LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 9/1 lup. 22-27
  • ‘Noonya Emirembe era Ogigoberere’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Noonya Emirembe era Ogigoberere’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘Okutabagana n’Abantu Bonna’
  • Okutabagana n’Abantu mu Buweereza
  • Okutabagana mu Maka
  • Okutabagana n’Abalala mu Kibiina
  • “Abalabirizi Bo Okuba Emirembe”
  • Emirembe—Oyinza Otya Okugifuna?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • ‘Mutabagane n’Abantu Bonna’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Fuba Okukuuma Emirembe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 9/1 lup. 22-27

‘Noonya Emirembe era Ogigoberere’

“Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n’abantu bonna.”​—ABARUUMI 12:18.

1, 2. Ezimu ku nsonga eziraga nti emirembe egireetebwa abantu si gya lubeerera ze ziruwa?

LOWOOZA ku nnyumba erina omusingi omunafu, empagi ezivuunze, n’akasolya akalagaya. Wandigiyingidde n’ogifuula amaka go? Oboolyawo nedda. N’okugissaako omukono gwa langi tekifuula nnyumba eyo nnywevu! Kulwaddaaki ennyumba eyo ejja kuggwa.

2 Emirembe gyonna egisibuka mu nsi eno gifaanana ng’ennyumba eyo. Gizimbiddwa ku musingi omunafu, nga bye bisuubizo n’enteekateeka z’abantu ‘abatayinza kuwa buyambi bwonna.’ (Zabbuli 146:3) Ebyafaayo bijjuddemu obukuubagano bw’amawanga era n’ebika. Kyo kituufu nti wabaddewo ebiseera ebimu bwe wabaddewo emirembe. Naye mirembe nnabaki? Singa amawanga abiri gaba galwanagana, kyokka ne galangirira emirembe olw’okuba eggwanga erimu liwanguddwa, oba olw’okuba amawanga gombi tegakyalaba muganyulo guli mu kulwanagana, egyo giba mirembe nnabaki? Obukyayi, obuteesigaŋŋana n’obuggya ebyaviirako olutalo biba bikyaliwo. Emirembe egyogerwako obwogezi, okufaananako langi ebikka ku biri munda, tegiba gya lubeerera.​—Ezeekyeri 13:10.

3. Lwaki emirembe gy’abantu ba Katonda gya njawulo ku egyo egireetebwa abantu?

3 Wadde kiri kityo, emirembe egya nnamaddala weegiri mu nsi eno etaaguddwataaguddwa entalo. Giri ludda wa? Mu Bakristaayo ab’amazima, abo abatambulira mu bigere bya Yesu Kristo, era abafaayo ku bigambo bye ne bafuba okumukoppa. (1 Abakkolinso 11:1; 1 Peetero 2:21) Emirembe egiriwo mu Bakristaayo ab’erangi, embeera n’ebika eby’enjawulo, gya nnamaddala olw’okuba gisibuka mu nkolagana ennungi gye balina ne Katonda, eyeesigamiziddwa ku kukkiriza kwe balina mu kinunulo kya Yesu Kristo. Emirembe gyabwe tegigujinddwawo bantu, wabula kirabo okuva eri Katonda. (Abaruumi 15:33; Abaefeso 6:23, 24) Givudde mu kugondera Yesu Kristo, ‘Omulangira w’Emirembe,’ era n’okusinza Yakuwa, “Katonda ow’okwagala n’emirembe.”​—Isaaya 9:6, NW; 2 Abakkolinso 13:11.

4. Omukristaayo ‘agoberera’ atya emirembe?

4 Abantu abatatuukiridde tebamala gafuna mirembe. N’olw’ensonga eyo, Peetero yagamba nti buli Mukristaayo “anoonyenga emirembe, agigobererenga.” (1 Peetero 3:11) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Obunnabbi obw’edda ennyo busonga ku ky’okuddamu. Ng’ayogera okuyitira mu Isaaya, Yakuwa yagamba: “N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.” (Isaaya 54:13; Abafiripi 4:9) Yee, abo abassaayo omwoyo ku kuyigiriza kwa Yakuwa be bafuna emirembe egya nnamaddala. Ate era, emirembe awamu “[n’]okwagala, okusanyuka, . . . okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza,” bibala by’omwoyo gwa Katonda. (Abaggalatiya 5:22, 23) Oyo atalina kwagala, ssanyu, okugumiikiriza, ekisa, okukkiriza oba okwefuga, tayinza kugifuna.

‘Okutabagana n’Abantu Bonna’

5, 6. (a) Okutabaganya kitegeeza ki mu Baibuli? (b) Abakristaayo bafuba kutabagana ne baani?

5 Emirembe ginnyonnyoddwa ng’embeera ennungi mu birowoozo oba okubeera omukkakkamu. Ennyinnyonnyola ng’eyo ezingiramu embeera nyingi omutali bunyoolagano. Olaba n’omuntu afudde ali mu mbeera bw’etyo! Kyokka, okufuna emirembe egya nnamaddala, kyetaagisa okutumbula emirembe. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba: “Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.” (Matayo 5:9) Yesu yali ayogera n’abo abandibadde n’essuubi ery’okubeera abaana ba Katonda ab’omwoyo era bafune n’obulamu obutakoma mu ggulu. (Yokaana 1:12; Abaruumi 8:14-17) Mu nkomerero, abantu bonna abeesigwa abatalina ssuubi lya kugenda mu ggulu, bajja kufuna “[e]ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.” (Abaruumi 8:21) Abo bokka abatabagana n’abalala be bayinza okuba n’essuubi bwe lityo. Waliwo enjawulo wakati w’okuba n’emirembe n’okutabaganya abalala. Mu Byawandiikibwa, okutabagana n’abalala kitegeeza okubaako ky’okolawo okusobola okuleetawo emirembe, ng’emirundi egimu gireetebwa we gitaali okusooka.

6 Ng’olina ekyo mu birowoozo, weekenneenye okubuulirira omutume Pawulo kwe yawa Abaruumi: “Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n’abantu bonna.” (Abaruumi 12:18) Omutume Pawulo yali tagamba Baruumi kubeera bubeezi bakkakkamu, wadde ng’ekyo kyandiyambye. Yali abakubiriza okukola emirembe. Okugikola ne baani? “N’abantu bonna,” gamba ab’omu maka, Bakristaayo bannaabwe, era n’abo bwe bataali bumu mu nzikiriza. Yakubiriza Abaruumi okukola emirembe n’abalala ‘nga bwe kyali kiyinzika gye bali.’ Yali tabeetaaza kwekkiriranya mu nzikiriza zaabwe okusobola okuleetawo emirembe. Mu kifo ky’okuwakana n’abalala mu ngeri eteetaagisa, baali ba kubatuukirira nga balina ekigendererwa eky’emirembe. Abakristaayo baalina okukola bwe batyo ka kibe nti baali bakolagana n’abali mu kibiina oba n’abali ebweru waakyo. (Abaggalatiya 6:10) Nga kituukagana n’ekyo, Pawulo yawandiika: “Mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n’eri bonna.”​—1 Abasessaloniika 5:15.

7, 8. Mu ngeri ki Abakristaayo gye batabagana n’abo abalina enzikiriza ezaawukana ku zaabwe, era lwaki?

7 Tusobola tutya okutabagana n’abo bwe tutafaananya nzikiriza era abayinza n’okuba nga baziwakanya? Engeri emu, tusaanidde obuteetwala nti tumanyi okubasinga. Ng’ekyokulabirako, tetuyinza kutabagana nabo singa twogera ku bamu mu ngeri ebafeebya. Yakuwa ategeezezza omusango gwe ogukwata ku bibiina by’abantu, naye ffe tetulina bbeetu kuvumirira bantu kinnoomu nga gy’obeera baasalirwa dda omusango. Mazima ddala, tetusalira balala musango, wadde abo abatuziyiza. Oluvannyuma lw’okugamba Tito awabule Abakristaayo mu Kuleete ku ngeri y’okukolaganamu n’abali mu buyinza, Pawulo yamugamba okubajjukiza “obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna.”​—Tito 3:1, 2.

8 Okutabagana n’abo abalina enzikiriza ezaawukana ku zaffe kiyamba nnyo mu kubasikiriza eri amazima. Kya lwatu, tetufuna mikwano “[e] gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33) Wadde kiri kityo, tusaanidde okwoleka empisa ennungi, n’okulaga buli muntu ekitiibwa n’ekisa. Peetero yawandiika: “Nga mulina empisa zammwe mu b’amawanga ennungi, nga bwe baboogerako ng’abakola obubi, olw’ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw’okulabirwamu.”​—1 Peetero 2:12.

Okutabagana n’Abantu mu Buweereza

9, 10. Kyakulabirako ki Pawulo kye yateekawo mu kutabagana n’abatali bakkiriza?

9 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baamanyibwa olw’obuvumu bwabwe. Tebaabikkirira ku bubaka bwabwe, era bwe baayolekagana n’okuziyizibwa, baali bamalirivu okugondera Katonda mu kifo ky’abantu. (Ebikolwa 4:29; 5:29) Wadde kyali kityo, Abakristaayo abo baayoleka buvumu so si bukambwe. Weekenneenye Pawulo bye yayogera ng’alwanirira okukkiriza kwe mu maaso ga Kabaka Kerode Agulipa II. Kerode Agulipa, yeetaba ne mwannyina omuto, Berenike. Kyokka, Pawulo teyalina kigendererwa kya kubuulira Agulipa bikwata ku mpisa nnungi. Mu kifo ky’ekyo, yaggumiza ensonga ze baali bakkiriziganyaako, n’ayogera ku Agulipa ng’omukugu mu bulombolombo bw’Abayudaaya era akkiririza mu bannabbi.​—Ebikolwa 26:2, 3, 27.

10 Pawulo yali awaanawaana omusajja eyali asobola okumusumulula? Nedda. Pawulo yakozesa magezi ge era n’ayogera amazima. Tewali kye yayogera ku Kerode Agulipa ekitaali kituufu. (Abaefeso 4:15) Naye, Pawulo yali mutabaganya era yali amanyi engeri ‘y’okufuuka byonna eri abantu bonna.’ (1 Abakkolinso 9:22) Ekiruubirirwa kye kyali okulwanirira eddembe lye yalina okubuulira ebikwata ku Yesu. Ng’omuyigiriza omulungi, yatandika ng’ayogera ku bintu ye ne Agulipa bye baali bayinza okukkiriziganyaako. Bwe kityo, Pawulo yayamba kabaka oyo omukaba okutunuulira Obukristaayo mu ngeri ensigawo obulungi.​—Ebikolwa 26:28-31.

11. Tuyinza tutya okutabagana n’abantu mu buweereza bwaffe?

11 Tuyinza tutya okutabagana n’abantu mu buweereza bwaffe? Okufaananako Pawulo, tusaanidde okwewala okuwakana. Weewaawo, emirundi egimu tulina ‘okubuulira ekigambo kya Katonda nga tetutya,’ n’obuvumu ne tulwanirira okukkiriza kwaffe. (Abafiripi 1:14) Naye, mu mbeera ezisinga obungi, ekigendererwa kyaffe ekikulu kwe kubuulira amawulire amalungi. (Matayo 24:14) Singa omuntu ategeera amazima agakwata ku kigendererwa kya Katonda, awo aba asobola okutandika okwettakuluzaako enjigiriza z’eddiini ez’obulimba era n’aleka ebikolwa ebibi. Bwe kityo, kiba kirungi okuggumiza ebintu ebinaasikiriza abatuwuliriza, nga tutandikira ku bintu bye tukkiriziganyaako, nga bwe kiba kisoboka. N’olwekyo, tetwandisobodde kutuuka ku kiruubirirwa kyaffe singa tunyiiza omuntu, oboolyawo eyandiwulirizza obubaka bwaffe, singa tuba tumutuukiridde mu ngeri ey’amagezi.​—2 Abakkolinso 6:3.

Okutabagana mu Maka

12. Mu ngeri ki gye tuyinza okutabagana n’abalala mu maka?

12 Pawulo yagamba nti abo abawasa “banaabeeranga n’okubonaabona mu mubiri.” (1 Abakkolinso 7:28) Bajja kusanga ebizibu ebitali bimu. Ekimu ku byo, obw’olumu abafumbo abamu bajja kufuna obutakkaanya. Ebizibu ebyo byandikoleddwako bitya? Mu ngeri ey’okutabagana. Omuntu akola emirembe ajja kufuba okulaba nti ekizibu tekyeyongera. Atya? Okusooka ng’afuga olulimi lwe. Olulimi bwe lukozesebwa okuvuma n’okwogera ebinyiiza, luyinza okuba ‘obubi obutaziyizika, omujjudde obusagwa obutta.’ (Yakobo 3:8) Omutabaganya akozesa olulimi lwe okuzimba abalala so si okubamalamu amaanyi.​—Engero 12:18.

13, 14. Tuyinza tutya okukuuma emirembe nga tusobezza mu kwogera, oba singa wabaawo obutakkaanya?

13 Olw’okuba ffenna tetutuukiridde, emirundi egimu twogera ebintu bye twejjusa oluvannyuma. Ekyo bwe kibaawo, yanguwa okukola emirembe. (Engero 19:11; Abakkolosaayi 3:13) Weewale okwenyigira mu ‘mpaka ez’ebigambo,’ ‘n’okukaayanira ebintu ebitaliimu makulu,’ kubanga temuvaamu kalungi konna. (1 Timoseewo 6:4, 5) Mu kifo ky’ekyo, gezaako okutegeera enneewulira ya muno mu bufumbo. Singa munno ayogera naawe mu ngeri ey’obukambwe, ggwe tomuddamu mu ngeri y’emu. Jjukira nti “okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi: naye ekigambo eky’ekkayu kisaanuula obusungu.”​—Engero 15:1.

14 Emirundi egimu, oyinza okwetaaga okulowooza ku kubuulirira okuli mu Engero 17:14: “Olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba.” Lowooza ku mbeera eyo mu ngeri ey’obwesimbu. Oluvannyuma lw’ekiseera nga mukkakkanye, oboolyawo mujja kusobola okugonjoola ekizibu mu mirembe. Mu mbeera ezimu, kiyinza okuba eky’amagezi okuyita omukadde Omukristaayo abawe obuyambi. Abasajja abo abalina obumanyirivu era abafaayo bayinza okukuzzaamu endasi singa emirembe mu bufumbo gitabanguka.​—Isaaya 32:1, 2.

Okutabagana n’Abalala mu Kibiina

15. Okusinziira ku Yakobo, mwoyo ki ogweyoleka mu Bakristaayo abamu, era lwaki omwoyo ogwo gwa ‘nsi’ era gwa ‘Setaani’?

15 Eky’ennaku, Abakristaayo abamu mu kyasa ekyasooka baalina obuggya era baayombanga, ekintu ekyawukanira ddala ku mirembe. Yakobo yagamba: “Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani. Kubanga awaba obuggya n’okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi.” (Yakobo 3:14-16) Abamu bakkiriza nti ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusiddwa ‘okuyomba,’ kikwata ku mwoyo gw’okwerowoozaako, okukola kyonna kyonna okusobola okusinga munno. N’olwekyo, Yakobo aguyita ‘gwa mu nsi, gwa Setaani.’ Mu byafaayo by’abantu bonna, abafuzi b’ensi babadde n’obunyoolagano okufaananako ebisolo by’omu nsiko. Mazima ddala, okunyoolagana kusibuka mu ‘nsi,’ era kwa “Setaani.” Engeri eno ey’akabi yasooka kweyolekera mu malayika eyeegomba ennyo okufuna obuyinza n’awakanya Yakuwa Katonda era bw’atyo n’afuuka Setaani, omufuzi wa balubaale.

16. Abakristaayo abamu mu kyasa ekyasooka baayoleka batya omwoyo ng’ogwa Setaani?

16 Yakobo yakubiriza Abakristaayo okwewala obunyoolagano, kubanga bumalawo emirembe. Yawandiika: “Entalo ziva wa n’okulwana kuva wa mu mmwe? Si muno, mu kwegomba kwammwe okulwana mu bitundu byammwe?” (Yakobo 4:1) Wano, ‘okwegomba’ kuyinza okutegeeza omulugube gw’ebintu, ettuttumu, oba obuyinza. Okufaananako Setaani, abamu mu bibiina kirabika nga baali baagala okuba aba waggulu mu kifo ky’okubeera ‘abato’ nga Yesu bwe yali ayagala abagoberezi be ab’amazima babeere. (Lukka 9:48) Omwoyo bwe gutyo guyinza okumalawo emirembe mu kibiina.

17. Leero, Abakristaayo bayinza batya okutabagana n’abalala mu kibiina?

17 Leero, naffe tuteekwa okwewala okuluubirira eby’obugagga, obuggya oba ettuttumu. Bwe tufuba okutabagana n’abalala mu bwesimbu, tetujja kukwatibwa buggya singa abamu mu kibiina balina obumanyirivu mu bintu ebimu okutusinga. Era tetujja kubaswaza mu maaso g’abalala nga tubuusabuusa ebigendererwa byabwe. Bwe tuba nga tulina obusobozi obw’enjawulo, tetujja kubukozesa okwetwala okuba abasinga abalala nga gy’obeera ekibiina kijja kukulaakulana olw’obusobozi bwaffe bwokka. Endowooza ng’eyo ereetawo njawukana so si mirembe. Abatabagana n’abalala tebeenyumiririza mu bitone byabwe, wabula n’obuwombeefu babikozesa okuweereza baganda baabwe n’okuleetera Yakuwa ettendo. Bakitegeera nti mu nkomerero okwagala, so si busobozi, kye kyawulawo Omukristaayo ow’amazima.​—Yokaana 13:35; 1 Abakkolinso 13:1-3.

“Abalabirizi Bo Okuba Emirembe”

18. Abakadde basobozesa batya okuba n’emirembe bokka na bokka?

18 Abakadde b’ekibiina batwala obukulembeze mu kutabagana n’abalala. Yakuwa yalangirira ebikwata ku bantu be: “Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma: era ndifuula abaami bo okuba emirembe n’abakusolooza okuba obutuukirivu.” (Isaaya 60:17) Nga kituukagana n’ebigambo ebyo eby’obunnabbi, abo abaweereza ng’abasumba Abakristaayo bafuba nnyo okuleetawo emirembe mu bo bennyini era ne mu kisibo. Abakadde bayinza okuba mu mirembe bokka na bokka nga booleka “amagezi agava waggulu.” (Yakobo 3:17) Olw’ebyo bye bayiseemu mu bulamu, oluusi abakadde b’omu kibiina bajja kuba n’endowooza ezaawukana. Ekyo kitegeeza nti tebalina mirembe? Nedda. Baba nagyo singa bagonjoola ensonga eyo obulungi. Abatabagana n’abalala banjula endowooza zaabwe n’obuwombeefu, ate ne bawuliriza ez’abalala. Mu kifo ky’okugugubira ku ndowooza ye, atabagana n’abalala ajja kulowooza ku nsonga ya muganda we mu kusaba. Singa waba tewali musingi gwa Baibuli gumenyeddwa, endowooza ezaawukana ziba zisobola okubaawo. Singa abalala tebakkiriziganya naye, ayagala okutabagana n’abalala tajja kuguguba era ajja kuwagira okusalawo kw’abangi. Bwe kityo nno, ajja kulaga nti si muntu omukakanyavu. (1 Timoseewo 3:2, 3) Abalabirizi abalina obumanyirivu bakimanyi nti okukuuma emirembe kye kikulu okusinga okukulembeza endowooza yaabwe.

19. Mu ngeri ki abakadde gye batabaganamu n’abalala mu kibiina?

19 Abakadde baleetawo emirembe mu Bakristaayo nga babawagira era nga tebavumirira kufuba kwabwe mu ngeri eteetaagisa. Kituufu nti emirundi egimu abamu bayinza okwetaaga okutereezebwa. (Abaggalatiya 6:1) Naye, omulimu gw’omulabirizi Omukristaayo omukulu si kukangavvula. Emirundi egisinga asiima abalala. Abakadde abalina okwagala bafuba okulaba ebirungi abalala bye bakola. Abalabirizi basiima emirimu gya Bakristaayo bannaabwe, era bakakafu nti bakkiriza bannaabwe bakola ekisingayo obulungi.​—2 Abakkolinso 2:3, 4.

20. Ekibiina kiganyulwa kitya singa bonna bafuba okutabagana n’abalala?

20 N’olwekyo, mu maka, mu kibiina, era ne mu kukolagana n’abo bwe tutafaananya nzikiriza, tufuba okutabagana, okukolerera emirembe. Bwe tufuba okuleetawo emirembe, tujja kwongera ku ssanyu ly’ekibiina. Mu kiseera kye kimu, tujja kukuumibwa era tuzzibwemu amaanyi mu ngeri nnyingi nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako.

Ojjukira?

• Kitegeeza ki okutabagana n’abalala?

• Tuyinza tutya okutabagana n’abatali Bajulirwa?

• Engeri ezimu eziyamba okuleetawo emirembe mu maka ze ziruwa?

• Abakadde bayinza batya okuleetawo emirembe mu kibiina?

[Akasanduuko akali ku lupapula 25]

Twali Misege Kaakano Tuli Ndiga!

Bwe twali abawala abato, nze ne Sakina twali ba muliraano. Sakina yali munene ng’ate muggumivu, kyokka nze, nnali mutono ddala. Emirundi mingi twateranga okuyomba, naye lumu twalwanira ddala nnyo. Okuva ku olwo, buli omu teyaddamu kwogera na munne wadde okumubuuza. Ekiseera kyatuuka ffembi ne tuva mu kitundu ekyo era buli omu teyamanya munne gye yalaga.

Mu 1994, nnatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era mpolampola empisa zange ne zikyuka. Nga wayiseewo emyaka ena, bwe nnali mu lukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu mu Bujumbura, e Burundi, nnawuniikirira nnyo bwe nnasisinkana Sakina. Nnasanyuka olw’okuba yaliwo mu lukuŋŋaana olwo, naye okulamusagana kwaffe tekwali kwa bbugumu. Nneewuunya okumulaba ng’ali mu abo abaali bagenda okubatizibwa ku olwo! Naye kennyini yali akyuse nnyo. Yali takyali muntu oli omukambwe gwe nnateranga okuyomba naye. Nga kyali kisanyusa nnyo okumulaba ng’ayoleka mu lujjudde okwewaayo kwe eri Katonda ng’abatizibwa!

Bwe yava mu mazzi, nnayanguwa mangu okumugwa mu kifuba era ne mukuba akaama: “Ojjukira bwe twalwanaanga?” N’agamba nti “Yee, nzijukira, naye ebyo byayita. Kati ndi muntu muggya.”

Ffembi tuli basanyufu olw’okuzuula amazima ga Baibuli, agagatta abantu awamu era n’okukyusa empisa zaffe ezaali ng’ez’emisege, ne tufuuka ng’endiga z’Omusumba ow’Ekitalo, Yakuwa Katonda. Mazima ddala, amazima ga Baibuli gakyusa obulamu bw’abantu.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Abatabagana n’abalala tebeetwala nti bamanyi okubasinga

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]

Abakristaayo batabagana n’abalala mu buweereza, mu maka, ne mu kibiina

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share