LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 1/1 lup. 3-8
  • Ani gw’Ogondera—Katonda Oba Bantu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ani gw’Ogondera—Katonda Oba Bantu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ogondera Katonda oba Bantu?
  • Abo Abalwanyisa Katonda Tebasobola Kuwangula
  • Ababuulizi b’Obwakabaka ab’Omu Kiseera Kino Abavumu
  • Temubatya
  • “Tuteekwa Kugondera Katonda”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Tewali Kyali Kisobola Kubaleetera Kulekera Awo Kubuulira
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Peetero Yeegaana Yesu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yesu Atwalibwa eri Anaasi n’Oluvannyuma eri Kayaafa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 1/1 lup. 3-8

Ani gw’Ogondera​—Katonda Oba Bantu?

“Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu”​—EBIKOLWA 5:29.

1. (a) Kyawandiikibwa ki ekyesigamiziddwako ekitundu kino? (b) Lwaki abatume baakwatibwa ne bateekebwa mu kkomera?

ABALAMUZI b’omu kkooti enkulu ey’Abayudaaya bateekwa okuba baasunguwala nnyo. Kiki ekyabaviirako okusunguwala ennyo bwe batyo? Anti abasibe be baali batadde mu kkomera baali tebaliimu. Abasibe abo baali batume ba Yesu Kristo kkooti eyo enkulu gwe yali esalidde ogw’okufa, era waali waakayita wiiki ntono nnyo kasookedde attibwa. Kati ekiseera kyali kituuse n’abagoberezi be abo okuwozesebwa. Abakuumi bwe baagenda mu kkomera okubakima, eky’ennaku baasanga tebaliimu ate ng’oluggi luggale. Oluvannyuma baafuna amawulire nti abayigirizwa abo baali mu yeekaalu ey’omu Yerusaalemi nga babuulira era nga bayigiriza abantu ku Yesu Kristo​—ekintu ekyali kibasibizza! Ebyo olwali okubiwulira, abakuumi baasitukiramu ne bagenda okubakima era ne babaleeta mu maaso ga kkooti.​—Ebikolwa 5:17-27.

2. Kiki malayika kye yalagira abatume okukola?

2 Malayika ye yali asumuludde abatume okuva mu kkomera. Ekigendererwa kye kyali kubawonya kuyigganyizibwa? Nedda. Kino yakikola kisobozese abatume okubuulira abantu b’omu Yerusaalemi amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo. Malayika oyo bwe yabasumulula, yabalagira ‘okubuulira mu yeekaalu ebigambo byonna eby’obulamu buno.’ (Ebikolwa 5:19, 20) N’olwekyo abakuumi bwe bagenda mu yeekaalu okubakwata, baabasanga babuulira nga malayika bwe yali abalagidde.

3, 4. (a) Kiki Peetero ne Yokaana kye baddamu nga bagambiddwa okulekera awo okubuulira? (b) Abatume abalala nabo baayanukula batya?

3 Emabegako, Peetero ne Yokaana baaliko mu kkooti eno era ne babagaana okubuulira. Ku mulundi guno omulamuzi omukulu Yusufu Kayaafa yabajjukiza nti: “Twabalagira obutayigiriza mu linnya [lya Yesu]: era laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe.” (Ebikolwa 5:28) Kayaafa kyandibadde tekimwewuunyisa kulaba Peetero ne Yokaana nga bakomezeddwawo mu kkooti. Anti ku mulundi guli bwe yabagamba okulekera awo okubuulira, baali bamugambye nti: ‘Oba nga kirungi mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga Katonda, mwogere; kubanga ffe tetuyinza kulema kwogeranga bye twalaba ne bye twawulira.’ Okufaananako nnabbi Yeremiya, Peetero ne Yokaana baali tebasobola kulekera awo kubuulira.​—Ebikolwa 4:18-20; Yeremiya 20:9.

4 Ku mulundi guno, ng’oggyeko Peetero ne Yokaana, n’abatume abalala nga mw’otwalidde ne Matiya eyali yakafuuka omutume wa Kristo, baalaga ennyimirira yaabwe mu maaso ga kkooti. (Ebikolwa 1:21-26) Nabo bwe baagambibwa okulekera awo okubuulira, baddamu n’obuvumu nti: “[Tuteekwa] okuwulira Katonda okusinga abantu.” ​—Ebikolwa 5:29.

Ogondera Katonda oba Bantu?

5, 6. Lwaki abatume tebaagondera kiragiro kya kkooti?

5 Abatume baali bantu abagondera ab’obuyinza, era mu mbeera eza bulijjo tebandijeemedde kiragiro kya kkooti. Kyokka, teri muntu yenna ateekeddwa kulagira mulala kumenya tteeka lya Katonda, k’abe na buyinza ki. Yakuwa ‘y’Ali waggulu ennyo ng’afuga ensi yonna.’ (Zabbuli 83:18) Ng’oggyeko okuba nti ye ‘Mulamuzi w’ensi zonna,’ ye Muwi w’Amateeka ow’oku ntikko era ye Kabaka ow’emirembe n’emirembe. N’olwekyo teri kkooti esobola kuwa kiragiro ne kimenyawo erimu ku mateeka ga Katonda.​—Olubereberye 18:25; Isaaya 33:22.

6 Ekyo ne bakakensa mu by’amateeka bakiwaako obukakafu. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo kye, William Blackstone, omulamuzi Omungereza eyaliwo mu kyasa eky’e 18 yalaga nti abantu tebasaanidde kuteekawo tteeka lyonna likontana na ‘mateeka ga Katonda’ agali mu Baibuli. Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya bwe lwalagira abagoberezi ba Yesu okulekera awo okubuulira, lwali luyise we lusaanidde okukoma. N’olwekyo abatume baali tebasobola kugondera kiragiro ekyo.

7. Lwaki bakabona abakulu baanyiiga nnyo?

7 Abamu ku bakabona abakulu nga mw’otwalidde ne Kayaafa kennyini, baali Basaddukaayo abaali batakkiririza mu kuzuukira. Kyokka, abatume bo baali bayigiriza nti Yesu yazuukizibwa okuva mu bafu. N’olwekyo abatume bwe baalaga nti bamalirivu okweyongera okubuulira, ekyo kyanyiiza nnyo bakabona abo. (Ebikolwa 4:1, 2; 5:17) Ng’oggyeko ekyo, bakabona abakulu baali bafuba nnyo okulaba nti tebanyiiza bafuzi ba Rooma. Ng’ekyokulabirako, bwe baabuuzibwa obanga bakkiriza nti Yesu ye kabaka waabwe, baddamu nti: “Tetulina Kabaka wabula Kayisaali.” (Yokaana 19:15)a Kyokka, abatume bo baali bayigiriza nti, “tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w’eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola” wabula erya Yesu. (Ebikolwa 2:36; 4:12) N’olwekyo bakabona baali batya nti singa abantu batwala Yesu ng’Omukulembeze waabwe, Abaruumi bandizze ne batwala ‘ensi yaabwe n’eggwanga lyabwe.’​—Yokaana 11:48.

8. Magezi ki Gamalyeri ge yawa Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya?

8 Olw’okuba abalamuzi b’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya baali bamaliridde okubatta, abatume ba Yesu Kristo baali bamanyi nti ebyabwe biwedde. (Ebikolwa 5:33) Kyokka, ebintu byakyuka mu ngeri eyali tesuubirwa. Munnamateeka ayitibwa Gamalyeri yayimirira mu maaso g’Olukiiko n’abagamba ensonga bazikwate mpola. Yabagamba nti: “Kubanga okuteesa kuno n’omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira; naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza.” Ate era yayongerako nti: “muleme okulabika ng’abalwana ne Katonda.”​—Ebikolwa 5:34, 38, 39.

9. Kiki ekikakasa nti omulimu gw’abatume gwali guwagirwa Katonda?

9 Kkooti yakkiriza amagezi ga Gamalyeri. ‘Baayita abatume, ne babakuba, ne balagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata.’ Mu kifo ky’okutya, abatume baali bamalirivu okweyongera okubuulira amawulire amalungi nga malayika bwe yali abalagidde. Bwe baasumululwa, “buli lunaku mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba beeyongera okuyigirizanga n’okubuuliranga amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu.” (Ebikolwa 5:40, 42, NW) Yakuwa yawa omukisa okufuba kwabwe. Biki ebyavaamu? “Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw’abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongerako nnyo.” Ate era waliwo ‘n’ekibiina ekinene ekya bakabona abaagondera okukkiriza.’ (Ebikolwa 6:7) Ng’ekyo kiteekwa okuba kyanyiiza nnyo bakabona abakulu! Mazima ddala kyali kyeyolese nti: Omulimu gw’abatume gwali guwagirwa Katonda!

Abo Abalwanyisa Katonda Tebasobola Kuwangula

10. Okusinziira ku ndaba y’abantu, lwaki Kayaafa ayinza okuba yawulira nti tasobola kuggibwa ku bwakabona, naye lwaki endowooza ye yali nkyamu?

10 Mu kyasa ekyasooka, abafuzi ba Rooma be baalondanga bakabona abakulu ab’Abayudaaya. Ng’ekyokulabirako, Valerius Gratus ye yalonda Yusufu Kayaafa okuba kabona. Kayaafa yaweereza nga kabona okumala emyaka mingi nnyo n’okusinga banne bonna abaamusooka. Mu kifo ky’okukitwala nti Katonda y’amuyambye, kirabika Kayaafa yalowooza nti ekimuwangazizza ku bwakabona ye nkolagana ennungi gye yali ataddewo wakati we n’ab’obuyinza, n’okuba nti yali mukwano gwa Piraato. Ekikulu kyo kiri nti, yakola kikyamu okuteeka obwesige bwe mu bantu. Oluvannyuma lw’abatume okuva mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, waayita emyaka esatu gyokka Abaruumi ne baakyawa Kayaafa era ne bamuggya ku bwakabona.

11. Kiki ekyatuuka ku Pontiyo Piraato n’enteekateeka y’Ekiyudaaya era ekyo kituyigiriza ki?

11 Ekiragiro ky’okuggya Kayaafa ku bwakabona kyava eri Lucius Vitellius, gavana wa Busuuli eyali asinga Piraato obuyinza. Wadde Piraato yali mukwano gwa Kayaafa, teyasobola kumuyamba. Oluvannyuma lwa Kayaafa okuggibwa ku bwakabona, waayita omwaka gumu gwokka ne Piraato n’aggibwa mu buyinza era n’ayitibwa mu kkooti y’e Rooma awerennembe n’emisango gye yazza. N’abakulembeze b’Abayudaaya abaali batadde obwesige mu Kayisaali, Abaruumi baatwala ‘ensi yaabwe n’eggwanga lyabwe.’ Kino kyaliwo mu 70 C.E. amagye g’Abaruumi bwe gaazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu wamu n’ekizimbe Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya mwe lwatuulanga. Ng’ekyo kyalaga bulungi obutuufu bw’ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ebigamba nti: “Temwesiganga balangira, newakubadde omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna”!​—Yokaana 11:48; Zabbuli 146:3.

12. Ebyo Yesu bye yatuukako biraga bitya nti kya magezi okugondera Katonda?

12 Ku luuyi olulala, Katonda yalonda Yesu Kristo okuba Kabona Asinga Obukulu mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. Teri muntu yenna ayinza kuggya Yesu mu kifo ekyo. Mazima ddala Yesu ‘alina obwakabona obw’olubeerera.’ (Abaebbulaniya 2:9; 7:17, 24; 9:11) Ate era Katonda yalonda Yesu okuba Omulamuzi w’abalamu n’abafu. (1 Peetero 4:5) N’olwekyo Yesu y’alina obuyinza okusalawo obanga Yusufu Kayaafa ne Pontiyo Piraato banaazuukira.​—Matayo 23:33; Ebikolwa 24:15.

Ababuulizi b’Obwakabaka ab’Omu Kiseera Kino Abavumu

13. Mu kiseera kyaffe, mulimu gwa baani ogweyongera mu maaso era baani abaalemererwa? Kino okikakasiza ku ki?

13 Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne mu kiseera kyaffe waliwo bangi ‘abalwana ne Katonda.’ (Ebikolwa 5:39) Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa ba Yakuwa mu Bugirimaani bwe baagaana okukubira Adolf Hitler saluti, Hitler yali mumalirivu okubatta bonna abamalewo. (Matayo 23:10) Kino yali asobolera ddala bulungi okukikola. Abanazi baakwata Abajulirwa bangi ne babasiba mu makomera era ne battako n’abamu. Wadde kyali kityo, tebaasobola kubalemesa kusinza Katonda, era tebaasobola kubamalawo bonna. Olw’okuba omulimu gw’Abakristaayo abo gwali guwagirwa Katonda, tebaasobola kuguyimiriza. Kati nga wayise emyaka nga nkaaga, Abajulirwa abamu abaaliko mu makomera ga Hitler bakyali beesigwa era bakyaweereza Yakuwa ‘n’emitima gyabwe gyonna, n’obulamu bwabwe bwonna,’ ng’ate Hitler takyaliwo awamu n’ekibiina kye eky’Abanazi.​—Matayo 22:37.

14. (a) Abaziyiza bagezezzaako batya okusiiga abaweereza ba Katonda enziro, naye biki ebivuddemu? (b) Ekyo kinaamalamu abantu ba Katonda amaanyi? (Abaebbulaniya 13:5, 6)

14 Okuviira ddala mu kiseera ky’Abanazi, waliwo n’abalala abagezezzaako okulwana ne Yakuwa awamu n’abantu be naye ne balemererwa. Mu nsi nnyingi eza Bulaaya, banaddiini ne bannabyabufuzi bagezezaako okusiiga Abajulirwa ba Yakuwa enziro nga babayita ‘akabiina k’eddiini ak’omutawaana,’ ng’abamu bwe baayitanga Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. (Ebikolwa 28:22) Kyokka yo kkooti ekola ku nsonga ezikwata ku ddembe ly’abantu mu Bulaaya yatongoza Abajulirwa ba Yakuwa ng’eddiini era ekyo abatuziyiza bakimanyi bulungi. Wadde kiri kityo, bakyasiiga Abajulirwa enziro nga baboogerako ebitali bituufu. N’ekivuddemu abamu ku Bajulirwa abo bagobeddwa ku mirimu era n’abalala batulugunyizibwa ku masomero. Abajulirwa abamu bagobeddwa mu bizimbe bye babadde bakuŋŋaaniramu okumala ekiseera ekiwanvu olw’okuba bannyini bizimbe ebyo batidde olw’ebyo ebyogerwa ku Bajulirwa. Gavumenti ezimu zituuse n’okugaana okuwa Abajulirwa ba Yakuwa obutuuze olw’enzikiriza yaabwe. Wadde kiri kityo, Abajulirwa tebaweddeemu maanyi.

15, 16. Kiki Abajulirwa ba Yakuwa mu Bufalansa kye bakoze abantu abamu bwe bagezezzaako okulemesa omulimu gwabwe ogw’okubuulira?

15 Ng’ekyokulabirako, abantu b’omu Bufalansa batera okwagala ebintu ebikolebwa mu ngeri ey’obwenkanya. Wadde kiri kityo, eriyo abamu abakoze kaweefube okulaba nti wateekebwawo amateeka agalemesa omulimu gw’Obwakabaka. Kiki Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu nsi eyo kye bakoze? Bongedde amaanyi mu mulimu gw’okubuulira era ekyo kivuddemu emiganyulo mingi. (Yakobo 4:7) Ng’ekyokulabirako, mu myezi mukaaga gyokka, omuwendo gw’abayizi ba Baibuli gweyongera ebitundu 33 ku buli kikumi. Omulyolyomi ateekwa okuba alina obusungu bungi okulaba ng’abantu b’omu Bufalansa bakkiriza amawulire amalungi. (Okubikkulirwa 12:17) Baganda baffe abali mu nsi eyo bakakafu nti bajja kukuumibwa, nga bwe kyasuubizibwa mu bunnabbi bwa Isaaya nti: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga.”​—Isaaya 54:17.

16 Abajulirwa ba Yakuwa tebasanyukira kuyigganyizibwa. Olw’okuba bagondera Katonda, tebasobola kulekera awo kwogera ku ebyo bye baawulira. Bafuba okugondera amateeka gonna ab’obuyinza ge baba bataddewo. Kyokka bwe wabaawo etteeka lyonna erikontana n’amateeka ga Katonda balondawo okugondera Katonda mu kifo ky’abantu.

Temubatya

17. (a) Lwaki tetusaanidde kutya balabe baffe? (b) Twandibadde na ndowooza ki ku abo abatuyigganya?

17 Abo abatuziyiza bali mu kabi kubanga baba balwanyisa Katonda. N’olwekyo tugoberera okubuulira kwa Yesu ne tutabatya wabula ne tubasabira busabizi. (Matayo 5:44) Kye tusaba kiri nti, bwe wabaawo abatuziyiza naye nga bakikola mu butamanya nga Sawulo ow’e Taluso bwe yali akola, Yakuwa abayambe bategeere amazima. (2 Abakkolinso 4:4) Sawulo bwe yafuuka Omukristaayo n’atandika okuyitibwa omutume Pawulo, naye ab’obuyinza baamuyigganya. Wadde kyali kityo, yajjukizanga bakkiriza banne “okugonderanga abafuga n’abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonna ekirungi, obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna.” (Tito 3:1, 2) Abajulirwa ba Yakuwa mu Bufalansa n’awalala wonna bagoberera okubuulira okwo.

18. (a) Biki Yakuwa by’ayinza okukola okusobola okukuuma abantu be? (b) Tuli bakakafu ku ki?

18 Katonda yagamba nnabbi Yeremiya nti: “Nze ndi wamu naawe okukuwonya.” (Yeremiya 1:8) Yakuwa ayinza atya okutuwonya nga twolekaganye n’okuyigganyizibwa? Kino ayinza okukikola ng’ayitira mu mulamuzi atunuulira ensonga mu ngeri ey’obwenkanya nga Gamalyeri. Oba ayinza okuteekawo embeera omuntu oyo atuyigganya n’akyusibwa okuva mu kifo kye ne wateekebwawo omulala omulungi. Kyokka, oluusi Yakuwa ayinza okuleka abaweereza be okuyigganyizibwa. (2 Timoseewo 3:12) Singa aleka okuyigganyizibwa okututuukako, ajja kutuwa amaanyi agatusobozesa okugumiikiriza okuyigganyizibwa okwo. (1 Abakkolinso 10:13) Ka kube kuyigganyizibwa kwa ngeri ki kwe twolekaganye nakwo, tuli bakakafu nti: Olw’okuba abo abalwanyisa abantu ba Katonda baba balwanyisa Katonda kennyini, tebajja kuwangula.

19. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2006 kye kiruwa, era lwaki kituukirawo?

19 Yesu yagamba abayigirizwa be nti bajja kuyigganyizibwa. (Yokaana 16:33) Olw’okuba tusuubira okuyigganyizibwa, ebigambo ebiri mu Ebikolwa 5:29 ebigamba nti: ‘Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu’ bijja kutuganyula nnyo mu kiseera kino. N’olw’ensonga eyo, kituukirawo okuba nti ebigambo ebyo bye bijja okuba ekyawandiikibwa ky’Abajulirwa ba Yakuwa ky’omwaka 2006. Ka tube bamalirivu okugondera Katonda mu mwaka guno n’emirembe gyonna!

[Obugambo obuli wansi]

a “Kayisaali,” bakabona abakulu gwe bagamba nti ye kabaka waabwe, ye yali Omufuzi wa Rooma ayitibwa Tiberiyo. Omufuzi oyo yali munnanfuusi, nga mutemu, era nga yeenyigira nnyo mu bikolwa eby’obugwenyufu.​—Danyeri 11:15, 21.

Osobola Okuddamu?

• Kyakulabirako ki abatume kye baatuteerawo nga boolekaganye n’okuziyizibwa?

• Lwaki tusaanidde okugondera Katonda mu kifo ky’abantu?

• Abo abatuziyiza baba balwanyisa ani?

• Abo abagumiikiriza okuyigganyizibwa bakakafu ku ki?

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 7]

Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2006 kijja kuba: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.”​—Ebikolwa 5:29

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

‘Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Kayaafa yateeka obwesige bwe mu bantu mu kifo ky’okubuteeka mu Katonda

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share