Funa Essanyu Eriva mu Kugaba!
“Mu kugaba mulimu essanyu okusinga mu kuweebwa.”—EBIKOLWA 20:35, NW.
1. Yakuwa ayoleka atya essanyu ery’okugaba?
ESSANYU olw’okumanya amazima n’emiganyulo egivaamu birabo bya muwendo okuva eri Katonda. Abo abategedde Yakuwa balina ensonga nnyingi okusanyuka. Kyokka, wadde ng’ofuna essanyu nga bakuwadde ekirabo, era ofuna essanyu bw’ogaba ekirabo. Yakuwa ye Mugabi wa “buli kirabo ekirungi, na buli kitone kituukirivu,” era ye “Katonda omusanyufu.” (Yakobo 1:17; 1 Timoseewo 1:11, NW) Ayigiriza abo bonna abamuwuliriza era asanyuka bwe babeera abawulize, ng’abazadde bwe basanyuka abaana baabwe bwe bagoberera bye babayigiriza.—Engero 27:11.
2. (a) Yesu yayogera ki ku kugaba? (b) Ssanyu ki lye tufuna bwe tuyigiriza abalala amazima ga Baibuli?
2 Mu ngeri y’emu, Yesu bwe yali ku nsi, yasanyuka abantu bwe bakkiriza ebyo bye yabayigiriza. Omutume Pawulo yajuliza Yesu ng’agamba: “Mu kugaba mulimu essanyu okusinga mu kuweebwa.” (Ebikolwa 20:35, NW) Essanyu lye tufuna nga tuyigiriza abalala amazima ga Baibuli si kwe kumatira obumatizi kwe tufuna ng’omuntu akkiriza enzikiriza zaffe ez’eddiini. Ekisingira ewala ekyo, lye ssanyu lye tufuna olw’okuwa omuntu ekintu eky’omuwendo ekinaamuganyula emirembe gyonna. Bwe tuwa abalala ebintu ebibaganyula mu by’omwoyo, tubayamba okuganyulwa kati ne mu biseera eby’omu maaso.—1 Timoseewo 4:8.
Okugaba Kuleeta Essanyu
3. (a) Omutume Pawulo ne Yokaana baayoleka batya essanyu lyabwe mu kuyamba abalala mu by’omwoyo? (b) Lwaki okuyigiriza abaana baffe amazima ga Baibuli kabonero akooleka okwagala?
3 Yee, nga Yakuwa ne Yesu bwe basanyuka olw’okugaba ebirabo eby’omwoyo, n’Abakristaayo basanyuka. Omutume Pawulo yasanyuka okumanya nti yayamba abalala okuyiga amazima g’omu Kigambo kya Katonda. Bw’ati bwe yawandiikira ekibiina ky’omu Ssessaloniika: “Essuubi lyaffe ki oba ssanyu oba ngule ey’okwenyumiriza? Bwe mutaba mmwe, mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe? Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe n’essanyu.” (1 Abasessaloniika 2:19, 20) Mu ngeri y’emu, ng’omutume Yokaana ayogera ku abo be yayigiriza amazima ga Baibuli yawandiika: “Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima.” (3 Yokaana 4) Era lowooza ku ssanyu lye tufuna olw’okuyigiriza abaana baffe amazima! Okukuza abaana mu ‘kukangavvula n’okuyigiriza kwa Yakuwa,’ kabonero akooleka okwagala abazadde kwe balina. (Abaefeso 6:4) Mu ngeri eyo, abazadde balaga nti bafaayo ku biseera by’abaana baabwe eby’omu maaso. Abaana bwe bagoberera bye bayigirizibwa, abazadde bafuna essanyu ppitirivu n’okumatira.
4. Kyakulabirako ki ekiraga essanyu eriva mu kugaba okw’eby’omwoyo?
4 Dell akola nga payoniya ow’ekiseera kyonna era alina abaana bataano. Agamba bw’ati: “Ntegeera bulungi nnyo ebigambo by’omutume Yokaana era ndi musanyufu nnyo olw’okuba bana ku baana bange ‘bali mu mazima.’ Nkimanyi nti kiweesa Yakuwa ekitiibwa amaka bwe gaba obumu mu kusinza okw’amazima. N’olwekyo, ndi mumativu olw’okuba awadde omukisa okufuba kwange okw’okubayigiriza amazima. Essuubi ery’ekitalo ery’okubeera n’obulamu obutaggwaawo n’ab’omu maka gange mu Lusuku lwa Katonda, linkubiriza okuba omugumiikiriza wadde nga waliwo ebizibu.” Eky’ennaku, omu ku bawala ba Dell yagobebwa mu kibiina olw’enneeyisa etali ya Kikristaayo. Wadde kiri kityo, Dell afuba nnyo okukuuma endowooza ennuŋŋamu. Agamba: “Nsuubira nti lumu muwala wange alikomawo eri Yakuwa. Naye nneebaza nnyo Yakuwa nti abaana bange abasinga obungi bamuweereza n’obwesigwa. Essanyu lye nnina linzizaamu nnyo amaanyi.”—Nekkemiya 8:10.
Okufuna Emikwano egy’Olubeerera
5. Nga tunyiikirira omulimu gw’okufuula abayigirizwa, kiki ekituleetera okuba abamativu?
5 Yesu yalagira abagoberezi be okufuula abayigirizwa n’okubayigiriza ebikwata ku Yakuwa ne by’abeetaaza. (Matayo 28:19, 20) Yakuwa ne Yesu bayambye abantu okuyiga amazima. N’olwekyo, nga tunyiikirira omulimu gw’okufuula abayigirizwa, tuba bamativu bwe tumanya nti tukoppa ekyokulabirako kya Yakuwa ne Yesu, ng’Abakristaayo abaasooka bwe baakola. (1 Abakkolinso 11:1) Bwe kityo, bwe tukolaganira awamu ne Katonda Omuyinza w’ebintu byonna n’Omwana we omwagalwa, obulamu bwaffe bufuna amakulu aga nnamaddala. Nga kya ssanyu nnyo okubeera omu ku abo ‘abakolera awamu’ ne Katonda! (1 Abakkolinso 3:9) Tekisanyusa nnyo okumanya nti ne bamalayika benyigira mu mulimu guno ogw’okubuulira amawulire amalungi?—Okubikkulirwa 14:6, 7.
6. Bwe tugabira abalala ebintu eby’omuwendo eby’omwoyo, baani abafuuka mikwano gyaffe?
6 Mu butuufu, bwe twenyigira mu mulimu guno ogw’okuwa abalala ebintu eby’omuwendo eby’omwoyo, tetubeera bubeezi abakolera awamu ne Katonda kyokka, naye era tufuna omukwano naye ogw’olubeerera. Olw’okukkiriza kwe yalina, Ibulayimu yayitibwa mukwano gwa Yakuwa. (Yakobo 2:23) Bwe tufuba okukola Katonda by’ayagala, naffe tuyinza okufuuka mikwano gya Katonda. Era bwe tutyo ne tufuuka mikwano gya Yesu. Yagamba abayigirizwa be: “Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanyi mukama we by’akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe.” (Yokaana 15:15) Bangi basanyuka bwe baba mikwano gy’abantu ab’ekitiibwa oba abakungu abakulu. Naye ffe tuyinza okubeera mikwano gy’abantu ababiri abasingayo obukulu mu butonde bwonna!
7. (a) Omukyala omu yafuna atya ow’omukwano owa nnamaddala? (b) Ekintu ng’ekyo kyali kikutuuseeko?
7 Ate era, bwe tuyamba abantu okumanya Katonda, nabo bafuuka mikwano gyaffe, ne kituleetera essanyu ery’enjawulo. Joan abeera mu Amereka, yatandika okuyigiriza Baibuli omukazi ayitibwa Thelma. Wadde Thelma yaziyizibwa ab’omu maka ge okuyiga, teyalekulira era n’abatizibwa oluvannyuma lw’omwaka. Joan yawandiika: “Omukwano gwaffe tegwakoma awo, wabula gweyongera era kati gwakamala emyaka 35. Emirundi mingi twagenda ffembi mu buweereza ne mu nkuŋŋaana ennene. Oluvannyuma nnasengukira mu kifo ekyali kyesudde mayiro 500 okuva we nnabeeranga. Kyokka, Thelma akyampandiikira amabaluwa ng’antegeeza nti anjagala nnyo era n’anneebaza okubeera mukwano gwe n’okumuteerawo ekyokulabirako ekirungi, era n’okumuyigiriza amazima okuva mu Baibuli. Okuba n’ow’omukwano ng’oyo ow’oku lusegere mpeera ya kitalo gye nnafuna olw’okufuba okumuyamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa.”
8. Ndowooza ki ennuŋŋamu eneetuyamba mu buweereza?
8 Essuubi ery’okufuna omuntu ayagala okuyiga amazima liyinza okutuyamba okugumiikiriza wadde ng’abantu bangi be tusanga tebeefiirayo ku Kigambo kya Yakuwa. Obuteefiirayo ng’obwo buyinza okugezesa okukkiriza kwaffe n’obugumiikiriza. Kyokka, endowooza ennuŋŋamu ejja kutuyamba. Fausto abeera mu Guatemala yagamba: “Bwe mbuulira abalala, nteebereza nga bwe kyandibadde ekirungi ennyo singa omuntu gwe njogera naye afuuka muganda wange oba mwannyinaze mu by’omwoyo. Mba n’endowooza nti omuntu yenna gwe nsanga ayinza okukkiriza amazima g’omu Kigambo kya Katonda. Ekirowoozo ng’ekyo kinsobozesa okweyongera okubuulira era kindeetera essanyu erya nnamaddala.”
Okutereka eby’Obugagga mu Ggulu
9. Kiki Yesu kye yayogera ku by’obugagga mu ggulu, era kiki kye tuyinza okuyigira ku kino?
9 Si kyangu okufuula abaana baffe oba abantu abalala abayigirizwa. Kiyinza okwetaagisa ebiseera, n’obugumiikiriza. Kyokka, kijjukire nti bangi beetegefu okukola ennyo okusobola okufuna eby’obugagga bingi, ebitatera kubaleetera ssanyu era ebitawangaala kiseera kyonna. Yesu yategeeza abamuwuliriza nti kisingako okukolerera ebintu eby’omwoyo. Yagamba: “Temweterekeranga bintu ku nsi, kwe byonoonekera n’ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe basimira ne babba: naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n’ennyenje newakubadde obutalagge, so n’ababbi gye batasimira, so gye batabbira.” (Matayo 6:19, 20) Bwe tuluubirira ebintu eby’omwoyo, ng’okwenyigira mu mulimu omukulu ennyo ogw’okufuula abayigirizwa, tufuna okumatira olw’okumanya nti tukola Katonda by’ayagala era nti ajja kutuwa empeera. Omutume Pawulo yawandiika: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.”—Abaebbulaniya 6:10.
10. (a) Lwaki Yesu yalina eby’obugagga eby’omwoyo? (b) Yesu yeewaayo atya era kyaganyula kitya abalala?
10 Singa tunyiikira okufuula abayigirizwa, tweterekera ‘eby’obugagga mu ggulu,’ ekiba kituukagana n’ekyo Yesu kye yagamba. Kino kituleetera essanyu eriva mu kugaba . Bwe tugaba awatali kwerowoozaako, naffe tugaggawala. Yesu kennyini yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka. Lowooza ku by’obugagga bye yatereka mu ggulu! Wadde kyali kityo, Yesu teyeenoonyeza bibye ku bubwe. Omutume Pawulo yawandiika: “[Yesu] eyeewaayo olw’ebibi byaffe, alyoke atuggye mu mirembe gino egiriwo emibi nga bwe yayagala Katonda era Kitaffe.” (Abaggalatiya 1:4, italiki zaffe.) Yesu teyakoma ku kufuba mu buweereza bwe kyokka, naye era yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo abalala basobole okufuna omukisa okutereka eby’obugagga mu ggulu.
11. Lwaki ebirabo eby’omwoyo bisinga eby’omubiri?
11 Nga tuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda, tubayamba okulaba engeri nabo gye bayinza okutereka eby’obugagga eby’omwoyo eby’olubeerera. Kirabo ki ekisinga ekyo ky’oyinza okugaba? Singa ogabira mukwano gwo essaawa ey’ebbeeyi, emmotoka oba ennyumba, mukwano gwo ajja kukwebaza era asanyuke, era naawe ojja kufuna essanyu eriva mu kugaba. Naye ekirabo ekyo kinaaba mu mbeera ki oluvannyuma lw’emyaka 20, 200 oba 2000? Ku luuyi olulala, singa ofuba okuyamba omuntu okuweereza Yakuwa, ayinza okuganyulwa mu kirabo ekyo emirembe gyonna.
Okunoonya Abo Abaagala Amazima
12. Bangi bafubye batya okuyamba abalala mu by’omwoyo?
12 Okusobola okufuna essanyu eriva mu kugaba ebintu eby’omuwendo eby’omwoyo, abantu ba Yakuwa batuuse ku nkomerero y’ensi. Enkumi n’enkumi balese amaka gaabwe n’ab’eŋŋanda okusobola okuweereza ng’abaminsani mu nsi endala gye kibeetaagisizza okuyiga ennimi n’empisa ez’omu bifo ebyo. Abamu bagenze mu bifo ebirala eby’omu nsi yaabwe eri obwetaavu obusingawo obw’abalangirizi b’Obwakabaka. Abalala bayize olulimi oluppya ne kibasobozesa okubuulira abantu abaasengukira mu bitundu byabwe. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okukuza abaana baabwe ababiri, kati abaweereza ku kitebe ekikulu eky’ensi yonna eky’Abajulirwa ba Yakuwa, omugogo gw’abafumbo mu New Jersey, Amereka, baatandika okuweereza nga bapayoniya era ne bayiga olulimi Olukyayina. Mu kiseera kya myaka esatu, baayigiriza Baibuli abantu 74 aboogera Olukyayina abaali basomera mu ttendekero ery’okumpi. Osobola okugaziya obuweereza bwo ofune essanyu erisingawo mu mulimu gw’okufuula abayigirizwa?
13. Kiki ky’oyinza okukola singa oyagala okufuna ebibala ebisingawo mu buweereza bwo?
13 Oboolyawo oyagala okufuna omuntu ow’okuyigiriza Baibuli naye nga tonnamufuna. Mu nsi ezimu, kizibu okufuna abaagala okuyiga. Oboolyawo abantu b’osanga tebaagala kuyiga Baibuli. Bwe kiba bwe kityo, oyinza okusaba okufuna gw’oyigiriza Baibuli, ng’omanyi nti Yakuwa ne Yesu Kristo bafaayo nnyo ku bikwata ku mulimu guno era bayinza okukuyamba okuzuula abantu abalinga endiga. Funa amagezi okuva ku abo abali mu kibiina kyo abalina obumanyirivu obusingawo oba abafuna ebibala ebisingawo mu buweereza. Kozesa by’oyigirizibwa n’amagezi agaweebwa mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Goberera okubuulirira kw’abalabirizi abatambula ne bakyala baabwe. Okusinga byonna, tolekuliranga. Omusajja ow’amagezi yawandiika: “Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa.” (Omubuulizi 11:6) Nga tonnafuna wa kuyigiriza, jjukira abasajja abeesigwa nga Nuuwa ne Yeremiya. Wadde nga batono nnyo abakkiriza bye baabulira, obuweereza bwabwe bwavaamu ebibala. Okusinga byonna, kyasanyusa nnyo Yakuwa.
Okukola Kyonna ky’Osobola
14. Yakuwa atunuulira atya abo abakaddiyidde mu buweereza bwe?
14 Kiyinza okuba nti embeera zo tezikusobozesa kukola kisingawo mu buweereza nga bwe wandyagadde. Ng’ekyokulabirako, obukadde buyinza okukugira ky’oyinza okukola mu buweereza bwa Yakuwa. Kyokka, jjukira omusajja ow’amagezi kye yawandiika: “Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, gunaalabikanga mu kkubo ery’obutuukirivu.” (Engero 16:31) Ekiseera kye tumala mu buweereza bwa Yakuwa kimusanyusa. Ate era, Ebyawandiikibwa bigamba: “N’okutuusa ku bukadde nze nzuuyo [Yakuwa]: n’okutuusa ku nvi n [n] aabasitulanga: nze n [na] akola era nze n [n] aaweekanga: weewaawo, n [n] aasitulanga era n [n] aawonyanga.” (Isaaya 46:4) Kitaffe ow’omu ggulu ow’okwagala asuubiza okubeesaawo n’okuwagira abantu be abeesigwa.
15. Okikkiriza nti Yakuwa ategeera embeera yo? Lwaki?
15 Oboolyawo oyolekaganye n’obulwadde, okuziyizibwa munno atali mukkiriza, obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu maka, oba ekizibu ekirala kyonna eky’amaanyi. Yakuwa amanyi ekkomo lyaffe n’embeera zaffe, era asanyuka bwe tufuba okumuweereza mu bwesimbu. Era bwe kiba wadde nga kye tukola kitono ku ky’abalala. (Abaggalatiya 6:4) Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde, era tatusuubiramu kye tutayinza kukola. (Zabbuli 147:11) Singa tukola kyonna kye tusobola, tuyinza okubeera abakakafu nti tuli ba muwendo mu maaso ga Katonda era nti tajja kwerabira bikolwa byaffe eby’okukkiriza.—Lukka 21:1-4.
16. Mu ngeri ki ekibiina kyonna gye kyenyigira mu kufuula abayigirizwa?
16 Era kijjukire nti omulimu gw’okufuula abayigirizwa tugukolera wamu n’abalala. Tewali n’omu afuula muntu muyigirizwa ku lulwe, ng’ettondo erimu ery’enkuba bwe litayinza kufukirira kimera. Kyo kituufu nti Omujulirwa omu ayinza okuzuula omuntu ayagala okuyiga era n’amuyigiriza Baibuli. Naye omuppya oyo bw’ajja mu Kizimbe ky’Obwakabaka, ekibiina kyonna kimuyamba okutegeera amazima. Omukwano ab’oluganda gwe bamulaga gwoleka nti tukubirizibwa omwoyo omutukuvu. (1 Abakkolinso 14:24, 25) Abaana n‘abatiini baddamu ebintu ebizzaamu amaanyi, ne kiraga omuppya nti abavubuka baffe ba njawulo ku bavubuka b’omu nsi. Abalwadde, abanafu, ne bannamukadde mu kibiina bayigiriza abappya kye kitegeeza okubeera abagumiikiriza. Ka tubeere na myaka emeka oba nga tukugirwa mu ngeri ki, ffenna tulina ekifo ekikulu mu kuyamba abappya nga bagenda beeyongera okwagala amazima ga Baibuli era ne bakulaakulana okutuuka ku kubatizibwa. Buli kiseera kye tumala mu buweereza, nga tukola okudiŋŋana, nga tunyumya n’abaagala okuyiga mu Kizimbe ky’Obwakabaka, kiyinza okulabika ng’ekitono, naye kitundu ky’omulimu omunene Yakuwa gw’atuukiriza.
17, 18. (a) Ng’oggyeko okwenyigira mu mulimu gw’okufuula abayigirizwa, tuyinza tutya okufuna essanyu eriva mu kugaba? (b) Bwe tugaba, ani gwe tuba tukoppa?
17 Kya lwatu, ng’oggyeko okwenyigira mu mulimu omukulu ogw’okufuula abayigirizwa, ffe ng’Abakristaayo tufuna essanyu eriva mu kugaba mu ngeri endala. Tuyinza okuterekawo essente ez’okuwaayo okuwagira okusinza okulongoofu n’okuyamba abali mu bwetaavu. (Lukka 16:9; 1 Abakkolinso 16:1, 2) Tuyinza okukyaza abalala. (Abaruumi 12:13) Tusobola okufuba ‘okukola obulungi eri bonna, naye okusingira ddala eri abo bwe tuli obumu mu kukkiriza.’ (Abaggalatiya 6:10) Era, mu ngeri ennyangu kyokka nga nkulu, tuyinza okugabira abalala nga tubawandiikira ebbaluwa, nga tubakubira essimu, nga tubawa ekirabo, nga tubawa obuyambi, oba nga tubazzaamu amaanyi.
18 Bwe tugaba, tulaga nti tukoppa kitaffe ow’omu ggulu. Era tuba twoleka okwagala kwaffe, okwawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Yokaana 13:35) Okujjukira ebintu bino kiyinza okutuyamba okufuna essanyu eriva mu kugaba.
Osobola Okunnyonnyola?
• Yakuwa ne Yesu bataddewo batya ekyokulabirako mu kugaba ebintu eby’omuwendo eby’omwoyo?
• Tuyinza tutya okufuna emikwano egy’olubeerera?
• Biki bye tuyinza okukola obuweereza bwaffe okusobola okuvaamu ebibala ebisingawo?
• Bonna mu kibiina bayinza batya okufuna essanyu eriva mu kugaba?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Abazadde bafuna essanyu ppitirivu n’okumatira abaana baabwe bwe bagoberera bye babayigiriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Tuyinza okufuna emikwano egya nnamaddala mu abo be tufuula abayigirizwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Yakuwa atuwanirira mu myaka egy’obukadde
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Tufuna essanyu bwe tugaba mu ngeri ennyangu naye nga nkulu