LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 6/1 lup. 28-32
  • Okwolekera Obuwanguzi obw’Enkomerero!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwolekera Obuwanguzi obw’Enkomerero!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abantu ab’Okubeera mu Nsi Empya n’Eggulu Eriggya Bakuŋŋaanyizibwa
  • Okutereeza Endowooza Enkyamu
  • Ani Anaaleta Obuweerero?
  • Abalwanyisa Katonda Tebajja Kuwangula!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 6/1 lup. 28-32

Okwolekera Obuwanguzi obw’Enkomerero!

“Laba, embalaasi enjeru, n’oyo atuddeko ng’alina omutego; n’aweebwa engule: n’agenda ng’awangula, alyoke awangulire ddala.”​—OKUBIKKULIRWA 6:2, NW.

1. Bintu ki eby’omu kiseera eky’omu maaso Yokaana bye yalaba mu kwolesebwa?

NG’ALUŊŊAMIZIDDWA Katonda, omutume Yokaana yasobola okulaba ebyali eby’okubaawo emyaka 1,800 mu biseera eby’omu maaso era n’ayogera ku kutuuzibwa kwa Kristo ku ntebe ey’obwakabaka. Yokaana yali yeetaaga okukkiriza okusobola okuba omukakafu nti bye yalaba bijja kutuukirizibwa. Mu kiseera kyaffe tulina obujulizi obulaga nti okutuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka okwalagulwa kwaliwo mu 1914. N’amaaso ag’okukkiriza tulaba Yesu Kristo ‘ng’agenda awangula amalirize okuwangula kwe.’

2. Omulyolyomi yakola ki ng’Obwakabaka buteekeddwawo, era kino kiraga ki?

2 Oluvannyuma lw’okuteekebwawo kw’Obwakabaka, Setaani yagobebwa mu ggulu, era n’ayongera amaanyi mu lutalo lwe. Naye ekyo tekyayongera n’akamu ku mikisa gye egy’okuwangula. (Okubikkulirwa 12:7-12) Obusungu bw’alina buviiriddeko embeera mu nsi okweyongera okuzibuwala. Embeera mu bantu yeeyongera okwonooneka. Eri Abajulirwa ba Yakuwa, buno bujulizi obulaga nti Kabaka waabwe yeeyongera mu maaso ‘okumaliriza okuwangula kwe.’

Abantu ab’Okubeera mu Nsi Empya n’Eggulu Eriggya Bakuŋŋaanyizibwa

3, 4. (a) Nkyukakyuka ki ezikoleddwa mu kibiina Ekikristaayo okuva Obwakabaka bwe bwateekebwawo, era lwaki zaali zeetaagisa? (b) Enkyukakyuka zino zituganyudde zitya, nga bwe kyalagulibwa Isaaya?

3 Obwakabaka bwe bwateekebwawo, ekiseera kyali kituuse okutuukanya ekibiina Ekikristaayo ekizziddwa obuggya era ekyalina obuvunaanyizibwa obusingawo obukwata ku Bwakabaka, n’enkola eyagobererwa mu kibiina eky’omu kyasa ekyasooka. Bwe kityo The Watchtower aka Jjuuni 1 ne 15, 1938 keekenneenya engeri entegeka y’Ekikristaayo gye yandiddukanyiziddwamu. Oluvannyuma, akatabo aka Ddesemba 15, 1971 kannyonnyola bulungi Akakiiko Akafuzi ak’omu kiseera kyaffe mu kitundu ekyalina omutwe “Akakiiko Akafuzi Akaawufu ku Kibiina ky’Omu Mateeka.” Mu 1972, obukiiko bw’abakadde bwalondebwa okuwa ebibiina eby’omu kitundu obuyambi n’obulagirizi.

4 Okuzzibwawo kw’obulagirizi obusaanira kwanyweza nnyo ekibiina Ekikristaayo. Ekyasobozesa kino z’enteekateeka ezaakolebwa Akakiiko Akafuzi okutendeka abakadde mu mirimu gyabwe, nga mw’otwalidde n’okubatendeka mu nsonga z’emisango gy’ekibiina. Okulongoosebwa kw’enkola y’entegeka ya Katonda ey’oku nsi awamu n’emiganyulo egyandivuddemu byalagulwa mu Isaaya 60:17: “Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma: era ndifuula abaami bo okuba emirembe n’abakusolooza okuba obutuukirivu.” Enkyukakyuka zino ennungi zaayoleka emikisa gya Katonda era ne kiraga nti Katonda asiima abo abaawagira Obwakabaka bwe.

5. (a) Setaani yakola ki nga Yakuwa awadde abantu Be omukisa? (b) Nga kituukagana ne Abafiripi 1:7, abantu ba Yakuwa bakoze ki nga Setaani aboolekezza obusungu bwe?

5 Okwagala n’obulagirizi Katonda bye yawa abantu be oluvannyuma lw’okuteekebwawo kw’Obwakabaka Setaani yabimanya. Ng’ekyokulabirako, mu 1931, akabiina akatono ak’Abakristaayo kaalangirira mu lujjudde nti tebaali Bayizi ba Baibuli kyokka. Okusinziira ku Isaaya 43:10, baali Bajulirwa ba Yakuwa! Omulyolyomi yaleetawo okuyigganyizibwa mu nsi yonna okwali kutabangawo. Ne mu nsi ezaali zimanyiddwa olw’eddembe ery’okusinza, nga Amereka, Canada ne Bugirimaani, Abajulirwa bawalirizibwa enfunda n’enfunda okweyambisa amateeka okusobola okusigaza eddembe lyabwe ery’okusinza. Omwaka 1988 we gwatuukira, Kkooti Enkulu mu Amereka yaddamu okwetegereza ensala y’emisango 71 egikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa, era bibiri bya kusatu ku misango egyo Abajulirwa bagiwangula. Leero, okwetooloola ensi yonna, emisango gyeyongera okuwozebwa, ne kiba nti, nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, waliwo ‘okulwanirira amawulire amalungi mu mateeka.’​—Abafiripi 1:7, NW.

6. Okuwerebwa n’okukugirwa byaziyiza abantu ba Yakuwa okweyongera mu maaso? Waayo ekyokulabirako.

6 Mu myaka gya 1930, ekiseera ekyatuusa ku Ssematalo II, gavumenti za bannakyemalira zawera oba ne zikugira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Bugirimaani, Spain, Japan n’endala. Naye mu mwaka 2000, ensi zino essatu zokka kumpi zaalina abalangirizi b’Obwakabaka bwa Katonda 500,000. Abo kumpi baali bakubisaamu emirundi kkumi Abajulirwa abaaliwo mu nsi yonna mu 1936! Kya lwatu, okuwera n’okukugira tebiyinza kuziyiza bantu ba Yakuwa kweyongera mu maaso wansi w’Omukulembeze waabwe omuwanguzi, Yesu Kristo.

7. Kintu ki eky’enkukunala ekyaliwo mu 1958, era nkyukakyuka ki ey’amaanyi ebaddewo okuva ku olwo?

7 Okukulaakulana kuno kweyoleka nnyo bwe waaliwo olukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali lutabangawo mu kibuga New York mu 1958. Olukuŋŋaana olwo olw’Ensi Yonna olwali luyitibwa ‘Katonda by’Ayagala,’ lwalimu abantu 253,922. Omwaka 1970 we gwatuukira, omulimu gwabwe gwali gutandiseewo mu nsi essatu ezaayogeddwako waggulu, okuggyako mu nsi eyali eyitibwa East Germany. Naye Abajulirwa baali bakyawereddwa mu nsi eyali eyitibwa Soviet Union ne mu mawanga agaakola omukago nayo mu Ndagaano ya Warsaw. Leero, ensi zino ezaali ez’Abakomunisiti, eriyo Abajulirwa abasukka mu kitundu ky’akakadde.

8. Kiki ekivuddemu Yakuwa bw’awadde abantu be emikisa, era The Watchtower aka 1950 kaayogera ki ku nsonga eno?

8 Abajulirwa ba Yakuwa beeyongedde kubanga ‘basoose okunoonya obwakabaka n’obutuukirivu bwa Katonda.’ (Matayo 6:33) Obunnabbi bwa Isaaya bwatandika dda okutuukirizibwa: “Omuto alifuuka lukumi n’omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.” (Isaaya 60:22) Era okweyongera kukyagenda mu maaso! Mu myaka ekkumi egiyise, ababuulizi b’Obwakabaka beeyongeddeko abantu abasukka mu 1,750,000. Kyeyagalire bafuuse ekitundu ky’abantu Watchtower aka 1950 be kaayogerako bwe kati: “Kati Katonda ateekateeka abantu abanaabeera mu ggulu eriggya n’ensi empya. . . . Abantu bano bajja kuyita mu Kalumagedoni, . . . be banaasooka mu banaabeera mu ‘nsi empya’ . . . , etegekeddwa okusinziira ku ngeri Katonda gy’afugamu, era bamanyi enkola y’entegeka.” Ekitundu kyafundikira: “Tweyongere mu maaso nga tuli wamu ng’abantu abanaabeera mu ggulu eriggya n’ensi empya!”

9. Ebintu Abajulirwa ba Yakuwa bye bayize emyaka bwe gizze giyitawo bibadde bitya eby’omuganyulo?

9 Abantu abo abagenze beeyongera bafunye obumanyirivu, ekintu ekibadde eky’omuganyulo ennyo mu kiseera kino era oboolyawo ekiriba eky’omuganyulo mu kiseera eky’okwezza obuggya oluvannyuma lwa Kalumagedoni. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa bayize okutegeka enkuŋŋaana ennene, okuwa obuyambi obwetaagibwa mu bwangu nga waguddewo akatyabaga, era n’okuzimba ebizimbe amangu. Ebikolwa bino bireetedde bangi okwesiimisa Abajulirwa ba Yakuwa era n’okubassaamu ekitiibwa.

Okutereeza Endowooza Enkyamu

10, 11. Nnyonnyola engeri endowooza enkyamu ezikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa gye zitereezeddwamu.

10 Wadde kiri kityo, waliwo abantu abavumirira Abajulirwa ba Yakuwa nti endowooza zaabwe zaawukana nnyo ku z’abantu abalala. Kino kiri kityo olw’ennyimirira y’Abajulirwa eyeesigamiziddwa ku Baibuli ku nsonga y’okuteekebwamu omusaayi, obutabaako ludda lwe beekubirako mu by’obufuzi okunywa sigala, n’ebikwata ku mpisa. Naye abantu beeyongedde okukitegeera nti endowooza z’Abajulirwa zisaanidde okwekenneenyezebwa. Ng’ekyokulabirako, omusawo omu mu Poland yakuba essimu ku ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa n’abategeeza nti ye ne banne mu ddwaliro baamala essaawa eziwera nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga y’okuteekebwamu omusaayi. Okukubaganya ebirowoozo okwo kwasibuka ku kitundu ekyali mu lupapula lw’amawulire olumu olw’omu Poland. Omusawo yagamba nti ku lulwe si musanyufu olw’omusaayi okukozesebwa ennyo mu by’ekisawo. “Enkola eno eteekwa okukyuka, era ndi musanyufu nti waliwo aboogedde ku nsonga eno. Njagala okumanya ebisingawo.”

11 Mu lukuŋŋaana olwaliwo omwaka ogwayita, abasawo okuva mu Amereka, Bulaaya, Canada, ne Isiraeri baakubaganya ebirowoozo ku bubaka obwategekebwa okuyamba abasawo okujjanjaba abalwadde awatali kubateekamu musaayi. Kyategeezebwa mu lukuŋŋaana luno olwali mu Switzerland, nti okwawukana ku ndowooza y’abasinga obungi, abalwadde abafa nga bateekeddwamu omusaayi bangi okusinga abo abatateekebwamu musaayi. Abalwadde Abajulirwa basibulwa mangu okuva mu ddwaliro okusinga abo abaweebwa omusaayi, era ekyo ku bwakyo kikendeeza ku ssente z’okubajjanjaba.

12. Waayo ekyokulabirako ku ngeri abantu abatutumufu gye batenderezzaamu Abajulirwa ba Yakuwa olw’obutabaako ludda lwe beekubiddeko mu by’obufuzi.

12 Ebigambo ebirungi bingi byogeddwa ku Bajulirwa ba Yakuwa olw’obutabaako ludda lwe bawagira nga Ssematalo II tannatandika era ne bwe yali agenda mu maaso mu kiseera bwe bayigganyizibwa ennyo wansi w’obufuzi bwa Hitler. Vidiyo erina omutwe Jehovah’s Witnesses Stand Firm Against Nazi Assault, yafulumizibwa Abajulirwa ba Yakuwa era n’eragibwa mu nkambi y’abasibe ey’e Ravensbrück mu Bugirimaani nga Noovemba 6, 1996. Ereetedde abantu bangi okuboogerako ebintu ebirungi bingi. Mu kulagibwa kwa vidiyo okufaananako okwo mu nkabi y’e Bergen-Belsen nga Apuli 18, 1998, Dr. Wolfgang Scheel, omukubiriza w’Emisomo gy’eby’Obufuzi mu Lower Saxony yagamba: “Ekimu ku bintu ebyewuunyisa ebyaliwo mu byafaayo kiri nti Abajulirwa ba Yakuwa beesamba Omwoyo gwa Ggwanga n’obumalirivu obusingira ewala obw’amakanisa Amakristaayo. . . . Ka tube nga tulina ndowooza ki ku njigiriza n’obunyiikivu bw’Abajulirwa ba Yakuwa mu by’eddiini, obuvumu bwe baalaga wansi w’obufuzi bwa Hitler bugwanidde okusiimibwa.”

13, 14. (a) Bigambo ki eby’amagezi ebyayogerwa ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka? (b) Waayo ebyokulabirako eby’ebigambo ebirungi ebyogeddwa ku bantu ba Katonda mu kiseera kyaffe.

13 Abantu abatutumufu oba kkooti bye zisalawo bwe biba biwagira Abajulirwa ba Yakuwa ku nsonga eziriko enkaayana, kiyinza okukendeeza ku kyekubiira eri Abajulirwa ne kibaleetera okutunuulirwa obulungi. Emirundi mingi kino kibasobozesezza okwogera n’abantu abaali batagaala kuwuliriza. N’olwekyo, ebikolwa ng’ebyo bisiimibwa nnyo Abajulirwa ba Yakuwa. Kino kitujjukiza ekyaliwo mu kyasa ekyasooka mu Yerusaalemi. Ab’omu Lukiiko lw’Abayudaaya olukulu bwe baayagala okutta Abakristaayo olw’okubuulira n’obunyiikivu, Gamalyeri, “omuyigiriza w’amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna,” yabalabula ng’agamba: “Abasajja Abaisiraeri, mwekuume eby’abantu bano, kye mugenda okubakolako. . . . Mwebalame abantu bano, mubaleke: kubanga okuteesa kuno n’omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira; naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng’abalwana ne Katonda.”​—Ebikolwa 5:33-39.

14 Okufaananako Gamalyeri, abantu abatutumufu gye buvuddeko awo, boogedde bulungi ku ddembe ly’okusinza ery’Abajulirwa ba Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, eyaliko ssentebe w’Ekibiina ky’Eddembe ly’Okusinza mu Nsi Yonna yagamba: “Eddembe ery’okusinza teryandiggiddwawo olw’okuba enzikiriza z’eddiini emu abantu tebazikkiriza oba nga bazitwala ng’ezitali za bulijjo.” Era profesa omukugu mu by’eddiini mu yunivasite ye Leipzig yabuuza ekibuuzo ekituukirawo ku bikwata ku kakiiko akaateekebwawo gavumenti ya Bugirimaani okunoonyereza ebikwata ku bubiina bw’eddiini: “Lwaki obubiina bw’eddiini obutono bwe bunoonyerezebwako bwokka so si amadiini amanene [Abakatuliki n’Abaprotestanti]?” Okufuna eky’okuddamu twetaaga okwekkaanya ebigambo by’eyali omukungu wa Bugirimaani, eyawandiika: “Tewali kubuusabuusa nti mu kyama, bannalukalala mu makanisa be baakubiriza ekyo akakiiko ka gavumenti bye kaasalawo mu by’obufuzi.”

Ani Anaaleta Obuweerero?

15, 16. (a) Lwaki ekikolwa kya Gamalyeri kyali tekirina kinene kye kiyinza kukola? (b) Abantu abalala basatu abaali bassibwamu ekitiibwa baakugirwa batya ku ekyo kye baayagala okukolera Yesu?

15 Ebyo Gamalyeri bye yayogera biraga nti omulimu oguwagirwa Katonda teguyinza kulemesebwa. Awatali kubuusabuusa Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baaganyulwa mu bigambo bye eri Olukiiko lw’Abayudaaya, naye tebeerabira bigambo bya Yesu nti abagoberezi be bandiyigganyiziddwa. Ekikolwa kya Gamalyeri kyakomya enteekateeka z’abakulembeze b’eddiini okutta abatume, naye tekyakomya kuyigganyizibwa, kubanga tusoma: “Ne bamuwulira: ne bayita abatume, ne babakuba, ne ba [ba] lagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata.”​—Ebikolwa 5:40.

16 Yesu bwe yali awozesebwa, Pontiyo Piraato yagezaako okumusumulula bw’atamuzuulako nsobi. Naye yalemererwa. (Yokaana 18:38, 39; 19:4, 6, 12-16) Nikodemu ne Yusufu ow’e Alimasaya abaali ku Kakiiko k’Abayudaaya ng’ate baagala Yesu, tebaasobola kuziyiza lukiiko kusalira Yesu omusango. (Lukka 23:50-52; Yokaana 7:45-52; 19:38-40) Obuweerero abantu ba Yakuwa bwe bafuna nga waliwo ababawagidde, ka kibe lwa nsonga ki, buliko ekkomo. Ensi ejja kweyongera okubakyawa nga bwe yakyawa Kristo. Obuweerero obwa nnamaddala buyinza kuva eri Yakuwa yekka.​—Ebikolwa 2:24.

17. Ndowooza ki etagudde lubege Abajulirwa ba Yakuwa gye balina, naye lwaki tebaddirira mu bumalirivu bwe balina okweyongera okubuulira amawulire amalungi?

17 Abajulirwa ba Yakuwa bamanyi nti okuyigganyizibwa kujja kweyongera. Okuziyizibwa kujja kukoma ng’enteekateeka ya Setaani ezikiriziddwa. Kyokka, okuyigganyizibwa kuno wadde tekwagalibwa, tekuyinza kulemesa Bajulirwa kutuukiriza omulimu gwabwe ogw’okubuulira Obwakabaka. Kwandiyinzizza kutya okugulemesa nga balina obuwagizi bwa Katonda? Batunuulira ekyokulabirako kya Yesu Kristo, Omukulembeze waabwe omuzira.​—Ebikolwa 5:17-21, 27-32.

18. Buzibu ki abantu ba Yakuwa bwe basuubira mu biseera eby’omu maaso, naye kiki kye bamanyi ekirivaamu?

18 Okuviira ddala ku ntandikwa, eddiini ey’amazima ebadde eyolekaganye n’okuziyizibwa okw’amaanyi. Mu kiseera kitono ejja kulumbibwa Googi, Setaani eyafeebezebwa oluvannyuma lw’okusuulibwa okuva mu ggulu. Naye eddiini ey’amazima ejja kuwonawo. (Ezeekyeri 38:14-16) ‘Bakabaka ab’omu nsi’ nga bakulemberwa Setaani, ‘bajja kulwana n’omwana gw’endiga, naye olw’okuba ye Mukama w’abaami era Kabaka wa bakabaka, Omwana gw’Endiga ajja kubawangula.’ (Okubikkulirwa 16:14; 17:14) Yee, Kabaka waffe ayolekedde obuwanguzi obw’enkomerero era mangu ddala ‘ajja kuwangulira ddala.’ Nga nkizo ya maanyi okumugoberera, nga tumanyi nti mu bbanga ttono tewaddeyo kubaawo n’omu aziyiza abasinza ba Yakuwa bwe baligamba: ‘Katonda ali ku ludda lwaffe’!​—Abaruumi 8:31; Abafiripi 1:27, 28.

Osobola Okunnyonnyola?

• Kiki Yakuwa ky’akoze okunyweza ekibiina Ekikristaayo okuva Obwakabaka bwe bwateekebwawo?

• Kiki Setaani ky’akoze okugezaako okuziyiza Kristo okuwangulira ddala, era biki ebivuddemu?

• Ndowooza ki etegudde lubege gye wandibadde nayo ku bikolwa ebirungi eby’abatali Bajulirwa?

• Kiki Setaani ky’anaatera okukola era biki ebijja okuvaamu?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30]

Abajulirwa obutabaako ludda lwe beekubirako mu Ssematalo II kikyaleetera Yakuwa ettendo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share