LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 4/1 lup. 30-31
  • Obuwulize—Ssomo Kkulu ery’Omu Buto?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obuwulize—Ssomo Kkulu ery’Omu Buto?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Kino Kye Kituufu”
  • “Olyoke Obeerenga Bulungi”
  • Ekirabo Ekifunibwa olw’Obuwulize
  • Obuwulize Bwo Yakuwa Abutwala nga bwa Muwendo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • “Abaana Abato, Muwulirenga Abazadde Bammwe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Beera Muwulize ng’Enkomerero Egenda Esembera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • ‘Okwagala Katonda kye Kitegeeza’
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 4/1 lup. 30-31

Obuwulize​—Ssomo Kkulu ery’Omu Buto?

“ABAZADDE Baagala Abantu Abooleka Kye Bali So Si Baana Abawulize Kyokka.” Bwe gutyo omutwe gw’olupapula lw’amawulire bwe gw’agamba. Ekitundu ekyo kyesigamizibwa ku kunoonyereza okwakolebwa mu New Zealand, okwalaga nti “abantu 22 ku buli kikumi abaabuuzibwa, be baalowooza nti abaana basaanidde okuyigirizibwa obuwulize awaka.” Okunoonyereza era kwazuula nti abazadde leero bakkiriza nti kikulu nnyo n’okusingawo okuyigiriza abaana empisa ennungi, okwekolera ku nsonga zaabwe era n’okubeera ab’obuvunaanyizibwa.

Mu mulembe guno ogw’okwerowoozaako, tekyewuunyisa nti abantu abasinga obungi babuusa amaaso obuwulize n’okubuyigiriza abaana. Naye okuyigiriza abaana abato obuwulize kyanditwaliddwa ng’ekintu ekyava ku mulembe? Oba kye kimu ku masomo amakulu abaana ge bayinza okuyiga n’okuganyulwamu? Ekisingawo n’obukulu, Yakuwa Katonda, Eyatandikawo enteekateeka y’amaka, atunuulira atya obuwulize eri abazadde, era egimu ku miganyulo egiva mu buwulize ng’obwo gye giruwa?​—Ebikolwa 17:28; Abaefeso 3:14, 15.

“Kino Kye Kituufu”

Eri ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka eky’e Efeso, omutume Pawulo yawandiika: “Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi [“kituufu,” NW].” (Abaefeso 6:1) Bwe kityo, ensonga enkulu ey’obuwulize ng’obwo eri nti butuukagana n’omutindo gwa Katonda ogw’ekituufu. Nga Pawulo bwe yagamba, “kino kye kituufu.”

Nga kituukagana na kino, tulaba nti Ekigambo kya Katonda kyogera ku kukangavvula kw’ekizadde mu kwagala ng’ekintu ekirungi, ‘engule ey’ekisa ku mutwe gwo, n’omukuufu omulungi ogwetoolodde obulago bwo’ era ng’ekintu ‘ekisiimibwa mu Mukama waffe.’ (Engero 1:8, 9; Abakkolosaayi 3:20) Okwawukanira ddala ku ekyo, okujeemera abazadde kuvaamu obutasiimibwa Katonda.​—Abaruumi 1:30, 32.

“Olyoke Obeerenga Bulungi”

Pawulo yayogera ku kirungi ekirala ekiva mu buwulize bwe yawandiika: “Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery’olubereberye eririmu okusuubiza), olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.” (Abaefeso 6:2, 3; Okuva 20:12) Mu ngeri ki obuwulize eri abazadde gye buyinza okuvaamu ebirungi?

Okusooka, si kituufu nti abazadde batusinga emyaka n’obumanyirivu? Wadde bayinza okulabika ng’abatamanyi bingi ebikwata ku kompyuta oba ebirala ebiyigirizibwa mu ssomero, bamanyi bingi ku bulamu n’engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu by’omu bulamu. Ku luuyi olulala, abavubuka, tebalina ndowooza etagudde lubege omuntu gy’afuna ng’akuze mu myaka. Bwe kityo, batera okupapa nga basalawo, emirundi mingi ne bekkiriranya nga bapikirizibwa bannaabwe, ne kibaviiramu akabi. Mu ngeri etuukirawo, Baibuli egamba: “Obusirusiru busibibwa mu mutima gw’omwana omuto.” Kiki ekiyinza okuvumula ekyo? “Omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy’ali.”​—Engero 22:15.

Emiganyulo gy’obuwulize tegikoma ku nkolagana ebaawo wakati w’omuzadde n’omwana. Abantu okusobola okutabagana n’okuganyulwa, wateekwa okubaawo okukolera awamu, nakyo ekyetaagisa obuwulize. Ng’ekyokulabirako, mu bufumbo, okubeera omwetegefu okukkaanya, so si okwetaaza abalala okukola ky’oyagala n’obutafaayo ku ddembe n’enneewulira z’abalala, kye kivaamu emirembe, okutabagana n’essanyu. Mu bifo gye tukolera, kikulu nnyo abakozesebwa okubeera abawulize singa bizineesi oba ekintu ekirala kyonna kya kutuuka ku buwanguzi. Ku bikwata ku mateeka ga gavumenti, obuwulize tebuwonya muntu kubonerezebwa kyokka naye era bwa bukuumi.​—Abaruumi 13:1-7; Abaefeso 5:21-25; 6:5-8.

Abavubuka abatawulira ba buyinza batera okufuuka ab’akabi mu bantu. Okwawukana ku ekyo, obuwulize obuyigibwa mu buto buyinza okuganyula omuntu mu bulamu bwe bwonna. Nga kyamuganyulo nnyo okubuyiga mu buto!

Ekirabo Ekifunibwa olw’Obuwulize

Obuwulize tebuleeta ssanyu mu maka n’emiganyulo emirala mu bulamu kyokka, naye era butusobozesa okubeera n’omusingi ogw’okusinziirako okufuna enkolagana esinga zonna obukulu​—enkolagana wakati w’omuntu n’Omutonzi we. Nga “Omutonzi ow’Ekitalo” era ‘ensibuko y’obulamu,’ Yakuwa Katonda agwanidde obuwulize obujjuvu.​—Omubuulizi 12:1, NW; Zabbuli 36:9, NW.

Ekigambo “obuwulize” kirabika emirundi mingi mu Baibuli. Ate era, emirundi mingi nnyo ejuliza ku mateeka ga katonda, ebiragiro bye, n’emisango gye, byonna ebyetaagisa obuwulize. Kya lwatu Katonda atunuulira obuwulize ng’ekyetaagisa okusobola okufuna okusiimibwa kwe. Yee, obuwulize bukulu nnyo mu kukulaakulanya enkolagana ennungi ne Yakuwa. (1 Samwiri 15:22) Eky’ennaku, mu butonde endowooza y’omuntu eyoleka bujeemu so si buwulize. “Okulowooza okw’omu mutima gw’omuntu kubi okuva mu buto bwe,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. (Olubereberye 8:21) N’olwekyo, obuwulize bulina okuyigibwa si mu buto mwokka naye mu bulamu bwonna. Okukola bw’otyo kivaamu ekirabo eky’ekitalo.

Jjukira nti, ng’omutume Pawulo bwe yagamba, ekiragiro ky’okubeera abawulize eri abazadde kirimu ebisuubizo bibiri nti, “olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.” Ekikakasa ekisuubizo kino kisangibwa mu Engero 3:1, 2: “Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange; kubanga ennaku ennyingi n’emyaka egy’okuwangaala n’emirembe bye birikwongerwako.” Ekirabo eky’ekitalo eky’abawulize y’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kati n’obulamu obutaggwaawo mu nsi empya ey’emirembe.​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30, 31]

Obuwulize buleeta enkolagana ey’essanyu mu maka, ku mulimu, era ne Yakuwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share