LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 4/1 lup. 24-29
  • Abalwanyisa Katonda Tebajja Kuwangula!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abalwanyisa Katonda Tebajja Kuwangula!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abaweereza ba Yakuwa Balumbibwa
  • Beeyongera mu Maaso n’Omulimu gw’Okubuulira!
  • Banoonya eky’Okwekwasa
  • Bayigganyizibwa Naye Tebekkiriranya
  • Tewaliiwo kya Kulwanyisa Ekiweesebwa Okutulwanyisa Ekiriwangula
  • Beera Muvumu nga Yeremiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Ani gw’Ogondera—Katonda Oba Bantu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Okwolekera Obuwanguzi obw’Enkomerero!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yeremiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 4/1 lup. 24-29

Abalwanyisa Katonda Tebajja Kuwangula!

“Balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw’ayogera Mukama, okukuwonya.”​—YEREMIYA 1:19.

1. Yeremiya yaweebwa mulimu ki, era yagukolera bbanga ki?

YAKUWA yawa omuvubuka Yeremiya omulimu gw’okubeera nnabbi we eri amawanga. (Yeremiya 1:5) Kino kyaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka omulungi Yosiya, eyali afuga Yuda. Yeremiya yaweereza nga nnabbi mu kiseera ekizibu ennyo nga Babulooni tennawamba Yerusaalemi okutuusiza ddala mu kiseera abantu ba Katonda lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.​—Yeremiya 1:1-3.

2. Yakuwa yazzaamu atya Yeremiya amaanyi, era okulwanyisa nnabbi oyo kyali kitegeeza ki?

2 Obubaka bw’omusango Yeremiya bwe yalina okulangirira bwali bwa kuleetawo okuziyizibwa. N’olwekyo, Katonda yamunyweza olw’ebyo ebyali bijja mu maaso. (Yeremiya 1:8-10) Nnabbi yazzibwamu amaanyi ebigambo bino: “Balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw’ayogera Mukama, okukuwonya.” (Yeremiya 1:19) Okulwanyisa Yeremiya kyanditegeezezza okulwanyisa Katonda . Leero, Yakuwa alina ekibinja ky’abaweereza abakola nga bannabbi, abalina omulimu ogufaananako ogwa Yeremiya. Okufaananako nnabbi oyo, balangirira n’obuvumu ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi. Era obubaka buno bukwata ku bantu bonna n’amawanga gonna, era bwa kuvaamu kirungi oba kibi, okusinziira ku ngeri gye babwanukulamu. Era, nga bwe kyali mu kiseera kya Yeremiya, waliwo abalwanyisa Katonda nga baziyiza abaweereza be abanyiikivu era n’emirimu Katonda gy’abawadde.

Abaweereza ba Yakuwa Balumbibwa

3. Lwaki abaweereza ba Yakuwa babadde balumbibwa?

3 Okuviira ddala mu matandika g’ekyasa 20, abantu ba Yakuwa babadde balumbibwa. Mu nsi nnyingi abantu abalina ebiruubirirwa ebibi bagezezzaako okuziyiza​—yee, okusirisa​—okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Babadde bakubirizibwa Omulabe waffe omukulu, Omulyolyomi, “atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peetero 5:8) Oluvannyuma lwa “ebiseera by’amawanga ebigereke” okuggwaako mu 1914, Katonda yatuuza Omwana we ku ntebe okuba Kabaka w’ensi omuppya, n’amuwa ekiragiro: ‘Okufugira wakati mu balabe be.’ (Lukka 21:24, NW; Zabbuli 110:2) Ng’akozesa obuyinza bwe, Kristo yagoba Setaani mu ggulu era n’amusuula ku muliraano gw’ensi. Ng’amanyi nti alina ekiseera kitono, Omulyolyomi ayoleka obusungu bwe eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe. (Okubikkulirwa 12:9, 17) Kiki ekivudde mu kulumba okw’omuddiŋŋanwa okuva eri abo abalwanyisa Katonda?

4. Bigezo ki abantu ba Yakuwa bye baafuna mu kiseera kya Ssematalo I, naye kiki ekyaliwo mu 1919 ne 1922?

4 Mu Ssematalo I, abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta baayolekagana n’ebigezo bingi ebigezesa okukkiriza. Baasekererwa era ne boogerwako eby’obulimba, baalumbibwa ebibinja by’abantu, era ne bakubibwa. Nga Yesu bwe yalagula, ‘baakyayibwa amawanga gonna.’ (Matayo 24:9) Mu kiseera ky’olutalo olwo, abalabe b’Obwakabaka bwa Katonda baakozesa akakodyo akaakozesebwa ku Yesu Kristo. Baavunaana abantu ba Yakuwa okujeemesa abantu, era baalumbira ddala abo abaali ku kitebe ekikulu eky’entegeka ya Katonda erabika. Mu Maayi 1918, olukusa lwaweebwa okukwata pulezidenti wa Watch Tower Society, J. F. Rutherford, ne banne ab’oku lusegere musanvu. Abasajja bano baasalirwa ebibonerezo eby’amaanyi era ne basindikibwa mu kkomera mu Atlanta, Georgia, Amereka.Oluvannyuma lw’emyezi mwenda baasumululwa. Mu Maayi 1919 kkooti ejulirwamu yasalawo nti abawawaabirwa tebaawozesebwa mu bwenkanya, era n’olwekyo ensala ya kkooti yamenyebwawo. Omusango gwali gwa kuddibwamu, naye oluvannyuma gavumenti yamenyawo omusango ogwabawawaabirwa, era Ow’Oluganda Rutherford ne banne baggibwako emisango gyonna egyali gibavunaanibwa. Baddamu okukakalabya emirimu gyabwe, era enkuŋŋaana ennene ezaaliwo mu Cedar Point, Ohio, mu 1919 ne 1922 zaayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka.

5. Abajulirwa ba Yakuwa baayisibwa batya mu Bugirimaani y’Abanazi?

5 Mu myaka gya 1930, obufuzi obwa bannakyemalira bwajjawo, era Bugirimaani, Italy, ne Japan zeegatta wamu ne zikola Omukago. Ng’emyaka egyo gyakatandika, abantu ba Katonda baayigganyizibwa nnyo, naddala mu Bugirimaani ey’Abanazi. Baawerebwa. Ennyumba zaayazibwa, era abaazirimu ne bakwatibwa. Enkumi n’enkumi baatwalibwa mu nkambi z’abasibe kubanga baagaana okwegaana okukkiriza kwabwe. Ekigendererwa ky’okulwanyisa Katonda n’abantu be kyali okumalirawo ddala Abajulirwa ba Yakuwa mu ttwale lya bannakyemalira. Abajulirwa ba Yakuwa bwe baagenda mu kkooti mu Bugirimaani okulwanirira eddembe lyabwe, Ekitongole ky’Obulamuzi mu ggwanga eryo kyategeka ekiwandiiko ekiwanvu okukakasa nti Abajulirwa ba Yakuwa tebasumululwa. Kyagamba: “Kkooti teziteekwa kulemererwa olw’okuba zigoberera emitendera gy’amateeka; naye wadde nga zifunye obuzibu, ziteekwa okunoonya era n’okuzuula amakubo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwazo obwa waggulu.” Kino kyali kitegeeza nti obwenkanya obwa nnamaddala bwali tebuyinza kubaawo. Abanazi baagambanga nti ebikolwa by’Abajulirwa ba Yakuwa byali bya kabi nnyo, era mbu ‘byali bitabangula eggwanga.’

6. Kaweefube ki eyakolebwa okuyimiriza omulimu gwaffe mu kiseera kya Ssematalo II n’ebiseera ebyaddirira?

6 Mu Ssematalo II, abantu ba Katonda baawerebwa mu Australia, Canada, era ne mu mawanga agali mu Kinywi kya Bungereza​—mu Afirika, Asiya, n’ebizinga by’omu Caribbean ne Pacific. Mu Amereka, abalabe abali mu bifo eby’obuyinza era n’abantu ababuuliddwa eby’obulimba beeyambisa amateeka ‘okukola eby’akabi.’ (Zabbuli 94:20) Ensonga ezikwata ku kukubira bbendera saluti, era n’ebiragiro by’omu kitundu ebiwera okubuulira nnyumba ku nnyumba byalwanyisibwa mu kkooti, era ensala ya kkooti ennungi mu Amereka yaviirako okufuna eddembe ly’okusinza. Twebaza nnyo Yakuwa, okufuba kw’abalabe kwagwa butaka. Olutalo bwe lwakoma mu Bulaaya, okuwerebwa kwaggibwawo. Enkumi n’enkumi z’Abajulirwa abaali mu nkambi z’abasibe baasumululwa, naye olutalo lwali terunnaggwa. Mangu ddala oluvannyuma lwa Ssematalo II, Olutalo olw’Ekimugunyu lwatandika. Amawanga g’omu Bulaaya ow’omu Buvanjuba gaayongera okunyigiriza abantu ba Yakuwa. Gavumenti zaabaako kye zikola okuyingirira n’okukomya emirimu gyaffe egy’okuwa obujulirwa, okuziyiza okubunyisa ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, n’okukomya enkuŋŋaana zaffe ennene. Bangi baasibibwa mu makomera oba baatwalibwa mu nkambi gye baakozesebwanga emirimu egy’amaanyi ennyo.

Beeyongera mu Maaso n’Omulimu gw’Okubuulira!

7. Biki ebituuse ku Bajulirwa ba Yakuwa mu Poland, Russia, n’ensi endala mu myaka egyakayita?

7 Amakumi g’emyaka bwe gaagenda gayitawo, omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gweyongera amaanyi. Wadde Poland yali ekyali wansi w’obufuzi bw’Abakomunisiti, yakkiriza enkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu okubaawo mu 1982. Enkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna zaategekebwayo mu 1985. Olwo ate ne wabaayo enkuŋŋaana ennene ennyo ez’ensi yonna mu 1989, era zaalimu enkumi n’enkumi z’abantu okuva mu Russia ne Ukraine. Mu mwaka ogwo gwe gumu, Hungary ne Poland zaatongoza Abajulirwa ba Yakuwa mu mateeka. Mu 1989, Ekisenge ekyayawulangamu ekibuga kya Berlin kyamenyebwa. Nga wayiseewo emyezi mitono, twatongozebwa mu mateeka mu Bugirimaani ow’Ebuvanjuba era mangu ddala oluvannyuma lw’ekyo olukuŋŋaana olw’ensi yonna lwaliwo mu Berlin. Ku ntandikwa y’emyaka ekkumi egisembayo mu kyasa ekya 20, kaweefube yakolebwa okutuukirira ab’oluganda mu Russia. Abamu ku bakungu mu Moscow baatuukirirwa, era mu 1991, Abajulirwa ba Yakuwa baatongozebwa mu mateeka. Okuva mu kiseera ekyo, omulimu gukulaakulanye nnyo mu Russia, era ne mu mawanga agaali ekitundu kya Soviet Union.

8. Kiki ekyatuuka ku bantu ba Yakuwa mu myaka 45 egyaddako oluvannyuma lwa Ssematalo II?

8 Wadde okuyigganyizibwa kwakendeera mu bifo ebimu, kweyongera mu birala. Mu myaka 45 egyaddako oluvannyuma lwa ssematalo ow’okubiri, amawanga mangi gaagaana okutongoza Abajulirwa ba Yakuwa mu mateeka. Okugatta ku ekyo, twawerebwa oba emirimu gyaffe gyawerebwa mu nsi 23 ez’omu Afirika, ensi 9 ez’omu Asiya, ensi 8 ez’omu Bulaaya, ensi 3 ez’omu Latini Amereka, era ne mu nsi 4 ez’omu bizinga.

9. Kiki ekituuse ku baweereza ba Yakuwa mu Malawi?

9 Abajulirwa ba Yakuwa mu Malawi baayigganyizibwa nnyo okutandikira mu 1967. Olw’okuba tebaalina ludda lwonna lwe bawagira mu by’obufuzi ng’Abakristaayo ab’amazima, baganda baffe mu nsi eyo baagaana okugula kaadi z’ebibiina eby’obufuzi. (Yokaana 17:16) Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana lwa Malawi Congress Party mu 1972, ebikolwa eby’obukambwe byaddamu. Ab’oluganda baagobebwa mu maka gaabwe era ne ku mirimu. Enkumi n’enkumi badduka mu nsi eyo bawone okuttibwa. Abaali balwanyisa Katonda ne baganda baffe baatuuka ku buwanguzi? N’akatono! Oluvannyuma lw’embeera okukyuka, Malawi yafuna entikko y’ababuulizi b’Obwakabaka 43,767 mu 1999 era abantu abasukka mu 120,000 be baaliwo mu nkuŋŋaana za district ezaaliyo. Ettabi eppya limaze okuzimbibwa mu kibuga ekikulu.

Banoonya eky’Okwekwasa

10. Nga bwe kyali eri Danyeri, abaziyiza abantu ba Katonda mu biseera byaffe bakoze ki?

10 Bakyewaggula, abakadde b’amakanisa, n’abalala tebasobola kugumiikiriza bubaka bwaffe obuva mu Kigambo kya Katonda. Nga bapikirizibwa bannaddiini mu Kristendomu, abaziyiza banoonya ekkubo, mbu eryesigamye ku mateeka, okulaga nti ekikolwa kyabwe eky’okulwanyisa Abajulirwa ba Yakuwa kituufu. Bukodyo ki obutera okukozesebwa? Abakozi b’enkwe baasalawo kukola ki nga banoonya okukola akabi ku Danyeri? Tusoma bwe tuti mu Danyeri 6:4, 5: “Abakulu n’abaamasaza ne balyoka banoonya ensonga eneesinga Danyeri mu bigambo eby’obwakabaka: naye ne batayinza kulaba nsonga [ey’okwekwasa] newakubadde akabi: kubanga yali mwesigwa, so ne watalabika mu ye kwonoona kwonna newakubadde akabi. Awo abasajja abo ne boogera nti Tetugenda kulaba nsonga eneesinga Danyeri oyo, bwe tutaligiraba eri ye mu bigambo eby’amateeka ga Katonda we.” Mu ngeri y’emu leero, abaziyiza banoonya eky’okwekwasa. Bagamba nti waliwo “obuddiiniddiini obw’akabi” era, batwala Abajulirwa ba Yakuwa okuba abamu ku bwo. Nga bayitira mu kusiiga enziro, okwogera ebitasaana, era n’obulimba obw’enkukunala, bavumirira okusinza kwaffe n’engeri gye tunywereramu ku misingi egy’okutya Katonda.

11. Bintu ki eby’obulimba abaziyiza Abajulirwa ba Yakuwa bye boogedde?

11 Mu nsi ezimu, ab’amadiini n’ab’eby’obufuzi bagaana okukkiriza nti tugoberera “eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda.” (Yakobo 1:27) Bagamba nti ‘eddiini yaffe temanyiddwa,’ wadde ng’emirimu gyaffe egy’Ekikristaayo gikolebwa mu nsi ez’enjawulo 234. Ng’ebulayo ennaku ntono olukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwaliwo mu 1998 okutandika, olupapula lw’amawulire mu Athens lwajuliza omukadde w’ekkanisa y’Abosodokisi eya Buyonaani eyagamba nti “[Abajulirwa ba Yakuwa] si ‘ddiini emanyiddwa,’” wadde nga Kkooti ya Bulaaya ey’Eddembe ly’Obuntu yasalawo ekikontana n’ekyo. Nga wayiseewo ennaku ntono, olupapula lw’amawulire olulala mu kibuga kye kimu lwajuliza ebigambo by’omwogezi w’ekkanisa eyagamba nti: “[Abajulirwa ba Yakuwa] tebayinza kubeera ‘kibiina ky’Abakristaayo,’ kubanga tebalina na kimu kye bafaananya nzikiriza ya Kikristaayo egoberera Yesu Kristo.” Kino ddala kyewuunyisa nnyo, kubanga tewali kibiina kya ddiini kirala ekissa essira ku kukoppa Yesu okusinga Abajulirwa ba Yakuwa!

12. Mu kulwana olutalo lwaffe olw’eby’omwoyo, tuteekwa kukola ki?

12 Tufuba okulwanirira amawulire amalungi okuyitira mu mateeka. (Abafiripi 1:7) Naye tetuyinza kwekkiriranya, oba okuddirira mu ngeri gye tunyweredde ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. (Tito 2:10, 12) Okufaananako Yeremiya ow’edda, ‘twesiba ebimyu ne twogera byonna Yakuwa by’atulagira,’ nga tetukkiriza abalwanyisa Katonda kututiisatiisa. (Yeremiya 1:17, 18) Ekigambo kya Yakuwa Ekitukuvu kitulaze ekkubo ettuufu ery’okugoberera. Tetwagala n’akamu okwesiga “omukono ogw’omubiri” oba “okwesiga ekisiikirize ky’e Misiri,” kwe kugamba, ebiri mu nsi eno. (2 Eby’omumirembe 32:8; Isaaya 30:3; 31:1-3) Mu kulwana olutalo lwaffe olw’eby’omwoyo, tuteekwa okweyongera okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, tumuleke aluŋŋamye ebigere byaffe, tuleme kwesiga kutegeera kwaffe. (Engero 3:5-7) Okuggyako nga tulina obuwagizi bwa Yakuwa era nga ye kennyini y’atukuuma, bye tukola byonna biba ‘bya bwereere.’​—Zabbuli 127:1.

Bayigganyizibwa Naye Tebekkiriranya

13. Lwaki kiyinza okugambibwa nti olulumba lwa Setaani ku Yesu lwagwa butaka?

13 Ekyokulabirako kye tulina ekisingayo obulungi eky’okwemalira ku Yakuwa kye kya Yesu Kristo, eyavunaanibwa mu bukyamu okujeemesa abantu era n’okutabangula emirembe. Oluvannyuma lw’okwekenneenya omusango ogwali guvunaanibwa Yesu, Piraato yali mwetegefu okumusumulula. Naye ebibiina, nga bikubirizibwa abakulembeze b’eddiini, byayogerera waggulu nti Yesu akomererwe, wadde nga teyalina musango. Baayagala Balunabba asumululwe mu kifo kya Yesu​—omusajja eyali asibiddwa mu kkomera olw’okusekeeterera eggwanga n’obutemu! Piraato era yagezaako okukyusa endowooza y’abaziyiza abakakanyavu, naye yalwaddaaki n’akkiriza abantu kye baali basaba. (Lukka 23:2, 5, 14, 18-25) Wadde Yesu yafiira ku muti, olukwe olwo olw’akabi ennyo eri Omwana wa Katonda ataalina musango lwagwa butaka, kubanga Yakuwa yazuukiza Yesu era n’amugulumiza ku mukono Gwe ogwa ddyo. Era ku lunaku lwa Pentekoote olw’omu 33 C.E., okuyitira mu Yesu agulumiziddwa, omwoyo omutukuvu gwafukibwa, ekibiina Ekikristaayo ne kitandikibwawo​—nga kino kyali ‘ekitonde ekippya.’​—2 Abakkolinso 5:17; Ebikolwa 2:1-4.

14. Kiki ekyavaamu bannaddiini Abayudaaya bwe baaziyiza abagoberezi ba Yesu?

14 Ekiseera kitono oluvannyuma lw’ekyo, bannaddiini baatiisatiisa abatume, naye abagoberezi ba Kristo abo tebaalekera awo kwogera ku bintu bye baalaba era ne bye baawulira. Abayigirizwa ba Yesu baasaba: “Kale kaakano, Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo bagume nnyo okwogeranga ekigambo kyo.” (Ebikolwa 4:29) Yakuwa yaddamu okusaba kwabwe ng’abajjuza omwoyo omutukuvu era n’abanyweza okweyongera mu maaso n’okubuulira kwabwe awatali kutya kwonna. Mu bbanga ttono abatume baalagirwa nate okulekera awo okubuulira, naye Peetero n’abatume abalala baddamu: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.” (Ebikolwa 5:29) Okutiisibwatiisibwa, okukwatibwa, n’okukubibwa tebyabalemesa kugaziya mulimu gwabwe ogw’Obwakabaka.

15. Gamalyeri yali ani, era magezi ki ge yawa bannaddiini abaali baziyiza abagoberezi ba Yesu?

15 Abakulembeze b’amadiini abo baakola ki? “Ba[a]lumwa nnyo, ne baagala [okutta abatume].” Kyokka, omuyigiriza w’Amateeka ayitibwa Gamalyeri, Omufalisaayo, yaliwo, era ng’abantu bonna baali bamussaamu nnyo ekitiibwa. Yalagira bafulumye abatume ebweru w’ekizimbe ky’Olukiiko okumala akaseera katono, era n’awa bannaddiini abo abaali baziyiza amagezi: “Abasajja Abaisiraeri, mwekuume eby’abantu bano, kye mugenda okubakolako. . . . Kaakano mbagamba nti Mwebalame abantu bano, mubaleke: kubanga okuteesa kuno n’omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira; naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng’abalwana ne Katonda.”​—Ebikolwa 5:33-39.

Tewaliiwo kya Kulwanyisa Ekiweesebwa Okutulwanyisa Ekiriwangula

16. Mu bigambo byo, oyinza otya okunnyonnyola engeri Yakuwa gy’akakasaamu abantu be?

16 Amagezi ga Gamalyeri, gaali malungi, era tusiima nnyo abamu bwe batuwagira. Era tukimanyi nti eddembe ly’okusinza likakasiddwa olw’okusalawo kwa kkooti ezibaddemu abalamuzi ab’obwenkanya. Kya lwatu, ffe okunywerera ku Kigambo kya Katonda, tekisanyusa bakadde b’amakanisa ga Kristendomu n’abakulembeze b’eddiini abalala aba Babulooni Ekinene. (Okubikkulirwa 18:1-3) Wadde batulwanyisa, awamu nabo be bapikiriza, tukakasibwa bwe tuti: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika bw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw’ayogera Mukama.”​—Isaaya 54:17.

17. Wadde abaziyiza batulwanyisa, lwaki tuli bavumu?

17 Abalabe baffe batulwanyisa awatali nsonga yonna, naye tetuggwaamu maanyi. (Zabbuli 109:1-3) Tetuyinza kukkiriza abo abakyawa obubaka bwaffe obwa Baibuli okututiisatiisa ne twabulira okukkiriza kwaffe. Wadde tusuubira olutalo lwaffe olw’eby’omwoyo okunyiinyiitira, tumanyi ekinaavaamu. Okufaananako Yeremiya, ebigambo by’obunnabbi bijja kutuukirira gye tuli: “Balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw’ayogera Mukama, okukuwonya.” (Yeremiya 1:19) Yee, tukimanyi nti abalwanyisa Katonda tebajja kuwangula!

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki abaweereza ba Yakuwa babadde balumbibwa?

• Mu ngeri ki abaziyiza gye balwanyisizzaamu abantu ba Yakuwa?

• Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti abalwanyisa Katonda tebajja kuwangula?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Yeremiya yakakasibwa nti Yakuwa yandibadde naye

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Abaawonawo mu nkambi z’abasibe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Ebibinja ebirumba Abajulirwa ba Yakuwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

J. F. Rutherford ne banne

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Ku bikwata ku Yesu, abalwanyisa Katonda tebaawangula

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share