Obuwulize Bwo Yakuwa Abutwala nga bwa Muwendo
“Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange.”—ENGERO 27:11.
1. Mwoyo ki ogubunye mu bantu leero?
OMWOYO gwa kyetwala n’obujeemu bibunye mu nsi leero. Mu baluwa ye eri Abakristaayo b’omu Efeso, omutume Pawulo annyonnyola lwaki kiri bwe kityo: “Edda [mwatambulanga] ng’emirembe egy’ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu ow’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogukoza kaakano mu baana abatawulira.” (Abaefeso 2:1, 2) Yee, oyinza okugamba nti Setaani Omulyolyomi, “omukulu ow’obuyinza obw’omu bbanga,” y’aleetedde ensi yonna okuba n’omwoyo guno ogw’obujeemu. Yakola bw’atyo mu kyasa ekyasooka, era bw’abadde akola naddala okuva lwe yasuulibwa okuva mu ggulu awo nga mu kiseera kya Ssematalo I.—Okubikkulirwa 12:9.
2, 3. Lwaki tusaanidde okugondera Yakuwa?
2 Kyokka, ffe ng’Abakristaayo tumanyi nti Yakuwa Katonda gwe tusaanidde okugondera kubanga ye Mutonzi waffe, ye Mufuzi omwagazi, Omununuzi waffe era y’abeesaawo obulamu bwaffe. (Zabbuli 148:5, 6; Ebikolwa 4:24; Abakkolosaayi 1:13; Okubikkulirwa 4:11) Abaisiraeri ab’omu kiseera kya Musa bali bakimanyi nti Yakuwa ye yabawa obulamu era nti ye yali Omununuzi waabwe. N’olwekyo, Musa yabagamba nti: ‘Munaakolanga nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira.’ (Ekyamateeka 5:32) Yee, baali basaanidde okugondera Yakuwa, kyokka mu bbanga ttono baajeemera Omufuzi waabwe.
3 Okugondera Omutonzi w’obutonde bwonna kikulu kwenkana wa? Lumu Katonda yalagira nnabbi Samwiri okugamba Kabaka Sawulo nti: “Okugonda kusinga ssaddaaka obulungi.” (1 Samwiri 15:22, 23) Lwaki kiri bw’etyo?
Engeri ‘Obuwulize gye Businga Ssaddaaka’
4. Tusobola tutya okubaako ne kye tuwa Yakuwa?
4 Olw’okuba ye Mutonzi, Yakuwa ye nnanyini bintu byonna bye tulina. Kati olwo, waliwo ekintu kyonna kye tusobola okumuwa? Yee, tulina ekintu eky’omuwendo ennyo kye tusobola okumuwa. Kye kiruwa ekyo? Eky’okuddamu kisangibwa mu kubuulirirwa kuno: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.” (Engero 27:11) Bwe tuba abawulize tuba tulina kye tuwadde Katonda. Wadde ng’embeera zaffe za njawulo, bwe tuba abawulize, buli omu ku ffe asobola okukiraga nti Setaani Omulyolyomi mulimba okugamba nti abantu tebasobola kunywerera ku Katonda nga bafunye ebizibu. Eyo nga nkizo y’amaanyi!
5. Omutonzi awulira atya ng’abantu bamujeemedde? Waayo ekyokulabirako.
5 Bye tusalawo kintu kikulu eri Katonda. Bwe tumujeemera kimukwatako. Mu ngeri ki? Awulira ennaku okulaba omuntu yenna ng’akwata ekkubo ekkyamu. (Zabbuli 78:40, 41) Ng’ekyokulabirako, omulwadde wa sukaali bw’agaana okulya emmere omusawo gye yamulagira, n’alya eyo eteeka obulamu bwe mu kabi, omusawo we awulira atya? Tuli bakakafu nti Yakuwa awulira bubi abantu bwe bamujeemera, kubanga amanyi bulungi ekituuka ku bulamu bw’abo abaagaana obulagirizi bwe.
6. Kiki ekinaatuyamba okuba abawulize eri Katonda?
6 Kiki ekinaayamba buli omu ku ffe okuba omuwulize? Kirungi buli omu okusaba Katonda amuwe “omutima omuwulize,” nga Kabaka Sulemaani bwe yakola. Yasaba okufuna omutima ogw’engeri eyo asobole ‘okwawulanga ekirungi n’ekibi,’ kimusobozese okulamula Baisiraeri banne. (1 Bassekabaka 3:9, NW) Twetaaga “omutima omuwulize” okusobola okwawula ekirungi n’ekibi mu nsi eno ejudde omwoyo gw’obujeemu. Katonda atuwadde Ekigambo kye, ebitabo ebinnyonnyola Baibuli, enkuŋŋaana z’Ekikristaayo, n’abakadde mu kibiina okusobola okutuyamba okufuna “omutima omuwulize.” Tufuba okulaba nti tuganyulwa mu bintu bino byonna?
7. Lwaki obuwulize Yakuwa abutwala nga bukulu okusinga ssaddaaka?
7 Ku nsonga eno, tujjukira nti Yakuwa yagamba abantu be ab’edda nti obuwulize bwa muwendo okusinga ssaddaaka z’ensolo. (Engero 21:3, 27; Koseya 6:6; Matayo 12:7) Lwaki kyali bwe kityo, ate nga Yakuwa ye yali abalagidde okuwaayo ssaddaaka? Ekyebuuzibwa kiri nti oyo awaayo ssaddaaka alina kigendererwa ki? Agiwaayo kusanyusa Katonda oba atuusa butuusa mukolo? Omuntu bw’aba nga ddala ayagala kuweereza Katonda mu ngeri emusanyusa, ajja kufuba okulaba nti agondera amateeka ga Katonda gonna. Katonda talina ky’aganyulwa mu ssaddaaka za nsolo, naye obuwulize bwaffe kintu kya muwendo gy’ali.
Ekyokulabirako Ekirabula
8. Lwaki Katonda yaggya Sawulo ku bwakabaka?
8 Baibuli by’eyogera ku Kabaka Sawulo biraga bulungi nti obuwulize kintu kikulu. Mu ntandikwa, Sawulo yali mufuzi mulungi, muwombeefu, era yali ‘yeenyooma.’ Naye, yatuuka ekiseera n’afuna amalala n’endowooza enkyamu ne kimuleetera okusalawo obubi. (1 Samwiri 10:21, 22; 15:17, NW) Olumu, Sawulo yali ateekateeka kulwana n’Abafirisuuti. Samwiri yagamba kabaka alindeko okutuusa ng’azze era aweeyo ssaddaaka eri Yakuwa amuwe n’obulagirizi obulala. Kyokka Samwiri teyajja mu bwangu nga bwe kyali kisuubirwa, era abantu baatandika okusaasaana. Sawulo bwe yalaba biri bityo ‘n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ Kino kyanyiiza Yakuwa. Samwiri bwe yamala n’ajja, kabaka yeewolereza nti olw’okuba Samwiri yali aluddeyo ye nsonga lwaki ‘yawalirizibwa’ okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa Yakuwa aleme kunyiiga. Eri Kabaka Sawulo, okuwaayo ssaddaaka kyali kikulu okusinga okugondera ekiragiro ky’okulinda Samwiri ajje aweeyo ssaddaaka eyo. Samwiri yamugamba nti: “Wakoze kya busirusiru: tokutte kiragiro kya Yakuwa Katonda wo kye yakulagira.” Okujeemera Yakuwa kyaleetera Sawulo okuggibwako obwakabaka bwe—1 Samwiri 10:8; 13:5-13, NW.
9. Sawulo yaddamu atya okujeemera Katonda?
9 Bino ebyatuuka ku kabaka birina kye byamuyigiriza? N’edda! Oluvannyuma, Yakuwa yamulagira okuzikiriza eggwanga ly’Abamaleki eryali lyalumbako Isiraeri ewatali nsonga. Sawulo teyali wa kutaliza wadde ebisolo byabwe. Mu ngeri emu yagondera Yakuwa “n’akuba Abamaleki, okuva e Kavira [okutuuka] e Ssuuli.” Samwiri bwe yajja okumusisinkana, kabaka yali musanyufu olw’okuba yali awangudde olutalo era n’amugamba nti: “Oweebwe Mukama omukisa: nkoze ekiragiro kya Mukama.” Kyokka Sawulo ne basajja be baali tebasse Kabaka Agagi “n’endiga ezaasinga obulungi n’ente. . . n’abaana b’endiga n’ebirungi byonna,” nga bwe baali balagiddwa. Kabaka Sawulo yeewolereza ng’agamba nti: “Abantu baasonyiye endiga n’ente ezaasinga obulungi, okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wo.”—1 Samwiri 15:1-15.
10. Kiki Sawulo kye yalemererwa okuyiga?
10 Samwiri yagamba Sawulo nti: “Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n’okuwulira kusinga amasavu g’endiga ennume.” (1 Samwiri 15:22) Olw’okuba Yakuwa yali alagidde ensolo ezo zittibwe, yali tasobola kuzisiima nga ssaddaaka.
Beera Muwulize mu Byonna
11, 12. (a) Yakuwa akitwala atya bwe tufuba okumusinza nga bw’ayagala? (b) Omuntu asobola atya okwerimba nti akola Katonda by’ayagala kyokka nga by’akola bya bujeemu?
11 Nga Yakuwa asanyuka okulaba abaweereza be abeesigwa nga banywevu wadde nga bayigganyizibwa, nga balangirira Obwakabaka wadde ng’abasinga tebeefiirayo, era nga babaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo wadde nga balina okukola ennyo okusobola okweyimirizaawo! Bwe tuba abawulize mu bintu ebikulu ng’ebyo ebikwata ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo kisanyusa omutima gwe! Yakuwa akitwala nga kya muwendo bwe tufuba okumusinza mu kwagala. Obunyiikivu bwaffe abantu bayinza obutabutwala nga kikulu, naye Katonda asiima era teyeerabira ebyo bye tumukolera n’omutima gwaffe gwonna.—Matayo 6:4.
12 Kyokka, okusobola okusanyusa Katonda mu bujjuvu, tuteekwa okumugondera mu buli kye tukola. Tetusaanidde kwerimba nti tuyinza okumenya emisingi gya Katonda egimu kasita tuba nga tumuweereza bulungi mu ngeri endala. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okwerimba nti bw’abaako n’ebintu ebimu by’akola mu kusinza Katonda, tekiba kya mutawaana nnyo bw’akola ebintu eby’obugwenyufu oba ebibi ebirala eby’amaanyi. Ng’eyo eba nsobi ya maanyi!—Abaggalatiya 6:7, 8.
13. Obuwulize bwaffe eri Yakuwa buyinza kugezesebwa butya nga tuli ffekka?
13 N’olwekyo, tusobola okwebuuza, ‘Ŋŋondera Yakuwa mu byonna bye nkola buli lunaku, wadde mu ebyo bye nkola nga ndi nzekka?’ Yesu yagamba nti: “Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi.” (Lukka 16:10) ‘Tutambula n’omutima ogutuukiridde,’ ne bwe tuba ‘mu nnyumba yaffe,’ abalala gye batatulabira? (Zabbuli 101:2) Yee, obugolokofu bwaffe buyinza okugezesebwa nga tuli mu nnyumba yaffe. Mu nsi nnyingi kompyuta gye ziri ne mu maka, kyangu omuntu okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu. Emyaka mitono emabega, omuntu yali tasobola kulaba bifaananyi ng’ebyo okuggyako ng’agenze mu bifo gye biragibwa. Tunaagondera Yesu kye yagamba nti: “Buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe”? Ddala tuneewala n’okutunuulira obutunuulizi ebifaananyi eby’obugwenyufu? (Matayo 5:28; Yobu 31:1, 9, 10; Zabbuli 119:37; Engero 6:24, 25; Abaefeso 5:3-5) Ate kiri kitya ku programu za ttivi eziraga ebikolwa eby’ettemu? Tufaananako Katonda waffe ‘akyawa buli ayagala ebikolwa eby’ettemu’? (Zabbuli 11:5, NW) Ate bwe kituuka ku kunywa ekisukkiridde nga tuli ffekka? Baibuli evumirira obutamiivu, naye erabula n’Abakristaayo okwewala omuze ogw’okunywanga “omwenge omungi.”—Tito 2:3; Lukka 21:34, 35; 1 Timoseewo 3:3.
14. Bwe kituuka ku by’essente, ngeri ki mwe tuyinza okulagira obuwulize eri Katonda?
14 Ensonga endala mwe tulina okuba abeegendereza y’eyo ekwata ku by’essente. Ng’ekyokulabirako, twandikoze bizineesi ezigaggawaza amangu naye nga kumpi zikolebwa mu bukumpanya? Tugezaako okwewala okusasula emisolo nga tukozesa engeri ezimenya amateeka? Oba tufuba okulaba nti tugondera ekiragiro “[eky’okusasula] bonna amabanja gaabwe: ab’omusolo musolo; ab’empooza mpooza”?—Abaruumi 13:7.
Obuwulize Obuva mu Kwagala
15. Lwaki ogondera amateeka ga Yakuwa?
15 Okugondera amateeka ga Katonda kivaamu emiganyulo. Ng’ekyokulabirako, bwe twewala empisa ez’obugwenyufu, okunywa taaba, n’okukozesa omusaayi, kituyamba obutafuna ndwadde ezimu. Okugatta ku ekyo, bwe tutambulira ku misingi gya Baibuli mu bulamu bwaffe, kiyinza okutuganyula mu by’enfuna, mu ngeri gye tukolaganamu n’abalala, era ne mu maka. (Isaaya 48:17) Emiganyulo ng’egyo giwa obukakafu nti okugondera amateeka ga Katonda kivaamu emikisa. Wadde kiri kityo, okwagala Yakuwa ye nsonga enkulu etuleetera okumugondera. Tetuweereza Katonda olw’okuba twagala abeeko by’atuwa. (Yobu 1:9-11; 2:4, 5) Katonda eyatuwa eddembe ery’okwesalirawo gwe twagala okugondera. Tusalawo okuweereza Yakuwa olw’okuba twagala okumusanyusa n’okukola ekituufu.—Abaruumi 6:16, 17; 1 Yokaana 5:3.
16, 17. (a) Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Katonda, yalaga atya obuwulize? (b) Tusobola tutya okukkopa Yesu?
16 Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kugondera Yakuwa olw’okumwagala ennyo. (Yokaana 8:28, 29) Bwe yali ku nsi, Yesu “yayiga okugonda olw’ebyo bye yabonaabona.” (Abaebbulaniya 5:8, 9) Yakiraga atya? Yesu “yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw’oku [muti ogw’okubonyabonya].” (Abafiripi 2:7, 8) Wadde Yesu yali muwulize ng’akyali mu ggulu, obuwulize bwe era bwagezesebwa ng’ali ku nsi. Tusobola okuba abakakafu nti Yesu ddala asaanira mu buli ngeri okuweereza nga Kabona Omukulu eri baganda be ab’omwoyo n’eri abalala abamukkiririzaamu.—Abaebbulaniya 4:15; 1 Yokaana 2:1, 2.
17 Ate kiri kitya eri ffe? Tusobola okukoppa Yesu nga tulaga nti okukola Katonda by’ayagala kintu kikulu mu bulamu bwaffe. (1 Peetero 2:21) Tujja kuba bamativu mu bulamu singa tukola Katonda by’ayagala olw’okuba tumwagala, ne bwe tuba nga tupikirizibwa oba nga tukemebwa okukola ekikyamu. (Abaruumi 7:18-20) Kino kizingiramu okugonderanga abo abatwala obukulembeze mu kusinza okw’amazima, wadde nga tebatuukiridde. (Abaebbulaniya 13:17) Era Yakuwa akitwala nga kya muwendo bwe tugondera amateeka ge nga tewali atulaba.
18, 19. Kiki ekiva mu kugondera Katonda n’omutima gwaffe gwonna?
18 Leero, okugondera Yakuwa nga tukuuma obugolokofu bwaffe kiyinza okutwetaagisa okugumira okuyigganyizibwa. (Ebikolwa 5:29) Ate era, okugondera ekiragiro kya Yakuwa eky’okubuulira n’okuyigiriza kitwetaagisa okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno. (Matayo 24:13, 14; 28:19, 20) Twetaaga okugumiikiriza okusobola okweyongera okukuŋŋaana awamu n’ab’oluganda wadde ng’ensi etunyigiriza. Katonda waffe ajjudde okwagala amanyi bulungi nti tufuba okumugondera mu mbeera ng’ezo. Kyokka, okusobola okubeera abawulize mu buli kimu, tulina okulwanagana n’omubiri gwaffe omwonoonyi okusobola okwewala ebibi, ate ne tufuba okwagala ebirungi.—Abaruumi 12:9.
19 Bwe tuweereza Yakuwa n’okwagala era n’omutima ogujjudde okusiima, ‘ajja kutugabira empeera gy’awa abo bonna abamunoonya.’ (Abaebbulaniya 11:6) Ssaddaaka ennungi zisiimibwa, naye okugondera Yakuwa mu bujjuvu olw’okuba tumwagala kye kisinga okumusanyusa.—Engero 3:1, 2.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki tuyinza okugamba nti waliwo kye tusobola okuwa Yakuwa?
• Nsobi ki Sawulo ze yakola?
• Osobola otya okukiraga nti obuwulize businga ssaddaaka obulungi?
• Kiki ekikuleetera okugondera Yakuwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]
Ogondera amateeka ga Katonda ng’oli wekka mu nnyumba yo?