‘Mutabagane n’Abantu Bonna’
“Mukolenga kyonna kye musobola okutabagana n’abantu bonna.”—BAR. 12:18.
1, 2. (a) Yesu yalabula atya abagoberezi be? (b) Tuyinza kuggya wa amagazi agatuyamba nga twolekaganye n’okuyigganyizibwa?
YESU yalabula abagoberezi be nti bandiyigganyiziddwa abantu b’ensi eno, era mu kiro kye ekyasembayo yannyonnyola lwaki kyandibadde kityo. Yagamba abatume be nti: “Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo. Naye olw’okuba nnabalonda okuva mu nsi, temuli ba nsi, era olw’ensonga eyo ensi ky’eva ebakyawa.”—Yok. 15:19.
2 Ebyatuuka ku mutume Pawulo byamulaga nti ebigambo bya Yesu ebyo byali bituufu. Mu bbaluwa ey’okubiri gye yawandiikira Timoseewo, Pawulo yagamba nti: “Ggwe ogoberedde butiribiri okuyigiriza kwange, empisa zange, ekigendererwa kyange, okukkiriza kwange, obugumiikiriza bwange, okwagala kwange, okugumiikiriza kwange. Ate era omanyi okubonaabona kwe nnayitamu.” Yagattako nti: “Mu butuufu, abo bonna abaagala okubeera mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda mu Kristo Yesu bajja kuyigganyizibwanga.” (2 Tim. 3:10-12) Mu ssuula 12 ey’ebbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo b’omu Rooma, Pawulo yababuulira kye bandikoze nga boolekaganye n’okuziyizibwa. Amagezi ge yawa naffe gatuyamba nnyo mu kiseera kino eky’enkomerero.
‘Mukole Ebirungi’
3, 4. Tuyinza tutya okukolera ku magezi agali mu Abaruumi 12:17 (a) mu maka ng’abamu si baweereza ba Yakuwa? (b) mu nkolagana yaffe n’abalala?
3 Soma Abaruumi 12:17. Pawulo yagamba nti tetusaanidde kwesasuza nga tuyigganyizibwa. Kikulu nnyo okukolera ku magezi gano mu maka naddala ng’abamu si baweereza ba Yakuwa. Omukristaayo tasaanidde kwesasuza ne bwe bamugamba oba ne bwe bamukola ebimunyiiza. Tewali kalungi konna kava mu ‘kukola muntu kibi olw’okuba atukoze ekibi.’ Mu butuufu okwesasuza kyonoona bwonoonyi mbeera.
4 Pawulo awa amagezi gano amalungi: “Mufube okukola ebintu ebirungi mu maaso g’abantu bonna.” Mu maka, omukyala bw’asigala nga mukkakkamu nga bba ayogedde bubi ku nzikiriza ye, kiyinza okuyamba okwewala okuyomba. (Nge. 31:12) Carlos, nga kati aweereza ku Beseri, agamba nti taata yalekera awo okuyigganya maama olw’okuba maama yamulaganga ekisa era ng’alabirira bulungi awaka. “Maama yatukubirizanga ffenna abaana okuwa taata ekitiibwa. Yaŋŋambanga okuzannya ne taata omuzannyo gw’Abafalansa oguyitibwa boules, wadde nga gwali tegunnyumira. Kyokka okuzannya naye kyamuleeteranga okuba omusanyufu.” Oluvannyuma yatandika okuyiga Baibuli era n’abatizibwa. Abajulirwa ba Yakuwa bakola “ebintu ebirungi mu maaso g’abantu bonna” nga bayamba balirwana baabwe nga waguddewo akatyabaga, era ekyo oluusi kiyamba okukyusa endowooza enkyamu abantu ze babalinako.
Okusaanuusa Okuyigganyizibwa ‘n’Amanda Agaaka’
5, 6. (a) Okutuuma “amanda agaaka” ku mutwe gw’omulabe kitegeeza ki? (b) Waayo ekyokulabirako okuva mu kitundu kyo ekiraga nti okukolera ku kubuulirira okuli mu Abaruumi 12:20 kivaamu ebirungi.
5 Soma Abaruumi 12:20. Mu kuwandiika olunyiriri luno, Pawulo ateekwa okuba nga yali alowooza ku bigambo bino ebiri mu Engero 25:21, 22: “Omulabe wo bw’alumwanga enjala, omuwanga emmere ey’okulya; era bw’alumwanga ennyonta, omuwanga amazzi okunywa: Kubanga olikuma amanda ag’omuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera.” Okusinziira ku kubuulirira kwe okuli mu Abaruumi essuula 12, Pawulo tayinza kuba nga yali ategeeza nti amanda ago ag’akabonero gakozesebwa kubonereza oba kuswaza balabe baffe. Mu kifo ky’ekyo, kirabika ebiri mu lugero olwo, awamu n’ebyo ebibifaananako Pawulo bye yayogera mu Abaruumi, byogera ku ngeri ebyuma gye byasaanuusibwangamu mu biseera by’edda. Charles Bridges, omwekenneenya wa Baibuli Omungereza ow’omu kyasa 19, yagamba nti: “Ekyuma ekigumu kyokye wansi ne waggulu; tokoma ku kukiteeka ku muliro, naye kituumeko n’amanda agaaka. Abantu batono nnyo abayinza okusigala nga balina emitima emikakanyavu nga balagiddwa okwagala okwa namaddala.”
6 Okufaananako “amanda agaaka,” ebikolwa eby’ekisa bisobola okugonza emitima gy’abalabe baffe oboolyawo ne balekera awo okutuyigganya. Bwe tukolera abantu ebikolwa eby’ekisa kiyinza okubaleetera okukyusa endowooza gye balina ku bantu ba Yakuwa n’obubaka bwa Baibuli bwe babuulira. Omutume Peetero yawandiika nti: “Mubeerenga n’empisa ennungi mu b’amawanga, kibe nti, mu kintu kyonna kye baboogerako ng’abakozi b’obubi, bwe balaba ebikolwa byammwe ebirungi bagulumize Katonda ku lunaku olw’okukeberebwako.”—1 Peet. 2:12.
‘Mutabagane n’Abantu Bonna’
7. Emirembe Kristo gy’alekera abayigirizwa be gye giruwa, era gituleetera kukola ki?
7 Soma Abaruumi 12:18. Mu kiro kye ekyasembayo ku nsi Yesu yagamba abatume be nti: “Mbalekera emirembe, mbawa emirembe gyange.” (Yok. 14:27) Emirembe Kristo gy’alekera abayigirizwa be ye nneewulira ennungi gye baba nayo bwe bakimanya nti baagalibwa era nti basiimibwa Yakuwa n’Omwana we omwagalwa. Emirembe gino gye tuba nagyo mu mutima gituleetera okuba ab’emirembe mu nkolagana yaffe n’abalala. Abakristaayo ab’amazima baagala emirembe era bafuba okugireetawo.—Mat. 5:9.
8. Tuyinza tutya okuleetawo emirembe mu maka ne mu kibiina?
8 Engeri emu gye tusobola okuleetawo emirembe mu maka kwe kufuba okugonjoola amangu obutakkaanya mu kifo ky’okuleka embeera okwonooneka. (Nge. 15:18; Bef. 4:26) Bwe kityo bwe kirina okuba ne mu kibiina Ekikristaayo. Omutume Peetero akwataganya okuleetawo emirembe n’okufuga olulimi. (1 Peet. 3:10, 11) Oluvannyuma lw’okuwa amagezi ku nkozesa y’olulimi, ne ku ngeri y’okwewalamu obuggya n’okuyomba, Yakobo naye yawandiika nti: “Amagezi agava waggulu, okusooka malongoofu, ate ga mirembe, si makakanyavu, mawulize, gajjudde obusaasizi n’ebibala ebirungi, tegasosola era tegaliimu bunnanfuusi. Ate era, ekibala eky’obutuukirivu, ensigo yaakyo esigibwa mu mbeera ez’emirembe ku lw’abo abaleeta emirembe.”—Yak. 3:17, 18.
9. Wadde nga tulina okufuba “okutabagana n’abantu bonna,” kiki kye tusaanidde okujjukira?
9 Pawulo bye yayogera mu Abaruumi 12:18 biraga nti tetulina kukoma ku kuleetawo mirembe mu maka na mu kibiina mwokka. Agamba nti tusaanidde ‘okutabagana n’abantu bonna.’ Kino kizingiramu baliraanwa baffe, bakozi bannaffe, bayizi bannaffe, n’abantu be tusanga mu buweereza bw’ennimiro. Kyokka ng’awa amagezi ago omutume oyo yayongerako nti: “Mukolenga kyonna kye musobola.” Ekyo kitegeeza nti tulina okufuba “okutabagana n’abantu bonna” kasita tuba nga tetumenye misingi gya Katonda.
Okuwoolera Eggwanga kwa Yakuwa
10, 11. Tuyinza tutya ‘okuwa obusungu bwa Katonda omwagaanya,’ era lwaki tusaanidde okukikola?
10 Soma Abaruumi 12:19. “Abajeemu,” oba abo abawakanya omulimu gwaffe n’obubaka bwaffe, bwe batuyisa obubi tujja kufuba ‘okwefuga n’okusigala nga tuli bateefu.’ (2 Tim. 2:23-25) Pawulo akubiriza Abakristaayo ‘bawe obusungu bwa Katonda omwagaanya’ mu kifo ky’okuwoolera eggwanga. Yee, ng’Abakristaayo, tukimanyi nti si buvunaanyizibwa bwaffe okuwoolera eggwanga. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika nti: “Lekanga obusungu, ovenga mu kiruyi: Teweeraliikiriranga; okwagala obwagazi okuleeta obubi.” (Zab. 37:8) Ne Sulemaani yagamba nti: “Toyogeranga nti Ndisasula obubi: Lindiriranga Mukama naye anaakuwonyanga.”—Nge. 20:22.
11 Abalabe baffe bwe batukolako akabi, kiba kya magezi ensonga okuzirekera Yakuwa n’azikwata nga bw’aba alabye. Pawulo era yagattako nti: “Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Yakuwa.” (Geraageranya Ekyamateeka 32:35.) Bwe tuwoolera eggwanga tuba twetuliinkirizza okukola ekyo Yakuwa yekka ky’alina obuyinza okukola. Era okuwoolera eggwanga kiraga nti tetukkiririza mu ekyo Yakuwa kye yasuubiza nti: “Nze ndisasula.”
12. Obusungu bwa Yakuwa bujja kweyoleka ddi, era mu ngeri ki?
12 Emabegako mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yagamba nti: “Obusungu bwa Katonda okuva mu ggulu bwolekezebwa eri abo abatatya Katonda era abatali batuukirivu, abaziyiza amazima nga bakozesa enkola ezitali za butuukirivu.” (Bar. 1:18) Mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene,’ Yakuwa ajja kwoleka obusungu bwe okuva mu ggulu ng’ayitira mu Mwana we. (Kub. 7:14) Obwo bujja kuba “bukakafu obulaga nti Katonda asala omusango mu butuukirivu,” nga Pawulo bw’annyonnyola mu bbaluwa ye endala nti: “Mazima ddala kya butuukirivu Katonda okubonereza abo abababonyaabonya, naye mmwe ababonaabona mujja kufuna obuweerero awamu naffe mu kubikkulwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu ng’ali wamu ne bamalayika be ab’amaanyi, mu muliro ogwaka, ng’awoolera eggwanga abo abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera mawulire malungi agakwata ku Mukama waffe Yesu.”—2 Bas. 1:5-8.
Okuwangula Obubi ng’Okola Ebirungi
13, 14. (a) Lwaki tekitwewuunyisa bwe tuyigganyizibwa? (b) Tusaanidde kuyisa tutya abo abatuyigganya?
13 Soma Abaruumi 12:14, 21. Nga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebigendererwa bye, ka tufube okwemalira ku mulimu gwe yatuwa ogw’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka mu nsi yonna etuuliddwamu.’ (Mat. 24:14) Tumanyi nti omulimu guno gunyiiza nnyo abalabe baffe era Yesu yagamba nti: “Mulikyayibwa amawanga gonna ku lw’erinnya lyange.” (Mat. 24:9) N’olwekyo, bwe twolekagana n’okuyigganyizibwa tekitwewuunyisa era tekitumalaamu maanyi. Omutume Peetero yawandiika nti: “Abaagalwa, temwewuunya olw’okugezesebwa okulinga omuliro okubatuukako, nga gy’obeera nti waliwo ekintu ekitali kya bulijjo ekibatuuseeko. Wabula musanyukenga olw’okugabana ku kubonaabona kwa Kristo.”—1 Peet. 4:12, 13.
14 Mu kifo ky’okunyiigira abatuyigganya, tufuba okubayigiriza, olw’okuba abamu bakikola mu butamanya. (2 Kol. 4:4) Tufuba okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo kuno: “Musabirenga emikisa abo ababayigganya; musabirenga abalala emikisa era temukolimanga.” (Bar. 12:14) Mu kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe, okukolera ebirungi abo ababakyawa, okuwa omukisa abo ababakolimira n’okusabira abo ababavuma.” (Luk. 6:27, 28) Olw’ekyo ekyali kibaddewo mu bulamu bwe, omutume Pawulo yali akimanyi bulungi nti omuntu ayigganya Abakristaayo asobola okufuuka omuyigirizwa wa Kristo era omuweereza wa Yakuwa omunyiikivu. (Bag. 1:13-16, 23) Mu bbaluwa ye endala, Pawulo yagamba nti: “Bwe batuvuma, ffe tubaagaliza mikisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza; bwe twogerwako obubi, ffe twogera na kisa.”—1 Kol. 4:12, 13.
15. Engeri esingayo obulungi ey’okuwangula obubi nga tukola ebirungi y’eruwa?
15 Bwe kityo Omukristaayo alina okukolera ku bigambo bino ebiri mu lunyiriri olusembayo mu Abaruumi essuula 12: “Tokkirizanga kuwangulwa bubi, naye wangulanga obubi ng’okola ebirungi.” Sitaani y’asibukako obubi bwonna. (Yok. 8:44; 1 Yok. 5:19) Mu kubikkulirwa okwaweebwa Yokaana, Yesu yagamba nti baganda be abaafukibwako amafuta ‘bandiwangudde Sitaani olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga n’olw’obubaka bwe bandirangiridde.’ (Kub. 12:11) Kino kiraga nti okwenyigira mu mulimu gw’okuwa obujulirwa, okubuulira amawulire g’Obwakabaka ye ngeri esingayo obulungi ey’okuwangula Sitaani n’okwewala okutwalirizibwa ensi eno eri wansi w’obuyinza bwe.
Musanyukirenga mu Kusuubira
16, 17. Biki bye tuyize mu Abaruumi essuula 12 (a) ku ngeri gye tusaanidde okukozesaamu obulamu bwaffe? (b) ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu mu kibiina? (c) ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu abalabe baffe?
16 Okwekenneenya essuula 12 ey’ebbaluwa ya Pawulo eri Abakristaayo b’e Rooma kitujjukizza ebintu bingi. Tuyize nti ng’abaweereza ba Yakuwa, tusaanidde okuba abeetegefu okwefiiriza. Nga tukubirizibwa omwoyo gwa Katonda, tuwaayo ssaddaaka eri Katonda nga tukitegedde bulungi nti ekyo ky’ayagala tukole. Twaka n’omwoyo era tukozesa ebirabo byaffe ebitali bimu n’obunyiikivu. Tuweereza n’obwetoowaze era n’obuwombeefu, nga tukola buli kye tusobola okukuuma obumu bwaffe obw’Ekikristaayo. Tufuba okusembeza abagenyi era n’okufaayo ku abalala.
17 Ebiri mu Abaruumi essuula 12 era bituyamba okumanya kye tulina okukola nga tuyigganyizibwa. Tetusaanidde kuwoolera ggwanga. Tusaanidde okufuba okuvvuunuka okuyigganyizibwa nga tukola ebikolwa ebirungi. Tulina okukola buli kye tusobola okutabagana n’abantu bonna, kasita tuba nga tetumenya misingi gya Baibuli. Kino tulina okukikola mu maka, mu kibiina, nga tuli ne baliraanwa baffe, bakozi bannaffe, bayizi bannaffe, n’abantu be tusanga mu buweereza bw’ennimiro. Abalabe ne bwe batukola ekintu eky’akabi, tukola buli kye tusobola okuwangula obubi nga tukola ebirungi, nga tukijjukira nti okuwoolera eggwanga kwa Yakuwa.
18. Mu Abaruumi 12:12, tukubirizibwa kukola bintu ki ebisatu?
18 Soma Abaruumi 12:12. Ku kubuulirira okwo kwonna okulungi, Pawulo ayongerako ebintu ebirala bisatu. Olw’okuba tetusobola kutuukiriza kubuulirira okwo kwonna awatali buyambi bwa Yakuwa, omutume atukubiriza nti, “Munyiikirenga okusaba.” Okusaba kituyamba okukolera ku bigambo bino ebirala bye yatukubiriza: “Mugumiikirizenga mu kubonaabona.” N’ekisembayo, tulina okukuumira ebirowoozo byaffe ku birungi Yakuwa by’atutegekedde mu biseera by’omu maaso ‘n’okusanyukira mu ssuubi’ ly’obulamu obutaggwawo, ka bube bwa mu ggulu oba bwa ku nsi.
Okwejjukanya
• Tusaanidde kweyisa tutya nga tuyigganyizibwa?
• Mu mbeera ki mwe tusaanidde okuleetawo emirembe, era mu ngeri ki?
• Lwaki tetusaanidde kuwoolera ggwanga?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Okuyamba baliraanwa baffe kiyinza okubayamba okukyusa endowooza embi gye batulinako
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Ofuba okuleetawo emirembe mu kibiina?