Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Zeffaniya
1. Embeera yali etya mu Yuda Zeffaniya we yaweerereza nga nnabbi, era tuyinza kumukoppa tutya?
1 Mu mwaka gwa 659 E.E.T., abantu b’omu Yuda abasinga obungi baali basinza Bbaali. Kabaka Amoni eyali omubi yali yaakattibwa era nga Kabaka Yosiya eyali akyali omuto, atandise okufuga. (2 Byom. 33:21–34:1) Mu kiseera ekyo, Yakuwa yatuma nnabbi Zeffaniya okulangirira obubaka obw’omusango. Wadde nga Zeffaniya ayinza okuba nga yali ava mu lulyo olulangira olw’ekika kya Yuda, yalangirira omusango Yakuwa gwe yali asalidde bakabaka ba Yuda. (Zef. 1:1; 3:1-4) Naffe tusaanidde okukoppa Zeffaniya nga tetukkiriza baŋŋanda zaffe kutulemesa kuweereza Yakuwa. (Mat. 10:34-37) Bubaka ki Zeffaniya bwe yalangirira, era biki ebyavaamu?
2. Biki bye tulina okukola okusobola okuwonawo ku lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa?
2 Munoonye Yakuwa: Yakuwa Katonda yekka y’asobola okuwonyaawo abantu ku lunaku olw’obusungu bwe. N’olw’ensonga eyo, Zeffaniya yakubiriza abantu b’omu Yuda okunoonya Yakuwa, okunoonya obutuukirivu, n’okunoonya obuwombeefu ng’olunaku lwa Yakuwa terunnatuuka. (Zef. 2:2, 3) Naffe tukola kye kimu. Wadde nga tukubiriza abantu okunoonya Yakuwa nga Zeffaniya bwe yakola, naffe tulina okweyongera okumunoonya. (Zef. 1:6) Tunoonya Yakuwa nga tusoma Ekigambo kye era nga tumusaba atuwe obulagirizi bwe twetaaga. Tunoonya obutuukirivu nga tufuba okubeera abayonjo mu mpisa. Tunoonya obuwombeefu nga tuba beetoowaze era nga tukolera ku bulagirizi bwonna obutuweebwa mu kibiina kya Yakuwa.
3. Lwaki tusaanide okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu ku mulimu gw’okubuulira?
3 Muvaamu Emiganyulo: Obubaka obw’omusango Zeffaniya bwe yalangirira bwaleetera abantu abamu mu Yuda okubaako kye bakolawo. Kabaka Yosiya yatandika okunoonya Yakuwa ng’akyali mulenzi muto, era oluvannyuma yatandika kaweefube ow’okumalawo okusinza okw’obulimba mu Yuda. (2 Byom. 34:2-5) Leero, wadde ng’ensigo ezimu ez’Obwakabaka zigwa ku kkubo, ku njazi, oba mu maggwa, waliwo ezigwa ku ttaka eddungi ne zibala ebibala bingi. (Mat. 13:18-23) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okutuwa emikisa bwe tuneeyongera okusiga ensigo ez’Obwakabaka n’obunyiikivu.—Zab. 126:6.
4. Lwaki tusaanidde ‘okulindirira Yakuwa’?
4 Abantu b’omu Yuda abamu baali balowooza nti Yakuwa tajja kubaako ky’akolawo. Naye, Yakuwa yabakakasa nti olunaku lwe olukulu lwali lusembedde. (Zef. 1:12, 14) Abo bokka abandimwesize be bandiwonyeewo. (Zef. 3:12, 17) Nga bwe ‘tulindirira Yakuwa,’ ka tweyongere okumuweereza nga tuli bumu ne baganda baffe bonna!—Zef. 3:8, 9.