LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 11/15 lup. 10-14
  • Goberera Omwoyo Osobole Okufuna Obulamu n’Emirembe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Goberera Omwoyo Osobole Okufuna Obulamu n’Emirembe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Tebaliiko Musango”
  • Engeri Katonda Gye ‘Yasalira Omusango Ekibi Ekiri mu Mubiri’
  • Tuyinza Tutya Okugoberera Omwoyo?
  • Lowooza eby’Omwoyo Obeere Mulamu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • “Okulowooza eby’Omwoyo Kivaamu Obulamu n’Emirembe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Tulina Okwefuga
    Muyimbire Yakuwa
  • Ziyiza ‘Omwoyo gw’Ensi’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 11/15 lup. 10-14

Goberera Omwoyo Osobole Okufuna Obulamu n’Emirembe

‘Togoberera mubiri wabula goberera omwoyo.’​—BAR. 8:4.

1, 2. (a) Kabi ki akayinza okubaawo singa omuntu awugulibwa ng’avuga ekidduka? (b) Kabi ki akayinza okubaawo singa omuntu awugulibwa mu by’omwoyo?

OMUKUNGU omu mu gavumenti y’Amerika yagamba nti omuwendo gw’abantu abawugulwa nga bavuga ebidduka gugenda gweyongera buli mwaka. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi bawugulwa bwe bakozesa obusimu obw’omu ngalo nga bavuga ebidduka. Abantu bangi bagamba nti baagwa ku kabenje oba baabulako katono okugwa ku kabenje olw’okuba oyo eyabatomera oba eyali agenda okubatomera yali ku ssimu. Okukola ebintu ebirala ng’eno bw’ovuga kiyinza okulabika ng’ekikekkereza obudde naye kiyinza okuvaamu akabenje ak’amaanyi.

2 Omuvuzi w’ekidduka aba awuguliddwa ayinza obutakiraba nti anaatera okukola akabenje. Ekyo kyennyini kye kiyinza okututuukako mu by’omwoyo. Singa tukkiriza okuwugulibwa mu by’omwoyo, okukkiriza kwaffe kusobola okusaanawo ng’emmeeri emenyesemenyese. (1 Tim. 1:18, 19) Omutume Pawulo yalabula ku kabi kano bwe yagamba Bakristaayo banne ab’omu Rooma nti: “Okulowooza eby’omubiri kivaamu okufa, naye okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe.” (Bar. 8:6) Kiki Pawulo kye yali ategeeza? Tuyinza tutya okwewala ‘okulowooza ebintu eby’omubiri’ ne ‘tulowooza ebintu eby’omwoyo’?

“Tebaliiko Musango”

3, 4. (a) Lutalo ki Pawulo lwe yali alwana? (b) Tuganyulwa tutya mu kwekenneenya embeera ya Pawulo?

3 Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yayogera ku lutalo lwe yali alwana—olutalo wakati w’omubiri gwe n’ebirowoozo bye. (Soma Abaruumi 7:21-23.) Mu kwogera ku lutalo olwo, Pawulo yali tagezaako kwekwasa busongasonga oba kwewolereza olw’ebikolwa bye. Yali tategeeza nti yali tasobola kukola kituufu, ggwe ate oba, yali Mukristaayo akuze mu by’omwoyo, nga yafukibwako amafuta, era nga yalondebwa okuba “omutume eri amawanga.” (Bar. 1:1; 11:13) Kati olwo lwaki Pawulo yayogera ku lutalo olwo lwe yali alwana?

4 Pawulo yali alaga nti, mu maanyi ge, yali tasobola kukola Katonda by’ayagala nga ye bwe yandyagadde. Lwaki? Yagamba nti: “Abantu bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Bar. 3:23) Ng’omu ku bazzukulu ba Adamu, Pawulo yali yasikira ekibi era nga tatuukiridde. Tutegeera bulungi ekyo kye yali ategeeza kubanga ffenna tetutuukiridde era buli lunaku naffe tulwana olutalo lwe lumu nga lwe yali alwana. Ate era waliwo ebintu bingi ebisobola okutuwuggula ne bituggya ku kkubo ‘ery’akanyigo eridda mu bulamu.’ (Mat. 7:14) Naye Pawulo yasobola okutuuka ku buwanguzi, era naffe tusobola okukola kye kimu.

5. Kiki ekyayamba Pawulo okuwangula olutalo lwe yali alwana?

5 Pawulo yagamba nti: “Ani alinnunula . . . ? Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe!” (Bar. 7:24, 25) Oluvannyuma, yayogera ku abo “abali mu Kristo Yesu”​—Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Soma Abaruumi 8:1, 2.) Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa abafuula abaana be, n’abawa enkizo okuba ‘abasika awamu ne Kristo.’ (Bar. 8:14-17) Omwoyo gwa Katonda awamu n’okukkiriza kwe balina mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo bibayamba okuwangula olutalo Pawulo lwe yayogerako, bwe kityo ne baba nga “tebaliiko musango.” Bafuuka ba ddembe okuva mu “tteeka ly’ekibi n’okufa.”

6. Lwaki abaweereza ba Katonda bonna basaanidde okutegeera amakulu agali mu bigambo bya Pawulo?

6 Wadde nga Pawulo yali ayogera na Bakristaayo abaafukibwako amafuta, ebyo bye yayogera ku mwoyo gwa Katonda ne ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo bya muganyulo eri Abakristaayo bonna ka babe nga balina ssuubi ki. Okuva bwe kiri nti ebigambo Pawulo bye yayogera byaluŋŋamizibwa Katonda, kikulu nnyo buli muweereza wa Katonda okutegeera amakulu agali mu bigambo ebyo n’okufuba okubikolerako.

Engeri Katonda Gye ‘Yasalira Omusango Ekibi Ekiri mu Mubiri’

7, 8. (a) Mu ngeri ki Amateeka gye gaali ‘amanafu olw’obutali butuukirivu bw’omubiri’? (b) Kiki Katonda kye yakola okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu ne mu kinunulo?

7 Mu Abaruumi essuula 7, Pawulo yalaga nti abantu abatatuukiridde bali mu bufuge bw’ekibi. Mu ssuula 8, yayogera ku maanyi ag’omwoyo omutukuvu. Omutume oyo yalaga engeri omwoyo gwa Katonda gye gusobola okuyamba Abakristaayo okulwanyisa ekibi basobole okukola Katonda by’ayagala n’okusiimibwa mu maaso ge. Pawulo yakiraga nti okuyitira mu mwoyo gwa Katonda ne mu ssaddaaka y’ekinunulo ky’Omwana we, Katonda yakola ekintu Amateeka ga Musa kye gaalemererwa okukola.

8 Amateeka gaasingisa aboonoonyi omusango olw’okuba gaalimu ebiragiro bingi abantu bye baali batasobola kukwata. Ate era bakabona ba Isiraeri abaali baweerereza wansi w’Amateeka baali tebatuukiridde era nga tebasobola kuwaayo ssaddaaka etuukiridde ku lw’ebibi by’abantu. Bwe kityo, Amateeka gaali “manafu olw’obutali butuukirivu bw’omubiri.” Naye ‘bwe yatuma Omwana we mu kifaananyi eky’omubiri omwonoonyi’ era n’amuwaayo ng’ekinunulo, Katonda ‘yasalira omusango ekibi ekiri mu mubiri,’ bw’atyo n’akola “ekyo Amateeka kye gaalemererwa okukola.” Bwe kityo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta babalibwa okuba abatuukirivu olw’okukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Bakubirizibwa ‘obutagoberera mubiri, wabula okugoberera omwoyo.’ (Soma Abaruumi 8:3, 4.) Mu butuufu, ekyo balina okukikola okutuusiza ddala lwe bamaliriza obuweereza bwabwe obw’oku nsi basobole okuweebwa “engule ey’obulamu.”​—Kub. 2:10.

9. Ekigambo ‘etteeka’ ekyakozesebwa mu Abaruumi 8:2 kitegeeza ki?

9 Pawulo era yayogera ku ‘tteeka ly’omwoyo’ ne ku “tteeka ly’ekibi n’okufa.” (Bar. 8:2) Amateeka gano ge galuwa? Ekigambo ‘etteeka’ ekikozesebwa mu lunyiriri olwo tekitegeeza biragiro ng’ebyo ebyali mu Mateeka ga Musa. Ekitabo ekimu kigamba nti: ‘Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa etteeka mu lunyiriri olwo kitegeeza ebintu ebirungi oba ebibi abantu bye bakola era ebibafuga ng’etteeka. Era kiyinza n’okutegeeza emitindo abantu gye basalawo okutambulizaako obulamu bwabwe.’

10. Etteeka ly’ekibi n’okufa litufuga litya?

10 Omutume Pawulo yawandiika nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Bar. 5:12) Olw’okuba ffenna tuli bazzukulu ba Adamu, ffenna tufugibwa etteeka ly’ekibi n’okufa. Omubiri gwaffe ogutatuukiridde bulijjo gwegomba okukola ebintu ebitasanyusa Katonda, kyokka ng’ebintu ebyo bivaamu okufa. Mu bbaluwa ye eri Abaggalatiya, ebintu ng’ebyo Pawulo yabiyita “ebikolwa eby’omubiri.” Yagattako nti: “Abakola ebintu ng’ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (Bag. 5:19-21) Abantu abakola ebintu ebyo baba bagoberera mubiri. (Bar. 8:4) Bagoberera ebyo omubiri gwabwe ogutatuukiridde bye gwegomba. Naye abantu abakola obwenzi, abasinza ebifaananyi, abakola eby’obusamize, oba abo abakola ebibi ebirala eby’amaanyi be bokka abagoberera omubiri? Nedda, kubanga ebikolwa eby’omubiri bizingiramu n’ebintu abamu bye bayinza okutwala ng’ebibi ebitonotono, gamba ng’obuggya, obusungu, empaka, n’ensaalwa. Kati olwo waliwo omuntu yenna ayinza okugamba nti teyeetaaga kulwanyisa kwegomba kw’omubiri gwe ogutatuukiridde?

11, 12. Nteekateeka ki Yakuwa gy’ataddewo okutuyamba okuva mu bufuge bw’etteeka ly’ekibi n’okufa, era kiki kye tulina okukola okusobola okusiimibwa Katonda?

11 Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa ataddewo enteekateeka okutusobozesa okuva mu bufuge bw’etteeka ly’ekibi n’okufa! Yesu yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” Bwe tukyoleka nti twalaga Katonda era ne tukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo, tusobola okuwona okusalirwa omusango olw’ekibi kye twasikira. (Yok. 3:16-18) Bwe kityo, naffe tusobola okukkiriziganya n’ebigambo bya Pawulo bino: “Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe!”

12 Embeera yaffe efaananako ey’omuntu alina obulwadde obw’amaanyi. Omuntu oyo bw’aba ow’okuwona obulungi, aba alina okukola ekyo omusawo ky’amugamba okukola. Wadde ng’okukkiririza mu kinunulo kisobola okutuyamba okuva mu bufuge bw’etteeka ly’ekibi n’okufa, ffenna tukyali bantu abatatuukiridde era aboonoonyi. Okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, okusiimibwa mu maaso ge, n’okufuna emikisa gye, waliwo ekintu ekirala kye twetaaga okukola. Ng’ayogera ku kutuukirizibwa ‘kw’ebintu eby’obutuukirivu Amateeka bye geetaagisa,’ Pawulo agamba nti tulina okugoberera omwoyo.

Tuyinza Tutya Okugoberera Omwoyo?

13. Kitegeeza ki okugoberera omwoyo?

13 Okusobola okugoberera omwoyo twetaaga okukulaakulana mu by’omwoyo. (1 Tim. 4:15) Wadde ng’ekyo tetusobola kukikola mu ngeri etuukiridde, bulijjo tusaanidde okufuba okugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda. Bwe ‘tutambulira mu mwoyo,’ tujja kusiimibwa Katonda.​—Bag. 5:16.

14. Abo “abagoberera omubiri” beeyisa batya?

14 Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo era ayogera ku bantu abalowooza eby’omubiri n’abalowooza eby’omwoyo. (Soma Abaruumi 8:5.) Mu Bayibuli, ekigambo “omubiri” emirundi egimu kikozesebwa okutegeeza obutali butuukirivu bwe twasikira. Obutali butuukirivu obwo bwe buviirako olutalo wakati w’omubiri n’ebirowoozo byaffe Pawulo lwe yayogerako. Pawulo yalwanyisa omubiri gwe oba obutali butuukirivu bwe, naye abo “abagoberera omubiri” tebafuba kulwanyisa kwegomba kwabwe okubi. Mu kifo ky’okulowooza ku bintu Katonda by’ayagala era ne bamusaba abayambe okulwanyisa okwegomba okubi, abantu ng’abo “balowooza bya mubiri.” Basalawo okugoberera okwegomba kwabwe okw’omubiri. Ku luuyi olulala, abo “abagoberera omwoyo balowooza bya mwoyo”—ebintu eby’omwoyo Katonda by’atuwa ne ku buweereza bwabwe.

15, 16. (a) Okulowooza ennyo ku kintu kiyinza kitya okukwata ku nneeyisa y’omuntu? (b) Bintu ki abantu abasinga obungi bye balowoozaako ennyo leero?

15 Soma Abaruumi 8:6. Abantu bwe baba tebannakola kintu kyonna​—ka kibe kirungi oba kibi—basooka kukirowoozaako. Abantu abalowooza ennyo ku bintu eby’omubiri, batandika okwagala ebintu eby’omubiri. Ebintu eby’omubiri bye baba balowoozaako buli kiseera, bye bibanyumira, era bye baba boogerako buli kiseera.

16 Bintu ki abantu abasinga obungi bye balowoozaako ennyo leero? Omutume Yokaana yagamba nti: “Buli kintu ekiri mu nsi​—okwegomba kw’omubiri, okwegomba kw’amaaso, n’okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu​—tebiva eri Kitaffe wabula biva eri ensi.” (1 Yok. 2:16) Okwegomba Yokaana kw’ayogerako kuzingiramu ebikolwa eby’obugwenyufu, okwagala ettutumu, n’eby’obugagga. Ebitabo, magazini, empapula z’amawulire, firimu, ebintu ebiragibwa ku ttivi, n’ebintu ebiba ku mikutu gya Intaneeti bijjudde ebintu ng’ebyo kubanga abantu abasinga obungi bye balowoozaako era bye baagala. Naye tulina okukijjukira nti, “okulowooza eby’omubiri kivaamu okufa”​—okufa mu by’omwoyo kati n’okuzikirira mu kiseera eky’omu maaso. Lwaki? “Kubanga okulowooza eby’omubiri kitegeeza bulabe ne Katonda, kubanga omubiri tegufugibwa mateeka ga Katonda, era mu butuufu teguyinza kubeera wansi waago. Bwe kityo, abo abagoberera omubiri tebasobola kusanyusa Katonda.”​—Bar. 8:7, 8.

17, 18. Tuyinza tutya okulaga nti tulowooza eby’omwoyo, era biki ebinaavaamu?

17 Ku luuyi olulala, “okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe”​—obulamu obutaggwaawo mu kiseera eky’omu maaso awamu n’emirembe mu mutima n’enkolagana ennungi ne Katonda kati. Tuyinza tutya okulaga nti ‘tulowooza eby’omwoyo’? Nga bulijjo tuteeka ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omwoyo era nga tukulaakulanya endowooza ng’eya Katonda. Bwe tukola tutyo, ebirowoozo byaffe bijja kuba ‘bifugibwa amateeka ga Katonda.’ Bwe tunaakemebwa, tujja kuba tumanyi eky’okukola. Tujja kwagala okukola ekituufu era tujja kusalawo nga tugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda.

18 N’olwekyo, kikulu nnyo okulowooza ebintu eby’omwoyo. Kino tukikola nga ‘tuteekateeka ebirowoozo byaffe okukola emirimu,’ ng’obulamu bwaffe tubutambuliza ku bintu eby’omwoyo omuli okusaba obutayosa, okusoma n’okwesomesa Bayibuli, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. (1 Peet. 1:13) Mu kifo ky’okukkiriza ebintu eby’omubiri okutuwugula, ka ebirowoozo byaffe tubimalire ku bintu eby’omwoyo. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okweyongera okugoberera omwoyo. Ekyo kijja kutuviiramu emikisa mingi, kubanga okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe.​—Bag. 6:7, 8.

Osobola Okunnyonnyola?

• Kiki “Amateeka kye gaalemererwa okukola,” era Katonda yakikola atya?

• ‘Etteeka ly’ekibi n’okufa’ kye ki, era tuyinza tutya okusumululwa okuva mu tteeka eryo?

• Kiki kye tulina okukola okusobola “okulowooza eby’omwoyo”?

[Ebifaananyi ebiri ku empapula 12, 13]

Ogoberera mubiri oba ogoberera mwoyo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share