LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 95 lup. 222-lup. 223 kat. 1
  • Tewali Kyali Kisobola Kubaleetera Kulekera Awo Kubuulira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tewali Kyali Kisobola Kubaleetera Kulekera Awo Kubuulira
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • “Tuteekwa Kugondera Katonda”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Basumululwa mu Kkomera
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ani gw’Ogondera—Katonda Oba Bantu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • ‘Tebaali Bayigirize era Baali Bantu ba Bulijjo’
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 95 lup. 222-lup. 223 kat. 1
Peetero ne Yokaana nga babuulira n’obuvumu wadde nga bakabona n’Abasaddukaayo bagezaako okubaziyiza

ESSOMO 95

Tewali Kyali Kisobola Kubaleetera Kulekera Awo Kubuulira

Waaliwo omusajja omulema eyatuulanga ku mulyango gwa yeekaalu buli lunaku okusabiriza. Lumu ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda mu yeekaalu. Yabagamba nti: ‘Mumpeeyo ssente.’ Peetero yamugamba nti: ‘Waliwo kye ŋŋenda okukuwa ekisinga ssente. Mu linnya lya Yesu yimuka otambule!’ Peetero yayambako omusajja oyo okuyimuka era omusajja oyo n’atandika okutambula! Abantu baasanyuka nnyo olw’ekyamagero ekyo era bangi baafuuka abakkiriza.

Naye bakabona n’Abasaddukaayo baanyiiga nnyo. Baakwata abatume ne babatwala mu kkooti, era ne bababuuza nti: ‘Ani abawadde obuyinza okuwonya omusajja oyo?’ Peetero yabaddamu nti: ‘Yesu, gwe mwatta, y’atuwadde obuyinza.’ Abakulu b’eddiini baakambuwala nnyo ne bagamba nti: ‘Mulekere awo okwogera ku Yesu!’ Naye abatume baabagamba nti: ‘Tulina okumwogerako. Era tetujja kulekera awo kumwogerako.’

Peetero ne Yokaana bwe baamala okuteebwa, baagenda eri abayigirizwa abalala ne bababuulira ebyali bibaddewo. Baasabira wamu nabo ne bagamba Yakuwa nti: ‘Tukwegayiridde, tuyambe tube bavumu tweyongere okukola omulimu gwo.’ Yakuwa yabawa omwoyo omutukuvu, era beeyongera okubuulira n’okuwonya abantu. Abantu beeyongera okufuuka abakkiriza. Abasaddukaayo baanyiiga nnyo ne basalawo okukwata abatume ne babasiba mu kkomera. Ekiro, Yakuwa yatuma malayika we n’aggulawo enzigi z’ekkomera era n’agamba abatume nti: ‘Muddeeyo mu yeekaalu, mweyongere okuyigiriza.’

Ku makya, Olukiiko Olukulu lwategeezebwa nti: ‘Ekkomera likyasibiddwa naye abasajja be mwasibiddemu tebaliimu! Bali mu yeekaalu bayigiriza!’ Abatume baddamu okukwatibwa ne batwalibwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu. Kabona asinga obukulu yabagamba nti: ‘Twabalagidde obutaddamu kwogera ku Yesu!’ Naye Peetero yaddamu nti: “Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.”

Abakulu b’eddiini baanyiiga nnyo ne baagala okutta abatume. Naye Omufalisaayo ayitibwa Gamalyeri yayimuka n’abagamba nti: ‘Mwegendereze! Katonda ayinza okuba ng’ali wamu n’abasajja bano. Ddala mwagala okulwanyisa Katonda?’ Baawuliriza kye yabagamba. Oluvannyuma lw’okukuba abatume embooko, baddamu okubalagira obutaddamu kubuulira era ne babaleka ne bagenda. Naye ekyo tekyaleetera batume kulekera awo kubuulira. Beeyongera okubuulira amawulire amalungi n’obuvumu, mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba.

“Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.”​—Ebikolwa 5:29

Ebibuuzo: Lwaki abayigirizwa ba Yesu tebaalekera awo kubuulira? Yakuwa yabayamba atya?

Ebikolwa 3:1–4:31; 5:12-42

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share