Lowooza eby’Omwoyo Obeere Mulamu!
“Okulowooza eby’omwoyo bwe bulamu.”—ABARUUMI 8:6, NW.
1, 2. Njawulo ki Baibuli gy’eraga eriwo wakati ‘w’omubiri’ ‘n’omwoyo’?
SI KYANGU okubeera n’enyimirira ennungi mu maaso ga Katonda wakati mu bantu ab’empisa embi abagulumiza okukkusa okwegomba kw’omubiri. Kyokka, Ebyawandiikibwa byoleka enjawulo eriwo wakati ‘w’omubiri’ ‘n’omwoyo,’ nga biragira ddala bulungi enjawulo eri wakati w’ebintu ebibi ebiva mu kukkiriza okufugibwa okwegomba kw’omubiri n’emikisa egiva mu kufugibwa omwoyo gwa Katonda.
2 Ng’ekyokulabirako, Yesu Kristo yagamba: “Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.” (Yokaana 6:63) Eri Abakristaayo mu Ggalatiya, omutume Pawulo yawandiika: “Omubiri gwegomba nga guwakana n’[o] mwoyo, n’[o] mwoyo nga guwakana n’omubiri; kubanga ebyo byolekanye.” (Abaggalatiya 5:17) Pawulo era yagamba: “Asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira [o] mwoyo, alikungula mu [m] woyo obulamu obutaggwaawo.”—Abaggalatiya 6:8.
3. Kiki ekyetaagisa okusobola okwetakkuluza ku kwegomba n’ebirowoozo ebibi?
3 Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu—amaanyi ge agakola—guyinza okumalirawo ddala “okwegomba kw’omubiri” okubi n’okufugibwa omubiri gwaffe omwonoonyi oguleeta okuzikirira. (1 Peetero 2:11) Okusobola okwetakuluza ku bufuge bw’ebirowoozo ebibi, kikulu nnyo ffe okuba n’obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda, kubanga Pawulo yawandiika: “Okulowooza eby’omubiri kwe kufa, naye okulowooza eby’omwoyo bwe bulamu n’emirembe.” (Abaruumi 8:6, NW) Kitegeeza ki okulowooza eby’omwoyo?
“Okulowooza eby’Omwoyo”
4. ‘Okulowooza eby’omwoyo’ kitegeeza ki?
4 Pawulo bwe yawandiika ebikwata ku ‘kulowooza eby’omwoyo,’ yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “engeri y’okulowooza, endowooza . . . ekiruubirirwa, okwegomba, okufuba.” Ekigambo ekikifaanana kitegeeza “okulowooza, okubaako n’engeri gy’olowoozaamu.” Bwe kityo, okulowooza eby’omwoyo kitegeeza okufugibwa, n’okukubirizibwa amaanyi ga Yakuwa agakola. Kitegeeza nti kyeyagalire tuleka okulowooza kwaffe, okwegomba kwaffe n’okwagala kwaffe okufugibwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu mu bujjuvu.
5. Twandikomye wa okukkiriza okufugibwa omwoyo omutukuvu?
5 Pawulo yaggumiza we twandikomye mu kufugibwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu, bwe yayogera ku kubeera ‘omuddu w’omwoyo.’ (Abaruumi 7:6) Okusinziira ku kukkiriza kwabwe mu kinunulo kya Yesu, Abakristaayo banunuddwa okuva mu kufugibwa ekibi era mu ngeri eyo ‘bafudde’ mu mbeera yaabwe ey’edda ng’abaddu baayo. (Abaruumi 6:2, 11) Abo abafudde bwe batyo mu ngeri ey’akabonero bakyali balamu mu mubiri era kati ba ddembe okugoberera Kristo nga “abaddu b’obutuukirivu.”—Abaruumi 6:18-20.
Enkyukakyuka ey’Enkukunala
6. Nkyukakyuka ki efunibwa abo abafuuka “abaddu b’obutuukirivu”?
6 Enkyukakyuka okuva mu kubeera “abaddu b’ekibi” okutuuka ku kuweereza Katonda nga “abaddu b’obutuukirivu” mazima ddala ya nkukunala. Ku bikwata ku bamu abaafuna enkyukakyuka ng’eyo, Pawulo yawandiika: ‘Mwanaazibwa, era mwatukuzibwa, mwaweebwa obutuukirivu olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n’olw’omwoyo gwa Katonda waffe.’—Abaruumi 6:17, 18; 1 Abakkolinso 6:11.
7. Lwaki kikulu okuba n’endaba ya Yakuwa ku nsonga?
7 Okusobola okutuuka ku nkyukakyuka ng’eyo ey’enkukunala, twetaaga okusooka okuyiga engeri Yakuwa gy’alabamu ensonga. Ebyasa bingi emabega, omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, yeegayirira Katonda: “Ondage amakubo go, ai Mukama; . . . Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize.” (Zabbuli 25:4, 5) Yakuwa yawuliriza Dawudi, era Ayinza okuddamu okusaba ng’okwo okw’abaweereza be ab’omu kiseera kino. Okuva amakubo ga Katonda n’amazima ge bwe biri ebiyonjo era ebitukuvu, okubifumiitirizaako kujja kuba kwa muganyulo bwe tukemebwa okukkusa okwegomba kw’omubiri okubi.
Ekifo Ekikulu eky’Ekigambo kya Katonda
8. Lwaki kitwetaagisa okuyiga Baibuli?
8 Ekigambo kya Katonda Baibuli, kyaluŋŋamizibwa omwoyo gwe. Bwe kityo, engeri emu enkulu ey’okuleka omwoyo ogwo okutukolako kwe kusoma n’okuyiga Baibuli buli lunaku bwe kiba nga kisoboka. (1 Abakkolinso 2:10, 11; Abaefeso 5:18) Bwe tujjuza ebirowoozo byaffe n’omutima gwaffe n’amazima ga Baibuli era n’emitindo gyayo, kijja kutuyamba okuziyiza obulumbaganyi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo. Yee, okukemebwa okw’obugwenyufu bwe kujja, omwoyo gwa Katonda guyinza okutujjukiza Ebyawandiikibwa n’emisingi egiyinza okunyweza obumalirivu bwaffe okukola Katonda ky’ayagala. (Zabbuli 119:1, 2, 99; Yokaana 14:26) N’olwekyo, tetulimbibwa ne tugoberera ekkubo ekyamu.—2 Abakkolinso 11:3.
9. Okweyigiriza Baibuli kunyweza kutya okusalawo kwaffe okukuuma enkolagana yaffe ne Yakuwa?
9 Nga tweyongera okuyiga Ebyawandiikibwa mu bwesimbu n’obunyiikivu nga tuyambibwako ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, omwoyo gwa Katonda gufuga ebirowoozo byaffe n’omutima, ne gutuleetera okweyongera okussa ekitiibwa mu mitindo gya Yakuwa. Enkolagana yaffe ne Katonda efuuka ekintu ekisingirayo ddala obukulu mu bulamu bwaffe. Bwe twolekagana n’okukemebwa, tujja kwesamba ebirowoozo ebikwata ku masanyu ge tuyinza okufuna nga twenyigira mu bikolwa ebibi. Naye, kye tujja okusooka okulowoozaako kwe kukuuma obugolokofu bwaffe eri Yakuwa. Okusiima ennyo enkolagana gye tulina naye kutuleetera okulwanyisa ekirowoozo kyonna ekiyinza okugyonoona.
“Amateeka Go nga Ngaagala!”
10. Lwaki kyetaagisa okugondera amateeka ga Yakuwa okusobola okulowooza eby’omwoyo?
10 Bwe tuba ab’okulowooza eby’omwoyo, okufuna okumanya okw’Ekigambo kya Katonda tekumala. Kabaka Sulemaani yali amanyi bulungi nnyo emitindo gya Yakuwa, naye mu kitundu ekyasembayo eky’obulamu bwe yalemererwa okugigoberera. (1 Bassekabaka 4:29, 30; 11:1-6) Bwe tuba tufaayo ku by’omwoyo, tetujja kulaba bwetaavu bwa kumanya bumanya Baibuli ky’egamba kyokka naye era n’obw’okugondera amateeka ga Katonda n’omutima gwonna. Ekyo kitegeeza okwekenneenya n’obwegendereza emitindo gya Yakuwa era n’okufuba okugigoberera. Omuwandiisi wa Zabbuli yalina endowooza ng’eyo. Yayimba: “Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.” (Zabbuli 119:97) Bwe tuba nga mazima ddala tufaayo okugoberera amateeka ga Katonda, tutandika okwoleka engeri ze. (Abaefeso 5:1, 2) Mu kifo ky’okusikirizibwa okwonoona, twoleka ebibala by’omwoyo, era okwagala okusanyusa Yakuwa kutuleetera okwewala “ebikolwa by’omubiri.”—Abaggalatiya 5:16, 19-23; Zabbuli 15:1, 2.
11. Wandinnyonnyodde otya nti etteeka lya Yakuwa erigana obukaba lya bukuumi gye tuli?
11 Tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu mateeka ga Yakuwa era n’okugaagala? Engeri emu kwe kwekenneenya n’obwegendereza omugaso ogugalimu. Lowooza ku tteeka lya Katonda erikkiriza abafumbo bokka okwetaba era ne ligaana obukaba n’obwenzi. (Abaebbulaniya 13:4) Okugondera etteeka lino kutufiiriza ekintu kyonna ekirungi? Kitaffe ali mu ggulu omwagazi yandikoze etteeka erituziyiza okufuna ekintu eky’omuganyulo? Kya lwatu nedda! Laba ekituuse ku bulamu bw’abantu bangi abatagoberera mitindo gya Yakuwa egy’empisa. Embuto ze bafuna nga tebeeyagalidde zibaleetera okuziggyamu oba okuyingira obufumbo nga tebanneetuuka era obutaliimu ssanyu. Bangi bakuza abaana nga tebalina mwami oba mukyala. Okwongereza ku ekyo, abo abennyigira mu bukaba beeteeka mu kabi ak’okufuna endwadde ezisaasaanira mu bukaba. (1 Abakkolinso 6:18) Era singa omuweereza wa Yakuwa akola obwenzi, akosebwa nnyo mu nneewulira ye ey’omunda. Okugezaako okuzibiikiriza omuntu ow’omunda amulumiriza kiyinza okumuleetera obuteebaka kiro n’okweraliikirira. (Zabbuli 2:3, 4; 51:3) Kati nno tekyeyoleka bulungi nti etteeka lya Yakuwa erigaana obukaba lyateekebwawo okutukuuma? Yee, mazima ddala waliwo emiganyulo gya maanyi nnyo mu kusigala nga tuli bayonjo mu mpisa!
Saba Obuyambi bwa Yakuwa
12, 13. Lwaki kisaanira okusaba nga tulumbiddwa okwegomba okubi?
12 Okulowooza eby’omwoyo mazima ddala kwetaagisa okusaba okuviira ddala mu mutima. Kisaana okusaba obuyambi bw’omwoyo gwa Yakuwa, kubanga Yesu yagamba: “Oba nga mmwe . . . mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa [o] mwoyo [o] mutukuvu abamusaba!” (Lukka 11:13) Okuyitira mu kusaba, tuyinza okwogera ku ngeri gye twesize omwoyo okutuyamba mu bunafu bwaffe. (Abaruumi 8:26, 27) Bwe tukitegeera nti okwegomba okubi oba endowooza embi birina kye bitukolako, oba singa mukkiriza munnaffe atwagala atutegeeza ku nsonga eyo, kyandibadde kirungi okwogera ku kizibu ekyo mu kusaba kwaffe era ne tusaba obuyambi bwa Katonda okuvvuunuka endowooza ng’eyo.
13 Yakuwa ayinza okutuyamba ne tumalira ebirowoozo byaffe ku bintu eby’obutuukirivu, ebirongoofu, era ebisiimibwa. Era nga kisaana okunyiikira okumwegayirira ‘emirembe gya Katonda’ gisobole okukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe! (Abafiripi 4:6-8) N’olwekyo, ka tusabe obuyambi bwa Yakuwa tusobole ‘okugobereranga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n’obuwombeefu.’ (1 Timoseewo 6:11-14) N’obuyambi bwa Kitaffe ali mu ggulu, okweraliikirira n’okukemebwa tebijja kweyongera kutuuka ku kigero we bitayinza kufugibwa. Wabula, obulamu bwaffe bujja kubaamu obutebenkevu obuva eri Katonda.
Temunakuwazanga Mwoyo
14. Lwaki omwoyo gwa Katonda maanyi agatusobozesa okuba abayonjo?
14 Abaweereza ba Yakuwa abakuze mu by’omwoyo bassa mu nkola okubuulirira kwa Pawulo: “Temuzikizanga [m]woyo.” (1 Abasessaloniika 5:19) Okuva omwoyo gwa Katonda bwe guli ‘omwoyo ogw’obutukuvu,’ muyonjo, mulongoofu. (Abaruumi 1:4) Bwe guba gutukolerako, omwoyo ogwo guba maanyi ag’obutukuvu, oba ag’obuyonjo. Guyamba okutukuuma mu bulamu obuyonjo nga tuli bawulize eri Katonda. (1 Peetero 1:2) Ekikolwa kyonna ekitali kiyonjo kyoleka obunyoomi eri omwoyo ogwo, era ekyo kiyinza okuvaamu eby’akabi. Mu ngeri ki?
15, 16. (a) Tuyinza tutya okunakuwaza omwoyo gwa Katonda? (b) Tuyinza tutya okwewala okunakuwaza omwoyo gwa Yakuwa?
15 Pawulo yawandiika: “Temunakuwazanga [m]woyo [m]utukuvu owa Katonda, eyabateesaako akabonero okutuusa olunaku olw’okununulibwa.” (Abaefeso 4:30) Ebyawandiikibwa byoleka omwoyo gwa Yakuwa ‘ng’akabonero k’ebyo ebyali eby’okujja,’ ku lw’Abakristaayo abeesigwa abaafukibwako amafuta. Era obwo bwe bulamu obw’omu ggulu obutafa. (2 Abakkolinso 1:22; 1 Abakkolinso 15:50-57; Okubikkulirwa 2:10) Omwoyo gwa Katonda guyinza okuwa abaafukibwako amafuta ne bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi obulagirizi mu bulamu obw’obwesigwa era guyinza okubayamba okwewala ebikolwa ebibi.
16 Omutume yalabula ku kulimba, okubba, empisa ez’ensonyi, n’ebirala bingi. Singa tukkiriza okutwalirizibwa ebintu ng’ebyo, tujja kuba tuwakanya okubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. (Abaefeso 4:17-29; 5:1-5) Mu ngeri eyo, twandibadde tunakuwaza omwoyo gwa Katonda, ate nga mazima ddala ekyo kye kintu kye twagala okwewala. N’olwensonga eyo, singa wabaawo omuntu yenna ku ffe atandika okunyooma okubuulirira okuli mu Kigambo kya Yakuwa, kiyinza okuvaamu okufuna endowooza oba empisa eyinza okutuusa mu kwonoona mu bugenderevu ne kimuviiramu obutasiimibwa Katonda. (Abaebbulaniya 6:4-6) Wadde tuyinza okuba nga kati tetwenyigidde mu kukola kibi, tuyinza okuba nga twolekedde okukola ekibi. Bwe tukola ebintu ebikontana n’obulagirizi bw’omwoyo, tujja kuba tugunakuwaza. Tujja kuba tuziyiza era nga tunakuwaza Yakuwa, ensibuko y’omwoyo omutukuvu. Ng’abo abaagala Katonda, tetwagala kukola ekyo n’akamu. Wabula, tujja kusaba obuyambi bwa Yakuwa tuleme okunakuwaza omwoyo gwe naye tusobole okuleetera erinnya lye ettukuvu ekitiibwa nga tweyongera okulowooza eby’omwoyo.
Mweyongere Okulowooza eby’Omwoyo
17. Biruubirirwa ki ebimu eby’omwoyo bye tuyinza okussaawo, era lwaki kyandibadde kya magezi okufuba okubituukako?
17 Engeri esaanidde mwe tuyinza okweyongera okulowooza eby’omwoyo kwe kussaawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era n’okufuba okubituukiriza. Okusinziira ku byetaago byaffe n’embeera zaffe, ebiruubirirwa byaffe biyinza okutwaliramu okulongoosa engeri gye tuyigamu, okweyongera okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, oba okuluubirira enkizo ezimu mu buweereza, gamba nga obuweereza bwa payoniya obw’ekiseera kyonna, obuweereza bwa Beseri, oba omulimu gw’obumisani. Kino kijja kujjuza ebirowoozo byaffe n’ebintu eby’omwoyo era kijja kutuyamba obutekkiriranya eri okwegomba kwaffe okw’omubiri oba okutwalirizibwa okwagala ebintu n’okwegomba okutali kwa mu Byawandiikibwa okucaase ennyo mu mbeera zino ez’ebintu. Mazima ddala kino kye ky’amagezi okukola, kubanga Yesu yagamba: “Temweterekeranga bintu ku nsi, kwe byonoonekera n’ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe basimira ne babba: naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n’ennyenje newakubadde obutalagge, so n’ababbi gye batasimira, so gye batabbira: kubanga ebintu byo we bibeera, omutima gwo nagwo gye gubeera.”—Matayo 6:19-21.
18. Lwaki kikulu nnyo okweyongera okulowooza eby’omwoyo mu nnaku zino ez’oluvannyuma?
18 Okulowooza eby’omwoyo n’okwewala okwegomba kw’ensi mazima ddala kye kintu eky’amagezi okukola mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma.’ (2 Timoseewo 3:1-5) Kasita, “ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:15-17) Ng’ekyokulabirako, singa omuvubuka Omukristaayo abeera n’ekiruubirirwa eky’obuweereza obw’ekiseera kyonna, , kino kiyinza okumuwa obulagirizi mu myaka emizibu egya kabuvubuka. Bw’apikirizibwa okwekkiriranya, omuntu ng’oyo ajja kumanyira ddala bulungi ekyo ky’ayagala okutuukiriza mu buweereza bwa Yakuwa. Omuntu ng’oyo eyettanira eby’omwoyo ajja kulaba nga si kya magezi era nga kya busirusiru, okulagajjalira ebiruubirirwa eby’omwoyo olw’okwagala okufuna ebintu oba amasanyu ag’ekika kyonna agayinza okuva mu kukola ekibi. Jjukira nti Musa eyali yettanira eby’omwoyo ‘yalondawo okukolebwanga obubi awamu n’abantu ba Katonda okukira okubanga n’okwesiima okw’ekibi okuggwaawo amangu.’ (Abaebbulaniya 11:24, 25) Ka kibe nti tuli bato oba bakulu, tusalawo mu ngeri y’emu bwe tweyongera okulowooza eby’omwoyo mu kifo ky’eby’omubiri ogutatuukiridde.
19. Miganyulo ki gye tujja okufuna bwe tweyongera okulowooza eby’omwoyo?
19 ‘Okulowooza eby’omubiri bwe bulabe eri Katonda,’ naye ‘okulowooza eby’omwoyo bwe bulamu n’emirembe.’ (Abaruumi 8:6, 7, NW) Bwe tweyongera okulowooza eby’omwoyo, tujja kufuna emirembe egy’omuwendo. Emitima gyaffe n’endowooza yaffe bijja kukuumibwa mu bujjuvu okuva ku kufugibwa ekibi. Tujja kusobola okuziyiza okukemebwa okwenyigira mu kwonoona. Era tujja kubeera n’obuyambi bwa Katonda okusobola okwaŋŋanga olutalo oluli wakati w’omubiri n’omwoyo.
20. Lwaki tuyinza okubeera abakakafu nti kisoboka okuwangula olutalo oluli wakati w’omubiri n’omwoyo?
20 Bwe tweyongera okulowooza eby’omwoyo, tussaawo enkolagana ey’omuwendo ne Yakuwa, ensibuko y’obulamu n’omwoyo omutukuvu. (Zabbuli 36:9; 51:11) Setaani Omulyolyomi ne b’akozesa bakola kyonna kye basobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda. Bagezaako okufuga ebirowoozo byaffe, nga bamanyi nti singa twekiriranya, kino oluvannyuma kijja kutuviirako obulabe ne Katonda era n’okufa. Naye tuyinza okuwangula olutalo luno oluli wakati w’omubiri n’omwoyo. Ekyo kye kyatuuka ku Pawulo, kubanga ng’awandiika ku lutalo lwe kennyini, yasooka kubuuza: ‘Ani alinnunula mu mubiri ogw’okufa kuno?’ Oluvannyuma ng’alaga nti okununulibwa kwali kusoboka, yagamba: “Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe” (Abaruumi 7:21-25) Naffe tuyinza okwebaza Katonda okuyitira mu Kristo olw’okuteekawo enteekateeka ey’okwaŋŋangamu obunafu bw’omubiri era n’okweyongera okulowooza eby’omwoyo nga tulina essuubi ery’ekitalo ery’obulamu obutaggwaawo.—Abaruumi 6:23.
Ojjukira?
• Kitegeeza ki okulowooza eby’omwoyo?
• Tuyinza tutya okuleka omwoyo gwa Yakuwa okutukolerako?
• Nnyonnyola lwaki, mu kulwanyisa ekibi, kikulu nnyo okweyigiriza Baibuli, okugondera amateeka ga Yakuwa, era n’okusaba.
• Okussaawo ebiruubirirwa eby’omwoyo kuyinza kutya okutukuumira mu kkubo ery’obulamu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Okuyiga Baibuli kutuyamba okwaŋŋanga obulumbaganyi ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Kisaanira okusaba Yakuwa okutuyamba okuvvuunuka okwegomba okubi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Ebiruubirirwa eby’omwoyo biyinza okutuyamba okweyongera okulowooza eby’omwoyo