LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 4/1/05 lup. 18-23
  • Abaana Baffe—Busika bwa Muwendo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abaana Baffe—Busika bwa Muwendo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obusika n’Empeera
  • Yigira ku Kyokulabirako kya Yesu
  • Obugumiikiriza bwa Yesu n’Okufaayo
  • Biseera Byenkana Wa bye Bandimaze n’Abaana?
  • By’Obayigiriza n’Engeri gy’Obayigirizaamu
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe mu Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Engeri y’Okuyigirizaamu Abaana Ebikwata ku Katonda—Ngeri Ki Ezisinga Okukola Obulungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 4/1/05 lup. 18-23

Abaana Baffe​—Busika bwa Muwendo

“Laba, abaana bwe busika bwa Mukama: n’ebibala eby’olubuto ye mpeera ye.”​—ZABBULI 127:3.

1. Omwana eyasooka yatuuka atya okuzaalibwa?

LOWOOZA ku busobozi obw’ekitalo Yakuwa Katonda bwe yawa omusajja n’omukazi abaasooka. Adamu ne Kaawa, buli omu alina ekyamuvaamu ne bisisinkana era ne bikola ekintu ekyakulira mu nda ya Kaawa ekyafuuka omwana eyasooka. (Olubereberye 4:1) Na guno gujwa, engeri omwana gy’akolebwamu mu lubuto lwa nnyina n’engeri gy’azaalibwamu bitwewuunyisa nnyo era bangi babitwala ng’ekyamagero.

2. Lwaki oyinza okugamba nti ebikolebwa mu lubuto lw’omukazi bya kyewuunyo?

2 Mu nnaku nga 270, akatoffaali akamu akakolebwa mu lubuto lwa maama oluvannyuma lw’okwegatta ne taata, kakula ne kafuuka omwana era ng’omubiri gwe gulimu obutoffaali buwumbi na buwumbi obw’ebika eby’enjawulo. Akatoffaali ako akamu, kabaamu ebiwandiiko ebyetaagisa okusobola okukola obutoffaali obulala obusukka mu 200. Nga bugoberera enkola ey’ekitalo abantu gye batasobola kutegeera, obuwumbi n’obuwumbi bw’obutoffaali obwo bwonna obw’ebika eby’enjawulo, bwepanga mu ngeri ebusobozesa okukola omuntu omulamba!

3. Lwaki abantu bangi abalina okutegeera bakkiriza nti Katonda y’avunaanyizibwa ku kuzaalibwa kw’omwana?

3 Kati olwo, olowooza ani ddala avunaanyizibwa okukola omwana? Awatali kubuusabuusa, y’Oyo eyatonda obulamu. Omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Mumanye nga Mukama ye Katonda, oyo ye yatutonda, naffe tuli babe.” (Zabbuli 100:3) Abazadde, mukimanyi bulungi nnyo nti amagezi gammwe si ge gaabasobozesa okuzaala omwana. Katonda ow’amagezi ag’ensusso ye nsibuko y’obulamu bw’omwana obutondebwa mu ngeri ey’ekitalo. Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, abantu abalina okutegeera bakikkiriza nti Omutonzi ow’Ekitalo y’avunaanyizibwa okukola omwana mu lubuto lwa nnyina. Naawe ekyo okikkiriza?​—Zabbuli 139:13-16.

4. Okwawukana ku Yakuwa, ngeri ki abantu abamu gye batalina?

4 Naye, Yakuwa Mutonzi atalina nneewulira eyamala gawa abasajja n’abakazi obusobozi bw’okuzaala abaana? Abantu abamu tebalina nneewulira, naye Yakuwa si bwali bw’atyo. (Zabbuli 78:38-40) Baibuli egamba bw’eti mu Zabbuli 127:3: “Laba, abaana bwe busika bwa Mukama: n’ebibala eby’olubuto ye mpeera ye.” Ka tulabe obusika kye ki era n’ekyo kye bwoleka.

Obusika n’Empeera

5. Lwaki abaana kya busika?

5 Obusika buba ng’ekirabo. Emirundi mingi abazadde bakuluusana nnyo okulaba nti babaako eky’obusika kye balekera abaana baabwe. Kiyinza okuba ssente, ettaka, oba ekintu ekirala kyonna eky’omuwendo. Kyonna kye baba balese, kiba kyoleka okwagala kwe balina eri abaana baabwe. Baibuli eraga nti eky’obusika Katonda ky’awadde abazadde be baana. Abaana abo kirabo ekyoleka okwagala kwe gye bali. Bw’oba oli muzadde, oyinza okugamba nti ebikolwa byo byoleka nti otwala abaana bo ng’ekirabo Omutonzi w’obutonde bwonna ky’akuwadde?

6. Katonda yalina kigendererwa ki mu kusobozesa abantu okuzaala abaana?

6 Ekigendererwa kya Yakuwa eky’okuwa Adamu ne Kaawa ekirabo kino kyali nti ensi ejjule bazzukulu baabwe. (Olubereberye 1:27, 28; Isaaya 45:18) Yakuwa teyatonda bantu kinnoomu nga bwe yakola eri obukadde n’obukadde bwa bamalayika. (Zabbuli 104:4; Okubikkulirwa 4:11) Wabula, yasalawo okutonda abantu nga balina obusobozi bw’okuzaala abaana abandibafaananye. Nga maama ne taata baba n’enkizo ya kitalo nnyo ey’okuzaala omwana n’okumulabirira! Abazadde, mwebaza Yakuwa olw’okubasobozesa okufuna eky’obusika kino eky’omuwendo?

Yigira ku Kyokulabirako kya Yesu

7. Okwawukana ku bazadde abamu, Yesu yalaga atya nti afaayo ku ‘baana b’abantu’?

7 Kya nnaku nnyo nti abazadde abamu tebatwala baana baabwe ng’ekirabo. Bangi tebabafaako. Abazadde ng’abo tebakoppa ndowooza ya Yakuwa oba ey’Omwana we. (Zabbuli 27:10; Isaaya 49:15) Okwawukana ku bazadde ng’abo, weetegereze engeri Yesu gye yafaayo ku baana. Ne bwe yali nga tannajja ku nsi ng’omuntu, Baibuli egamba nti ‘yasanyukiranga nnyo abaana b’abantu.’ (Engero 8:31) Okwagala kwe yalina eri abantu kwali kwa maanyi nnyo ne kiba nti yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Matayo 20:28; Yokaana 10:18.

8. Yesu yateekerawo atya abazadde ekyokulabirako ekirungi?

8 Bwe yali ku nsi, Yesu yateerawo abazadde ekyokulabirako ekirungi ennyo. Lowooza ku ekyo kye yakola. Ne bwe yali ng’alina eby’okukola bingi n’eby’okulowoozaako, yawaayo ebiseera okubeerako awamu n’abaana. Yabeetegereza nga bazannyira mu katale era ebintu bye baakolanga n’abikozesa mu kuyigiriza kwe. (Matayo 11:16, 17) Ku lugendo lwe olwasembayo, ng’ayolekera e Yerusaalemi, Yesu yali akimanyi nti agenda kubonyaabonyezebwa era attibwe. Abantu bwe baamuleetera abaana okumulaba, abayigirizwa ba Yesu baagezaako okugaana abaana okujja waali, oboolyawo nga tebaagala atawaanyizibwe. Kyokka, Yesu yanenya abayigirizwa be. Yabalaga ‘bw’ayagala’ abaana abato, ng’agamba: “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana.”​—Makko 10:13, 14.

9. Lwaki ebikolwa bikulu nnyo okusinga ebigambo?

9 Tusobola okukoppa ekyokulabirako kya Yesu. Singa abaana bajja gye tuli, ne bwe tuba nga tulina eby’okukola bingi, tubayisa tutya? Tukola nga Yesu bwe yakola? Abaana kye basingira ddala okwetaaga okuva eri bazadde baabwe, ky’ekyo kyennyini Yesu kye yabawa​—ebiseera n’okubafaako. Kyo kituufu nti, ebigambo nga “nkwagala” bikulu nnyo. Kyokka, ebigambo obugambo ku bwabyo tebimala. Okwagala kw’obalaga tekujja kweyolekera mu bigambo byokka, naye okusingira ddala kujja kweyolekera mu bikolwa byo. Kweyolekera mu ngeri gy’obalabiriramu, ebiseera by’obawa, era n’engeri gy’obafaako. Kyokka, wadde ng’omuzadde ayinza okukola ebyo byonna, okufuba kwe kuyinza obutavaamu mangu bibala nga bw’abadde asuubira. N’olwekyo, kyetaagisa okuba omugumiikiriza. Tuyinza okuyiga okuba abagumiikiriza singa tukoppa engeri Yesu gye yakolaganamu n’abayigirizwa be.

Obugumiikiriza bwa Yesu n’Okufaayo

10. Yesu yayigiriza atya abayigirizwa be okuba abeetoowaze, era kino kyavaamu ebibala amangu ago?

10 Yesu yali akimanyi nti abayigirizwa be baakayaniranga obukulu. Lumu bwe yatuuka e Kaperunawumu ng’ali n’abatume be, yababuuza: “Mubadde muwakana ki mu kkubo? Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti ani omukulu.” Mu kifo ky’okubanenya mu bukambwe, Yesu yabagumiikiriza era n’abalaga ekyokulabirako ekirungi ng’agezaako okubayigiriza obwetoowaze. (Makko 9:33-37) Kino kyavaamu ebibala nga bwe yali asuubira? Tebyali bya mangu ago. Nga wayiseewo emyezi mukaaga, Yakobo ne Yokaana baasaba maama waabwe agambe Yesu abawe ebifo eby’okumwanjo mu Bwakabaka. Ne ku olwo Yesu yayoleka obugumiikiriza n’atereeza endowooza yaabwe.​—Matayo 20:20-28.

11. (a) Kiki abatume ba Yesu kye baalemererwa okukola ng’empisa bwe yali nga bali naye mu kisenge ekya waggulu? (b) Yesu yakola ki, era okufuba kwe kwavaamu ebibala amangu ago?

11 Oluvannyuma lw’ekiseera, Yesu yakuŋŋaana wamu n’abatume be okukwata Embaga ey’Okuyitako eya 33 C.E. Bwe baatuuka mu kisenge ekya waggulu, tewali n’omu ku batume 12 eyeewaayo okunaaza ebigere bya banne, ng’empisa bwe yali, omulimu ogwali ogwa wansi ennyo ogwakolebwanga omuweereza oba omuzaana ow’omu maka. (1 Samwiri 25:41; 1 Timoseewo 5:10) Nga kiteekwa okuba nga kyamunakuwaza nnyo okulaba ng’abayigirizwa bakyayagala obukulu! Bwe kityo, yabanaaza ebigere era n’abakubiriza okukoppa ekyokulabirako kye eky’okuweereza abalala. (Yokaana 13:4-17) Baamukoppa? Baibuli egamba nti waayita akaseera katono, ‘ne wabalukawo empaka ku ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu.’​—Lukka 22:24.

12. Abazadde bayinza batya okukoppa Yesu nga batendeka abaana baabwe?

12 Abazadde, abaana bammwe bwe bagaana okukolera ku kubuulirira kwammwe mutegeera engeri Yesu gye yawuliramu? Weetegereze nti Yesu teyalekera awo kuyamba batume be wadde nga baalwangawo okukolera ku kubuulirira kwe. Naye, mu nkomerero obugumiikiriza bwe bwavaamu ebibala. (1 Yokaana 3:14, 18) Abazadde, kiba kirungi ne mukoppa Yesu nga mulaga okwagala n’obugumiikiriza, nga temulekulira kuyigiriza baana bammwe.

13. Lwaki omuzadde teyandiboggoledde mwana we ng’abaddeko ne ky’amubuuza?

13 Abaana beetaaga okukimanya nti bazadde baabwe babaagala era nti babafaako. Yesu yayagalanga okumanya abayigirizwa be kye baabanga balowooza, ye nsonga lwaki bwe baamubuuzanga ebibuuzo yabawulirizanga. Yababuuzanga kye balowooza ku nsonga ezimu. (Matayo 17:25-27) Yee, okuyigiriza kuzingiramu okuwuliriza obulungi n’okulaga okufaayo okwa nnamaddala. Omuzadde yandyewaze okuziyiza omwana ng’abaddeko ne ky’amubuuza ng’amuboggolera nti: “Genda eri! Tokiraba nti nkola nnyo?” Singa omuzadde aba akola nnyo, kyandibadde kirungi okutegeeza omwana nti ensonga eyo bajja kugyogerako oluvannyuma. Era abazadde balina okukakasa nti ensonga eyo bagyogerako. Mu ngeri eyo, omwana ajja kukitegeera nti omuzadde amufaako, era kijja kumwanguyiranga okumubuulira ekimuli ku mutima.

14. Kiki abazadde kye bayinza okuyigira ku Yesu ku bikwata ku kulaga abaana baabwe okwagala?

14 Kisaanira abazadde okulaga abaana baabwe okwagala nga babawambaatira? Ne ku nsonga eno abazadde balina kye bayinza okuyigira ku Yesu. Baibuli egamba nti ‘Yesu n’awambaatira abaana, n’abawa omukisa, ng’abassaako emikono.’ (Makko 10:16) Olowooza abaana baawulira batya? Awatali kubuusabuusa baakwatibwako nnyo era ne baagala okumubeera ku lusegere! Singa abazadde mufaayo ku baana bammwe era ne mubalaga okwagala okwa nnamaddala, kijja kubanguyira okukkiriza okukangavvula n’okuyigiriza kwe mubawa.

Biseera Byenkana Wa bye Bandimaze n’Abaana?

15, 16. Nkola ki ekubirizibwa ennyo mu kukuza abaana, era yava ku ki?

15 Kyokka, abamu babuusabuusa obanga ddala abazadde bandiwaddeyo ebiseera bingi okubeerako n’abaana baabwe. Enkola emu abantu bangi gye bakubiriza era gye batwala nti nnungi nnyo mu kukuza abaana, kwe kukozesa ebiseera by’omala nabo mu ngeri esingayo obulungi. Abakubiriza enkola eyo bagamba nti abaana tebeetaaga biseera bingi nnyo, kasita kiba nti ebiseera abazadde bye bamala nabo babikozesa mu ngeri ey’amakulu era esingayo obulungi. Naye ddala enkola eyo nnungi, ne kiba nti abagikubiriza baalowooza ku ekyo ekinaasinga okuganyula abaana?

16 Omuwandiisi omu eyayogerako n’abaana abawerako yagamba nti abaana “kye basinga okwetaaga okuva eri abazadde kwe kubeerako nabo ekiseera ekimala n’okubafaako mu bujjuvu.” Kakensa ow’ettendekero erimu yagamba: “Enkola eno ezzeewo lwa kuba abazadde bakizudde nti tebakyatuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe. Abazadde babadde n’ensonga ze beekwasa nti ze zibaviirako obutabeera na baana baabwe.” Kati olwo, ebiseera byenkana wa abazadde bye balina okumala n’abaana baabwe?

17. Abaana beetaaga ki okuva eri bazadde baabwe?

17 Baibuli teraga biseera bazadde bye basaanidde kumala na baana baabwe. Kyokka, abazadde Abaisiraeri baakubirizibwa okuyigirizanga abaana baabwe nga bali mu nju, nga batambula mu kkubo, nga bagalamidde era nga bagolokose. (Ekyamateeka 6:7) Kino kitegeeza nti abazadde beetaaga okuwaayo ebiseera buli lunaku okunyumya n’abaana baabwe era n’okubayigiriza.

18. Yesu yakozesa atya buli kakisa ke yafuna okuyigiriza abayigirizwa be, era kiki abazadde kye bayinza okumuyigirako?

18 Yesu yasobola okuyigiriza abayigirizwa be bwe baalinga balya, nga batambula era ne bwe babanga bawummuddeko. Bwe kityo, yakozesa buli kakisa konna okubayigiriza. (Makko 6:31, 32; Lukka 8:1; 22:14) Mu ngeri y’emu, abazadde Abakristaayo bandibadde beetegefu okukozesa buli kakisa konna ke bafuna okunyumyako n’abaana baabwe n’okubayigiriza amakubo ga Yakuwa.

By’Obayigiriza n’Engeri gy’Obayigirizaamu

19. (a) Kiki ekirala ekyetaagisa ng’oggyeko okuwaayo ebiseera okubeerako n’abaana? (b) Okusingira ddala kiki abazadde kye balina okuyigiriza abaana baabwe?

19 Kyokka, okuwaayo obuwi ebiseera okubeerako n’abaana bo oba okwogerako obwogezi nabo si bye byokka ebizingirwa mu kubakuza obulungi. Ekintu ekirala ekikulu, by’ebyo by’obayigiriza. Weetegereze ekyo Baibuli ky’eraga ekirina okuyigirizibwa abaana. Egamba bw’eti: “Ebigambo bino bye nkulagira leero, onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo.” “Ebigambo bino” ebirina okuyigirizibwa abaana bye biruwa? Kya lwatu, by’ebyo ebyali by’akamala okwogerwako, ebigamba nti: “Onooyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna.” (Ekyamateeka 6:5-7) Yesu yagamba nti lino lye tteeka erisinga obukulu mu mateeka ga Katonda gonna. (Makko 12:28-30) Okusingira ddala, abazadde balina okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Yakuwa, nga babannyonnyola ensonga lwaki ye yekka gwe tugwanidde okwagala n’omutima gwaffe gwonna era n’okwemalirako.

20. Kiki Katonda kye yalagira abazadde ab’edda okuyigiriza abaana baabwe?

20 Kyokka, “ebigambo bino” abazadde bye bakubirizibwa okuyigiriza abaana baabwe tebikoma ku kubakubiriza kwagala Katonda n’omutima gwabwe gwonna. Ojja kukyetegereza nti mu ssuula ey’okutaano ey’ekitabo ky’Ekyamateeka, Musa yaddamu okunokolayo Amateeka Ekkumi Katonda ge yawandiika ku mayinja. Mu gano mwalimu amateeka gamba nga tolimbanga, tobbanga, tottanga, ne toyendanga. (Ekyamateeka 5:11-22) N’olwekyo, abazadde ab’edda baakubirizibwanga okuyigiriza abaana baabwe empisa ennungi. N’abazadde Abakristaayo leero balina okuyigiriza abaana baabwe ebintu ng’ebyo bwe baba ab’okubayamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era eby’essanyu.

21. Kiki Katonda kye yali ategeeza bwe yalagira abazadde ‘okunyiikira okuyigiriza’ abaana baabwe ekigambo kye?

21 Weetegereze nti abazadde balagibwa bulungi engeri gye bayinza okuyigirizaamu abaana baabwe ‘ebigambo ebyo,’ oba amateeka ago: “Onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo.” Ebigambo “onoonyiikiranga okubiyigiriza,” birina amakulu ‘ag’okuddiŋŋana, okwogera ku kintu enfunda n’enfunda, oba okukkaatiriza ensonga okusobola okutuuka ku mutima.’ N’olwekyo, wano Katonda alagira abazadde okuba n’enteekateeka ey’okuyigiriza abaana baabwe Baibuli nga balina ekigendererwa eky’okukkaatiriza ebintu eby’omwoyo bisobole okutuuka ku mitima gyabwe.

22. Kiki abazadde Abaisiraeri kye baagambibwa okukola nga bayigiriza abaana baabwe, era kino kyali kitegeeza ki?

22 Omuzadde okusobola okuba n’enteekateeka ng’eyo kimwetaagisa okuba omumalirivu. Baibuli egamba: “Era [“ebigambo bino,” oba amateeka ga Katonda] onoobisibanga okuba akabonero ku mukono gwo, era binaabanga eby’oku kyenyi wakati w’amaaso go. Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy’ennyumba yo, ne ku nzigi zo.” (Ekyamateeka 6:8, 9) Kino tekitegeeza nti abazadde balina okuwandiika amateeka ga Katonda ku mifubeeto n’enzigi z’amayumba gaabwe, okugasiba ku mikono gy’abaana baabwe, oba okugateeka mu byenyi byabwe. Wabula, kitegeeza nti abazadde basaanidde okujjukizanga abaana baabwe amateeka ga Katonda. Basaanidde okuyigiriza abaana baabwe obutayosa, ne kibanga okuyigiriza kwa Katonda okuli mu byenyi byabwe ebbanga lyonna.

23. Biki bye tujja okwekenneenya mu kitundu kye tunaasoma wiiki ejja?

23 Bintu ki ebikulu abazadde bye basaanidde okuyigiriza abaana baabwe? Lwaki kikulu leero abaana okuyigirizibwa n’okutendekebwa okwekuuma? Kiki abazadde kye bayinza okweyambisa okusobola okuyigiriza obulungi abaana baabwe? Ebibuuzo bino n’ebirala abazadde bangi bye beebuuza, bijja kwekeneenyezebwa mu kitundu ekiddako.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki abazadde banditutte abaana baabwe nga ba muwendo?

• Kiki abazadde n’abantu abalala kye bayinza okuyigira ku Yesu?

• Biseera byenkana wa abazadde bye bandimaze n’abaana baabwe?

• Biki abaana bye balina okuyigirizibwa, era batya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Kiki abazadde kye bayinza okuyigira ku ngeri Yesu gye yayigirizaamu?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]

Ddi abazadde Abaisiraeri lwe baalina okuyigiriza abaana baabwe, era batya?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]

Abazadde balina okuyigirizanga abaana baabwe ebikwata ku Katonda

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share