LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 5/15 lup. 19-23
  • Abazadde n’Abaana​—Mube n’Empuliziganya Ennungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abazadde n’Abaana​—Mube n’Empuliziganya Ennungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • MUFUNENGAYO EKISEERA OKUNYUMYAKO
  • ‘MUBE BANGU BA KUWULIRIZA’
  • ‘MULWEWO OKWOGERA’
  • ‘MULWEWO OKUSUNGUWALA’
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe mu Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 2
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Abaana Baffe—Busika bwa Muwendo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 5/15 lup. 19-23

Abazadde n’Abaana​—Mube n’Empuliziganya Ennungi

“Buli muntu abe mwangu wa kuwuliriza, alwewo okwogera, alwewo okusunguwala.”​—YAK. 1:19.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki kikulu ab’omu maka okufunangayo ekiseera okunyumyako?

  • Abazadde bayinza batya okukolera ku magezi agali mu Yakobo 1:19?

  • Abaana bayinza batya okukolera ku magezi agali mu Yakobo 1:19?

1, 2. Kiki ky’oyinza okwogera ku baana n’abazadde, era buzibu ki bwe batera okufuna?

ABAANA abawerako mu Amerika baabuuzibwa ekibuuzo kino: “Singa okimanyako nti bazadde bo bagenda kufa enkya, kiki kye wandyagadde okubagamba?” Mu kifo ky’okwogera ku bintu bye bataagala ku bazadde baabwe oba ku butategeeragana bwe balina nabo, abaana abasinga obungi baagamba nti bandibadde beetondera bazadde baabwe era ne babakakasa nti babaagala nnyo.​—Ekitabo For Parents Only, ekyawandiikibwa Shaunti Feldhahn ne Lisa Rice.

2 Okutwalira awamu, abaana baagala nnyo bazadde baabwe, n’abazadde baagala nnyo abaana baabwe. Bwe kityo bwe kiri naddala mu maka Amakristaayo. Wadde kiri kityo, oluusi empuliziganya wakati w’abazadde n’abaana teba nnungi. Lwaki ekyo oluusi kibaawo? Kiki ekiyinza okulemesa abazadde n’abaana okwogera ku bintu ebimu? Kiki kye bayinza okukola okusobola okuba n’empuliziganya ennungi?

Tokkiriza bintu bitali bikulu nnyo kukulemesa kunyumyako n’ab’omu maka go

MUFUNENGAYO EKISEERA OKUNYUMYAKO

3. (a) Lwaki leero mu maka mangi temuli mpuliziganya nnungi? (b) Lwaki abazadde n’abaana mu Isiraeri ey’edda baafunanga ebiseera okunyumyako?

3 Leero, mu maka mangi abazadde n’abaana bakisanga nga kizibu okufuna ebiseera ebimala okunyumyako. Naye si bwe kityo bwe kyali mu Isiraeri ey’edda. Musa yagamba emitwe gy’amaka mu Isiraeri ey’edda nti: “Onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo [ebigambo bya Katonda], era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga.” (Ma. 6:6, 7) Olunaku lwonna abaana baalumalanga ne maama waabwe awaka oba ne taata waabwe mu nnimiro oba ku mulimu gwe. Abazadde n’abaana baafunanga ebiseera ebimala okunyumyako. Ekyo kyayambanga abazadde okumanya ebyetaago by’abaana baabwe, engeri zaabwe, n’ebintu bye beegomba. Era kyayambanga n’abaana okutegeera obulungi bazadde baabwe.

4. Kiki ekiremesa amaka mangi okufuna ebiseera okunyumya?

4 Ebintu bikyuse nnyo leero! Mu nsi ezimu, abaana batandika okusoma nga bato nnyo, oluusi nga ba myaka ebiri gyokka. Abazadde bangi emirimu gye bakola giri wala okuva we basula. Kyokka ate ebiseera ebitono abazadde bye bamala awaka awamu n’abaana baabwe batera kubimalira ku ttivi, ku kompyuta, oba ku masimu. Mu maka mangi, abazadde n’abaana, buli omu tategeera bulungi munne. Mu butuufu, abazadde n’abaana bangi tebafuna biseera kunyumyako.

5, 6. Kiki abazadde abamu kye bakoze okusobola okufuna ebiseera ebiwerako okubeerako awamu n’abaana baabwe?

5 Kiki ky’oyinza okukola okusobola okwongera ku biseera by’omala ng’oli wamu n’ab’omu maka go? (Soma Abeefeso 5:15, 16.) Abamu basazeewo okukendeeza ku biseera bye bamala nga balaba ttivi oba nga bakozesa kompyuta. Abalala bafuba okuliirako awamu waakiri omulundi gumu buli lunaku. Ekiseera eky’okusinza kw’amaka nakyo kisobola okuyamba abazadde n’abaana okunyweza enkolagana yaabwe n’okwogera ku bintu eby’omwoyo. Kyokka ekyo si kye kiseera kyokka abazadde n’abaana kye basaanidde okubeerako awamu. Basaanidde okufunangayo ekiseera buli lunaku okunyumya. Omwana wo bw’aba nga tannagenda ku ssomero, oyinza okubaako obugambo obumuzzaamu amaanyi bw’omugamba, okusoma naye ekyawandiikibwa eky’olunaku, oba okusaba naye. Ekyo kisobola okumuyamba okuyita obulungi mu lunaku.

6 Abazadde abamu baliko enkyukakyuka ze bakoze okusobola okulaba nti bafuna ebiseera ebiwerako okubeerako awamu n’abaana baabwe. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Laura,a alina abaana ababiri abakyali abato, yaleka omulimu ogw’ekiseera kyonna asobole okufuna ebiseera ebiwerako okubeerako awamu nabo. Agamba nti: “Nnakeeranga nnyo ne ŋŋenda ku mulimu ate abaana bange ne bagenda ku ssomero. We nnakomerangawo awaka, nnasanganga beebase. Bwe nnaleka omulimu ogwo, ssente ze nnafunanga zaakendeera, naye kati mpulira nga nnina ebiseera okukola ku byetaago by’abaana bange n’ebizibu byabwe. Ntera okuwulira bye boogera nga basaba, mbawabula, mbazzaamu amaanyi, era mbayigiriza.”

‘MUBE BANGU BA KUWULIRIZA’

7. Kintu ki ekirala ekiremesa abazadde n’abaana okuba n’empuliziganya ennungi?

7 Oluvannyuma lw’okwogerako n’abaana abawerako, abawandiisi b’ekitabo ekiyitibwa For Parents Only baazuula ekintu ekirala ekiremesa abazadde n’abaana okuba n’empuliziganya ennungi. Baagamba nti: “Abaana abasinga obungi bagamba nti bazadde baabwe tebabawuliriza.” Kyokka n’abazadde nabo bagamba nti abaana baabwe tebabawuliriza. N’olwekyo, okusobola okuba n’empuliziganya ennungi mu maka, buli omu mu maka alina okuwuliriza obulungi munne.​—Soma Yakobo 1:19.

8. Abazadde bayinza batya okuwuliriza obulungi abaana baabwe?

8 Abazadde, mufuba okuwuliriza obulungi abaana bammwe? Ekyo kiyinza obutaba kyangu naddala bwe muba nga mukooye oba nga muwulira nti ebyo abaana bammwe bye boogera si bikulu nnyo. Naye kikulu okukijjukira nti ebyo bye muyinza okutwala ng’ebitali bikulu biyinza okuba nga bikulu nnyo eri abaana bammwe. ‘Okuba omwangu ow’okuwuliriza’ kitegeeza nti olina okuwuliriza ebyo omwana wo by’ayogera n’engeri gy’abyogeramu. Eddoboozi omwana wo ly’akozesa n’engeri gy’atunulamu bisobola okukuyamba okutegeera ekyo ky’alowooza. Ate era kikulu okumubuuza ebibuuzo. Bayibuli egamba nti: “Ebintu omuntu by’alowooza biri ng’amazzi agali mu luzzi oluwanvu, naye omuntu alina okutegeera asobola okubisenayo.” (Nge. 20:5, Today’s English Version) Okutegeera n’amagezi bisobola okukuyamba okumanya endowooza omwana wo gy’alina ne ku bintu ebiyinza okumukaluubirira okwogerako.

9. Lwaki abaana basaanidde okuwuliriza bazadde baabwe?

9 Abaana, mugondera bazadde bammwe? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: ‘Mwana wange, wulira okuyigiriza kwa kitaawo, so tova mu tteeka lya nnyoko.’ (Nge. 1:8) Mukijjukire nti bazadde bammwe babaagala nnyo era babaagaliza ekyo ekisingayo obulungi. N’olwekyo, kiba kya magezi okubawuliriza n’okubagondera. (Bef. 6:1) Singa oba n’empuliziganya ennungi ne bazadde bo era n’okijjukiranga nti bakwagala, kijja kukwanguyira okubagondera. Buulira bazadde bo ebyo by’olowooza. Ekyo kijja kubayamba okukutegeera obulungi. Ate era naawe fuba okubategeera obulungi.

10. Ebyo bye tusoma ku Lekobowaamu bituyigiriza ki?

10 Osaanidde okwewala okumala gakkiriza amagezi baana banno ge bakuwa. Amagezi ge bakuwa gayinza okulabika ng’amalungi, naye gayinza obutakuyamba. Mu butuufu, gayinza n’okukuviiramu emitawaana. Olw’okuba baba tebalina magezi na bumanyirivu mu bulamu ng’abantu abakulu, abaana abasinga obungi tebalowooza ku ngeri ebyo bye basalawo okukola gye biyinza okubakosa mu biseera eby’omu maaso. Lowooza ku mutabani wa Kabaka Sulemaani ayitibwa Lekobowaamu. Bwe yafuuka kabaka wa Isiraeri yasalawo okukolera ku magezi bavubuka banne ge baamuwa mu kifo ky’okukolera ku magezi abasajja abakulu ge baali bamuwadde agandimuganyudde. N’ekyavaamu, abantu abasinga obungi mu bwakabaka bwe baasalawo okumwekutulako. (1 Bassek. 12:1-17) Weewale okuba nga Lekobowaamu. Fuba okubuulira bazadde bo ebyo ebikuli ku mutima era okolere ku magezi ge bakuwa.​—Nge. 13:20.

11. Kiki ekiyinza okubaawo singa abaana bazibuwalirwa okwogera ne bazadde baabwe?

11 Abazadde, bwe muba nga mwagala okuyamba abaana bammwe obutanoonya magezi mu baana bannaabwe, mufube okulaba nti abaana bammwe kibanguyira okwogera nammwe. Mwannyinaffe omu omuvubuka yagamba nti: “Kasita nkoona ku linnya ly’omulenzi bw’enti, bazadde bange nga bava mu mbeera. Ekyo kintiisa nnyo ne mba nga sirina kirala kye njagala kubabuulira.” Mwannyinaffe omulala omuvubuka yagamba nti: “Abavubuka bangi baagala nnyo okufuna amagezi okuva eri bazadde baabwe, naye bwe balaba nga bazadde baabwe tebeefiirayo, basalawo okunoonya amagezi okuva mu bantu abalala, nga mw’otwalidde n’abo abatalina bumanyirivu.” Abaana bammwe bwe banaakiraba nti muli beetegefu okubawuliriza nga balina ensonga yonna gye bababuulira, bajja kubeeyabiza era bajja kukkiriza amagezi ge mubawa.

‘MULWEWO OKWOGERA’

12. Kiki abazadde kye bayinza okukola ne kiremesa abaana baabwe okwogera nabo?

12 Abazadde bwe bakambuwalira abaana baabwe nga balina kye bababuulidde, nakyo kisobola okulemesa abaana baabwe okwogera nabo. Kya lwatu nti mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma,’ waliwo ebintu bingi ebisobola okwonoona abaana era abazadde Abakristaayo baagala okukuuma abaana baabwe. (2 Tim. 3:1-5) Kyokka abazadde bwe babaako ebintu bye bakola okukuuma abaana baabwe, abaana baabwe bayinza okukitwala nti bazadde baabwe babakugira nnyo.

13. Lwaki abazadde basaanidde okwewala okwanguyiriza okwogera?

13 Abazadde basaanidde okwewala okwanguyiriza okwogera. Kyo kituufu nti si kyangu kusirika singa omwana wo ayogera ekintu ekikunyiiza. Naye kiba kya magezi okumuwuliriza obulungi nga tonnamuddamu kintu kyonna. Kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Addamu nga tannawulira, busirusiru n’ensonyi gyali.” (Nge. 18:13) Bw’osigala ng’oli mukkakkamu, omwana wo ajja kukubuulira ebisingawo era ekyo kijja kukuyamba okumanya engeri gy’osobola okumuyambamu. (Yob. 6:1-3) N’olwekyo, abazadde mufube okuwuliriza obulungi abaana bammwe musobole okubategeera obulungi era mufube okwogera ebintu ebinaabayamba.

14. Lwaki abaana basaanidde okwewala okwanguyiriza okwogera?

14 Nammwe abaana musaanidde okwewala okwanguyiriza okwogera. Mukijjukire nti Katonda akwasizza bazadde bammwe obuvunaanyizibwa okubatendeka. N’olwekyo bwe babaako kye babagamba, mufube okubawuliriza. (Nge. 22:6) Bayinza okuba nga baayitako mu mbeera ze mulimu kati. Ate era bayinza okuba nga bejjusa ensobi ze baakola nga bakyali bato era nga tebaagala mukole nsobi ze zimu. Bazadde bammwe mikwano gyammwe, so si balabe bammwe. Baagala kubayamba, so si kubalumya. (Soma Engero 1:5.) Bazadde bammwe ‘mubassengamu ekitiibwa,’ era mukirage nti mubaagala nga bwe babaagala. Bwe munaakola bwe mutyo, nabo kijja kubanguyira ‘okubakuza mu kukangavvula kwa Yakuwa n’okubateekamu endowooza ye.’​—Bef. 6:2, 4.

‘MULWEWO OKUSUNGUWALA’

15. Kiki ekinaatuyamba okuba abagumiikiriza n’obutasunguwalira abo be twagala?

15 Ebiseera ebimu kiyinza okutuzibuwalira okwoleka obugumiikiriza eri abo be twagala. Mu bbaluwa gye yawandiikira “abatukuvu era ab’oluganda abeesigwa mu Kristo [abaali] e Kkolosaayi,” omutume Pawulo yagamba nti: “Mmwe abaami, mwagalenga bakyala bammwe era temubasunguwaliranga. Mmwe bataata, temunyiizanga baana bammwe, baleme okuggwaamu amaanyi.” (Bak. 1:1, 2; 3:19, 21) Pawulo yagamba Abeefeso nti: “Okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu n’obubi bwonna biggyibwe mu mmwe.” (Bef. 4:31) Bwe twoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda, gamba ng’okugumiikiriza, obukkakkamu, n’okwefuga, kijja kutuyamba obutava mu mbeera ne bwe kiba nti waliwo ekitunyiizizza.​—Bag. 5:22, 23.

16. Yesu yatereeza atya abayigirizwa be, era lwaki ekyo kyewuunyisa?

16 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi. Lowooza ku ngeri gye yali awuliramu ng’ali wamu n’abatume be ku ky’ekiro kye yasembayo okulya nabo. Yesu yali akimanyi nti yali asigazzaayo akaseera katono attibwe mu bulumi obw’ekitalo. Ate era yali akimanyi nti erinnya lya Kitaawe okusobola okutukuzibwa n’abantu okusobola okulokolebwa, yali alina okusigala nga mwesigwa. Kyokka bwe baali ku ky’ekiro ekyo, abatume be ‘baatandika okukaayana bokka na bokka ku ani ku bo eyali asinga obukulu.’ Yesu teyababoggolera era teyabayombesa. Mu kifo ky’ekyo, yabatereeza mu ngeri ey’obukkakkamu. Yabajjukiza nti baali bamunywereddeko mu biseera ebizibu. Wadde nga Sitaani yali asabye okubawewa ng’eŋŋaano, Yesu yakiraga nti yali abeesiga nti baali bajja kusigala nga beesigwa. Era yakola nabo endagaano ey’Obwakabaka.​—Luk. 22:24-32.

Ofuba okuwuliriza obulungi abaana bo?

17. Kiki ekisobola okuyamba abaana okuba abakkakkamu?

17 N’abaana beetaaga okuba abakkakkamu. Abaana abasinga obungi bwe bavubuka, bazadde baabwe bwe babawa obulagirizi, batera okukitwala nti bazadde baabwe tebabeesiga. Wadde ng’oluusi oyinza okukitwala bw’otyo, osaanidde okukijjukira nti bazadde bo bakuwa obulagirizi olw’okuba bakwagala. Bw’owuliriza bazadde bo era n’okolera ku ebyo bye bakugamba, bajja kukuwa ekitiibwa era bajja kwongera okukwesiga. Ate era bajja kukuwa eddembe erisingako. N’olwekyo, bwe twefuga, kiba kiraga nti tuli ba magezi. Bayibuli egamba nti: “Omusirusiru ayatula obusungu bwe bwonna: naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.”​—Nge. 29:11.

18. Okwagala kuyinza kutya okuyamba ab’omu maka okuba n’empuliziganya ennungi?

18 Abazadde n’abaana, bwe kiba nti empuliziganya gye mulina mu maka si nnungi nga bwe mwandyagadde ebe, ekyo tekisaanidde kubamalamu maanyi. Mweyongere okufuba okuba n’empuliziganya ennungi era mweyongere okutambulira mu mazima. (3 Yok. 4) Mu nsi empya, tujja kuba tutuukiridde, nga tulina empuliziganya ennungi, era nga tewakyaliwo butategeeragana bwonna. Kyokka mu kiseera kino, ffenna tukola ebintu bye twejjusa oluvannyuma. N’olwekyo, mube beetegefu okwetonda, okusonyiwagana, era mufube “okubeera obumu mu kwagala.” (Bak. 2:2) Okwagala kulina amaanyi. ‘Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Tekunyiiga era tekusiba kiruyi. Kugumira ebintu byonna, kukkiriza ebintu byonna, kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna.’ (1 Kol. 13:4-7) Bwe muneeyongera okwagalana, mujja kuba n’empuliziganya ennungi mu maka gammwe era ekyo kijja kubaleetera essanyu era kijja kuweesa Yakuwa ekitiibwa.

a Erinnya likyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share