LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 1/1 lup. 24-25
  • Yeremiya Teyalekulira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yeremiya Teyalekulira
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Similar Material
  • Yeremiya Teyalekera Awo Kwogera ku Yakuwa
    Yigiriza Abaana Bo
  • Beera Muvumu nga Yeremiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Yakuwa Atuma Yeremiya Okubuulira
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yeremiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 1/1 lup. 24-25

Yigiriza Abaana Bo

Yeremiya Teyalekulira

OLUUSI OWULIRA ng’oweddemu amaanyi era ng’oyagala na kulekulira?—a Ekyo bangi kibatuukako, era ne Yeremiya kyamutuukako ng’akyali muto. Kyokka, teyakkiriza ebyo abalala bye baayogeranga oba bye baakolanga okumuleetera okulekulira. Ka twogere ku ngeri Yeremiya gye yali omuntu ow’enjawulo ennyo mu maaso ga Katonda, wadde nga muli yali awulira ng’ayagala kulekulira.

Nga Yeremiya tannazaalibwa, Yakuwa Katonda ow’amazima yamulonda okubeera nnabbi asobole okulabula abantu abaali bakola ebitamusanyusa. Omanyi ekyo Yeremiya kye yagamba Yakuwa nga wayiseewo emyaka egiwerako?— “Siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.”

Olowooza Yakuwa yaddamu atya Yeremiya?— Yamuddamu mu ngeri ey’ekisa naye ng’anyweredde ku ekyo kye yali amugamba. Yamugamba nti: “Toyogera nti Ndi mwana muto: kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky’onooyogeranga. Tobatyanga.” Lwaki? Yakuwa yagamba nti, “Nze ndi wamu naawe okukuwonya.”​—Yeremiya 1:4-8.

Kyokka, oluvannyuma Yeremiya yaggwaamu amaanyi nga bwe tukirabye waggulu. Kyali bwe kityo kubanga yasekererwanga olw’okuweereza Katonda. Yagamba nti: ‘Buli muntu ansekerera okuzibya obudde era banjerega.’ N’olwekyo yasalawo okulekulira. Yagamba nti: “Siimwogereko [Yakuwa] so sikyayogerera mu linnya lye.” Naye ddala yalekulira?

Yeremiya yagamba nti, ‘mu mutima gwange ekigambo kya Yakuwa kyali kiringa omuliro ogubuubuuka ogusibiddwa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza.’ (Yeremiya 20:7-9) Wadde ng’oluusi Yeremiya yafunanga okutya, okwagala kwe yalina eri Yakuwa tekwamuganya kulekulira. Ka tulabe engeri Yeremiya gye yakuumibwamu olw’okuba teyalekulira.

Yakuwa yagamba Yeremiya okulabula abantu nti Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa singa tebakyusa makubo gaabwe amabi. Yeremiya bwe yalabula abantu bw’atyo, baamunyiigira era ne bagamba nti: “Omusajja ono asaanidde okufa.” Kyokka, Yeremiya yabeegayirira ‘okugondera eddoboozi lya Yakuwa.’ Era n’abagamba nti: ‘Mukitegeere nti bwe munaanzita mujja kuba musse omuntu atalina musango, kubanga Katonda y’antumye gye muli okwogera ebigambo bino.’ Omanyi ekyaddirira?—

Baibuli egamba nti: “Awo abakungu n’abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti Omusajja ono tasaanidde kufa; kubanga ayogeredde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.” N’olwekyo, Yakuwa yakuuma Yeremiya olw’okuba okutya tekwamuleetera kulekulira kumuweereza. Kati ka tulabe ekyatuuka ku Uliya, nnabbi wa Yakuwa omulala, eyeeyisa mu ngeri ey’enjawulo.

Baibuli egamba nti ‘Uliya yalagula ku Yerusaalemi ng’ayogera ebigambo bye bimu Yeremiya bye yayogera.’ Naye Kabaka Yekoyakimu bwe yanyiigira Uliya, omanyi Uliya kye yakola?— Yatya nnyo, n’alekera awo okukola omulimu gwa Katonda, era n’addukira e Misiri. Awo kabaka n’atuma abasajja be e Misiri ne bakimayo Uliya. Bwe baaleeta Uliya, omanyi kabaka oyo omubi kye yakola?— Yatta Uliya n’ekitala!​—Yeremiya 26:8-24.

Olowooza lwaki Yakuwa yakuuma Yeremiya naye ate n’atakuuma Uliya?— Weewaawo, Yeremiya ayinza okuba nga naye yalina okutya nga Uliya, kyokka Yeremiya teyalekera awo kuweereza Yakuwa era teyadduka. Teyalekulira. Olowooza kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yeremiya?— Tuyiga nti oluusi tuyinza okukisanga nga kizibu okukola ekyo Katonda ky’agamba, naye bulijjo tusaanidde okumwesiga n’okumugondera.

[Obugambo obuli wansi]

a Bw’oba ng’osomera wamu n’abaana, akasittale kakujjukiza nti olina okuyimiriramu obabuuze ekibuuzo.

Ebibuuzo:

○ Mulimu ki Katonda gwe yawa Yeremiya?

○ Lwaki Yeremiya yawulira ng’ayagala kulekulira?

○ Lwaki Yeremiya yakuumibwa, naye ate Uliya n’atakuumibwa?

○ Kiki ky’oyigidde ku kyokulabirako kya Yeremiya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share