LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 78
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Katonda afaayo; Isirayiri terina kukkiriza

        • Buulira emirembe egiriddawo (2-8)

        • “Tebaalina kukkiriza” (22)

        • “Emmere ey’omu ggulu” (24)

        • ‘Baanakuwaza Omutukuvu wa Isirayiri’ (41)

        • Okuva e Misiri okugenda mu Nsi Ensuubize (43-55)

        • “Beeyongera okugezesa Katonda” (56)

Zabbuli 78:obugambo obuli waggulu

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +1By 25:1

Zabbuli 78:1

Footnotes

  • *

    Oba, “obulagirizi bwange.”

Zabbuli 78:2

Marginal References

  • +Nge 1:5, 6; Mat 13:34, 35

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2011, lup. 11

    9/1/2002, lup. 22

Zabbuli 78:3

Marginal References

  • +Kuv 13:8; Zb 44:1

Zabbuli 78:4

Marginal References

  • +Ma 4:9; 6:6, 7, 21; 11:18, 19; Yos 4:6, 7
  • +Is 63:7
  • +Zb 98:1

Zabbuli 78:5

Marginal References

  • +Lub 18:19; Ma 6:6, 7

Zabbuli 78:6

Marginal References

  • +Zb 71:17, 18; 102:18
  • +Ma 4:10

Zabbuli 78:7

Marginal References

  • +Ma 4:9; Zb 103:2
  • +Ma 5:29

Zabbuli 78:8

Footnotes

  • *

    Obut., “oguteeteeseteese.”

Marginal References

  • +Kuv 32:9; Ma 1:43; 31:27; 2Sk 17:13, 14; Ezk 20:18; Bik 7:51
  • +Zb 81:11, 12; Yer 7:24-26

Zabbuli 78:10

Marginal References

  • +Ma 31:16
  • +2By 13:8, 9; Nek 9:26

Zabbuli 78:11

Marginal References

  • +Ma 32:18; 2By 13:12; Yer 2:32
  • +Zb 106:21, 22

Zabbuli 78:12

Marginal References

  • +Ma 4:34; Nek 9:10
  • +Kbl 13:22

Zabbuli 78:13

Marginal References

  • +Kuv 14:21, 22; 15:8

Zabbuli 78:14

Marginal References

  • +Kuv 13:21; 14:20, 24

Zabbuli 78:15

Marginal References

  • +Kuv 17:6; Kbl 20:11; Zb 105:41; Is 48:21; 1Ko 10:4

Zabbuli 78:16

Marginal References

  • +Ma 8:14, 15

Zabbuli 78:17

Marginal References

  • +Ma 9:21, 22; Zb 95:8; Beb 3:16

Zabbuli 78:18

Marginal References

  • +Zb 106:14

Zabbuli 78:19

Marginal References

  • +Kuv 16:8

Zabbuli 78:20

Marginal References

  • +Kuv 17:6
  • +Kuv 16:3

Zabbuli 78:21

Marginal References

  • +Kbl 11:10
  • +Beb 12:29
  • +Kbl 11:1

Zabbuli 78:22

Marginal References

  • +Zb 106:24; Beb 3:10; Yud 5

Zabbuli 78:24

Marginal References

  • +Kuv 16:14, 35; 16:31, 32; Kbl 11:7; Ma 8:3; Yok 6:31; 1Ko 10:2, 3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2006, lup. 9

Zabbuli 78:25

Footnotes

  • *

    Oba, “eya bamalayika.”

Marginal References

  • +Zb 103:20
  • +Kuv 16:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2006, lup. 9

Zabbuli 78:26

Marginal References

  • +Kbl 11:31-34

Zabbuli 78:29

Marginal References

  • +Kbl 11:19, 20

Zabbuli 78:31

Marginal References

  • +Kbl 11:10
  • +Kbl 11:34

Zabbuli 78:32

Marginal References

  • +Kbl 14:2-4; 25:3; 1Ko 10:8-10
  • +Kuv 16:15; Ma 8:14, 15

Zabbuli 78:33

Marginal References

  • +Kbl 14:29, 35; Ma 2:14

Zabbuli 78:34

Marginal References

  • +Kbl 21:7; Bal 4:3

Zabbuli 78:35

Footnotes

  • *

    Oba, “y’abawoolerera eggwanga.”

Marginal References

  • +Ma 32:4
  • +Kuv 6:6

Zabbuli 78:37

Marginal References

  • +Zb 95:10; Beb 3:10
  • +Ma 31:20; Yer 31:32

Zabbuli 78:38

Footnotes

  • *

    Obut., “Yabikkanga ku nsobi.”

Marginal References

  • +Kuv 34:6; Kbl 14:18; Nek 9:31
  • +Kbl 14:19, 20; Yer 30:11; Kuk 3:22
  • +Nek 9:27; Is 48:9; Ezk 20:9

Zabbuli 78:39

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Omwoyo gugenda ne gutadda.”

Marginal References

  • +Zb 103:14

Zabbuli 78:40

Marginal References

  • +Kbl 14:11
  • +Is 63:10; Bef 4:30; Beb 3:16

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 7

Zabbuli 78:41

Footnotes

  • *

    Oba, “Era baalumya.”

Marginal References

  • +Kbl 14:22; Ma 6:16; Zb 95:8, 9

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 7

Zabbuli 78:42

Footnotes

  • *

    Obut., “omukono gwe.”

Marginal References

  • +Kuv 14:30

Zabbuli 78:43

Marginal References

  • +Ma 4:34; Nek 9:10; Zb 105:27-36

Zabbuli 78:44

Marginal References

  • +Kuv 7:19

Zabbuli 78:45

Marginal References

  • +Kuv 8:24
  • +Kuv 8:6

Zabbuli 78:46

Marginal References

  • +Kuv 10:14, 15

Zabbuli 78:47

Marginal References

  • +Kuv 9:23

Zabbuli 78:48

Marginal References

  • +Kuv 9:25

Zabbuli 78:50

Footnotes

  • *

    Obut., “Yawaayo obulamu bwabwe.”

Zabbuli 78:51

Marginal References

  • +Kuv 12:29; Zb 105:36

Zabbuli 78:52

Marginal References

  • +Zb 77:20; 105:37

Zabbuli 78:53

Marginal References

  • +Kuv 14:20; Beb 11:29
  • +Kuv 14:27; 15:10

Zabbuli 78:54

Marginal References

  • +Kuv 15:17
  • +Zb 44:3

Zabbuli 78:55

Marginal References

  • +Yos 24:12; Zb 44:2
  • +Yos 13:7
  • +Nek 9:24, 25

Zabbuli 78:56

Marginal References

  • +Ma 31:16; 32:15; Bal 2:11; 2Sa 20:1; Nek 9:26
  • +2Sk 17:15; Yer 44:23

Zabbuli 78:57

Marginal References

  • +Ma 9:7; Bal 3:6
  • +Kos 7:16

Zabbuli 78:58

Footnotes

  • *

    Oba, “baamukwasanga obuggya.”

Marginal References

  • +Ma 12:2; Bal 2:2; Ezk 20:28
  • +Bal 2:12; 1Sa 7:3

Zabbuli 78:59

Marginal References

  • +Bal 2:20

Zabbuli 78:60

Marginal References

  • +Yos 18:1; 1Sa 4:11
  • +Yer 7:12

Zabbuli 78:61

Marginal References

  • +1Sa 4:21; 5:1

Zabbuli 78:62

Marginal References

  • +1Sa 4:2, 10

Zabbuli 78:63

Footnotes

  • *

    Obut., “Era bawala be tebaabatendereza.”

Zabbuli 78:64

Marginal References

  • +1Sa 2:33, 34; 4:11
  • +1Sa 4:19

Zabbuli 78:65

Marginal References

  • +Zb 44:23
  • +Is 42:13

Zabbuli 78:66

Marginal References

  • +1Sa 5:6

Zabbuli 78:68

Marginal References

  • +Lub 49:10
  • +Zb 87:2; 132:13; 135:21

Zabbuli 78:69

Marginal References

  • +Zb 76:2
  • +Zb 104:5; 119:90; Mub 1:4

Zabbuli 78:70

Marginal References

  • +1Sa 16:12, 13
  • +1Sa 17:15

Zabbuli 78:71

Marginal References

  • +2Sa 7:8
  • +2Sa 6:21

Zabbuli 78:72

Marginal References

  • +2Sa 8:15; 1Sk 3:6; 9:4; 15:5
  • +1Sa 18:14

General

Zab. 78:obugambo obuli waggulu1By 25:1
Zab. 78:2Nge 1:5, 6; Mat 13:34, 35
Zab. 78:3Kuv 13:8; Zb 44:1
Zab. 78:4Ma 4:9; 6:6, 7, 21; 11:18, 19; Yos 4:6, 7
Zab. 78:4Is 63:7
Zab. 78:4Zb 98:1
Zab. 78:5Lub 18:19; Ma 6:6, 7
Zab. 78:6Zb 71:17, 18; 102:18
Zab. 78:6Ma 4:10
Zab. 78:7Ma 4:9; Zb 103:2
Zab. 78:7Ma 5:29
Zab. 78:8Kuv 32:9; Ma 1:43; 31:27; 2Sk 17:13, 14; Ezk 20:18; Bik 7:51
Zab. 78:8Zb 81:11, 12; Yer 7:24-26
Zab. 78:10Ma 31:16
Zab. 78:102By 13:8, 9; Nek 9:26
Zab. 78:11Ma 32:18; 2By 13:12; Yer 2:32
Zab. 78:11Zb 106:21, 22
Zab. 78:12Ma 4:34; Nek 9:10
Zab. 78:12Kbl 13:22
Zab. 78:13Kuv 14:21, 22; 15:8
Zab. 78:14Kuv 13:21; 14:20, 24
Zab. 78:15Kuv 17:6; Kbl 20:11; Zb 105:41; Is 48:21; 1Ko 10:4
Zab. 78:16Ma 8:14, 15
Zab. 78:17Ma 9:21, 22; Zb 95:8; Beb 3:16
Zab. 78:18Zb 106:14
Zab. 78:19Kuv 16:8
Zab. 78:20Kuv 17:6
Zab. 78:20Kuv 16:3
Zab. 78:21Kbl 11:10
Zab. 78:21Beb 12:29
Zab. 78:21Kbl 11:1
Zab. 78:22Zb 106:24; Beb 3:10; Yud 5
Zab. 78:24Kuv 16:14, 35; 16:31, 32; Kbl 11:7; Ma 8:3; Yok 6:31; 1Ko 10:2, 3
Zab. 78:25Zb 103:20
Zab. 78:25Kuv 16:12
Zab. 78:26Kbl 11:31-34
Zab. 78:29Kbl 11:19, 20
Zab. 78:31Kbl 11:10
Zab. 78:31Kbl 11:34
Zab. 78:32Kbl 14:2-4; 25:3; 1Ko 10:8-10
Zab. 78:32Kuv 16:15; Ma 8:14, 15
Zab. 78:33Kbl 14:29, 35; Ma 2:14
Zab. 78:34Kbl 21:7; Bal 4:3
Zab. 78:35Ma 32:4
Zab. 78:35Kuv 6:6
Zab. 78:37Zb 95:10; Beb 3:10
Zab. 78:37Ma 31:20; Yer 31:32
Zab. 78:38Kuv 34:6; Kbl 14:18; Nek 9:31
Zab. 78:38Kbl 14:19, 20; Yer 30:11; Kuk 3:22
Zab. 78:38Nek 9:27; Is 48:9; Ezk 20:9
Zab. 78:39Zb 103:14
Zab. 78:40Kbl 14:11
Zab. 78:40Is 63:10; Bef 4:30; Beb 3:16
Zab. 78:41Kbl 14:22; Ma 6:16; Zb 95:8, 9
Zab. 78:42Kuv 14:30
Zab. 78:43Ma 4:34; Nek 9:10; Zb 105:27-36
Zab. 78:44Kuv 7:19
Zab. 78:45Kuv 8:24
Zab. 78:45Kuv 8:6
Zab. 78:46Kuv 10:14, 15
Zab. 78:47Kuv 9:23
Zab. 78:48Kuv 9:25
Zab. 78:51Kuv 12:29; Zb 105:36
Zab. 78:52Zb 77:20; 105:37
Zab. 78:53Kuv 14:20; Beb 11:29
Zab. 78:53Kuv 14:27; 15:10
Zab. 78:54Kuv 15:17
Zab. 78:54Zb 44:3
Zab. 78:55Yos 24:12; Zb 44:2
Zab. 78:55Yos 13:7
Zab. 78:55Nek 9:24, 25
Zab. 78:56Ma 31:16; 32:15; Bal 2:11; 2Sa 20:1; Nek 9:26
Zab. 78:562Sk 17:15; Yer 44:23
Zab. 78:57Ma 9:7; Bal 3:6
Zab. 78:57Kos 7:16
Zab. 78:58Ma 12:2; Bal 2:2; Ezk 20:28
Zab. 78:58Bal 2:12; 1Sa 7:3
Zab. 78:59Bal 2:20
Zab. 78:60Yos 18:1; 1Sa 4:11
Zab. 78:60Yer 7:12
Zab. 78:611Sa 4:21; 5:1
Zab. 78:621Sa 4:2, 10
Zab. 78:641Sa 2:33, 34; 4:11
Zab. 78:641Sa 4:19
Zab. 78:65Zb 44:23
Zab. 78:65Is 42:13
Zab. 78:661Sa 5:6
Zab. 78:68Lub 49:10
Zab. 78:68Zb 87:2; 132:13; 135:21
Zab. 78:69Zb 76:2
Zab. 78:69Zb 104:5; 119:90; Mub 1:4
Zab. 78:701Sa 16:12, 13
Zab. 78:701Sa 17:15
Zab. 78:712Sa 7:8
Zab. 78:712Sa 6:21
Zab. 78:722Sa 8:15; 1Sk 3:6; 9:4; 15:5
Zab. 78:721Sa 18:14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
  • 42
  • 43
  • 44
  • 45
  • 46
  • 47
  • 48
  • 49
  • 50
  • 51
  • 52
  • 53
  • 54
  • 55
  • 56
  • 57
  • 58
  • 59
  • 60
  • 61
  • 62
  • 63
  • 64
  • 65
  • 66
  • 67
  • 68
  • 69
  • 70
  • 71
  • 72
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zabbuli 78:1-72

Zabbuli

Masukiri.* Zabbuli ya Asafu.+

78 Abantu bange muwulirize amateeka gange;*

Mutege amatu muwulire ebigambo ebiva mu kamwa kange.

 2 Nja kwogera mu ngero.

Nja kwogera ebintu ebikusike eby’edda.+

 3 Ebintu bye twawulira era bye tumanyi,

Bakitaffe bye baatubuulira,+

 4 Tetujja kubikweka bazzukulu baabwe;

Tujja kubuulira omulembe ogunaddawo+

Ebikolwa bya Yakuwa eby’ettendo n’amaanyi ge,+

Ebintu eby’ekitalo by’akoze.+

 5 Yassaawo eky’okujjukiza mu Yakobo,

Era yassaawo etteeka mu Isirayiri;

Yalagira bajjajjaffe

Okutegeeza abaana baabwe ebintu bino,+

 6 Omulembe ogwandizzeewo,

Abaana abandizaaliddwa, babimanye.+

Nabo babibuulire abaana baabwe.+

 7 Olwo abo bandyesize Katonda.

Tebandyerabidde ebyo Katonda bye yakola,+

Wabula bandikutte ebiragiro bye.+

 8 Bwe batyo tebandibadde nga bajjajjaabwe,

Omulembe ogw’emputtu era omujeemu,+

Omulembe ogwalina omutima ogutateredde,*+

Era omulembe ogutaali mwesigwa eri Katonda.

 9 Abeefulayimu baalina emitego egy’obusaale,

Naye baakyuka ne badduka ku lunaku olw’olutalo.

10 Baamenya endagaano ya Katonda,+

Era baagaana okutambulira mu mateeka ge.+

11 Beerabira bye yakola,+

Ebikolwa bye eby’ekitalo bye yabalaga.+

12 Yakola ebyewuunyisa nga bajjajjaabwe balaba,+

Mu nsi ya Misiri, mu kitundu ky’e Zowani.+

13 Yayawulamu ennyanja basobole okuyitamu,

Era yayimiriza amazzi ne gaba ng’ekisenge.+

14 Emisana yabakulembera ng’akozesa ekire

Ate ekiro kyonna ng’akozesa ekitangaala eky’omuliro.+

15 Yayasaamu enjazi mu ddungu,

Yabanywesa amazzi mangi ng’agava mu buziba.+

16 Yakulukusa amazzi okuva mu lwazi

Era yaleetera amazzi okukulukuta ng’emigga.+

17 Naye ne beeyongera okwonoona

Bwe baajeemera oyo Asingayo Okuba Waggulu nga bali mu ddungu;+

18 Baagezesa Katonda mu mitima gyabwe+

Nga basaba eby’okulya bye baali baagala.

19 Baayogera bubi ku Katonda,

Nga bagamba nti: “Katonda asobola okutufunira emmere mu ddungu?”+

20 Laba! Yakuba ku lwazi

Amazzi ne gafukumuka ne ganjaala.+

“Asobola n’okutuwa emmere,

Era asobola okuwa abantu be ennyama?”+

21 Yakuwa bwe yabawulira n’asunguwala;+

Omuliro+ ne gubuubuukira Yakobo,

Era obusungu bwe ne bubuubuukira Isirayiri+

22 Olw’okuba tebaalina kukkiriza;+

Tebeesiga Katonda nti yali asobola okubalokola.

23 Kyeyava alagira ebire waggulu,

N’aggulawo emiryango gy’eggulu.

24 Yabatonnyesezanga emmaanu balye,

Yabawa emmere ey’omu ggulu.+

25 Abantu baalya emmere ey’ab’amaanyi;*+

Yabawa emmere ebamala.+

26 Yafuukuula mu bbanga empewo ey’ebuvanjuba

Era n’akunsa empewo ey’ebukiikaddyo ng’akozesa amaanyi ge.+

27 Yabatonnyeseza ennyama, nga nnyingi ng’enfuufu,

Ebinyonyi bingi ng’omusenyu gw’ennyanja.

28 Yabireetera okugwa wakati mu lusiisira lwe,

Okwetooloola weema ze.

29 Baalya era baavaabira;

Yabawa kye baali baagala.+

30 Naye bwe baali tebannaggwa maddu,

Ng’emmere ekyabali mu kamwa,

31 Obusungu bwa Katonda ne bubabuubuukira.+

N’atta abasajja baabwe ab’amaanyi ennyo;+

N’azikiriza abavubuka ba Isirayiri.

32 Wadde kyali bwe kityo, beeyongera okwonoona+

Era tebakkiririza mu bikolwa bye eby’ekitalo.+

33 Ennaku zaabwe kyeyava azikomya ne ziba ng’omukka obukka,+

Era n’emyaka gyabwe n’agikomya ng’akozesa ebintu eby’entiisa.

34 Naye buli lwe yabattanga, nga baddamu okumunoonya;+

Baakomangawo ne banoonya Katonda,

35 Nga bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe,+

Era nti Katonda Asingayo Okuba Waggulu ye Mununuzi waabwe.*+

36 Baagezaako okumubuzaabuza nga bakozesa akamwa kaabwe

N’okumulimbalimba nga bakozesa olulimi lwabwe.

37 Omutima gwabwe tegwamunywererako;+

Era tebaakuuma ndagaano ye.+

38 Naye yabasaasira;+

Yabasonyiwanga ensobi* zaabwe n’atabazikiriza.+

Yafuganga obusungu bwe+

N’atabamalirako kiruyi kye kyonna.

39 Yajjukiranga nti baali bantu buntu,+

Embuyaga ekunta n’etadda.*

40 Nga baamujeemera emirundi mingi mu lukoola,+

Ne bamunakuwaza mu ddungu!+

41 Baagezesa Katonda enfunda n’enfunda,+

Era baanakuwaza* Omutukuvu wa Isirayiri.

42 Beerabira amaanyi ge;*

Beerabira olunaku lwe yabanunula mu mukono gw’omulabe,+

43 Bwe yakola obubonero bwe mu Misiri,+

N’ebyamagero bye mu Zowani,

44 Ne bwe yafuula obugga obuva ku Kiyira omusaayi,+

Ne baba nga tebasobola kunywa mu bugga bwabwe.

45 Yasindika ebibinja bya kawawa abalume,+

N’ebikere byonoone ensi yaabwe.+

46 Ebirime byabwe yabiwaayo eri enzige ezirya ennyo,

Ebibala by’okutegana kwabwe yabiwaayo eri enzige ennyingi ennyo.+

47 Yasaanyaawo emizabbibu gyabwe

N’emisukamooli gyabwe ng’akozesa omuzira.+

48 Ebisolo byabwe yabikubisa omuzira,+

Era ensolo zaabwe yazikubisa laddu.

49 Yaboolekeza obusungu bwe obungi,

Ekiruyi, obukambwe, n’obuyinike;

Ebibinja bya bamalayika byaleeta obutyabaga.

50 Obusungu bwe yabukubira ekkubo.

Yabawaayo eri okufa;

Yabawaayo* eri endwadde.

51 Ku nkomerero yatta abaana ababereberye bonna ab’e Misiri,+

Abaggulanda abaazaalibwa mu weema za Kaamu.

52 Awo n’aggyayo abantu be ng’ekisibo,+

N’abakulembera ng’ekisibo n’abayisa mu ddungu.

53 Baalina obukuumi ng’abakulembera,

Era tebaalina kye batya;+

Ennyanja yabuutikira abalabe baabwe.+

54 Yabatuusa mu nsi ye entukuvu,+

Mu kitundu kino eky’ensozi omukono gwe ogwa ddyo kye gwafuna.+

55 Yagoba amawanga mu maaso gaabwe,+

Ensi yagipima n’omuguwa n’agigabanyaamu n’agibawa ng’obusika;+

Ebika bya Isirayiri yabiteeka mu maka gaabyo.+

56 Naye beeyongera okugezesa Katonda Asingayo Okuba Waggulu era ne bamujeemera;+

Tebassaayo mwoyo ku bye yabajjukizanga.+

57 Baamuvaako era baali bakuusa nga bajjajjaabwe.+

Baali tebeesigika nga balinga omutego gw’obusaale ogutali munywevu.+

58 Olw’ebifo byabwe ebigulumivu+ beeyongera okumunyiiza,

Era baamusunguwazanga* olw’ebifaananyi byabwe ebyole.+

59 Ekyo Katonda yakiraba n’asunguwala nnyo,+

Kyeyava yeesambira ddala Isirayiri.

60 Ku nkomerero yeesamba weema ey’e Siiro,+

Weema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu.+

61 Akabonero akalaga amaanyi ge yakaleka ne katwalibwa mu buwambe;

Ekitiibwa kye yakireka ne kigenda mu mikono gy’abalabe.+

62 Yawaayo abantu be ne battibwa n’ekitala,+

Era yasunguwalira obusika bwe.

63 Omuliro gwayokya abavubuka be,

Era bawala be tebaabayimbira nnyimba za mbaga.*

64 Bakabona be battibwa n’ekitala,+

Era bannamwandu baabwe tebaakaaba.+

65 Awo Yakuwa n’azuukuka ng’alinga ava mu tulo,+

Ng’omusajja ow’amaanyi+ bw’azuukuka ng’omwenge gumuweddeko.

66 N’azzaayo abalabe be ennyuma,+

N’abaleetako obuswavu obw’olubeerera.

67 Yeesamba weema ya Yusufu;

Teyalonda kika kya Efulayimu.

68 Naye yalonda ekika kya Yuda,+

Olusozi Sayuuni lw’ayagala.+

69 Ekifo kye ekitukuvu yakikola nga kya lubeerera ng’eggulu,+

Ng’ensi gye yanyweza okubaawo emirembe gyonna.+

70 Yalonda Dawudi+ omuweereza we

N’amuggya mu bisibo by’endiga.+

71 Yamuggya ku kulabirira endiga eziyonsa,

N’amufuula omusumba wa Yakobo, abantu be,+

Omusumba wa Isirayiri, obusika bwe.+

72 Yabaluŋŋamya n’omutima omugolokofu,+

N’abakulembera n’amagezi.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share