Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe mu Kwagala
“Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala.”—1 ABAKKOLINSO 16:14.
1. Abazadde bawulira batya nga bazadde omwana?
ABAZADDE bangi bakimanyi nti okuzaala omwana kye kimu ku bintu ebisinga okuleeta essanyu mu bulamu. Maama omu ayitibwa Aleah agamba nti: “Bwe nnatunula ku muwala wange nga nnaakamuzaala, nnafuna essanyu lya nsusso. Nnawulira ng’ono ye mwana asingayo obulungi gwe nnali ndabye.” Naye ebiseera eby’essanyu ng’ebyo bisobola okuleetera abazadde okweraliikirira. Bba wa Aleah agamba nti: “Nnatandika okweraliikirira obanga nnandisobodde okuyamba muwala wange okwaŋŋanga ebizibu ebibaawo mu bulamu.” Abazadde bangi balina obweraliikirivu bwe bumu era bakiraba nti balina okutendeka abaana baabwe mu kwagala. Kyokka abazadde Abakristaayo abaagala okutendeka abaana baabwe mu kwagala balina ebizibu bye boolekagana nabyo. Ebimu ku byo bye biruwa?
2. Buzibu ki abazadde bwe boolekagana nabwo?
2 Kati tuli wala nnyo mu nnaku ez’ensi eno embi ez’oluvannyuma. Nga bwe kyalagulwa, ensi mwe tuli ejjudde abantu abatalina kwagala. N’abantu ababeera awamu mu maka ‘tebalina kwagala kwa baluganda, tebeebaza, si batukuvu, tebeegendereza era bakambwe.’ (2 Timoseewo 3:1-5) Okubeera mu bantu ng’abo buli lunaku kiyinza okukwata ku ngeri Abakristaayo gye bayisaamu abo be babeera nabo mu maka. Ate era olw’okuba tebatuukiridde, abazadde bayinza okulemererwa okwefuga, okwogera eby’ensimattu, oba okweyisa obubi mu ngeri endala.—Abaruumi 3:23; Yakobo 3:2, 8, 9.
3. Abazadde bayinza batya okukuza abaana abasanyufu?
3 Wadde nga waliwo obuzibu buno, abazadde bayinza okukuza abaana abasanyufu era abaagala eby’omwoyo. Bayinza kukikola batya? Nga bagoberera okubuulirira kwa Baibuli okugamba nti: “Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala.” (1 Abakkolinso 16:14) Mazima ddala okwagala “kwe kunyweza obumu.” (Abakkolosaayi 3:14) Ka twetegereze ebintu bisatu ebikwata ku kwagala omutume Pawulo bye yayogerako mu bbaluwa ye esooka eri Abakkolinso era tulabe engeri okwagala gye kusobola okuyamba abazadde nga batendeka abaana baabwe.—1 Abakkolinso 13:4-8.
Balina Okuba Abagumiikiriza
4. Lwaki abazadde balina okuba abagumiikiriza?
4 Pawulo yawandiika nti: “Okwagala kugumiikiriza.” (1 Abakkolinso 13:4) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okugumiikiriza’ kitegeeza okulwawo okusunguwala. Lwaki abazadde balina okuba abagumiikiriza? Awatali kubuusabuusa waliwo nsonga nnyingi abazadde ze basobola okulowoozako. Weetegereze ezimu ku zo. Abaana bwe babaako n’ekintu kye baagala, tebatera kukisaba mulundi gumu gwokka. Omuzadde ne bw’alaga nti tajja kukikola, omwana ayinza okuddamu n’amusaba emirundi n’emirundi, ng’asuubira nti oluvannyuma ajja kukkiriza. Abatiini bayinza okuwa ensonga lwaki baagala bakkirizibwe okukola ekintu abazadde kye balaba nga si kya magezi. (Engero 22:15) Okufaananako abantu bonna, abaana oluusi bakola ensobi y’emu emirundi n’emirundi.—Zabbuli 130:3.
5. Kiki ekiyinza okuyamba abazadde okuba abagumiikiriza?
5 Kiki ekiyinza okuyamba abazadde okuba abagumiikiriza eri abaana baabwe? Kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Okuteesa kw’omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala.” (Engero 19:11) Abazadde basobola okutegeera enneyisa y’abaana baabwe singa bajjukira nti nabo bwe baali abato ‘bayogeranga ng’abato era nga bategeera ng’abato.’ (1 Abakkolinso 13:11) Abazadde, nammwe bwe mwali abato mujjukira bwe mwetayiriranga bazadde bammwe babakkirize okukola bye mwagala? Bwe wali omuvubuka walowoozaako nti bazadde bo baali tebategeera butegeezi bizibu byo? Bwe kiba bwe kityo, kijja kukwanguyira okutegeera engeri abaana bo gye beeyisaamu ne nsonga lwaki kikwetaagisa okuba omugumiikiriza ng’obajjukiza lwaki balina okukola nga bw’obagambye. (Abakkolosaayi 4:6) Kikulu okumanya nti Yakuwa yagamba abazadde Abaisiraeri ‘okuyigiriza’ abaana baabwe abato amateeka ge. (Ekyamateeka 6:6, 7) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okuyigiriza’ kitegeeza “okuddiŋŋana,” “okwogera emirundi n’emirundi,” “okukkaatiriza.” N’olwekyo kyetaagisa abazadde okuyigiriza omwana amateeka ga Katonda emirundi n’emirundi okutuusa lw’ayiga okugakolerako. Bwe batyo bwe balina okukola ne bwe baba nga babayigiriza ebintu ebirala mu bulamu.
6. Lwaki omuzadde omugumiikiriza si y’oyo atafaayo ku baana nga bakoze ebikyamu?
6 Kyokka omuzadde omugumiikiriza si y’oyo atafaayo ku baana nga bakoze ebikyamu. Ekigambo kya Katonda kirabula nti: “Omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.” Kino okusobola okukyewala, olunyiriri lwe lumu lugamba nti: “Omuggo n’okunenya bireeta amagezi.” (Engero 29:15) Oluusi abaana bayinza okuwulira nti abazadde tebalina buyinza kubakangavvula. Naye mu maka Amakristaayo abaana si be balina okusalawo obanga abazadde basaanidde okubateerawo amateeka oba nedda. Wabula Yakuwa ng’eyatandikawo amaka, y’awa abazadde obuyinza okutendeka n’okukangavvula abaana baabwe mu ngeri ey’okwagala. (1 Abakkolinso 11:3; Abaefeso 3:15; 6:1-4) Mu butuufu, okukangavvula kulina akakwate n’engeri endala ey’okwagala Pawulo gy’ayogerako.
Okukangavvula mu Kwagala
7. Lwaki abazadde ab’ekisa bakangavvula abaana baabwe, era kiki ekizingirwa mu kukangavvula okw’engeri eyo?
7 Pawulo yawandiika nti “okwagala . . . kulina ekisa.” (1 Abakkolinso 13:4) Abazadde abalina ekisa banywerera ku mateeka nga bakangavvula abaana baabwe. Bwe bakola bwe batyo, baba bakoppa Yakuwa. Pawulo yawandiika nti: ‘Yakuwa gw’ayagala amukangavvula.’ Weetegereze nti okukangavvula okwogerwako mu Baibuli tekutegeeza kuwa buwi kibonerezo. Kulina amakulu g’okutendeka n’okuyigiriza. Okukangavvula ng’okwo kuba na kigendererwa ki? Pawulo yagamba nti: “Kubala ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo, bye by’obutuukirivu.” (Abaebbulaniya 12:6, 11) Abazadde bwe bayigiriza abaana baabwe okukola Katonda by’ayagala mu ngeri ey’ekisa, baba babayamba okukula nga bantu ba mirembe. Abaana bwe bakkiriza ‘okukangavvula kwa Yakuwa,’ bafuna amagezi, okumanya, n’okutegeera—ebintu eby’omuwendo ennyo n’okusinga ffeeza oba zaabu.—Engero 3:11-18.
8. Abazadde bwe balemererwa okukangavvula abaana baabwe biki ebivaamu?
8 Ku luuyi olulala, singa abazadde tebangavvula baana baabwe baba tebabalaze kwagala. Yakuwa yaluŋŋamya Sulemaani okuwandiika nti: “Atakwata omuggo gwe akyawa omwana we: naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.” (Engero 13:24) Abaana bwe batakangavvulwa bakula nga beerowoozaako bokka era tebaba basanyufu. Ate bo abaana abalina abazadde ab’ekisa naye nga babakangavvula, bakola bulungi mu ssomero, bakolagana bulungi n’abantu, era okutwalira awamu baba basanyufu. Awatali kubuusabuusa, abazadde abakangavvula abaana baabwe n’ekisa balaga nti ddala babaagala.
9. Biki abazadde Abakristaayo bye balina okuyigiriza abaana baabwe, era abaana bye bayiga bandibitutte batya?
9 Kiki ekizingirwa mu kukangavvula abaana mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala? Abazadde beetaga okunnyonnyola obulungi abaana baabwe ne bategeera kye basaanidde okukola. Ng’ekyokulabirako, bazadde Abakristaayo bayigiriza abaana baabwe okuva mu buto emisingi gya Baibuli egisookerwako n’okwenyigira mu ngeri ez’enjawulo ez’okusinza okw’amazima. (Okuva 20:12-17; Matayo 22:37-40; 28:19; Abaebbulaniya 10:24, 25) Abaana beetaga okukimanya nti bateekwa buteekwa okutambulira ku misingi gino.
10, 11. Lwaki abazadde bandifuddeyo ku ebyo abaana baabwe bye baagala nga bakola amateeka?
10 Ebiseera ebimu, abazadde bayinza okwogera n’abaana baabwe ku mateeka ge balina okugoberera awaka. Singa abavubuka beenyigira mu kukubaganya ebirowoozo ku mateeka ago, kiyinza okubanguyira okugagondera. Ng’ekyokulabirako, abazadde bayinza okwagala okuteekawo essaawa abaana ze balina okuba nga bakomyewo awaka. Oba bayinza okubuuza abaana baabwe essaawa ze balowooza nti ze zisaanira okukomawo awaka era bawe n’ensonga lwaki. Kati olwo abazadde bayinza okwogera essaawa ze balowooza nti ze ntuufu era ne bawa n’ensonga. Watya singa endowooza yaabwe eyawukana n’ey’abaana, nga bwe kitera okuba? Emirundi egimu, abazadde bayinza okukisanga nti kisoboka okukkiriza abaana baabwe kye baagala kasita kiba nga tekikontana na misingi gya Baibuli. Bwe bakola bwe batyo kiba kitegeeza nti obuyinza babuwadde abaana?
11 Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, weetegereze engeri ey’okwagala Yakuwa gye yakozesaamu obuyinza bwe ng’akolagana ne Lutti n’ab’omu maka ge. Bwe baamala okuggya Lutti ne mukazi awamu ne bawala baabwe mu Sodomu, bamalayika ne babagamba nti: ‘Muddukire ku lusozi muleme okuzikirizibwa.’ Kyokka, Lutti yaddamu nti: “Nedda mukama wange, nkwegayiridde.” Lutti yasaba baddukire mu kifo ekirala: ‘Laba nno, ekibuga ekyo kwe kumpi okukiddukiramu. Nkwegayiridde, nzirukire omwo?’ Yakuwa yaddamu ki? Yamugamba nti: “Nkukkiriza ne mu kigambo ekyo.” (Olubereberye 19:17-22) Bwe yakola ekyo Yakuwa yeggyako obuyinza? N’akatono! Naye, yawuliriza okusaba kwa Lutti era n’amulaga ekisa mu nsonga eno. Bw’oba oli muzadde, waliwo ebintu ebimu abaana bye baagala by’oyinza okukkiriza ng’ossaawo amateeka mu maka?
12. Kiki ekiyamba omwana okuwulira obukuumi?
12 Ng’oggyeko okumanya amateeka, abaana era kibeetaagisa okumanya ebibonerezo bye bajja okuweebwa singa baba bagamenye. Ebibonerezo bwe bimala okuteesebwako era ne bitegeerekeka, kiba kirungi amateeka ago ne gateekebwa mu nkola. Abazadde baba tebalaga kwagala singa balabula bulabuzi omwana buli lw’amenya amateeka mu kifo ky’okumubonereza. Baibuli egamba nti: “Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw’abaana b’abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi.” (Omubuulizi 8:11) Kituufu nti omuzadde ayinza okwewala okuswaza omwana n’atamubonereza mu bantu oba nga waliwo banne. Naye abaana bawulira obukuumi era bayiga okuwa bazadde baabwe ekitiibwa n’okubaagala bwe bamanya nti abazadde bwe bagamba nti “Yee” baba bategeeza yee, era bwe bagamba nti “Nedda” baba bategeeza nedda—ne bwe kiba nga kyetaagisa kubabonereza.—Matayo 5:37, NW.
13, 14. Abazadde bayinza batya okukoppa Yakuwa nga batendeka abaana baabwe?
13 Ekibonerezo ekiraga okwagala kirina okuweebwa omwana mu ngeri esaanira. Pam agamba nti: “Abaana baffe bombi buli omu yakangavvulwanga mu ngeri ya njawulo. Ekibonerezo ekyali kikola ku omu nga ku mulala tekikola.” Bbaawe, Larry, agamba nti: “Muwala waffe omukulu yalinga muzibu okukyusa ng’alina ky’amaliridde okukola era nga kyetaagisa kumukwasa maanyi. Kyokka ye muwala waffe omuto ng’okumugamba obugambi ekintu oba okumukuba eriiso kimala.” Mazima ddala, abazadde ab’ekisa bafuba okulaba nti buli mwana akwatibwa mu ngeri esaanidde.
14 Yakuwa ateerawo abazadde ekyokulabirako ekirungi mu ngeri nti amanyi obusobozi n’obunafu bw’abaweereza be. (Abaebbulaniya 4:13) Ate era Yakuwa bw’aba abonereza omuntu, tamukola kyejo oba okumuwa ekibonerezo ekisukkiridde. Mu kifo ky’ekyo, bulijjo akangavvula abantu be mu ngeri ‘esaanira.’ (Yeremiya 30:11, NW) Abazadde, mumanyi obusobozi n’obunafu bwa baana bammwe? Ebyo bye mubamanyiiko mubikozesa nga mubatendeka? Bwe kiba kityo, muba mulaga nti mwagala abaana bammwe.
Bakubirize Okwogera Ekibali ku Mutima
15, 16. Abazadde basobola batya okuyamba abaana baabwe okwogera ekibali ku mutima, era kino abazadde Abakristaayo bakikoze batya?
15 Okwagala era “tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima.” (1 Abakkolinso 13:6) Abazadde bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe okwagala ebintu ebituufu era eby’amazima? Kikulu nnyo abazadde okukubiriza abaana okwogera ekibali ku mutima, ne bwe kiba ng’abaana kye boogera si kirungi. Awatali kubuusabuusa, abazadde basanyuka bwe bamanya nti abaana baabwe bye balowooza bituukana n’emisingi gy’obutuukirivu. Kyokka oluusi, abaana bye boogera biyinza okulaga nti balina endowooza ezitali nnungi. (Olubereberye 8:21) Kati olwo abazadde bandikoze ki? Ekiyinza okubajjira amangu ago kwe kubonereza abaana olw’okwogera ebintu ebibi ng’ebyo. Singa abazadde bakola bwe batyo, abaana bayinza okwogeranga ebyo byokka bye balowooza nti bye bijja okusanyusa bazadde baabwe. Kituufu nti omwana bw’ayogera mu ngeri etewa bantu kitiibwa aba asaanidde okugololwa mangu ago, naye okuyigiriza omwana engeri gy’alina okwogeramu n’abantu kya njawulo ku kumulagira kiki ky’alina okwogera.
16 Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okwogera mu bwesimbu? Aleah, eyayogeddwako mu ntandikwa, agamba, “Olw’okuba tetulaga busungu ng’abaana baffe batubuulidde ebintu ebitali birungi, tusobodde okubayamba okwogera ekibali ku mutima nga tebatya.” Omuzadde omu ayitibwa Tom agamba: “Twakubirizanga muwala waffe okutubuulira ky’alowooza, ne bwe yabanga takkiriziganyizza na kye tugambye. Twakiraba nti okumugaananga okwogera ky’ayagala ne tumulagira bulagizi eky’okukola, kyandimuyisizza bubi n’alekera awo okutubuulira ekimuli ku mutima. Ku luuyi olulala, okuba nti twamuwulirizanga naye kyamuleetera okutuwuliriza.” Awatali kubuusabuusa, abaana basaanidde okuwulira bazadde baabwe. (Engero 6:20) Naye empuliziganya ennungi ewa abazadde omukisa okuyamba abaana baabwe okuyiga okukwata ensonga mu ngeri ey’amagezi. Vincent, omuzadde ow’abaana abana, agamba nti: “Emirundi mingi twayogeranga ku birungi n’ebibi ebiyinza okuva mu kintu ekimu, kisobozese abaana baffe okulaba ekituufu. Kino kyabayigiriza okulabanga ebintu mu ngeri ey’amagezi.”—Engero 1:1-4.
17. Abazadde basobola kuba bakakafu ku kiki?
17 Kya lwatu nti tewali muzadde ajja kutuukiriza byonna Baibuli by’eyogera ku kukuza abaana. Wadde kiri kityo, beera mukakafu nti abaana bo bajja kusiima nnyo okukulaba ng’ofuba okubatendeka n’ekisa, okwagala n’obugumiikiriza. Bw’onoofuba bw’otyo Yakuwa ajja ku kuwa emikisa. (Engero 3:33) Ekituufu kiri nti abazadde bonna Abakristaayo baagala abaana baabwe bayige okwagala Yakuwa nga nabo bwe bamwagala. Abazadde basobola batya okutuuka ku kiruubirirwa kino ekisingayo obulungi? Ekitundu ekinaddako kijja kwogera ku bintu ebiyinza okubayamba.
Ojjukira?
• Okutegeera enneeyisa y’abaana kiyinza kitya okuyamba omuzadde okuba omugumiikiriza?
• Kakwate ki akali wakati w’okwagala n’okukangavvula?
• Lwaki kikulu abaana okubuulira bazadde baabwe ekibali ku mutima?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Abazadde, mukyajjukira bwe mwakolaga nga muli bato?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Okubiriza abaana okwogera ekibali ku mutima?