LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 10/1 lup. 24-29
  • Oyinza Otya Okuyamba Omwana “Omujaajaamya”?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oyinza Otya Okuyamba Omwana “Omujaajaamya”?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ensonga Lwaki Abamu Bava mu Kibiina Ekikristaayo
  • Semberera Katonda
  • Mubeere Bagumiikiriza Naye Banywevu
  • Omwana Omuto bw’Agobebwa
  • Engeri Abalala Gye Bayinza Okuyamba
  • Tolekulira
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe mu Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Abazadde, Muyamba Omwana Wammwe Okukulaakulana Atuuke Okubatizibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Mu Maka Mulimu Omujeemu?
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 10/1 lup. 24-29

Oyinza Otya Okuyamba Omwana “Omujaajaamya”?

‘Sanyuka kubanga eyali azaaye, azaawuse.’​—LUKKA 15:32.

1, 2. (a) Kiki ekituuse ku bavubuka abamu? (b) Abazadde n’abaana mu mbeera ng’ezo bayinza kuwulira batya?

“ŊŊENDA kuva mu kibiina Ekikristaayo!” Nga kimalamu nnyo amaanyi abazadde abatya Katonda era abafubye ennyo okukuza abaana baabwe mu kkubo ery’Ekikristaayo, okuwulira omwana waabwe ng’ayogera ebigambo ebyo! Abavubuka abalala ‘bakivaamu’ mpolampola nga tebamanyisizza kigendererwa kyabwe. (Abaebbulaniya 2:1) Bangi ku bano bafaananako omwana omujaajaamya ow’omu lugero lwa Yesu, eyava mu maka ga kitaawe n’ayonoona eby’obusika bwe mu nsi ey’ewala.​—Lukka 15:11-16.

2 Wadde nga abazadde Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi tebalina kizibu kino, tewali bigambo biyinza kumalawo nnaku yaabo abakirina. Era, n’ekitalina kubuusibwa maaso, ye nnaku omwana omujeemu gy’aba nayo. Omuntu we ow’omunda ayinza okumulumiriza. Mu nkomerero, omwana omujaajaamya mu lugero lwa Yesu, ‘yeddamu,’ ekintu ekyaleetera taata we essanyu. Abazadde n’abalala mu kibiina bayinza batya okuyamba abajaajaamya ‘okweddamu’?​—Lukka 15:17.

Ensonga Lwaki Abamu Bava mu Kibiina Ekikristaayo

3. Ensonga ezimu lwaki abavubuka abamu basalawo okuva mu kibiina Ekikristaayo ze ziruwa?

3 Eriyo enkumi n’enkum z’abavubuka abali mu kibiina Ekikristaayo era abaweereza Yakuwa n’essanyu. Kati olwo, lwaki abalala bakivaamu? Bayinza okulowooza nti balina kye basubwa mu nsi. (2 Timoseewo 4:10) Oba bayinza okulowooza nti ekibiina kya Yakuwa kikugira nnyo. Okulumirizibwa omuntu ow’omunda, okwagala ennyo okubeera ne be batafaananya nabo kikula, oba obutaagala kuboolebwa bannaabwe nabyo biyinza okuviirako abavubuka okuva mu kibiina kya Yakuwa. Abavubuka bayinza okulekera awo okuweereza Katonda olw’obunaanfuusi bw’abazadde baabwe oba Omukristaayo omulala.

4. Kintu ki ekitera okuviirako abato okujeema?

4 Omwana bw’ajeema, emirundi mingi kiba kitegeeza nti munafu mu by’omwoyo, era kiraga ekiri mu mutima gwe. (Engero 15:13; Matayo 12:34) K’ebe nsonga ki ereetera omuvubuka okujeema, emirundi mingi ekiviirako ddala omutawaana kiba nti ‘teyategeera mazima.’ (2 Timoseewo 3:7) Mu kifo ky’okusinza Yakuwa okutuukiriza obutuukiriza omukolo, kikulu nnyo abato okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Kiki ekinaabayamba okukola ekyo?

Semberera Katonda

5. Kiki ekyetaagisa omuvubuka okusobola okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda?

5 Yakobo yagamba: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe.” (Yakobo 4:8) Okusobola okukola ekyo, omuvubuka ateekwa okuyambibwa okwagala Ekigambo kya Katonda. (Zabbuli 34:8) Mu kusooka ajja kwetaaga ‘mata,’ kwe kugamba, enjigiriza za Baibuli ezisookerwako. Bwe yeeyongera okusanyukira Ekigambo kya Katonda n’atandika okwagala ‘emmere enkalubo,’ kwe kugamba, ebintu eby’omwoyo eby’omunda, mangu ddala ajja kufuuka mukulu mu by’omwoyo. (Abaebbulaniya 5:11-14; Zabbuli 1:2) Omuvubuka eyakkiriza nti yali atwaliriziddwa ensi yatandika okusiima ebintu eby’eby’omwoyo. Kiki ekyamuyamba okukyuka? Olw’okukkiriza amagezi agamuweebwa ag’okusoma Baibuli yonna, yanywerera ku nteekateeka y’okusoma Baibuli obutayosa. Yee, okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa kikulu nnyo okusobola okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.

6, 7. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukulaakulanya okwagala Ekigambo kya Katonda?

6 Nga kikulu nnyo abazadde okuyamba abaana baabwe okukulaakulanya okwagala Ekigambo kya Katonda! Wadde nga yenyigiranga mu kusoma kw’amaka obutayosa, omuwala omu omutiini yakolagananga n’abaana abajeemu. Ku bikwata ku kuyiga kwe okw’amaka, agamba: “Taata bwe yabuuzanga ebibuuzo, nasomanga busomi eby’okuddamu nga simutunuulira mu maaso.” Mu kifo ky’okuyita obuyisi mu by’okuyiga mu kusoma kw’amaka, abazadde ab’amagezi bakozesa enkola ennungi ez’okuyigiriza. (2 Timoseewo 4:2) Omuvubuka okusobola okunyumirwa okuyiga, ateekwa okuwulira nti kukwata ku bulamu bwe. Lwaki tomubuuza bibuuzo ebimusobozesa okwogera ekiri ku mutima gwe? Kubiriza omuvubuka okussa mu nkola by’ayiga.a

7 Ate era, okuyiga kw’amaka kwetaaga kube kunyuvu. Bwe kiba kisoboka, abato bandizannye ebiri mu Baibuli. Bayambe okukuba ekifaananyi ku kifo awaali ebintu bye mwogerako. Era okukozesa mmaapu n’ebipande kiyinza okuyamba. Yee, bwe mukuba ekifaananyi ku ebyo ebyaliwo, okuyiga kw’amaka kusobola okunyuma era kuyinza n’okubaamu ebintu eby’enjawulo. Abazadde nabo balina okwekkaanya enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Bwe beeyongera okusemberera Yakuwa, bayinza okuyamba abaana baabwe okukola kye kimu.​—Ekyamateeka 6:5-7.

8. Okusaba kuyamba kutya omuntu okusemberera Katonda?

8 Okusaba nakwo kuyamba omuntu okusemberera Katonda. Omuwala omutiini yafuna obuzibu mu kukwataganya ekkubo lye ery’Ekikristaayo n’enkolagana gye yalina ne mikwano gye bwe baali batafaananya nzikiriza. (Yakobo 4:4) Yakolawo ki? Yagamba nti: “Nnasaba Yakuwa, ne mutegeereza ddala ekyandi ku mutima.” Yawunzika ng’agamba nti okusaba kwe kwaddibwamu bwe yazuula mu kibiina Ekikristaayo omuntu gwe yali ayinza okutegeeza ebimuli ku mutima. Ng’awulira nti Yakuwa yali amuwa obulagirizi, yatandika okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Abazadde bayinza okuyamba abaana baabwe nga bo bennyini balongoosa mu ngeri gye basabamu. Nga basaba ng’amaka, abazadde boogerera ddala ekibali ku mutima, abaana baabwe ne basobola okulaba enkolagana ey’oku lusegere gye balina ne Yakuwa.

Mubeere Bagumiikiriza Naye Banywevu

9, 10. Kyakulabirako ki Yakuwa kye yassaawo mu kugumiikiriza Abaisiraeri abajeemu?

9 Omuvubuka bw’atandika okuwaba, ayinza okugezaako okweyawula era n’okulemesa bazadde be okwogera naye ku by’omwoyo. Abazadde bayinza kukola ki mu mbeera ng’ezo enzibu? Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Isiraeri ey’edda. Yagumiikiriza Abaisiraeri ‘abakakanyavu’ okumala emyaka egisukka mu 900 nga tannabaabulira n’abaleka okugoberera ekkubo lyabwe ery’obujeemu. (Okuva 34:9; 2 Ebyomumirembe 36:17-21; Abaruumi 10:21) Wadde ‘baamukema’ enfunda n’enfunda, Yakuwa ‘yabalaga obusaasizi.’ “Emirundi mingi yabayisaako obusungu bwe, n’atakubiriza busungu bwe bwonna.” (Zabbuli 78:38-42) Katonda yakolagana nabo mu ngeri etuukiridde. Abazadde abaagazi bakoppa Yakuwa era booleka obugumiikiriza omwana waabwe bw’atafaayo nga bafuba okumuyamba.

10 Okubeera omugumiikiriza kirina amakulu ag’obutaggwaamu ssuubi ku kuzzaawo enkolagana eyonoonese. Yakuwa yassaawo ekyokulabirako ku ngeri y’okuba omugumiikiriza. Yatumanga ababaka be eri Abaisiraeri ‘enfunda n’enfunda.’ Yakuwa ‘yasaasira abantu be,’ wadde nga ‘baaduuliranga ababaka be ne banyoomanga ebigambo bye.’ (2 Ebyomumirembe 36:15, 16, NW) Yeegayirira Abaisiraeri ng’agamba: “Mukomewo nno buli muntu ng’aleka ekkubo lye ebbi.” (Yeremiya 25:4, 5) Kyokka, Yakuwa teyekkiriranya misingi gye egy’obutuukirivu. Abaisiraeri baakubirizibwa ‘okudda’ eri Katonda n’eri amakubo ge.

11. Abazadde bayinza batya okuba abagumiikiriza naye nga banywevu mu kukolagana n’omwana ajeemye?

11 Abazadde bayinza okukoppa Yakuwa mu kubeera abagumiikiriza nga tebaggwaamu mangu ssuubi ku bikwata ku mwana ajeemye. Kyokka, bafuba okussaawo empuliziganya ennungi. Era nga banywerera ku misingi egy’obutuukirivu, ‘enfunda n’enfunda’ bayinza okukubiriza omwana okudda mu mazima.

Omwana Omuto bw’Agobebwa

12. Abazadde balina buvunaanyizibwa ki eri omwana waabwe agobeddwa mu kibiina?

12 Kiba kitya singa omwana omuto abeera ne bazadde be akola ekibi eky’amaanyi era n’olw’obuteenenya n’agobebwa mu kibiina? Okuva bwe kiri nti omwana abeera ne bazadde be, baba bavunaanyizibwa okumuyigiriza n’okumukangavvula nga bagoberera Ekigambo kya Katonda. Ekyo kiyinza kukolebwa kitya?​—Engero 6:20-22; 29:17.

13. Abazadde bayinza batya okugezaako okutuuka ku mitima gy’abaana baabwe abasobezza?

13 Ekisinga obulungi singa kisoboka, kwe kumuyigiriza n’okumukangavvula nga muyiga Baibuli mwekka. Omuzadde teyanditunuulidde bujeemu bwa mwana bwokka naye era yandifubye okumanya ekiri mu mutima gw’omwana we. Bunafu ki bwalina mu by’omwoyo? (Engero 20:5) Omutima gwe guyinza okukwatibwako? Byawandiikibwa ki ebiyinza okukozesebwa okumuyamba? Omutume Pawulo atukakasa: “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga ekitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” (Abaebbulaniya 4:12) Abazadde tebasaanidde kukoma ku kutegeeza baana baabwe butaddamu kusobya kyokka. Balina okufuba okubayamba okuvvuunuka ekizibu kyabwe.

14. Kiki omuvubuka asobezza kye yandisoose okukola okusobola okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa, era abazadde bayinza batya okumuyamba okukola ekyo?

14 Omuvubuka asobezza ateekwa okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa. Kyalina okusooka okukola kwe ‘kwenenya n’okukyuka.’ (Ebikolwa 3:19; Isaaya 55:6, 7) Nga bayamba abaana baabwe okwenenya, abazadde bateekwa ‘okuba abagumiikiriza era abawombeefu’ nga babuulirira omwana atayagala kuyiga. (2 Timoseewo 2:24-26) Beetaaga ‘okumunenya’ nga Baibuli bw’eraga. Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusiddwa ‘okunenya’ kiyinza okuvvuunulwa nga ‘okuwa obujulizi obumatiza.’ (Okubikkulirwa 3:19; Yokaana 16:8) N’olwekyo, okunenya kizingiramu okuwa obujulizi obumala okumatiza omwana nti ekkubo lye kkyamu. Kya lwatu, si kyangu kukikola. Bwe kiba kisoboka, abazadde bafuba okutuuka ku mutima gw’omwana nga bakozesa Ebyawandiikibwa okumumatiza. Basaanidde okumuyamba okutegeera obukulu ‘bw’okukyawa ekibi n’okwagala ekirungi.’ (Amosi 5:15) Ayinza ‘okuva mu mutego gwa Setaani.’

15. Okusaba kuyamba kutya mu kuzzaawo enkolagana y’oyo asobezza ne Yakuwa?

15 Okusaba kukulu nnyo okusobola okuzzaawo enkolagana ne Yakuwa. Kya lwatu, tewali n’omu ‘yandisabye’ ku lw’omuntu yenna eyaliko mu kibiina Ekikristaayo akola ekibi mu bugenderevu awatali kwenenya. (1 Yokaana 5:16, 17; Yeremiya 7:16-20; Abaebbulaniya 10:26, 27) Kyokka, abazadde bayinza okusaba Yakuwa okubawa amagezi okukola ku mbeera ng’eyo. (Yakobo 1:5) Singa omuvubuka agobeddwa abaako ky’akolawo okulaga nti yeenenyeza naye nga ‘si mugumu mu maaso ga Katonda,’ bazadde be bayinza okusaba Katonda nti singa azuula ky’ayinza okusinziirako okusonyiwa omwana, By’ayagala bye biba bikolebwa. (1 Yokaana 3:21) Omuvubuka bw’awulira okusaba ng’okwo kimuyamba okulaba nti Yakuwa Katonda musaasizi.b​—Okuva 34:6, 7; Yakobo 5:16.

16. Tuyinza tutya okuyamba amaka omuli omwana agobeddwa mu kibiina?

16 Singa omuvubuka abatiziddwa agobebwa, abali mu kibiina basuubirwa ‘obuteegatta’ naye. (1 Abakkolinso 5:11; 2 Yokaana 10, 11) Mu nkomerero kiyinza okumuyamba ‘okweddamu’ n’akomawo mu kibiina kya Katonda. (Lukka 15:17, NW) K’abe ng’anaakomawo mu kibiina oba nedda, ab’omu kibiina bayinza okuzzaamu amaanyi amaka omuli oyo eyagobebwa. Ffenna tuyinza okukozesa emikisa egibaawo okubalaga ‘ekisa’ era ‘n’okubafaako.’​—1 Peetero 3:8, 9.

Engeri Abalala Gye Bayinza Okuyamba

17. Ab’omu kibiina balina kujjukira ki nga bagezzaako okuyamba omwana awabye?

17 Kiri kitya eri omuvubuka atannagobebwa mu kibiina Ekikristaayo naye ng’anafuye mu kukkiriza? Omutume Pawulo yawandiika nti “ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonaabonera wamu nakyo.” (1 Abakkolinso 12:26) Abalala bayinza okubaako kye bakola okuyamba omuvubuka ng’oyo. Kya lwatu kyetaagisa okwegendereza, okuva omuvubuka alwadde mu by’omwoyo bw’ayinza okwonoona abato abalala. (Abaggalatiya 5:7-9) Mu kibiina ekimu, abantu abakulu abaalina ekigendererwa ekirungi eky’okuyamba abavubuka abamu abaali banafuye mu by’omwoyo, baabayita okuyimbira awamu nabo ennyimba. Wadde abavubuka abo bajja era ne banyumirwa omukolo ogwo, eky’okubeera awamu tekyabaganyula, era kyabaviirako okwabulira ekibiina. (1 Abakkolinso 15:33; Yuda 22, 23) Ekiyinza okuyamba omwana omulwadde mu by’omwoyo si kusanyukira wamu n’abalala nga tewaliiwo bulagirizi bwa bya mwoyo, wabula okukuŋŋaana awamu nga waliwo enteekateeka ez’okumuyamba okwettanira ebintu eby’omwoyo.c

18. Tuyinza tutya okukoppa endowooza ya taata w’omwana omujaajaamya mu lugero lwa Yesu?

18 Omuvubuka eyali alese ekibiina bw’akomawo mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba n’ajja mu lukuŋŋaana olunene, lowooza ku ngeri gy’awuliramu. Tetwandimwanirizza nga taata w’omwana omujaajaamya bwe yakola mu lugero lwa Yesu? (Lukka 15:18-20, 25-32) Omutiini eyava mu kibiina Ekikristaayo ate oluvannyuma n’agenda mu lukuŋŋaana lwa district yagamba: “Nnalowooza nti tewali muntu yandinfuddeko, naye baganda bange ne bannyinaze bannyaniriza. Ekyo kyankwatako nnyo.” Yaddamu okuyiga Baibuli era oluvannyuma n’abatizibwa.

Tolekulira

19, 20. Lwaki twandibadde n’endowooza ennuŋŋamu ku bikwata ku mwana omujaajaamya?

19 Okuyamba omwana ‘omujaajaamya’ ‘okweddamu’ kyetaagisa obugumiikiriza era kiyinza okuzibuwalira abazadde n’abalala. Naye tolekulira. “Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.” (2 Peetero 3:9) Tulina obukakafu okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti Yakuwa ayagala abantu beenenye era babe balamu. Mu butuufu, akoze enteekateeka abantu basobole okutabaganyizibwa naye. (2 Abakkolinso 5:18, 19) Obugumiikiriza bwe busobozesezza obukadde n’obukadde bw’abantu okweddamu.​—Isaaya 2:2, 3.

20 Abazadde tebandikozesezza ng’eri yonna esoboka ey’omu Byawandiikibwa okuyamba omwana waabwe ajeemye okweddamu? Koppa Yakuwa, beera mugumiikiriza ng’obaako ky’okola ekikakafu okuyamba omwana wo okudda eri Yakuwa. Nywerera ku misingi gya Baibuli, era gezaako okwoleka engeri za Yakuwa ng’okwagala, obwenkanya, amagezi ng’ate bw’omusaba okukuyamba. Ng’abajeemu bangi bwe baanukudde omulanga gwa Yakuwa ogw’okukomawo, omwana wo omujaajaamya ayinza okudda mu kibiina kya Katonda.​—Lukka 15:6, 7.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okuyigirizaamu obulungi abato, laba Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 1999, empapula 23-27.

b Omwana eyagobebwa mu kibiina tasabirwa mu ngeri eyo mu lujjudde mu nkuŋŋaana z’ekibiina, kubanga abalala bayinza obutamanya mbeera y’omuntu ayagobebwa.​—Laba The Watchtower aka Okitobba 15, 1979, olupapula 31.

c Okufuna ebirowoozo ebirungi, laba Awake! aka Jjuuni 22, 1972, empapula 13-16; Ssebutemba 22, 1996, empapula 21-3.

Okyajjukira?

• Nsonga ki enkulu eyinza okuviirako abavubuka okuva mu kibiina?

• Abato bayinza batya okuyambibwa okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

• Lwaki abazadde kibeetaagisa okuba abagumiikiriza awamu n’okuba abanywevu nga bayamba omwana omujaajaamya?

• Abo abali mu kibiina bayinza batya okuyamba omwana omujaajaamya okudda mu kibiina?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Okusaba kw’abazadde okuva ku mutima kuyinza okuyamba abaana baabwe okulaba enkolagana ey’oku lusegere abazadde gye balina ne Yakuwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Okusobola okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa tuteekwa okusoma Ekigambo kye

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Yaniriza omwana omujaajaamya bwe ‘yeddamu’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Baako ky’okola okuyamba omwana wo okudda eri Yakuwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share