n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’enkonge wamu n’ababi: era ndimalawo abantu okuva ku maaso g’ensi, bw’ayogera Mukama.”—Zeffaniya 1:1-3.
5 Yee, Yakuwa yali agenda okumalawo obubi obw’amaanyi ennyo mu nsi ya Yuda. Ani Katonda gwe yandikozesezza ‘okumalawo ebintu byonna okuva ku maaso g’ensi’? Okuva Zeffaniya bwe yalagulira mu matandika g’obufuzi bwa Kabaka Yosiya, obwatandika mu 659 B.C.E., ebigambo ebyo eby’obunnabbi byatuukirizibwa Abababulooni bwe baazikiriza Yuda n’ekibuga kyakyo ekikulu Yerusaalemi, mu 607 B.C.E. Mu kiseera ekyo, ababi mu Yuda ‘baamalibwawo.’
6-8. Kiki ekyalagulwa mu Zeffaniya 1:4-6, era obunnabbi obwo bwatuukirizibwa butya mu Yuda eky’edda?
6 Ng’alagula Katonda ky’anaakola abasinza ab’obulimba, Zeffaniya 1:4-6 wagamba: “Ndigololera ku Yuda omukono gwange ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ndimalawo ekitundu kya Baali ekifisseewo okuva mu kifo kino, n’erinnya lya Bakemali wamu ne bakabona; n’abo abasinziza eggye ery’omu ggulu ku nnyumba waggulu; n’abo abasinza, abalayirira Mukama nga balayira Malukamu; n’abo abazze ennyuma obutagoberera Mukama; n’abo abatanoonyanga Mukama newakubadde okumubuuza.”
7 Omukono gwa Yakuwa gwagololerwa abantu b’omu Yuda ne Yerusaalemi. Yali mumalirivu okuzikiriza abasinza ba Baali katonda w’Abakanani ayaza ebintu. Bakatonda abaasinzibwanga abantu b’omu kitundu ekyo baali bayitibwa Babaali olw’okuba ababasinzanga babatwalanga okubeera n’obuyinza ku bitundu ebimu. Ng’ekyokulabirako, waaliwo Baali eyasinzibwanga Abamowaabu n’Abamidiyaani ku Lusozi Pyoli. (Okubala 25:1, 3, 6) Mu Yuda yonna, Yakuwa yandizikirizza bakabona ba Baali, awamu ne bakabona Abaleevi abataali beesigwa, abaali bamenya amateeka ga Katonda nga bakolagana nabo.—Okuva 20:2, 3.
8 Katonda era yandizikirizza n’abo ‘abavunnamira eggye ery’omu ggulu,’ nga kino kitegeeza abo abalaguza emmunyeenye n’abasinza enjuba. (2 Bassekabaka 23:11; Yeremiya 19:13; 32:29) Obusungu bwa Katonda era bwandyolekezeddwa abo abagezaako okugattika okusinza okw’amazima n’eddiini ey’obulimba nga ‘balayirira Yakuwa ne Malukamu.’ Oboolyawo Malukamu lye linnya eddala erya Moleki, katonda w’Abamoni omukulu. Okusinza kwa Moleki kwalimu okussaddaaka abaana abato.—1 Bassekabaka 11:5; Yeremiya 32:35.
Enkomerero ya Kristendomu eri Kumpi!
9. (a) Kristendomu kivunaanibwa musango ki? (b) Obutafaanana abantu abataali beesigwa ab’omu Yuda, twandibadde bamalirivu kukola ki?
9 Bino byonna biyinza bulungi okutujjukiza Kristendomu, ekyenyigidde mu kusinza okw’obulimba n’okulaguzisa emmunyeenye. Era n’engeri gye kyenyigidde mu kusaddaaka obukadde n’obukadde bw’abantu mu ntalo ezikubirizibwa abakulembeze b’eddiini mazima ddala yennyamiza nnyo! Ka tuleme kubeera ng’abantu abataali beesigwa ab’omu Yuda, ‘abadda ennyuma ne balekera awo okugoberera Yakuwa,’ ne baba nga tebakyamunoonya wadde okunoonya obulagirizi obuva gy’ali. Mu kifo ky’ekyo, ka tukuume obugolokofu bwaffe eri Katonda.
10. Wandinnyonnyodde otya amakulu g’obunnabbi obuli mu Zeffaniya 1:7?
10 Ebigambo bya nnabbi ebiddako bituukana bulungi n’abakozi b’obubi mu Yuda era n’ababi ab’omu kiseera kyaffe. Zeffaniya 1:7 lugamba: “Bunira awali Mukama Katonda: kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi: kubanga Mukama ategese ssaddaaka, atukuzizza abagenyi be.” Kirabika “abagenyi” bano baali Bakaludaaya abalabe ba Yuda. “Ssaddaaka” yali Yuda kennyini, n’ekibuga kyakyo ekikulu. Bwe kityo, Zeffaniya yalangirira ekigendererwa kya Katonda eky’okuzikiriza Yerusaalemi, era n’obunnabbi buno bwasonga ku kuzikirizibwa kwa Kristendomu. Mazima ddala, ng’olunaku lwa Katonda olw’omusango luli kumpi nnyo mu kiseera kino, ensi yonna erina ‘okubunira mu maaso ga Mukama Ayinza Byonna Yakuwa’ era bawulire ky’agamba okuyitira mu ‘kisibo ekitono’ eky’abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe, ‘ab’endiga endala.’ (Lukka 12:32; Yokaana 10:16) Okuzikirizibwa kulindiridde abo bonna abataawulirize era abawakanya obufuzi obw’Obwakabaka bwa Katonda.—Zabbuli 2:1, 2.
Mangu Ddala—Lunaku lwa Kuwowoggana!
11. Makulu ki agali mu Zeffaniya 1:8-11?
11 Ku bikwata ku lunaku lwa Yakuwa, Zeffaniya 1:8-11 zigamba bwe ziti: “Olulituuka ku lunaku Mukama kw’aliweerayo ssaddaaka ndibonereza abakungu n’abaana ba kabaka n’abo bonna abambadde ebyambalo ebinnaggwanga. Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna ababuuka ku mulyango, abajjuza ennyumba ya mukama waabwe ekyejo n’obulimba. Awo ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama, walibaawo eddoboozi ery’okuleekaana eriva ku mulyango ogw’ebyennyanja, n’okuwowoggana okuva ku luuyi olw’okubiri, n’okubwat[u]ka okunene okuva ku nsozi. Muwowoggane, mmwe abali mu Makutesi, kubanga abantu bonna aba Kanani zibasanze: n’abo abeebinikanga ffeeza bazikiridde.”
12. Mu ngeri ki abamu gye basangibwamu nga ‘bambadde ebyambalo bya bannaggwanga’?
12 Kabaka Yosiya yandiddiriddwa Yekoyakaazi, Yekoyakimu, ne Yekoyakini. Olwo, obufuzi bwa Zeddekiya bwe bwandizeeko, era bwandibaddemu okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Wadde ng’ekizibu ng’ekyo kyali kiboolekedde, kirabika abamu baayagala okusiimibwa ensi ezaali zibaliraanye nga ‘bambala ebyambalo bya bannaggwanga.’ Mu ngeri y’emu, bangi leero beeraga mu ngeri ez’enjawulo nti tebali kitundu ky’entegeka ya Yakuwa. Olw’okuba bali mu ntegeka ya Setaani, bajja kubonerezebwa.
13. Nga kituukagana n’obunnabbi bwa Zeffaniya, kiki ekyali eky’okubeerawo nga Abababulooni balumbye Yerusaalemi?
13 ‘Olunaku olwo’ olw’okubonereza Yuda lukwatagana n’olunaku lwa Yakuwa olw’okutuukiririzaako omusango gw’asalidde abalabe be, okukomya obubi era n’okulaga obukulu bwe. Nga Abababulooni balumbye Yerusaalemi, eddoboozi ery’okuleekana lyandivudde mu Mulyango ogw’Ebyennyanja. Oboolyawo gwali guyitibwa bwe gutyo olw’okuba gwali kumpi n’akatale k’ebyennyanja. (Nekkemiya 13:16) Amagye ga Babulooni gandiyingiridde mu kitundu ekiyitibwa oluuyi olw’okubiri, ate ‘okubwatuka okuva ku nsozi’ kuyinza okuba nga kutegeeza eddoboozi ly’Abakaludaaya abaali bajja. Wandibaddewo “okuwowoggana” kw’abantu abatuula mu Makutesi, oboolyawo ekitundu eky’ekyengulu eky’Ekiwonvu kya Tayiropoyeni. Lwaki bandiwowogganye? Kubanga emirimu gy’eby’obusuubuzi, nga mw’otwalidde n’egyo ‘egy’abapima ffeeza,’ gyandikomye.
14. Katonda yandituuse wa mu kwekenneenya abo abaali beetwala okuba abasinza be?
14 Yakuwa yandyekenneenyezza kutuuka wa abo abaali beetwala okubeera abasinza be? Obunnabbi bweyongerayo: “Awo olulituuka mu biro ebyo nditaganjula Yerusaalemi n’ettabaaza; era ndibonereza abasajja abatesengezze ebbonda lyabwe, aboogera mu mutima gwabwe nti Mukama talikola bulungi so talikola bubi. N’obugagga bwabwe bulifuuka munyago, n’ennyumba zaabwe matongo; weewaawo, balizimba ennyumba naye tebalizituulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu naye tebalinywa mwenge gwamu.”—Zeffaniya 1:12, 13.
15. (a) Kiki ekyali kigenda okutuuka ku bakabona bakyewaggula ab’omu Yerusaalemi? (b) Kiki ekiterekeddwa abo abali mu ddiini ez’obulimba ennaku zino?
15 Bakabona bakyewaggula ab’omu Yerusaalemi baali bagattika okusinza kwa Yakuwa n’eddiini ez’obulimba. Wadde baali balowooza nti balina obukuumi, Katonda yandibakukunuddeyo ng’alinga akozesa ettabaaza ezaaka ennyo ezandyerudde ekizikiza eky’eby’omwoyo kye baali beekweseemu. Tewali n’omu eyandisumattuse ekirangiriro n’okutuukirizibwa kw’omusango Katonda gwe yali asaze. Bakyewaggula abo abaali bateefiirayo baali bakkalidde ng’ebbonda eriri ku ntobo y’eppipa y’omwenge. Baali tebaagala kutawaanyizibwa kirangiriro kyonna ekikwata ku Katonda okuyingira mu nsonga z’abantu, naye tebandisimattuse kutuukirizibwa kw’omusango Katonda gwe yali abasalidde. Era n’abo abali mu ddiini ez’obulimba ennaku zino tebajja kusimattuka, nga mw’otwalidde abo abali mu Kristendomu n’abo abeewaggudde okuva mu kusinza kwa Yakuwa. Nga bagaana nti zino ‘nnaku za luvannyuma,’ mu mitima gyabwe bagamba nti, ‘Yakuwa tajja kukola bulungi oba bubi.’ Naye nga bakyamu nnyo!—2 Timoseewo 3:1-5; 2 Peetero 3:3, 4, 10.
16. Kiki ekyali eky’okubeerawo ng’omusango Katonda gw’asaze gutuukiriziddwa ku Yuda, era okumanya ekyo kyanditukozeeko ki?
16 Bakyewaggula b’omu Yuda baali balabuddwa nti Abababulooni bandibanyazeeko eby’obugagga byabwe, bafuule ennyumba zaabwe amatongo, era batwale n’ebibala by’emizabbibu gyabwe. Eby’obugagga tebyandibadde na mugaso gwonna nga Katonda atuukiriza omusango gwe yali asalidde Yuda. Era bwe kityo bwe kiriba ng’olunaku lwa Yakuwa olw’omusango luzze okuzikiriza embeera zino ez’ebintu. N’olwekyo, ka tubeere n’endowooza ey’eby’omwoyo era ‘tweterekere eby’obugagga mu ggulu’ nga tukulembeza obuweereza bwa Yakuwa mu bulamu bwaffe!—Matayo 6:19-21, 33.
‘Olunaku Olukulu Olwa Yakuwa Luli Kumpi’
17. Okusinziira ku Zeffaniya 1:14-16, olunaku lwa Yakuwa olw’omusango luli kumpi kwenkana wa?
17 Olunaku lwa Yakuwa olw’omusango luli kumpi kwenkana wa? Okusinziira ku Zeffaniya 1:14-16, Katonda awa obukakafu buno: “Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo, eddoboozi ery’olunaku lwa Mukama; omusajja ow’amaanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi. Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku, lunaku lwa [kuzikirirako] n’okulekebwawo, lunaku lwa kizikiza n’ekikome, lunaku lwa bire n’ekizikiza ekikutte, lunaku lwa kkondeere n’okulawa, eri ebibuga ebiriko enkomera n’eri ebigo ebigulumivu.”
18. Lwaki tetwandigambye nti olunaku lwa Yakuwa olw’omusango luli wala nnyo mu biseera eby’omu maaso?
18 Bakabona abajeemu ab’omu Yuda, abalangira, era n’abantu baalabulwa nti ‘olunaku lwa Yakuwa olukulu lwali luli kumpi.’ Eri Yuda ‘olunaku lwa Yakuwa lwali lujja kwanguwa nnyo.’ Mu ngeri y’emu mu kiseera kyaffe, waleme kubaawo n’omu alowooza nti okutuukiriza kw’omusango Yakuwa gw’asalidde ababi kujja kubeerawo wala nnyo eyo mu biseera eby’omu maaso. Kyokka, nga Katonda bwe yalina kye yakolawo mu bwangu eri Yuda, bw’atyo bw’ajja ‘okwanguya’ olunaku lwe olw’okuzikiriza. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Nga kijja kuba kiseera kizibu nnyo eri bonna abanyooma okulabula kwa Yakuwa okuweebwa Abajulirwa be era abagaana okusinza okw’amazima!
19, 20. (a) Bintu ki ebimu ebyali mu kutuukirizibwa kw’obusungu bwa Katonda ku Yuda ne Yerusaalemi? (b) Olw’okuba abamu bajja kuzikirizibwa mu kuzikirizibwa okwolekedde embeera zino ez’ebintu, bibuuzo ki ebijjawo?
19 Okutuukiriza obusungu bwa Katonda ku Yuda ne ku Yerusaalemi lwali “lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku.” Eggye lya Babulooni lyaleetera abatuula mu Yuda okubonaabona kungi, nga mw’otwalidde n’obulumi mu birowoozo nga boolekaganye n’okufa n’okuzikirizibwa. Olunaku olwo ‘olw’okuzikirirako n’okulekebwawo’ lwali lwa kikome, lwa bire, era lwa kizikiza ekikutte oboolyawo si mu ngeri ey’akabonero yokka naye era nga byaliwo ddala, olw’okuba omukka n’emirambo byali buli wamu. Lwali ‘lunaku lwa kkondeere n’okulabula,’ naye okulabula okwo kwali kwa bwereere.
20 Abakuumi b’omu Yerusaalemi tebaalina buyambi ng’eby’okulwanyisa by’Abababulooni bikozesebwa okusuula “ebigo ebigulumivu.” Ebigo ebigulumivu eby’embeera z’ebintu zino embi tebijja kubaako kye bigasa nga byolekezeddwa eby’okulwanyisa Katonda by’alina mu tterekero lye ery’omu ggulu, era by’akozesa okusaanyaawo abo b’abaasazeewo okuzikiriza. Osuubira okuwonyezebwawo? Onyweredde ku ludda lwa Yakuwa, oyo ‘akuuma abo bonna abamwagala; naye anaazikiriza ababi bonna’?—Zabbuli 145:20.
21, 22. Zeffaniya 1:17, 18 lunaatuukirizibwa lutya mu nnaku zaffe?
21 Ng’olunaku olw’omusango olwalagulwa mu Zeffaniya 1:17, 18 lwali lwa ntiisa nnyo! “Ndireeta obuyinike ku bantu,” bw’ayogera Yakuwa Katonda, “batambule ng’abazibe b’amaaso, kubanga bayonoonye [mu maaso ga] Mukama: n’omusaayi gwabwe gulifukibwa ng’enfuufu, n’omubiri gwabwe ng’obusa. Effeeza yaabwe teriyinza kubawonyeza ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama newakubadde ezaabu yaabwe; naye ensi yonna omuliro ogw’obuggya bwe guligyokya: kubanga alimalawo, weewaawo, alimalirawo ddala n’entiisa abo bonna abali mu nsi.”
22 Nga bwe yakola mu biseera bya Zeffaniya, Yakuwa ali kumpi okuleeta obuyinike ku abo “bonna abali mu nsi,” abo abagaana okugoberera okulabula kwe. Olw’okuba boonoona mu maaso ga Katonda, bajja kutambula ng’abazibe b’amaaso abatalina buyambi, abatasobola kununulibwa. Ku lunaku lwa Yakuwa olw’omusango, omusaayi gwabwe “gulifukibwa ng’enfuufu,” ng’ekintu ekitagasa. Mazima ddala enkomerero yaabwe ejja kuba ya nnaku nnyo, kubanga Katonda alimansamansa emirambo gy’ababi bano ku nsi, “ng’obusa.”
23. Wadde ng’abakozi b’ebibi tebajja kusimattuka ku ‘lunaku olw’obusugu bwa Yakuwa,’ ssuubi ki eriri mu bunnabbi bwa Zeffaniya?
23 Tewali n’omu ayinza okuwonya abo abalwanyisa Katonda n’abantu be. Ffeeza wadde zaabu tebyasobola kuwonya abakozi b’obubi mu Yuda, era mu ngeri y’emu eby’obugagga n’okugulirira tebijja kuwa bukuumi oba obuddukiro ‘ng’olunaku lw’obusungu bwa Yakuwa’ luzze ku Kristendomu n’ebitundu ebirala eby’embeera zino embi. Ku lunaku olwo olwa nsalesale, ‘ensi yonna’ ejja kwokebwa omuliro gw’obuggya bwa Katonda ng’azikiririza ddala ababi. Olw’okuba tulina okukkiriza mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi, tuli bakakafu nti kati tuli wala nnyo mu ‘nnaku ez’oluvannyuma.’ (Danyeri 12:4) Olunaku lwa Yakuwa olw’omusango luli kumpi, era anaatera okuwoolera eggwanga eri abalabe be. Kyokka, obunnabbi bwa Zeffaniya bwoleka essuubi ery’okununulibwa. Kati nno, kiki ekitwetaagisa bwe tunaabeera ab’okukwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa?
Wandyanukudde Otya?
• Obunnabbi bwa Zeffaniya bwatuukirizibwa butya ku Yuda ne Yerusaalemi?
• Kiki ekiterekeddwa Kristendomu n’ababi bonna ab’omu kiseera kyaffe?
• Lwaki tetwandirowoozezza nti olunaku lwa Yakuwa olw’omusango luli wala nnyo mu biseera eby’omu maaso?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Zeffaniya n’obuvumu yalangirira nti olunaku lwa Yakuwa olw’omusango lwali luli kumpi
[Ensibuko y’ekifaananyi]
From the Self-Pronouncing Edition of the Holy Bible, containing the King James and the Revised versions
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Abababulooni baatuukiriza olunaku lwa Yakuwa ku Yuda ne Yerusaalemi mu 607 B.C.E.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Osuubira okuwonyezebwawo nga Yakuwa azikiriza ababi?