LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w21 Okitobba lup. 24-28
  • Tolekera Awo Kukola Mulimu!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tolekera Awo Kukola Mulimu!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KIKI EKIRAGA NTI TUTUUKIRIZA BULUNGI OMULIMU GW’OKUBUULIRA?
  • BIKI BYE TUSAANIDDE OKUSUUBIRA?
  • ‘Katonda y’Akuza’!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Funa Essanyu mu Kufuula Abalala Abayigirizwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Funa Essanyu Eriva mu Kugaba!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Osobola Okuyambako mu Mulimu gw’Okufuula Abantu Abayigirizwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
w21 Okitobba lup. 24-28

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 43

Tolekera Awo Kukola Mulimu!

“Ka tuleme kulekera awo kukola birungi.”​—BAG. 6:9.

OLUYIMBA 68 Okusiga Ensigo y’Obwakabaka

OMULAMWAa

1. Nkizo ki ey’ekitalo gye tulina, era lwaki tuli basanyufu?

ABAJULIWA BA YAKUWA tulina enkizo ey’ekitalo era tulina essanyu lingi! Tuyitibwa erinnya lya Katonda era tutuukana n’erinnya eryo nga tukola omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Tusanyuka nnyo bwe tuyamba omuntu ‘alina endowooza ennuŋŋamu emusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo’ okufuuka omuweereza wa Yakuwa. (Bik. 13:48) Naffe tuwulira nga Yesu ‘eyajjula essanyu n’omwoyo omutukuvu’ abayigirizwa be bwe baakomawo gy’ali ne bamubuulira ebirungi bye baali bafunye mu mulimu gw’okubuulira.​—Luk. 10:1, 17, 21.

2. Tukiraga tutya nti omulimu gw’okubuulira tugutwala nga mukulu nnyo?

2 Omulimu gw’okubuulira tugutwala nga mukulu nnyo. Omutume Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo.” Ate era yamugamba nti: “Bw’onookola bw’otyo ojja kwerokola era olokole n’abo abakuwuliriza.” (1 Tim. 4:16) N’olwekyo omulimu gw’okubuulira guwonyaawo obulamu. Tussaayo omwoyo ku bintu ebitukwatako, olw’okuba tufugibwa Bwakabaka bwa Katonda. Bulijjo twagala okweyisa mu ngeri ereetera Yakuwa ettendo era eraga nti tukkiririza mu mawulire amalungi ge tubuulira. (Baf. 1:27) Tukiraga nti ‘tussaayo omwoyo ku kuyigiriza kwaffe’ bwe tweteekerateekera obulungi obuweereza bwaffe era ne tusaba Yakuwa atuyambe tusobole okutuukiriza obulungi obuweereza obwo.

3. Abantu bayinza kutwala batya obubaka obw’Obwakabaka bwe tubuulira? Waayo ekyokulabirako.

3 Kyokka oluusi ne bwe tukola kyonna kye tusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe, abantu abasinga obungi bayinza obutatuwuliriza oba tuyinza n’obutafuna muntu n’omu atuwuliriza. Lowooza ku w’Oluganda Georg Lindal, eyabuulira mu nsi ya Iceland ng’ali yekka okuva mu 1929 okutuuka mu 1947. Yagabira abantu ebitabo bingi nnyo, kyokka tewali n’omu yafuuka muweereza wa Yakuwa. Lindal yagamba nti: “Abamu bali ng’abawakanya amazima, naye abasinga obungi tebeefiirayo.” Abaminsani abaali bavudde mu ssomero lya Gireyaadi ne bwe baaweerezebwa mu nsi eyo, waayitawo emyaka emirala mwenda ne walyoka wabaayo abantu abamu mu Iceland abaakulaakulana ne beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa.b

4. Abantu bwe batawuliriza mawulire malungi kiyinza kutuleetera kuwulira tutya?

4 Kituyisa bubi abantu bwe baba nga tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe. Tuyinza okuwulira nga Pawulo eyawulira “ennaku nnyingi n’obulumi obutasalako” olw’okuba Abayudaaya okutwalira awamu, baagaana okukkiriza nti Yesu ye Masiya. (Bar. 9:1-3) Watya singa ofubye nga bw’osobola okuyigiriza omuntu Bayibuli, era ng’obadde omusabira nnyo kyokka nga takulaakulana era nga kikwetaagisa okulekera awo okumuyigiriza? Oba watya nga tolina muntu gwe wali oyigirizza Bayibuli n’atuuka okubatizibwa? Ekyo kyandikuleetedde okulumirizibwa omuntu ow’omunda, oboolyawo ng’olowooza nti Yakuwa takuwa mikisa mu buweereza bwo? Mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo bino bibiri: (1) Kiki ekiraga nti tutuukiriza bulungi omulimu gwaffe ogw’okubuulira? (2) Kiki kye tusaanidde okusuubira nga tubuulira?

KIKI EKIRAGA NTI TUTUUKIRIZA BULUNGI OMULIMU GW’OKUBUULIRA?

5. Lwaki oluusi ebyo ebiva mu ebyo bye tukola nga tuweereza Yakuwa tebiba nga bwe twandyagadde?

5 Bayibuli eyogera bw’eti ku muntu akola Katonda by’ayagala: “Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.” (Zab. 1:3) Kyokka ekyo tekitegeeza nti buli kintu kye tukola nga tuweereza Yakuwa, ebivaamu bijja kuba nga bwe twagala. Obulamu “bujjudde ebizibu” olw’obutali butuukirivu bwaffe n’obw’abalala. (Yob. 14:1) Ate oluusi abo abatuyigganya bayinza okutulemesa okubuulira kyere. (1 Kol. 16:9; 1 Bas. 2:18) Naye Yakuwa asinziira ku ki okukitwala nti tutuukirizza bulungi omulimu gwaffe? Waliwo emisingi gya Bayibuli ebiri egisobola okutuyamba okuddamu ekibuuzo ekyo.

Ebifaananyi: Ab’oluganda ne bannyinaffe nga babuulira. 1. Ow’oluganda ng’abuulira nnyumba ku nnyumba. 2. Mwannyinaffe ng’awandiika ebbaluwa. 3. Ow’oluganda abuulira ng’akozesa essimu.

Yakuwa asiima nnyo okufuba kwaffe ka kibe nti abantu tubabuulira butereevu, tubawandiikira mabaluwa, oba tubakubira ssimu (Laba akatundu 6)

6. Yakuwa asinziira ku ki okukitwala nti tutuukirizza bulungi obuweereza bwaffe?

6 Yakuwa atunuulira kufuba kwaffe n’obugumiikiriza bwaffe. Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tubuulira n’obunyiikivu olw’okuba tumwagala, abantu ka babe nga bawuliriza oba nga tebawuliriza. Pawulo yagamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu era nga mukyeyongera okuweereza.” (Beb. 6:10) Yakuwa ajjukira okufuba kwaffe n’okwagala kwe tulaga ka kibe nti tetufunye muntu gwe tuyigiriza Bayibuli n’abatizibwa. N’olwekyo, naawe okubuulirira kuno Pawulo kwe yawa Abakristaayo mu kibiina ky’Ekkolinso kukukwatako: “Okutegana kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe,” ka kibe nti okutegana okwo kuvuddemu ebyo bye wali osuubira oba nedda.​—1 Kol. 15:58.

7. Kiki kye tuyigira ku ekyo omutume Pawulo kye yayogera ku mulimu gwe yakola?

7 Omutume Pawulo yakola bulungi nnyo omulimu gwe ng’omuminsani, ne kiba nti yatandikawo ebibiina ebipya mu bibuga bingi. Kyokka abantu abamu bwe baakolokota Pawulo nga bagamba nti teyali muyigiriza mulungi, Pawulo teyayogera ku muwendo gw’abantu be yali ayambye okufuuka Abakristaayo. Mu kifo ky’ekyo, bwe yali alaga nti bye baali bamwogerako tebyali bituufu, Pawulo yagamba nti: “Omulimu ngukoze okubasinga.” (2 Kol. 11:23) Okufaananako Pawulo, kijjukire nti Yakuwa ky’asinga okutwala ng’ekikulu kwe kufuba kwo, n’obugumiikiriza bwo.

8. Kiki kye tusaanidde okujjukira ku mulimu gwe tukola?

8 Obuweereza bwaffe busanyusa Yakuwa. Yesu yatuma abayigirizwa 70 okugenda okubuulira obubaka bw’Obwakabaka, era bwe baamala okubuulira ‘baakomawo nga basanyufu.’ Kiki ekyabaleetera essanyu? Baagamba nti: “Ne dayimooni zituwulira bwe tukozesa erinnya lyo.” Kyokka Yesu yatereeza endowooza yaabwe n’abagamba nti: “Temusanyuka olw’okuba emyoyo emibi gibawulira, naye musanyuke olw’okuba amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.” (Luk. 10:17-20) Yesu yali akimanyi nti ebiseera ebimu ebintu tebyandibagendedde bulungi mu buweereza bwabwe. Mu butuufu tetumanyi bameka ku abo mu kusooka abaawuliriza abayigirizwa, abaafuuka abagoberezi ba Yesu. Abayigirizwa baalina okukimanya nti wadde nga ebyali biva mu buweereza bwabwe byali bibaleetera essanyu, okusingira ddala essanyu lyabwe lyali liva mu kuba nti Yakuwa yali asiima okufuba kwabwe.

9. Okusinziira ku Abaggalatiya 6:7-9, biki ebinaavaamu singa tweyongera okukola omulimu gw’okubuulira n’obugumiikiriza

9 Bwe tukola omulimu gw’okubuulira n’obugumiikiriza tujja kufuna obulamu obutaggwaawo. Bwe tunyiikira okusiga ensigo z’Obwakabaka era tuba ‘tusigira omwoyo,’ kwe kugamba, tuba tukkiriza omwoyo gwa Katonda okukolera mu bulamu bwaffe. Bwe ‘tutalekaayo’ kukola mulimu, oba bwe ‘tutakoowa,’ Yakuwa atusuubiza nti ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo, ka kibe nti tulina omuntu gwe tuyambye okufuuka omuweereza we oba nedda.​—Soma Abaggalatiya 6:7-9.

BIKI BYE TUSAANIDDE OKUSUUBIRA?

10. Lwaki abantu abamu be tubuulira batuwuliriza ate abalala ne batatuwuliriza?

10 Abantu okuwuliriza oba obutawuliriza bubaka bwaffe kisinziira ku mutima gwabwe. Ekyo Yesu yakiraga mu lugero olukwata ku musizi eyasiga ensigo mu bika by’ettaka eby’enjawulo, era ng’ekika kimu kyokka eky’ettaka kye kyavaamu ebibala. (Luk. 8:5-8) Yesu yagamba nti ebika by’ettaka eby’enjawulo bikiikirira emitima gy’abantu egitwala mu ngeri ey’enjawulo ‘ekigambo kya Katonda’ ekiba kigisigiddwaamu. (Luk. 8:11-15) Okufaananako omusizi, tetulina kya maanyi kye tuyinza kukola ku kukula kw’ensigo gye tuba tusize kubanga ekyo kisinziira ku mbeera y’emitima gy’abo be tuba tubuulira. Ffe obuvunaanyizibwa bwaffe bwa kweyongera kusiga nsigo z’Obwakabaka. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, “buli muntu ajja kufuna empeera ye okusinziira ku mulimu gwe” so si okusinziira ku ebyo ebiva mu mulimu gwe.​—1 Kol. 3:8.

Nuuwa n’ab’omu maka ge nga bayingira eryato n’ebisolo eby’enjawulo era n’emmere.

Nuuwa yabuulira okumala emyaka mingi, naye tewali n’omu eyakkiriza okuyingira naye mu lyato okuggyako ab’omu maka ge. Wadde kyali kityo, Nuuwa yagondera Yakuwa era n’akola omulimu ogwali gumuweereddwa! (Laba akatundu 11)

11. Lwaki Yakuwa yasanyukira omulimu Nuuwa gwe yakola ogw’okubuulira wadde ng’abantu tebaamuwuliriza? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

11 Abaweereza ba Yakuwa abaaliwo edda baabuuliranga abantu abaali batawuliriza. Ng’ekyokulabirako, Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu,’ era nga kirabika omulimu ogwo yagukola okumala emyaka mingi. (2 Peet. 2:5) Nuuwa ateekwa okuba nga yali asuubira nti wandibaddewo abantu abamuwuliriza, naye ekyo Yakuwa yali takyogeddeeko. Mu kifo ky’ekyo, bwe yali awa Nuuwa ebiragiro by’okuzimba eryato, yamugamba nti: “Ojja kuyingira mu lyato, ggwe ne batabani bo ne mukazi wo ne baka batabani bo.” (Lub. 6:18) Ate era Yakuwa bwe yabuulira Nuuwa ebipimo by’eryato, kyandibadde kiyamba Nuuwa okukitegeera nti abantu bangi tebandimuwulirizza. (Lub. 6:15) Era ddala tewali muntu n’omu mu nsi eyo eyali ejjudde ebikolwa eby’obukambwe, eyawuliriza Nuuwa. (Lub. 7:7) Yakuwa yakitwala nti Nuuwa yali alemereddwa okutuukiriza omulimu gwe? Nedda! Yakuwa yasiima Nuuwa kubanga Nuuwa yakola n’obwesigwa ebyo byonna Yakuwa bye yamugamba okukola.​—Lub. 6:22.

12. Nnabbi Yeremiya yafuna atya essanyu mu buweereza bwe wadde ng’abantu baali tebeefiirayo era nga bamuyigganya?

12 Ne nnabbi Yeremiya yamala emyaka egisukka mu 40 ng’abuulira abantu abaali bateefiirayo era abaamuyigganya. Yaggwaamu nnyo amaanyi olw’abantu ‘okumuvumanga n’okumusekereranga’ n’atuuka n’okwagala okulekera awo okukola omulimu ogwamuweebwa. (Yer. 20:8, 9) Naye Yeremiya teyalekera awo kukola mulimu ogwo! Kiki ekyamuyamba okuvvuunuka endowooza eyali emalamu amaanyi gye yalina, era n’okufuna essanyu mu buweereza bwe? Ebirowoozo bye yabissa ku bintu bibiri ebikulu. Ekisooka, obubaka Yeremiya bwe yali abuulira abantu bwali bukwata ku ‘biseera byabwe eby’omu maaso.’ (Yer. 29:11) Eky’okubiri, Yakuwa yawa Yeremiya enkizo ey’okuyitibwa erinnya lye, kwe kugamba, yamulonda okutuusa obubaka bwe eri abantu. (Yer. 15:16) Naffe tubuulira abantu obubaka obuwa essuubi mu nsi eno etaliimu ssuubi lyonna, era tuyitibwa erinnya lya Yakuwa olw’okuba tumuwaako obujulirwa. Bwe tussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebyo ebibiri ebikulu, tusobola okufuna essanyu ka kibe nti abantu bawuliriza oba nedda.

13. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yesu ekiri mu Makko 4:26-29?

13 Okukula mu by’omwoyo kubaawo mpolampola. Ekyo Yesu yakiraga mu kyokulabirako ekikwata ku musizi asiga ensigo n’agenda ne yeebaka. (Soma Makko 4:26-29.) Omusizi bw’amala okusiga, ebimera bikula mpolampola, era talina ky’ayinza kukolawo kwanguya kukula kwabyo. Naawe kiyinza okukutwalira ekiseera kiwanvu nga tonnalaba bibala biva mu mulimu gwo ogw’okufuula abantu abayigirizwa, kubanga abantu bakula mpolampola mu by’omwoyo. Ng’omulimi bw’atasobola kuleetera nsigo ze kukulira ku sipiidi gye yandyagadde, naffe tetusobola kuwaliriza bayizi baffe aba Bayibuli kukula mu by’omwoyo ku sipiidi gye twandyagadde. N’olwekyo toggwaamu maanyi singa abayizi bo batwala ekiseera kiwanvu okukula mu by’omwoyo. Okufaananako okulima, okufuula abantu abayigirizwa kyetaaga obugumiikiriza.​—Yak. 5:7, 8.

14. Kyakulabirako ki ekiraga nti ebibala ebiva mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira bijja mpolampola?

14 Mu bitundu ebimu, ababuulizi kibatwalira emyaka mingi nga tebalaba bibala biva mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Lowooza ku Gladys ne Ruby Allen, bannyinaffe abaasindikibwa okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo mu kibuga ky’omu Canada ekiyitibwa Quebec, mu 1959.c Abantu b’omu kitundu ekyo baali tebawuliriza bubaka bw’Obwakabaka olw’okutiisibwatiisibwa bannaabwe mu kitundu, n’abakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki. Gladys agamba nti: “Twabuuliranga nnyumba ku nnyumba okumala essaawa munaana buli lunaku, okumala emyaka ebiri, naye tetwafuna muntu n’omu atuwuliriza! Bwe twatuukanga ku nnyumba z’abantu, bajjanga buzzi ku mulyango ne bazzaawo entimbe. Naye tetwaggwaamu maanyi.” Oluvannyuma lw’ekiseera, abantu ab’omu kitundu ekyo baatandika okuwuliriza. Kati mu kibuga ekyo eriyo ebibiina bisatu.​—Is. 60:22.

15. Ebyo ebiri mu 1 Abakkolinso 3:6, 7 bituyigiriza ki ku mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa?

15 Omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa tugukolera wamu. Omuntu okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa, ayambibwa ekibiina kyonna. (Soma 1 Abakkolinso 3:6, 7.) Omubuulizi alekera omuntu tulakiti oba magazini. Omubuulizi oyo akiraba nti embeera temusobozesa kuddayo eri omuntu oyo, bwe kityo asaba omubuulizi omulala okuddayo eri omuntu oyo. Omubuulizi oyo atandika okuyigiriza omuntu oyo Bayibuli. Oluvannyuma, agamba ababuulizi abawerako okumuwerekerako ng’agenda okusomesa omuyizi we oyo, era buli omu ku babuulizi abo abaako engeri gy’azzaamu omuyizi amaanyi. Buli mubuulizi ayigiriza ku muyizi oyo, aba ayambyeko mu kufukirira ensigo ey’amazima. Mu ngeri eyo, nga Yesu bwe yagamba, omusizi n’omukunguzi, bonna basanyukira wamu mu makungula ag’eby’omwoyo.​—Yok. 4:35-38.

16. Lwaki osobola okufuna essanyu mu buweereza bwo ne bwe kiba nti tokyasobola kukola kinene olw’obulwadde oba olw’okuba tokyalina maanyi?

16 Watya singa tosobola kwenyigira nnyo mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza olw’obulwadde, oba olw’okuba tokyalina maanyi? Era osobola okufuna essanyu mu makungula. Lowooza ku Kabaka Dawudi bwe yagenda n’abasajja be okununula ab’omu maka gaabwe n’ebintu byabwe ku Bamaleki. Abasajja 200 ku balwanyi abaali ne Dawudi baali bakooye nnyo nga tebasobola kweyongerayo kulwana, ne basigala nga bakuuma emigugu. Dawudi n’abasajja be bwe baamala okuwangula olutalo olwo, Dawudi yalagira nti bonna bagabane ku munyago kyenkanyi. (1 Sam. 30:21-25) Bwe kityo bwe kiri ne ku mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa ogukolebwa mu nsi yonna. Buli afuba okukola omulimu ogwo n’obunyiikivu asanyuka nnyo buli lwe wabaawo omuntu ava mu nsi ya Sitaani n’atandika okutambulira mu kkubo erijja okumutuusa mu bulamu obutaggwaawo.

17. Lwaki tusaanidde okwebaza Yakuwa?

17 Twebaza nnyo Yakuwa olw’engeri gy’atwalamu omulimu gwe tukola nga tumuweereza. Akimanyi nti tetusobola kuwaliriza bantu kutandika kumuweereza. Wadde kiri kityo, alaba okufuba kwaffe n’ebiruubirirwa byaffe ebirungi era atuwa emikisa. Ate era atuyamba okumanya engeri gye tuyinza okufunamu essanyu mu ebyo bye tukola mu mulimu guno omukulu ogw’amakungula. (Yok. 14:12) Tusobola okuba abakakafu nti Katonda asanyuka nnyo bwe tutalekera awo kukola mulimu gwe yatuwa!

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Abantu bwe batawuliriza bubaka bwaffe kiyinza kutuleetera kuwulira tutya?

  • Kiki ekisinziirwako okugamba nti omulimu gwaffe tugukoze bulungi?

  • Lwaki ebirowoozo byaffe tetusaanidde kubissa ku muwendo gw’abantu be tuyambye okuyiga amazima?

OLUYIMBA 67 “Buulira Ekigambo”

a Abantu bwe bawuliriza amawulire amalungi ge tubabuulira kituleetera essanyu, kyokka bwe batawuliriza tuwulira bubi. Watya singa omuntu gw’oyigiriza Bayibuli takulaakulana? Oba watya singa toyigirizangako muntu n’atuuka ku ddaala ery’okubatizibwa? Ekyo kyandikuleetedde okuwulira nti olemereddwa okukola obulungi omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa? Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusobola okutuukiriza omulimu gwaffe, era ne tufuna essanyu abantu ka babe nga bawuliriza obanga tebawuliriza.

b Laba Yearbook eya 2005. lup. 205-211.

c Ebikwata ku Gladys Allen, bisangibwa mu kitundu “Nnali Sirina kye Nnyinza Kukyusa!,” ekiri mu Watchtower eya Ssebutemba 1, 2002.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share