Beera Muvumu nga Yeremiya
“Weesige Yakuwa; beera muvumu era teweeraliikirira. Weesigire ddala Yakuwa.”—ZABBULI 27:14, NW.
1. Abajulirwa ba Yakuwa beeyagalira mu ki?
ABAJULIRWA BA YAKUWA bali mu lusuku olw’eby’omwoyo. (Isaaya 11:6-9) Wadde nga bali mu nsi erimu ebizibu, bo bali mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, era bali mu mirembe ne Yakuwa Katonda era ne basinza bannaabwe. (Zabbuli 29:11; Isaaya 54:13) Ate era, olusuku lwabwe olw’eby’omwoyo lweyongera okugaziwa. Abo bonna ‘abakola Katonda by’ayagala n’emmeeme yaabwe yonna,’ benyigira mu kulugaziya. (Abaefeso 6:6) Batya? Nga batambuliza obulamu bwabwe ku misingi gya Baibuli era nga bayigiriza n’abalala okukola kye kimu, nabo basobole okuganyulwa mu mikisa gy’olusuku olwo.—Matayo 28:19, 20; Yokaana 15:8.
2, 3. Abakristaayo ab’amazima boolekagana na mbeera ki?
2 Kyokka, eky’okubeera mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo tekitukugira kufuna bizibu. Tetutuukiridde, tulwala, tukaddiwa era tufa. Ate era tuli mu kiseera ng’obunnabbi obukwata ku “nnaku ez’oluvannyuma” butuukirizibwa. (2 Timoseewo 3:1) Abantu bonna nga mw’otwalidde n’Abajulirwa ba Yakuwa, boolekagana n’entalo, ettemu, obulwadde, enjala n’ebizibu ebirala.—Makko 13:3-10; Lukka 21:10, 11.
3 Ng’oggyeko ebyo, tuyigganyizibwa abo abali ebweru w’olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Yesu yalabula abagoberezi be: “Kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe banaabayigganyanga.” (Yokaana 15:18-21) Embeera ekyali y’emu ne leero. Na guno gujwa abantu abasinga obungi tebategeera nsinza yaffe era tebagitwala ng’ey’omugaso. Abamu batuvumirira, abalala batusekerera—oba nga Yesu bwe yagamba—batukyawa. (Matayo 10:22) Emirundi mingi twogerwako ebya kalebule mu mawulire. (Zabbuli 109:1-3) Yee, ffenna twolekagana n’embeera enzibu, era abamu ku ffe tuyinza okutandika okuggwaamu amaanyi. Kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza?
4. Ani anaatuyamba okusobola okugumiikiriza?
4 Yakuwa ajja kutuyamba. Ng’aluŋŋamiziddwa, omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika bw’ati: “Ebibonoobono eby’omutuukirivu bye bingi: naye Mukama amulokola mu byonna.” (Zabbuli 34:19; 1 Abakkolinso 10:13) Bangi ku ffe tuyinza okuba nga tukirinako obukakafu nti bwe twesigira ddala Yakuwa, atuwa amaanyi ne tusobola okugumiikiriza buli kizibu. Okwagala kwe tulina gy’ali n’essanyu eriteekeddwa mu maaso gaffe bituyamba okuvvuunuka okutya n’obutaggwaamu maanyi. (Abaebbulaniya 12:2) Mu ngeri eyo, wadde nga waliwo ebizibu, tetulekulira.
Ekigambo kya Katonda Kyanyweza Yeremiya
5, 6. (a) Tulina byakulabirako ki eby’abasinza ab’amazima abaasobola okugumiikiriza? (b) Yeremiya yawulira atya bwe yalondebwa okuweereza nga nnabbi?
5 Okuviira ddala emabega, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bafunye essanyu wadde nga bali mu mbeera enzibu. Abamu baaliwo mu kiseera Yakuwa kye yatuukiririzaamu emisango gye ku bantu abataali beesigwa. Abaweereza abo abeesigwa mwe mwali Yeremiya n’abalala abatonotono abaaliwo mu kiseera kye, wamu n’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. Ebyokulabirako byabwe byawandiikibwa mu Baibuli olw’okutuzzaamu amaanyi, era mu kubasomako waliwo bingi bye tuyinza okubayigirako. (Abaruumi 15:4) Ng’ekyokulabirako, ka tulabe ebikwata ku Yeremiya.
6 Ng’akyali muto, Yeremiya yayitibwa okuweereza nga nnabbi mu Yuda. Omulimu guno tegwali mwangu. Abantu bangi baali basinza bakatonda ab’obulimba. Wadde nga Yosiya eyali kabaka mu kiseera Yeremiya we yatandikira okuweereza yali mwesigwa, bakabaka bonna abaamuddirira nga mw’otwalidde n’abantu abasinga obungi abaalina obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abalala, kwe kugamba, bannabbi ne bakabona tebaali beesigwa. (Yeremiya 1:1, 2; 6:13; 23:11) Kati olwo, Yeremiya yawulira atya Yakuwa bwe yamulonda okuweereza nga nnabbi? Yatya nnyo! (Yeremiya 1:8, 17) Yeremiya yayogera bw’ati: “Awo nze ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.”—Yeremiya 1:6.
7. Abantu Yeremiya be yabuulira baatwala batya obubaka bwe, era yawulira atya?
7 Abantu abasinga obungi mu kitundu Yeremiya gye yabuuliranga baalinga tebeefiirayo, era emirundi mingi baamuziyiza nnyo. Lumu Pasukuli, kabona, yakuba Yeremiya era n’alagira bamuteeke mu nvuba. Yeremiya yayogera bw’ati ku ngeri gye yawuliramu mu kiseera ekyo: “[Ne] njogera nti siimwogereko so sikyayogerera mu linnya lye.” Oboolyawo emirundi egimu naawe bw’otyo bw’owulira—ng’oyagala kulekulira. Weetegereze ekyayamba Yeremiya obutalekulira. Yagamba bw’ati: “Mu mutima gwange [ekigambo kya Katonda, oba obubaka bwe, bwali] ng’omuliro ogubuubuuka ogusibi[dd]wa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza.” (Yeremiya 20:9) Naawe ebigambo bya Katonda bikuleetera okuwulira bw’otyo?
Banne ba Yeremiya
8, 9. (a) Kiki nnabbi Uliya kye yakola, era kiki ekyavaamu? (b) Lwaki Baluki yaggwaamu amaanyi, era yayambibwa atya?
8 Yeremiya teyali yekka mu mulimu guno ogw’okulangirira obunnabbi. Alina be yakolanga nabo, era ekyo kirina okuba nga kyamuzzaamu nnyo amaanyi. Kyokka, emirundi egimu banne tebeeyisa mu ngeri ey’amagezi. Ng’ekyokulabirako, nnabbi munne ayitibwa Uliya yali ategeeza abantu ebyali bigenda okutuuka ku Yerusaalemi ne Yuda ‘ng’ebigambo bya Yeremiya bwe byali.’ Kyokka, Kabaka Yekoyakimu bwe yalagira nti Uliya attibwe, nnabbi oyo yadduka olw’okutya n’agenda e Misiri. Naye ekyo tekyamuwonya. Abasajja ba kabaka baamulondoola, ne bamukwata era ne bamukomyawo mu Yerusaalemi gye yattirwa. Nga Yeremiya ateekwa okuba yafuna ensisi ey’amaanyi!—Yeremiya 26:20-23.
9 Munne wa Yeremiya omulala yali omuwandiisi we ayitibwa Baluki. Baluki yayamba nnyo Yeremiya, kyokka olumu naye yalemererwa okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu. Yatandika okwemulugunya ng’agamba: “Zinsanze kaakano! [K]ubanga Mukama ayongedde obuyinike ku kulumwa kwange; okusinda kwange kunkooyezza, so siraba kuwummula kwonna.” Ng’aweddemu amaanyi, Baluki yalekera awo okusiima ebintu eby’omwoyo. Wadde kyali kityo, Yakuwa yabuulirira Baluki mu ngeri ey’okwagala era n’atereeza endowooza ye. Oluvannyuma yamukakasa nti yali wa kuwonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa. (Yeremiya 45:3) Nga kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Yeremiya nga Baluki azzeemu okuba n’endaba ennungi ey’eby’omwoyo!
Yakuwa Yayamba Nnabbi We
10. Buyambi ki Yakuwa bwe yasuubiza Yeremiya?
10 Ekisinga obukulu, Yakuwa teyalekulira Yeremiya. Yamanya enneewulira ya nnabbi we era n’amuwa amaanyi n’obuyambi bwe yali yeetaaga. Ng’ekyokulabirako, Yeremiya bwe yabuusabuusa obanga yalina ebisaanyizo ng’atandika obuweereza bwe, Yakuwa yagattako: “Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya, bw’ayogera Mukama.” Ate oluvannyuma lw’okutegeeza nnabbi oyo ebikwata ku buweereza bwe, Yakuwa yamugamba: “Balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw’ayogera Mukama, okukuwonya.” (Yeremiya 1:8, 19) Ng’ekyo kyamuzzaamu nnyo amaanyi! Era Yakuwa yatuukiriza ekisuubizo ekyo.
11. Tumanya tutya nti Yakuwa yatuukiriza ekisuubizo kye eky’okuwagira Yeremiya?
11 N’olwekyo, oluvannyuma lw’okusibibwa mu nvuba era n’okukuddaalirwa mu lujudde, Yeremiya yayogera bw’ati n’obuvumu: “Mukama ali nange ng’ow’amaanyi ow’entiisa: abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula: baliswala nnyo.” (Yeremiya 20:11) Mu myaka egyaddirira, bwe baagezaako okutta Yeremiya, Yakuwa yeeyongera okuba naye, era Yeremiya ne Baluki baawonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa. Kyokka, abo abaali bamuyigganya n’abo abataakolera ku kulabula kwe yawa baazikirizibwa oba baawambibwa ne batwalibwa e Babulooni.
12. Ka kibeere ki ekituleetedde okuggwaamu amaanyi, kiki kye tulina okumanya?
12 Okufaananako Yeremiya, leero Abajulirwa ba Yakuwa bangi bafuna ebizibu. Nga bwe kyayogeddwako emabega, ebizibu ebimu bijjawo olw’okuba tetuukiridde, ebirala olw’embeera embi eriwo mu nsi, ate n’ebirala bireetebwawo abo abaziyiza omulimu gwaffe. Ebizibu ng’ebyo bimalamu nnyo amaanyi. Okufaananako Yeremiya tuyinza n’okutuuka okwebuuza obanga ddala tusobola okweyongera okuweereza. Kyo kituufu nti emirundi egimu tuyinza okuggwaamu amaanyi. Engeri gye tweyisaamu nga tuli mu mbeera eyo eraga okwagala kwe tulina eri Yakuwa. N’olwekyo, obutafaananako Uliya, ka tubeere bamalirivu obutakkiriza kumalibwamu maanyi kutulemesa kuweereza Yakuwa. Wabula, ka tukoppe Yeremiya era tubeere bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwagira.
Engeri y’Okwaŋŋangamu Okumalibwamu Amaanyi
13. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yeremiya ne Dawudi?
13 Yeremiya yasabanga Yakuwa Katonda obutayosa, ng’amubuulira ebimuli ku mutima era ng’amusaba okumuwa amaanyi. Ekyo kyakulabirako kirungi kye twandikoppye. Ne Dawudi ow’edda eyasaba Katonda okumuwa amaanyi, yawandiika bw’ati: “Wulira ebigambo byange, ai Mukama, osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange. Wulira eddoboozi ly’okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange: kubanga nkusaba ggwe.” (Zabbuli 5:1, 2) Ebyawandiikibwa ebikwata ku bulamu bwa Dawudi biraga nti Yakuwa yaddangamu okusaba kwa Dawudi. (Zabbuli 18:1, 2; 21:1-5) Mu ngeri y’emu, bwe twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi oba ebyo ebirabika ng’ebitasobola kugonjoolwa, tuddamu amaanyi bwe tusaba Yakuwa ne tumutegeeza ekituli ku mutima. (Abafiripi 4:6, 7; 1 Abasessaloniika 5:16-18) Yakuwa tagaana kutuwuliriza. Ate era atukakasa nti ‘atufaako.’ (1 Peetero 5:6, 7) Naye, kyandibadde kya magezi okusaba Yakuwa kyokka ate ne tutawuliriza ky’agamba?
14. Ebigambo bya Yakuwa byakwata bitya ku Yeremiya?
14 Yakuwa ayogera atya naffe? Nate lowooza ku Yeremiya. Okuva Yeremiya bwe yali nnabbi, Yakuwa yayogera naye butereevu. Yeremiya ayogera ku ngeri ebigambo bya Katonda gye byamukwatako: “Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n’ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n’okusanyuka kw’omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda w’eggye.” (Yeremiya 15:16) Yee, Yeremiya yasanyuka olw’okuba yali atuumiddwa erinnya lya Katonda, era ebigambo bya Yakuwa byali birungi nnyo gy’ali. N’olwekyo, okufaananako omutume Pawulo, Yeremiya yali mweteefuteefu okubuulira obubaka obwali bumuweereddwa.—Abaruumi 1:15, 16.
15. Tuyinza tutya okussa ebigambo bya Katonda mu mitima gyaffe, era nsonga ki ezituleetera obutasirika?
15 Leero, Yakuwa takyayogera butereevu na muntu yenna. Kyokka, tulina ebigambo bya Katonda mu Baibuli. N’olwekyo, singa tufuba okusoma Baibuli era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tuyiga, ebigambo bya Katonda bijja ‘kusanyusa’ omutima gwaffe. Ate era kitusanyusa okuyitibwa erinnya lya Yakuwa bwe tugenda okubuulirako abalala ebigambo ebyo. N’olwekyo, ka tuleme kwerabiranga nti tewali bantu balala mu nsi leero abalangirira erinnya lya Yakuwa. Abajulirwa be, be bokka abalangirira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda obwateekebwawo, era be bayigiriza abantu abawombeefu engeri gye bayinza okufuukamu abayigirizwa ba Yesu Kristo. (Matayo 28:19, 20) Ng’eyo nkizo ya maanyi! Bwe tulowooza ku buvunaanyizibwa Yakuwa bw’atukwasizza, tetuyinza kusirika n’akamu.
Twegendereze Mikwano Gyaffe
16, 17. Yeremiya yatwala atya emikwano, era tuyinza tutya okumukoppa?
16 Yeremiya alina ekirala ky’ayogerako ekyamuyamba okubeera omuvumu. Yagamba bw’ati: “Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu, so saasanyuka: natuula nzekka olw’omukono gwo; kubanga onjijuzizza okunyiiga.” (Yeremiya 15:17) Yeremiya yasalawo okubeera yekka mu kifo ky’okuba n’emikwano emibi. Leero, naffe ensonga tuzitunuulira mu ngeri y’emu. Tetwerabira kulabula kw’omutume Pawulo nti ‘emikwano emibi gyonoona empisa ennungi,’ nga mw’otwalidde n’empisa ennungi ze tubadde nazo okumala emyaka n’emyaka.—1 Abakkolinso 15:33.
17 Emikwano emibi giyinza okuleetera omwoyo gw’ensi okwonoona endowooza yaffe. (1 Abakkolinso 2:12; Abaefeso 2:2; Yakobo 4:4) N’olwekyo, ka tutendeke obusobozi bwaffe obw’okutegeera tusobole okwawulawo emikwano egyonoona n’okugyewalira ddala. (Abaebbulaniya 5:14) Singa Pawulo abaddewo leero ku nsi, olowooza kiki kye yandigambye Omukristaayo alaba firimu ezirimu obugwenyufu oba ettemu oba emizannyo egirimu ettemu? Yandigambye ki ow’oluganda akolagana n’abantu b’atamanyi ku Internet? Yanditutte atya Omukristaayo amala essaawa nnyingi ng’azzannya emizannyo gya kompyuta oba ng’alaba ttivi naye nga talina nteekateeka nnungi ey’okweyigiriza?—2 Abakkolinso 6:14b; Abaefeso 5:3-5, 15, 16.
Nywerera mu Lusuku lwa Katonda olw’Eby’Omyoyo
18. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo?
18 Tusiima nnyo olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Tewaliiwo kiyinza kulwefaanaanyiriza mu nsi leero. Olaba n’abatali mu nzikiriza yaffe boogera ku kwagala, okufaayo n’ekisa Abakristaayo bye balaga bannaabwe. (Abaefeso 4:31, 32) Wadde kiri kityo, leero okusinga ne bwe kyali kibadde, twetaaga okulwana bwezizingirire tuleme kumalibwamu maanyi. Okuba n’emikwano emirungi, okusaba, n’okuba n’enteekateeka ennungi ey’okweyigiriza biyinza okutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. Ebintu ebyo bijja kutunyweza tusobole okwolekagana n’ekigezo kyonna kyonna era twesigire ddala Yakuwa.—2 Abakkolinso 4:7, 8.
19, 20. (a) Kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza? (b) Naddala ekitundu ekiddako kikwata ku baani, era baani abalala be kizingiramu?
19 Tetukkirizanga abo abakyawa obubaka bwaffe obwa Baibuli okututiisatiisa n’okutuleetera okunafuwa mu kukkiriza. Okufaananako abalabe abaayigganya Yeremiya, abo abatulwanyisa baba balwanyisa Katonda. Tebajja kutuuka ku buwanguzi. Yakuwa, ow’amaanyi okusinga abalabe baffe, atugamba bw’ati: “Weesige Yakuwa; beera muvumu era teweeraliikirira. Weesigire ddala Yakuwa.” (Zabbuli 27:14, NW) Nga tulina obwesige obw’amaanyi mu Yakuwa, ka tubeere bamalirivu obutalekaayo kukola kituufu. Okufaananako Yeremiya ne Baluki, ka tubeere bakakafu nti tujja kukungula singa tetulekulira.—Abaggalatiya 6:9.
20 Abakristaayo beeyongera okulwanyisa okumalibwamu amaanyi. Kyokka, naddala abavubuka boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Naye ate balina emikisa mingi okukola ebintu ebitali bimu. Ekitundu ekiddako kikwatira ddala ku bavubuka abali mu kibiina. Ate era kijja kukwata ne ku bazadde era n’abantu abakulu bonna abali mu kibiina abayamba abavubuka nga bayitira mu bigambo, nga babateekerawo ebyokulabirako ebirungi era nga babawagira mu ngeri endala yonna.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki twandisuubidde okuggwaamu amaanyi, era ani gwe twandyesize okutuwa obuyambi?
• Yeremiya yavvuunuka atya okumalibwamu amaanyi wadde nga yalina omulimu omuzibu?
• Kiki ekinaatuleetera ‘okusanyuka’ ne bwe tuba nga tulina ebizibu eby’amaanyi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Yeremiya yalowooza nti yali muto nnyo okuweereza nga nnabbi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Ne bwe yali ng’ayigganyizibwa, Yeremiya yali akimanyi nti Yakuwa ali wamu naye ‘ng’ow’amaanyi era ow’entiisa’