LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 1/1 lup. 18-23
  • Abakristaayo Bonna ab’Amazima Babuulizi b’Amawulire Amalungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abakristaayo Bonna ab’Amazima Babuulizi b’Amawulire Amalungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyokulabirako ky’Omwami w’Amakungula
  • Abakristaayo Bonna Abaasooka Baabuulira Amawulire Amalungi
  • Kukyusa Bantu Okuva mu Ddiini Zaabwe oba Kubabuulira Mawulire amalungi
  • Okubuulira Amawulire Amalungi mu Kiseera Kyaffe
  • Emiganyulo Egiva mu Mawulire Amalungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • ‘Kolanga Omulimu gw’Omubuulizi w’Enjiri’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Amawulire Amalungi Gabuulirwa Gatya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Ka Bonna Balangirire Ekitiibwa kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 1/1 lup. 18-23

Abakristaayo Bonna ab’Amazima Babuulizi b’Amawulire Amalungi

“Mumuyimbire Yakuwa, mwebaze erinnya lye. Mubuulire amawulire amalungi ag’obulokozi bwe buli lunaku.”​—ZABBULI 96:2, NW.

1. Abantu beetaaga kuwulira mawulire ki amalungi, era Abajulirwa ba Yakuwa basizzaawo batya ekyokulabirako ekirungi mu kubuulira amawulire ng’ago?

MU NSI omubeera obutyabaga buli lunaku, kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nga Baibuli egamba nti entalo, obumenyi bw’amateeka, enjala, n’okunyigirizibwa binaatera okukoma. (Zabbuli 46:9; 72:3, 7, 8, 12, 16) Gano si mawulire malungi buli omu ge yeetaaga okuwulira? Abajulirwa ba Yakuwa bwe batyo bwe balowooza. Bamanyiddwa wonna wonna ng’abo ababuulira ‘amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi ebiri mu maaso.’ (Isaaya 52:7) Kyo kituufu nti Abajulirwa bangi bayigganyiziddwa olw’okubuulira amawulire amalungi. Naye bafaayo nnyo ku mbeera y’abantu. Ng’Abajulirwa balaze obunyiikivu n’obugumiikiriza bya maanyi nnyo mu nsonga eyo!

2. Ensonga emu lwaki Abajulirwa ba Yakuwa banyiikivu y’eruwa?

2 Obunyiikivu bw’Abajulirwa ba Yakuwa leero bwefaananyirizaako obw’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. Ku bikwata ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, olupapula lw’amawulire olw’Abakatuliki oluyitibwa L’Osservatore Romano lwagamba: “Kasita baabatizibwa, Abakristaayo abaasooka baakitwalanga nti bwali buvunaanyizibwa bwabwe okubuulira Amawulire amalungi. N’abaddu baabuuliranga amawulire amalungi.” Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa, okufaananako Abakristaayo abaasooka, banyiikivu nnyo? Okusooka, kubanga amawulire amalungi ge babuulira gava eri Yakuwa Katonda kennyini. Waliwo ensonga eyandibaleetedde okubeera abanyiikivu okusinga eyo? Babuulira olw’okuba bakkiriziganya n’ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli: “Mumuyimbire Yakuwa, mwebaze erinnya lye. Mubuulire amawulire amalungi ag’obulokozi bwe buli lunaku.”​—Zabbuli 96:2, NW.

3. (a) Ensonga ey’okubiri lwaki Abajulirwa ba Yakuwa banyiikivu y’eruwa? (b) Kiki ekizingirwa mu ‘bulokozi bwa Katonda’?

3 Ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli bitujjukiza ensonga ey’okubiri lwaki Abajulirwa ba Yakuwa banyiikivu. Obubaka bwabwe bukwata ku bulokozi. Abantu abamu bawa obuyambi mu by’ekisawo, mu by’enfuna ne mu bintu ebirala basobole okulongoosa obulamu bw’abantu abalala, era okufuba ng’okwo kusiimibwa. Naye ekintu kyonna omuntu ky’ayinza okukolera omulala kiba kitono nnyo bw’okigeraageranya ‘n’obulokozi obuva eri Katonda.’ Okuyitira mu Yesu Kristo, Yakuwa ajja kununula abawombeefu okuva mu kibi, obulwadde, n’okufa. Abo abalinunulwa bajja kubaawo emirembe gyonna! (Yokaana 3:16, 36; Okubikkulirwa 21:3, 4) Leero, obulokozi kimu ku ‘bikolwa eby’ekitalo’ Abakristaayo bye boogerako nga baanukula omulanga guno: “Mubuulirenga ekitiibwa [kya Katonda] mu mawanga, [ebikolwa bye eby’ekitalo] mu bantu bonna. Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna.”​—Zabbuli 96:3, 4.

Ekyokulabirako ky’Omwami w’Amakungula

4-6. (a) Ensonga ey’okusatu lwaki Abajulirwa ba Yakuwa banyiikivu y’eruwa? (b) Yesu yayoleka atya obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi?

4 Abajulirwa ba Yakuwa banyiikivu olw’ensonga ey’okusatu. Bagoberera ekyokulabirako kya Yesu Kristo. (1 Peetero 2:21) Omusajja oyo atuukiridde yakkiriza omulimu ‘gw’okubuulira amawulire amalungi eri abawombeefu,’ n’omutima gwe gwonna. (Isaaya 61:1; Lukka 4:17-21) Bwe kityo, yafuuka omubuulizi w’amawulire amalungi. Yatambulanga mu Ggaliraaya yenna ne mu Buyudaaya, ‘ng’abuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka.’ (Matayo 4:23) Era olw’okuba yamanya nti bangi bandikkirizza amawulire ago amalungi, yagamba abayigirizwa be: “Eby’okukungula bye bingi, naye abakozi be batono. Kale musabe Omwami w’eby’okukungula, asindike abakozi mu by’okukungula bye.”​—Matayo 9:37, 38.

5 Nga kituukagana n’okusaba kwe, Yesu yatendeka abalala okuba ababuulizi b’amawulire amalungi. Nga wayiseewo ekiseera, yatuma abatume be bokka n’abagamba: “Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” Kyandibadde kirungi okusingawo singa abatume baakola enteekateeka ez’okuyamba abantu abaalina ebizibu mu kiseera ekyo? Oba bandyenyigidde mu by’obufuzi okulwanyisa obulyi bw’enguzi obwali bucaase mu kiseera kyabwe? Nedda. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yassaawo eky’okugobererwa Abakristaayo bonna ababuulizi b’amawulire amalungi bwe yagamba abagoberezi be: “Bwe mubanga mutambula mubuulirenga.”​—Matayo 10:5-7.

6 Oluvannyuma, Yesu yatuma ekibinja ekirala eky’abayigirizwa okulangirira nti: ‘Obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ Bwe baakomawo okumutegeeza ebirungi ebyava mu kubuulira kwabwe, Yesu yasanyuka nnyo. Yasaba bw’ati: “Nkwebaza, Kitange Mukama w’eggulu n’ensi kubanga bino wabikweka abagezi n’abakabakaba, n’obibikkulira abaana abato.” (Lukka 10:1, 8, 9, 21) Abayigirizwa ba Yesu, mu kusooka abaali abavubi, abalimi, era abaakolanga emirimu emirala, baali ng’abaana abato ng’obageraageranyizza n’abakulembeze b’eddiini abaali abayivu. Naye abayigirizwa baatendekebwa okulangirira amawulire amalungi.

7. Oluvannyuma lwa Yesu okugenda mu ggulu, abagoberezi be baasooka kubuulira baani amawulire amalungi?

7 Oluvannyuma lwa Yesu okugenda mu ggulu, abagoberezi be beeyongera okubuulira amawulire amalungi ag’obulokozi. (Ebikolwa 2:21, 38-40) Baani be baasooka okubuulira? Baagenda eri mawanga agatamanyi Katonda? Nedda. Baasooka kubuulira Baisiraeri, abantu abaali bamaze emyaka egisukka mu 1,500 nga bamanyi Yakuwa. Baali basaanidde okubuulira mu nsi eyali yatandika edda okusinza Yakuwa? Yee. Yesu yali abagambye: “Munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Ebikolwa 1:8) Okufaananako amawanga amalala, ne Isiraeri yali yeetaaga okuwulira amawulire amalungi.

8. Abajulirwa ba Yakuwa leero bakoppa batya abagoberezi ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka?

8 Mu ngeri y’emu, Abajulirwa ba Yakuwa leero babuulira mu nsi yonna. Bakolera wamu ne malayika Yokaana gwe yalaba ‘ng’alina amawulire amalungi ag’okubuulira bonna abatuula ku nsi, n’eri buli ggwanga, kika, lulimi n’abantu.’ (Okubikkulirwa 14:6, NW) Mu mwaka 2001, baabuulira mu nsi 235, nga mw’otwalidde n’ezo ezitwalibwa okuba ez’Ekikristaayo. Kiba kikyamu Abajulirwa ba Yakuwa okubuulira mu bifo Kristendomu gye yasimba edda amakanda? Abamu bagamba nti kikyamu era bayinza okutunuulira okubuulira ng’okwo ‘ng’okubba endiga zaabwe.’ Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa bamanyi engeri Yesu gye yatwalamu Abayudaaya abeetoowaze mu kiseera kye. Wadde nga baalina obwakabona, Yesu teyalonzalonza kubabuulira mawulire malungi. “[Y]abasaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (Matayo 9:36) Abajulirwa ba Yakuwa bwe bazuula abantu abawombeefu abatamanyi Yakuwa n’Obwakabaka bwe, tebandibabuulidde mawulire malungi kubanga eddiini ezimu zigamba nti ndiga zaabwe? Nga tukoppa ekyokulabirako ky’abatume ba Yesu, tuddamu nti nedda. Amawulire amalungi gateekwa okubuulirwa ‘mu mawanga gonna,’ awatali kutaliza ggwanga na limu.​—Makko 13:10.

Abakristaayo Bonna Abaasooka Baabuulira Amawulire Amalungi

9. Mu kyasa ekyasooka, baani mu kibiina Ekikristaayo abeenyigira mu kubuulira?

9 Baani abeenyigira mu kubuulira mu kyasa ekyasooka? Obujulizi bulaga nti Abakristaayo bonna baali babuulizi b’amawulire amalungi. Omuwandiisi ayitibwa W. S. Williams agamba: “Obujulizi bulaga nti Abakristaayo bonna mu Kkanisa eyasooka . . . baabuulira enjiri.” Ku bikwata ku byaliwo ku lunaku lwa Pentekooti 33 C.E., Baibuli egamba: “Bonna [abasajja n’abakazi] baali wamu mu kifo kimu. Bonna ne bajjula omwoyo omutukuvu, ne batanula okwogera ennimi endala, nga omwoyo bwe yabawa okuzoogera.” Mu babuulizi b’amawulire amalungi mwalimu abasajja n’abakazi, abato n’abakulu, abaddu n’ab’eddembe. (Ebikolwa 1:14; 2:1, 4, 17, 18; Yoweeri 2:28, 29; Abaggalatiya 3:28) Abakristaayo bangi bwe badduka mu Yerusaalemi olw’okuyigganyizibwa, “abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo.” (Ebikolwa 8:4) Bonna “abaasaasaana,” baabuulira amawulire amalungi so si abatono abalondemu.

10. Mulimu ki ogwakolebwa ng’enteekateeka y’Ekiyudaaya tennazikirizibwa?

10 Bwe kityo bwe kyali mu myaka egyo egyasooka. Yesu yalagula: “N’amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14, NW) Mu kutuukirizibwa kw’ebigambo ebyo mu kyasa ekyasooka, amawulire amalungi gaabuulirwa mu bifo bingi ng’amagye g’Abaruumi tegannazikiriza nteekateeka ya Bayudaaya ey’eby’eddiini n’ey’eby’obufuzi. (Abakkolosaayi 1:23) Ate era, abagoberezi ba Yesu bonna baagondera ekiragiro kye: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Abakristaayo abaasooka tebaakubiriza bantu bawombeefu kukkiriza Yesu ate ne babaleka okuweereza Katonda mu ngeri bo gye baagala, ng’ababuulizi abamu bwe bakola leero. Mu kifo ky’ekyo, baabayigiriza ne bafuuka abayigirizwa ba Yesu abategeke obulungi, era ne babatendeka basobole okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abalala abayigirizwa. (Ebikolwa 14:21-23) Abajulirwa ba Yakuwa leero nabo bakola bwe batyo.

11. Baani leero ababuulira abantu amawulire amalungi agasingirayo ddala obulungi?

11 Abajulirwa ba Yakuwa bangi, nga bakoppa ekyokulabirako kya Pawulo, Balunabba, n’abalala mu kyasa ekyasooka, bagenze mu nsi engwira okukola ng’abaminsani. Mazima ddala omulimu gwabwe gubadde gwa muganyulo, okuva bwe bateenyigidde mu bya bufuzi oba mu bintu ebirala ebyandibawugudde okuva ku mulimu gwabwe ogw’okubuulira amawulire amalungi. Bagondedde ekiragiro kya Yesu: “Bwe mubanga mutambula mubuulire.” Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi tebaweereza nga baminsani mu nsi engwira. Bangi balina emirimu gye bakola okusobola okweyimirizaawo, ate abalala bakyasoma. Abamu bazadde. Naye Abajulirwa ba Yakuwa bonna babuulira abalala amawulire amalungi ge babuuliddwa. Abato n’abakulu, abasajja n’abakazi, bonna bakolera ku kubuulirira kwa Baibuli: “Buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu.” (2 Timoseewo 4:2) Okufaananako bannaabwe mu kyasa ekyasooka, beeyongera “okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu.” (Ebikolwa 5:42, NW) Balangirira eri abantu amawulire amalungi agasingirayo ddala obulungi.

Kukyusa Bantu Okuva mu Ddiini Zaabwe oba Kubabuulira Mawulire amalungi

12. Okukyusa abantu okuva mu ddiini zaabwe kutwalibwa kutya?

12 Leero, abamu bagamba nti kya kabi okukyusa omuntu okuva mu ddiini ye. Ekiwandiiko ekyafulumizibwa Akakiiko ak’Amadiini ak’Ensi Yonna kyogera ku ‘kibi eky’okukyusa abantu okuva mu ddiini zaabwe.’ Lwaki? Magazini eyitibwa Catholic World Report egamba: “Olw’Abasodokisi okwemulugunya, kati ‘okukyusa abantu okuva mu ddiini zaabwe’ kutwalibwa nga okubakaka obukasi.”

13. Byakulabirako ki ebimu ebiraga akabi akali mu kukyusa abantu okuva mu ddiini zaabwe?

13 Kya kabi okukyusa abantu okuva mu ddiini zaabwe? Kiyinza okuba eky’akabi. Yesu yagamba nti abawandiisi n’Abafalisaayo bwe bakyusanga abantu okuva mu ddiini zaabwe, kyabanga kya kabi eri abo be baakyusa. (Matayo 23:15) Mazima ddala, kiba kikyamu ‘okukaka abantu okukyuka okuva mu ddiini zaabwe.’ Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku munnabyafaayo Josephus, Omumakabiizi ayitibwa Yokaana Kirikanasi bwe yawamba Abeedumayo, “yabakkiriza okusigala mu nsi yaabwe kasita bakkiriza okukomolebwa era n’okugoberera amateeka g’Abayudaaya.” Singa abantu abo baali baagala okubeera wansi w’obufuzi bw’Abayudaaya, baali balina okugoberera eddiini y’Ekiyudaaya. Bannabyafaayo batugamba nti mu kyasa eky’omunaana C.E., Kyalimaani yawamba Abagirimaani abakaafiiri ab’omu Bulaaya ow’omu bukiika ddyo era n’abakaka okukyusa eddiini yaabwe.a Tekyewuunyisa nti okukyuka kw’Abagirimaani oba okw’Abeedumayo tekwali kwa bwesimbu, era ne Kabaka Kerode Omwedumayo, eyagezaako okutta Yesu, yali tayagala Mateeka ga Musa agaaluŋŋamizibwa.​—Matayo 2:1-18.

14. Abaminsani abamu mu Kristendomu bakaka batya abantu okukyuka okuva mu ddiini zaabwe?

14 Waliwo abakakibwa okukyuka okuva mu ddiini zaabwe mu kiseera kyaffe? Mu ngeri emu weebali. Kigambibwa nti abaminsani abamu aba Kristendomu basuubiza okutwala abo be baagala okukyusa emitala w’amawanga okusoma. Oba bayinza okuwaliriza abanoonyi b’obubudamo okuwuliriza bye babuulira bwe baba nga baagala okuweebwa eky’okulya. Okusinziira ku kiwandiiko ekyayisibwa mu 1992 ku lukuŋŋaana lwa Babisopu Abasodokisi, “emirundi egimu abantu bakyusibwa nga baweebwa ebintu ate oluusi nga batiisibwatiisibwa okukolebwako ebikolwa eby’ettemu.”

15. Abajulirwa ba Yakuwa bakyusa abantu okuva mu ddiini zaabwe mu ngeri ekigambo ekyo gye kitegeerwamu leero? Nnyonnyola.

15 Okukaka abantu okukyusa eddiini zaabwe kiba kikyamu. Kya lwatu, Abajulirwa ba Yakuwa tebakaka bantu kukyuka.b Bwe kityo tebakyusa bantu mu ngeri abantu gye bategeeramu ekigambo ekyo leero. Wabula, okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, babuulira amawulire amalungi eri buli muntu. Bonna abasiima amawulire ago bakubirizibwa okumanya ebisingawo okuyitira mu kuyigirizibwa Baibuli. Abantu ng’abo abasiima, batandika okukkiririza mu Katonda awamu n’ebigendererwa bye, era okukkiriza kwabwe kuba kwesigamye ku kumanya okutuufu okw’omu Baibuli. N’ekivaamu, bakoowoola erinnya lya Katonda, Yakuwa, okufuna obulokozi. (Abaruumi 10:13, 14, 17) Abantu be beesalirawo oba bakkiriza amawulire amalungi oba nedda. Tebawalirizibwa. Singa bawalirizibwa, olwo okukyusa abantu okuva mu ddiini yaabwe tekyandibadde na makulu, kubanga okusinza okusobola okukkirizibwa Katonda, kuteekwa kuva mu mutima.​—Ekyamateeka 6:4, 5; 10:12.

Okubuulira Amawulire Amalungi mu Kiseera Kyaffe

16. Omulimu gw’okubuulira Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola gukulaakulanye gutya mu kiseera kyaffe?

16 Mu kiseera kyaffe, Abajulirwa ba Yakuwa babuulidde amawulire amalungi ag’Obwakabaka nga batuukiriza Matayo 24:14. Kye bakozesezza ennyo mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira amawulire amalungi ebadde magazini Omunaala gw’Omukuumi.c Mu 1879, nga Omunaala gw’Omukuumi kaakatandika okufulumizibwa, magazini 6,000 ze zaakubibwanga mu lulimi lumu. Mu 2001, oluvannyuma lw’emyaka 122, obutabo 23,042,000 bwe bukubibwa mu nnimi 141. Okugatta ku kweyongera okwo, wabaddewo okukulaakulana mu mulimu gw’okubuulira ogw’Abajulirwa ba Yakuwa. Geraageranya essaawa ezaaweebwangayo mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mu kyasa 19 n’essaawa 1,169,082,225 ezaaweebwayo mu kubuulira mu mwaka 2001. Lowooza ku bantu 4,921,702 abaayigirizibwa Baibuli buli mwezi. Nga gwali mulimu mulungi nnyo ogwakolebwa! Ate gwakolebwa ababuulizi b’Obwakabaka nga 6,117,666.

17. (a) Bakatonda ki ab’obulimba abasinzibwa leero? (b) Buli muntu, k’abeere ng’ayogera lulimi ki, wa ggwanga ki, oba ali mu mbeera ki, yeetaaga kumanya ki?

17 Omuwandiisi wa Zabbuli agamba: “Kubanga bakatonda bonna ab’amawanga bye bifaananyi: naye Mukama ye yakola eggulu.” (Zabbuli 96:5) Mu nsi ey’akakyo kano, mwoyo gwa ggwanga, obubonero bw’amawanga, abantu abatutumufu, n’eby’obugagga bifuuliddwa ebintu ebisinzibwa. (Matayo 6:24; Abaefeso 5:5; Abakkolosaayi 3:5) Lumu, Mohandas K. Gandhi yagamba: “Nnina endowooza nti . . . Bulaaya yeeyita bweyisi Nkristaayo. Mu butuufu esinza bya bugagga.” Amazima gali nti amawulire amalungi galina okubuulirwa mu buli kifo. Buli muntu, k’abeere ng’ayogera lulimi ki, wa ggwanga ki, oba ali mu mbeera ki, yeetaaga okumanya Yakuwa n’ebigendererwa bye. Twandyagadde bonna okugoberera ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli: “Mumuwe Mukama ekitiibwa n’amaanyi. Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.” (Zabbuli 96:7, 8) Abajulirwa ba Yakuwa bayamba abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa basobole okumuwa ekitiibwa. Era abasiima bye bayigirizibwa baganyulwa nnyo. Bafuna miganyulo ki? Egyo gijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Okusinziira ku kitabo The Catholic Encyclopedia, mu kiseera bwe waaliwo enkyukakyuka ez’amaanyi mu by’eddiini mu kyasa 16, okukakaatika eddiini ku bantu kwalagibwa mu ŋŋombo y’Olulattini egamba: “Afuga ensi era y’asalawo eddiini yaayo.”

b Ku lukuŋŋaana lw’Akakiiko k’Eddembe ly’Eddiini mu Amereka olwaliwo nga Noovemba 16, 2000, omu ku bantu abaaliwo yalaga enjawulo eriwo wakati w’abo abakaka abantu okukyuka okuva mu ddiini zaabwe n’enkola y’Abajulirwa ba Yakuwa. Kyetegerezebwa nti Abajulirwa ba Yakuwa bwe babuulira abalala, abantu baba basobola n’okugamba nti ‘saagala’ era ne baggalawo n’enzigi.

c Erinnya lya magazini mu bujjuvu liri Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa.

Osobola Okunnyonnyola?

• Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa banyiikivu mu kubuulira amawulire amalungi?

• Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa babuulira ne mu bifo amakanisa ga Kristendomu gye gasimbye amakanda?

• Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tebakyusa bantu kuva mu ddiini zaabwe mu ngeri abantu gye bategeeramu ekigambo ekyo leero?

• Omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogw’okubuulira amawulire amalungi gukulaakulanye gutya mu kiseera kyaffe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Yesu yali mubuulizi w’amawulire amalungi omunyiikivu era yatendeka abalala okukola omulimu gwe gumu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Bonna mu bibiina by’omu kyasa ekyasooka baabuuliranga amawulire amalungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Kikyamu okukaka abantu okukyuka okuva mu ddiini zaabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share