Mitindo gy’Ani gy’Oyinza Okwesiga?
Omuntu eyali akyadde mu Afirika omulundi gwe ogusooka yawuniikirira bwe yalaba omusajja eyali ayimiridde obusimba ku mabbali g’oluguudo. Buli kiseera yalaba omusajja oyo ng’akyusa ebigere bye okubizza ku ludda olulala, kyokka, ng’akyayimiridde mu kifo kimu. Nga wayiseewo akabanga, omugenyi oyo yategeera ensonga lwaki omusajja oyo yali akyukakyuka bw’atyo. Yali agezaako okubeera mu kisiikirize ky’ekikondo ky’omuti gw’essimu. Ekisiikirize ky’omuti kyali kikyuka mpolampola ng’enjuba egenda eseeseetuka okuva mu kifo kyayo.
NG’EKISIIKIRIZE ekyo bwe kyakyukakyuka olw’okuseeseetuka kw’enjuba, n’ebintu abantu bye bakola era n’emitindo gy’empisa bwe gigenda nga gikyukakyuka. Okwawukana ku ekyo, Yakuwa Katonda, “Kitaffe ow’ebyaka,” ye takyukakyuka. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “[Tayinza] kuba na kufuukafuuka newakubadde ekisiikirize eky’okukyuka.” (Yakobo 1:17) Nnabbi Omuyudaaya, Malaki, yawandiika ebigambo Katonda kennyini bye yeeyogerako: “Nze Mukama sijjulukuka [“sikyukakyuka” NW].” (Malaki 3:6) Mu kiseera kya Isaaya, Katonda yagamba eggwanga lya Isiraeri: “N’okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n’okutuusa ku nvi n [n] aabasitulanga: Nze n [na] akola era nze n [n] aaweekanga.” (Isaaya 46:4) N’olwekyo, okuyitawo kw’ebiseera tekuyinza kukyusa bwesige bwe tulina mu bisuubizo by’Omuyinza w’Ebintu Byonna.
Eky’Okuyiga Okuva mu Mateeka ga Musa
Okuva ebisuubizo bya Yakuwa bwe byesigika era nga tebikyukakyuka, bwe kityo bwe kiri n’eri emitindo gye egy’ekirungi n’ekibi. Wandyesize omusuubuzi akozesa ebipima bibiri ng’ekimu ku byo kye kituufu? N’akatono. Mu ngeri y’emu, “[minzaani] ey’obulimba ya muzizo eri Mukama: naye ekipima ekituufu ky’asanyukira.” (Engero 11:1; 20:10) Mu Mateeka ge yawa Abaisiraeri, Yakuwa era yagattako n’ekiragiro kino: “Temukolanga ebitali bya butuukirivu okusala emisango, okupima emikono, okupimira mu minzaani, newakubadde okugera. Munaabanga ne minzaani ntuufu, n’ebigera bituufu, efa ntuufu, ne ini ntuufu; nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.”—Eby’Abaleevi 19:35, 36.
Abaisiraeri bwe baagondera ekiragiro ekyo, baasiimibwa Katonda era n’abawa ebintu bingi. Mu ngeri y’emu, okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egitakyukakyuka, si mu nkozesa y’ebipima ne minzaani kyokka, naye mu ngeri zonna ez’obulamu bwaffe, kiviirako oyo amusinza era amwesiga okufuna emikisa. Katonda agamba: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.”—(Isaaya 48:17)
Lwaki Leero Emitindo Gigenda Giddirira?
Baibuli ewa ensonga lwaki leero emitindo gigenda giddirira. Ekitabo ekisembayo mu Baibuli ekiyitibwa Okubikkulirwa, kyogera ku lutalo olw’omu ggulu, era n’ebyavaamu ebirina kye bikoze ku bantu n’okutuusa leero. Omutume Yokaana yawandiika: “Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n’ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo; ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. N’ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w’ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.”—Okubikkulirwa 12:7-9.
Kiki ekyasookera ddala okuva mu lutalo olwo? Yokaana yeeyongera n’agamba: “Kale musanyuke, eggulu n’abatuulamu. Zisanze ensi n’ennyanja; kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.”—Okubikkulirwa 12:12.
‘Ensi zaagisanga’ Ssematalo I bwe yabalukawo mu 1914 era n’emitindo gy’empisa egyawukanira ddala ku gino egiriwo leero ne giggwaawo. Munnabyafaayo Barbara Tuchman agamba nti, “Ssematalo eyaliwo mu 1914-18 alinga olusalosalo olwawulawo ekiseera ekyo ku kyaffe. Okutirimbula abantu abandibadde ab’omugaso oluvannyuma lw’olutalo, obwesige okuggwaawo, endowooza z’abantu okukyukakyuka, n’ebizibu ebitayinza kumalibwawo, byonna byaleetawo enkyukakyuka mu ndowooza ne mu ngeri abantu gye balabamu ebintu.” Munnabyafaayo omulala Eric Hobsbawm, naye ayogera ku kintu kye kimu: “Okuva mu 1914, wabaddewo okuddirira okw’amaanyi mu mitindo gy’empisa egyali gitwalibwa ng’emirungi mu nsi ezaakula edda . . . Si kyangu okutegeera emitindo gino egy’empisa egiriwo bajjajjaffe abaaliwo mu kyasa 19 gye bandiyise egy’obukambwe ennyo.”
Mu kitabo kye Humanity—A Moral History of the Twentieth Century, Jonathan Glover agamba: “Ekintu ekimu ekiriwo mu biseera byaffe kwe kuddirira kw’empisa.” Wadde nga yeekengera emitindo gy’empisa abantu gye beetereddewo olw’okuddirira kw’eddiini mu nsi z’e Bulaaya n’Amereka, alabula: “Abamu ku ffe abatakkiririza mu mpisa z’eddiini era twandikoseddwa olw’okuddirira kwazo.”
Obutali bwesigwa obuliwo kaakano, ka bube mu bya busuubuzi, mu bya bufuzi, mu bya ddiini, mu nkolagana n’abantu abalala, oba mu maka, eby’akabi byonna ebibuvaamu bwe bukodyo bw’Omulyolyomi obw’okuleetera abatuula ku nsi emitawaana. Setaani mumalirivu okulwana olutalo lwe okutuukira ddala ku nkomerero. Era mumalirivu okuleetera abo bonna abagezaako okugoberera emitindo gya Katonda egy’empisa okuzikirizibwa wamu naye.—Okubikkulirwa 12:17.
Waliwo kyonna ekiyinza okukolebwa ku butali bwesigwa obucaase ennyo? Omutume Peetero addamu: “Nga [Katonda] bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.” (2 Peetero 3:13) Tusobola okwesiga ekisuubizo ekyo kubanga Katonda alina amaanyi okutuukiriza ekigendererwa kye. Ate era awa n’obukakafu obw’okukituukiriza. Yakuwa ayogera bw’ati ku ‘bigambo byonna ebifuluma mu kamwa ke’: “Tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.” Mazima ddala ekisuubizo ekyo kyesigika nnyo!—Isaaya 55:11; Okubikkulirwa 21:4, 5.
Okugoberera Emitindo gya Katonda
Mu nsi omuli emitindo gy’empisa egikyukakyuka era egigenda nga giddirira, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okugoberera emitindo gy’empisa egiri mu Baibuli. N’ekivaamu, baba ba njawulo ku bantu abalala, era emirundi mingi kino kiviiriddeko abamu okubasiima ate n’abalala okubavuma.
Mu lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu kibuga London, omukuŋŋaanya w’amawulire ku ttivi yabuuza omu ku b’oluganda oba nga ddala Abajulirwa ba Yakuwa Bakristaayo. Ow’oluganda oyo yamuddamu nti: “Yee, kubanga Yesu gwe tulabirako. Waliwo okwefaako kungi nnyo mu nsi. Naye ffe essira tulissa ku Yesu Kristo ng’ekkubo, amazima n’obulamu. Tukkiriza nti ye Mwana wa Katonda era nti tali kitundu kya Tiriniti. N’olw’esonga eyo, engeri gye tutegeeramu Baibuli eyawukana ku y’amadiini amalala.”
Programu eno ey’okubuuza ebibuuzo bwe yali ng’eweerezebwa ku ttivi ya BBC, omukuŋŋaanya yagimaliriza ng’agamba: “Njize ensonga nnyingi lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bajja mu maka gaffe. Era sirowooza nti nnali ndabye abantu 25,000 nga bali mu kifo kye kimu era mu kiseera kye kimu, bonna nga bambadde bulungi era nga beeyisa bulungi.” Obwo nga bwali bujulizi bulungi nnyo omuntu ali ebweru w’ekibiina bwe yawa nga bukwata ku magezi ag’okugondera emitindo gya Katonda egitakyukakyuka!
Wadde ng’abamu bayinza okukaluubirizibwa okugoberera emitindo bo bennyini gye bateeteereddewo, tukukubiriza okusoma Baibuli yo oyige emitindo gya Katonda bwe giri. Gyekenneenye bulungi. Goberera okubuulirira kw’omutume Pawulo: “Temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.” (Abaruumi 12:2) Tuukako mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekiri mu kitundu kyo era omanye Abajulirwa abakuŋŋaanirayo. Ojja kukizuula nti bantu buntu aba bulijjo, abeesiga ebisuubizo ebiri mu Baibuli, era abooleka obwesige bwe balina mu Katonda nga bagezaako okugoberera emitindo gye egy’empisa.
Bw’ononywerera ku mitindo gya Katonda egy’empisa egitakyukakyuka era egyesigika, awatali kubuusabuusa ojja kufuna emikisa. Faayo ku Katonda ky’akugamba: “Singa wawulira amateeka gange! [K]ale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”—Isaaya 48:18.
[Ebifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Leero waliwo obutali bwesigwa mu by’obufuzi, mu madiini, mu by’obusuubuzi, ne mu maka